ESSUULA 16
Muziyizenga Omulyolyomi n’Enkwe Ze Zonna
“Muziyizenga Omulyolyomi naye anaabaddukanga.”—YAKOBO 4:7.
1, 2. Baani abasanyuka ennyo ku mukolo gw’okubatizibwa?
BW’OBA omaze emyaka mingi ng’oweereza Yakuwa, oyinza okuba ng’owulidde emboozi nnyingi ezikwata ku kubatizibwa mu nkuŋŋaana zaffe ennene. Kyokka ka gibe mirundi emeka gy’obadde ku nkuŋŋaana ezo, okwatibwako nnyo buli lw’owulira omwogezi ng’asaba abo ababa bagenda okubatizibwa okuyimirira babeeko ebibuuzo bye baddamu. Mu kiseera ekyo, abaliwo booleka essanyu lyabwe nga bakuba mu ngalo. Ebiyengeyenge biyinza okukujja mu maaso bw’olaba abantu abalala abasazeewo okudda ku ludda lwa Yakuwa. Nga tuba basanyufu nnyo mu biseera ng’ebyo!
2 Ffe tulaba ababatizibwa batono nnyo buli mwaka, naye bo bamalayika balaba ababatizibwa bangi nnyo. Oyinza okuteebereza ‘essanyu eriba mu ggulu’ bwe balaba abantu nkumi na nkumi okwetooloola ensi yonna nga beeyunga ku kibiina kya Yakuwa, buli wiiki? (Lukka 15:7, 10) Awatali kubuusabuusa, bamalayika basanyuka nnyo bwe balaba okweyongerayongera kuno!—Kaggayi 2:7.
OMULYOLYOMI “ATAMBULATAMBULA NG’EMPOLOGOMA EWULUGUMA”
3. Lwaki Sitaani atambulatambula “ng’empologoma ewuluguma,” era kiki ky’ayagala okukola?
3 Kyokka, waliwo ebitonde eby’omwoyo ebitasanyukira abo ababatizibwa. Kinyiiza nnyo Sitaani ne badayimooni okulaba abantu nkumi na nkumi nga beeyawula ku nsi eno Yobu 2:4, 5.) Buli lwe wabaawo asalawo okwewaayo eri Yakuwa, kiba kiraga nti Sitaani bye yayogera bya bulimba. Ekyo Sitaani kimuyisa bubi nnyo! N’olwekyo tekyewuunyisa nti “atambulatambula ng’empologoma ewuluguma, ng’anoonya gw’anaalya”! (1 Peetero 5:8) “Empologoma” eno eyagala okutulya mu by’omwoyo, enkolagana yaffe ne Katonda enafuwe oba tumuviireko ddala.—Zabbuli 7:1, 2; 2 Timoseewo 3:12.
embi. Kiri kityo kubanga Sitaani yagamba nti tewali muntu aweereza Yakuwa olw’okuba amwagalira ddala, era nti tewali asobola kusigala nga mwesigwa ng’ayolekaganye n’okugezesebwa okw’amaanyi. (SomaBuli lwe wabaawo ayeewaayo eri Yakuwa n’abatizibwa, kiba kiraga nti Sitaani bye yayogera bya bulimba
4, 5. (a) Waayo ensonga bbiri lwaki Sitaani tajja kusobola kulya bantu ba Yakuwa bonna? (b) Omukristaayo ow’amazima ayinza kuba mukakafu ku ki?
4 Wadde nga twolekaganye n’omulabe oyo omukambwe Okubikkulirwa 7:9, 14) Ekigambo kya Katonda tekisobola kulemwa kutuukirira. Sitaani naye ateekwa okuba ng’akimanyi nti tajja kusobola kusuula bantu ba Katonda bonna.
