Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBYONGEREZEDDWAKO

Okuvvuunuka Omuze ogw’Okutigaatiga Ebitundu eby’Ekyama oba Okwemazisa

Okuvvuunuka Omuze ogw’Okutigaatiga Ebitundu eby’Ekyama oba Okwemazisa

Omuze guno ogw’okutigaatiga ebitundu eby’ekyama tegusanyusa Katonda kubanga guleetera omuntu okwerowoozaako yekka era gwonoona ebirowoozo bye. Omuntu alina omuze guno ayinza okwesanga nga bw’atunuulira abalala, alowooza ku kya kwegatta nabo. Atandika okutwala okwegatta ng’ekikolwa eky’okukkusa obukkusa okwegomba kwe so si ng’ekikolwa eky’oleka omukwano wakati w’abantu ababiri. Naye essanyu ly’afuna mu kukkusa okwegomba kwe okwo liba lya kaseera buseera. Mu butuufu, mu kifo ky’okufiisa ebitundu by’omubiri ku bikwata ku “bugwenyufu, ku butali bulongoofu, obuteefuga ku bikwata ku kwegatta,” okutigaatiga ebitundu eby’ekyama kisiikuula busiikuuzi okwegomba okubi.​—Abakkolosaayi 3:5.

Omutume Pawulo yagamba nti: “Abaagalwa, . . . ka twenaazeeko byonna ebyonoona omubiri n’omwoyo, obutukuvu bwaffe butuukirire mu kutya Katonda.” (2 Abakkolinso 7:1) Bw’oba ng’ofuba okukolera ku bigambo ebyo, kyokka ng’okyalemereddwa okuvvuunuka omuze guno, toggwaamu maanyi. Bulijjo Yakuwa “mwetegefu okusonyiwa” n’okuyamba abantu be. (Zabbuli 86:5; Lukka 11:9-13) Mu butuufu, omutima gwo bwe guba gukulumiriza era ng’ofuba okulwanyisa omuze ogwo, wadde ng’oluusi olemererwa, kiba kiraga nti olina endowooza ennuŋŋamu. Era kijjukire nti “Katonda asinga emitima gyaffe era amanyi ebintu byonna.” (1 Yokaana 3:20) Katonda talaba bibi byaffe kyokka; amanyi bulungi engeri gye tufubamu okukola by’ayagala. Eyo ye nsonga lwaki awulira okusaba kwaffe era n’atusaasira. N’olwekyo, ng’omwana bw’addukira eri kitaawe ng’ali mu buzibu, naawe tokoowa kutuukirira Katonda mu kusaba. Yakuwa ajja kukuwa omuntu ow’omunda omulungi. (Zabbuli 51:1-12, 17; Isaaya 1:18) Kya lwatu, weetaaga okukolera ku ebyo by’osaba. Ng’ekyokulabirako, kijja kukwetaagisa okwewala ebintu eby’obuseegu awamu n’emikwano emibi. *

Singa olemererwa okuvvuunuka omuze ogw’okutigaatiga ebitundu eby’ekyama, yogerako ne muzadde wo Omukristaayo oba mukwano gwo omukulu mu by’omwoyo. *​—Engero 1:8, 9; 1 Abassessalonika 5:14; Tito 2:3-5.

^ lup. 2 Okusobola okwewala okulaba ebintu ebibi ku kompyuta, amaka mangi gagiteeka mu kifo w’esobola okulabibwa buli omu awaka. Okugatta ku ekyo, amaka mangi gagula programu ezisengejja ebyo ebiragibwa ku kompyuta. Kyokka, ne programu zino tetusobola kuzeesiga mu bujjuvu.

^ lup. 1 Amagezi gano wammanga gasobola okukuyamba okuvvuunuka omuze ogw’okutigaatiga ebitundu eby’ekyama: Fuba okulowooza ku bintu ebirala. (Abafiripi 4:8) Weewale okulaba ebintu ebisiikuula okwegomba okubi. (Zabbuli 119:37) Saba Yakuwa akuwe “amaanyi agasinga ku ga bulijjo.” (2 Abakkolinso 4:7) Weemalire ku bintu eby’omwoyo.​1 Abakkolinso 15:58.