ennyo, tetusaanidde kutya. Lwaki? Waliwo ensonga bbiri lwaki tuli bakakafu nti ‘empologoma eyo ewuluguma’ tesobola kulya baweereza ba Katonda bonna n’ebamalawo. Esooka, Yakuwa yalagula nti “ekibiina ekinene” eky’Abakristaayo ab’amazima bajja kuwonawo mu “kibonyoobonyo ekinene” ekijja. (5 Ey’okubiri yeeyolekera mu bigambo ebyayogerwa omu ku baweereza ba Katonda abeesigwa ab’edda. Nnabbi Azaliya yagamba Kabaka Asa nti: “Yakuwa ali nammwe singa nammwe muba naye.” (2 Ebyomumirembe 15:2; soma 1 Abakkolinso 10:13.) Ebyokulabirako bingi mu Byawandiikibwa biraga nti mu biseera eby’edda, Sitaani yalemererwa okulya abaweereza ba Katonda abaalinanga enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda. (Abebbulaniya 11:4-40) Leero, Omukristaayo alina enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda asobola okuziyiza Omulyolyomi era n’amuwangula. Mu butuufu, Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Muziyizenga Omulyolyomi naye anaabaddukanga.”—Yakobo 4:7.
‘TUMEGGANA N’EMYOYO EMIBI’
6. Sitaani alwanyisa atya Abakristaayo kinnoomu?
6 Olutalo Sitaani lw’alwana n’abantu ba Yakuwa bonna awamu tayinza kuluwangula, naye asobola okutuwangula kinnoomu singa tulekera awo okubeera obulindaala. Sitaani akimanyi nti asobola okutuwangula singa anafuya enkolagana gye tulina ne Yakuwa. Kino Sitaani akikola atya? Ng’ayongera amaanyi mu bulumbaganyi bw’akola ku bantu ba Katonda, ng’atulumba kinnoomu, era ng’atulumba mu ngeri enneekusifu. Ka twekenneenye engeri zino Sitaani z’asinga okukozesa.
7. Lwaki Sitaani ayongedde amaanyi mu bulumbaganyi bwakola ku bantu ba Katonda?
7 Ng’ayongera amaanyi mu bulumbaganyi bw’akola ku 1 Yokaana 5:19) Abakristaayo bonna ab’amazima basaanidde okussaayo ennyo omwoyo ku bigambo ebyo. Okuva bwe kiri nti Sitaani amaze okuwangula ensi yonna ey’abantu abatatya Katonda, kati ayongedde amaanyi mu bulumbaganyi bwakola ku bantu ba Yakuwa. (Mikka 4:1; Yokaana 15:19; Okubikkulirwa 12:12, 17) Alina obusungu bungi nnyo kubanga akimanyi nti ekiseera kye kiyimpawadde. N’olwekyo, akola kyonna ekisoboka okulaba nti asaanyaawo enkolagana gye tulina ne Katonda.
bantu ba Katonda. Omutume Yokaana yagamba nti: “Ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi.” (8. Kiki omutume Pawulo ky’ategeeza bw’agamba nti ‘tumeggana’ n’emyoyo emibi?
8 Ameggana naffe kinnoomu. Omutume Pawulo yagamba Bakristaayo banne nti: ‘Tumeggana n’emyoyo emibi egiri mu bifo eby’omu ggulu.’ (Abeefeso 6:12) Lwaki Pawulo yakozesa ekigambo “okumeggana”? Kubanga kiwa amakulu ag’okwambalagana n’omuntu. N’olwekyo, omutume Pawulo yakozesa ekigambo ekyo okulaga nti buli omu ku ffe alwana n’emyoyo emibi. Ka tube nga tuli mu nsi gye bakkiririza ennyo mu myoyo emibi oba nedda, tetulina kukyerabira nti bwe twewaayo eri Yakuwa twatandika okumeggana n’emyoyo emibi mu ngeri ey’akabonero. N’olwekyo tekyewuunyisa nti Pawulo yalaba nga kyetaagisa okukubiriza Abakristaayo ab’omu Efeso emirundi esatu ‘okuba abanywevu’!—Abeefeso 6:11, 13, 14.
9. (a) Lwaki Sitaani ne badayimooni bakozesa “enkwe” ezitali zimu? (b) Lwaki Sitaani agezaako okwonoona ebirowoozo byaffe, era tuyinza tutya okumuziyiza? (Laba akasanduuko ku lupapula 192-3.) (c) Lukwe ki Sitaani lw’akozesa lwe tugenda okwekenneenya?
9 Akozesa obukoddyo obwekusifu. Pawulo akubiriza Abakristaayo okuba abanywevu nga baziyiza “enkwe” za Sitaani. (Abeefeso 6:11) Weetegereze nti Pawulo akozesezza ekigambo “enkwe” so si olukwe. Ekyo kiraga nti emyoyo emibi gikozesa enkwe nnyingi nnyo. Abaweereza ba Katonda abamu abasigala nga banywevu nga boolekaganye n’ekigezo ekimu, batendewererwa nga boolekaganye n’ekigezo ekiralala. Bwe kityo, Omulyolyomi ne badayimooni beetegereza engeri buli omu ku ffe gye yeeyisaamu ne bamanya obunafu bwe we buli. Bwe bamala okubumanya, bakozesa obunafu obwo okutulumba. Kyokka, ekirungi kiri nti tusobola okumanya enkwe Omulyolyomi z’akozesa, kubanga zirambikiddwa bulungi mu Bayibuli. (2 Abakkolinso 2:11) Ku ntandikwa y’akatabo kano, twayogera ku nkwe ze, gamba ng’okuluubirira eby’obugagga, emikwano emibi, n’obwenzi. Kati ka twekenneenye olukwe olulala Sitaani lw’akozesa—eby’obusamize.
OKWENYIGIRA MU BY’OBUSAMIZE KUBA KULYAMU KATONDA LUKWE
10. (a) Eby’obusamize kye ki? (b) Yakuwa atwala atya eby’obusamize, ate ggwe obitwala otya?
10 Omuntu bwe yeenyigira mu by’obusamize, aba akolagana butereevu n’emyoyo emibi. Eby’obusamize bizingiramu, obufumu, obuganga, obulogo, n’okwogera n’abafu. Nga bwe tukimanyi obulungi, Yakuwa atwala eby’obusamize ‘ng’ekintu eky’omuzizo.’ (Ekyamateeka 18:10-12; Okubikkulirwa 21:8) Okuva bwe kiri nti naffe tulina ‘okukyawa ekibi,’ tetulina kuba na nkolagana yonna n’emyoyo emibi. (Abaruumi 12:9) Bwe tukikola, tuba tulidde olukwe mu Kitaffe ow’omu ggulu Yakuwa!
11. Lwaki Sitaani aba atuuse ku buwanguzi bwa maanyi nnyo bw’atuleetera okwenyigira mu by’obusamize? Waayo ekyokulabirako.
11 Kyokka, olw’okuba Sitaani akimanyi nti bwe twenyigira mu by’obusamize tuba tuliddemu Yakuwa olukwe, mumalirivu okuleetera abamu ku ffe okubyenyigiramu. Buli Sitaani lw’aleetera Omukristaayo okwenyigira mu by’obusamize, aba atuuse ku buwanguzi bw’amaanyi nnyo. Lwaki? Lowooza ku kino: Singa omujaasi asendebwasendebwa okulya mu ggye lye olukwe era n’alyabulira n’ayingira mu ggye ly’omulabe, omuduumizi w’eggye ly’ayingiddemu asanyuka nnyo. Omuduumizi oyo asobola n’okwolesa omujaasi ono mu lujjudde ng’omuntu bw’ayolesa ekikopo ky’awangudde, asobole okufeebya omuduumizi w’eggye omujaasi
ono ly’avuddemu. Mu ngeri y’emu, singa Omukristaayo yeenyigira mu by’obusamize, aba asazeewo okwabulira Yakuwa mu bugenderevu era bw’atyo n’aba nga yeetadde wansi w’obuyinza bwa Sitaani. Fumiitiriza ku ssanyu Sitaani ly’aba nalyo ng’ayolesa oyo abadde Omukristaayo ng’ekikopo ky’awangudde! Ddala waliwo n’omu ku ffe eyandyagadde okuleetera Omulyolyomi okutuuka ku buwanguzi ng’obwo? Nedda! Tetuli ba nkwe.ATULEETERA OKUBUUSABUUSA
12. Nkola ki Sitaani gye yeeyambisa okusobola okukyusa endowooza gye tulina ku by’obusamize?
12 Bwe tukyawa eby’obusamize, Sitaani tajja kusobola kutuleetera kubyenyigiramu. N’olwekyo agezaako okukyusa endowooza yaffe. Ekyo akikola atya? Akola butaweera okulaba nti aleetera Abakristaayo okulowooza nti, ‘ekirungi kibi, n’ekibi kirungi.’ (Isaaya 5:20) Okusobola okukola ekyo, Sitaani yeeyambisa enkola gy’amaze ebbanga eddene ng’akozesa—atuleetera okubuusabuusa.
13. Sitaani akozesezza atya enkola ey’okuleetera abaweereza ba Katonda okubuusabuusa?
13 Weetegereze engeri Sitaani gye yeeyambisaamu enkola eyo mu biseera ebyayita. Mu Edeni yabuuza Kaawa nti: “Ddala Katonda yagamba nti temulyanga ku miti gyonna egy’omu lusuku?” Mu kiseera kya Yobu, nga bamalayika bali mu lukuŋŋaana mu ggulu, Sitaani yabuuza nti: “Yobu atiira bwereere Katonda?” Ate ku ntandikwa y’obuweereza bwa Yesu obw’oku nsi, Sitaani yasoomooza Kristo ng’amugamba nti: “Bw’oba ng’oli mwana wa Katonda, gamba amayinja gano gafuuke emmere.” Kiteeberezeemu—Sitaani yatuuka n’okufeebya ebigambo Yakuwa kennyini bye yali ayogedde wiiki nga mukaaga emabega nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe nsiima.”—Olubereberye 3:1; Yobu 1:9; Matayo 3:17; 4:3.
14. (a) Kubuusabuusa ki Sitaani kw’ayagala tube nakwo ku by’obusamize? (b) Kiki kye tugenda okwekenneenya?
14 Leero Sitaani akozesa enkola y’emu ng’ayagala tutandike 2 Abakkolinso 11:3) Tuyinza tutya okuyamba abalinga abo okutereeza endowooza yaabwe? Tuyinza kukola ki okulaba nti enkwe za Sitaani tezitutwaliriza? Okusobola okuddamu ebibuuzo ebyo, ka twetegereze engeri bbiri Sitaani zaakozesezza okuleetera abantu okwenyigira mu by’obusamize—Eby’okwesanyusaamu n’obujjanjabi.
okubuusabuusa obanga ddala eby’obusamize bibi. Eky’ennaku, aleetedde Abakristaayo abamu okutandika okubuusabuusa obanga ddala eby’obusamize ebimu bibi nnyo. (AKOZESA EBINTU BYE TWAGALA NE BYE TWETAAGA
15. (a) Bangi mu nsi ezaakulaakulana edda batwala batya eby’obusamize? (b) Endowooza ensi gy’erina ku by’obusamize ekoze ki ku Bakristaayo abamu?
15 Nnaddala mu nsi ezaakulaakulana edda, obulaguzi, obulogo n’engeri endala ez’obusamize byeyongedde okutwalibwa ng’ebintu ebitali bibi. Mu firimu ezimu ku programu za ttivi, ne mu mizannyo gy’oku kompyuta, ebikolwa eby’obusamize bitwalibwa ng’ebintu ebisanyusa obusanyusa, ebyoleka amagezi, era ebitaliimu kabi konna. Firimu ezimu n’ebitabo ebirimu eby’obusamize bicaase nnyo mu nsi ne kiba nti ababinyumirwa batuuse n’okwekolamu ebibiina. Awatali kubuusabuusa, badayimooni basobodde okuleetera abantu okutwala eby’obusamize ng’ekintu ekitali kya kabi. Kino kirina kye kikoze ku Bakristaayo? Kikyusizza endowooza y’Abakristaayo abamu. Mu ngeri ki? Okuwaayo ekyokulabirako, oluvannyuma lw’Omukristaayo omu okulaba firimu eyalimu eby’obusamize, yagamba nti, “Nnalaba firimu naye seenyigira mu bya busamize.” Lwaki endowooza ng’eyo ya kabi?
16. Lwaki kya kabi okwenyigira mu by’okwesanyusaamu ebirimu eby’obusamize?
16 Wadde nga waliwo enjawulo wakati w’okulaba eby’obusamize n’okubyenyigiramu, tekitegeeza nti okulaba * N’olwekyo, nga bwe kyayogeddwako emabega, okusobola okumanya kye tulowooza era n’okutegeera obunafu obw’eby’omwoyo bwe tulina, emyoyo emibi gyetegereza bye tukola—nga mw’otwalidde eby’okwesanyusaamu bye tulondawo. Enneeyisa y’Omukristaayo bw’eraga nti anyumirwa nnyo firimu oba ebitabo ebirimu obufumu, obulogo, okusamira n’ebikolwa ebirala eby’obusamize, badayimooni bakitegeera era kibalaga obunafu bwe we buli. N’ekivaamu, badayimooni basobola okwongera amaanyi mu kumeggana n’Omukristaayo oyo nga beeyambisa obunafu obwo bw’aba abalaze, okutuusiza ddala lwe bamumegga wansi n’enkoona n’enywa. Mu butuufu, abamu abaatandika okulaba, okusoma, n’okuwuliriza ebintu ebirimu eby’obusamize nga beesanyusaamu, oluvannyuma baabyenyigiriramu.—Soma Abaggalatiya 6:7.
eby’obusamize si kya kabi. Lwaki? Lowooza ku kino: Ekigambo kya Katonda kiraga nti Sitaani ne badayimooni tebalina busobozi bwa kutegeera bye tulowooza.17. Lukwe ki Sitaani lw’ayinza okukozesa ku balwadde?
17 Sitaani takoma ku kukozesa bya kwesanyusaamu byokka naye era akozesa n’eby’obujjanjabi. Mu ngeri ki? Omukristaayo ayinza okwennyamira ennyo bw’alaba nga yeeyongera bweyongezi kuba bubi wadde ng’afubye nnyo okwejjanjabisa. (Makko 5:25, 26) Ekyo kiyinza okuwa Sitaani ne badayimooni akakisa okukozesa embeera eyo. Badayimooni bayinza okusendasenda omulwadde okukozesa obujjanjabi obuzingiramu ‘eby’obulogo’ oba eby’obusamize. (Isaaya 1:13) Singa olukwe lwa badayimooni olwo luyitamu, kiyinza okunafuya enkolagana omulwadde oyo gy’alina ne Katonda. Mu ngeri ki?
18. Nkola ki ez’obujjanjabi Omukristaayo z’asaanidde okugaana, era lwaki?
Isaaya 1:15) Kya lwatu, bulijjo twagala okwewala ekintu kyonna ekiyinza okuziyiza okusaba kwaffe okutuuka eri Yakuwa oba ekiyinza okuviirako Yakuwa obutatuyamba—naddala nga tuli balwadde. (Zabbuli 41:3) N’olwekyo singa wabaawo ekiraga nti enkola ekozesebwa okuzuula ekituluma oba okutujjanjaba erina akakwate n’eby’obusamize, Omukristaayo ow’amazima asaanidde okugigaana. * (Matayo 6:13) Bw’anaagigaana, ajja kuba mukakafu nti Yakuwa ajja kumuyamba.—Laba akasanduuko “ Ddala Bino Bya Busamize?” ku lupapula 194.
18 Yakuwa yalabula Abayisirayiri abaali basazeewo okukola ‘eby’obulogo’ nti: “Bwe mwanjuluza engalo zammwe, mbakweka amaaso gange, wadde nga musaba essaala nnyingi, siziwuliriza.” (WEEWALE OKWOGERA KU BINTU BADAYIMOONI BYE BAKOLA
19. (a) Kiki Omulyolyomi ky’aleetedde abantu okukkiriza ku maanyi ge? (b) Biki Abakristaayo ab’amazima bye basaanidde okwewala okubuulira abalala?
19 Wadde ng’abantu bangi mu nsi ezaakulaakulana edda tebakitwala nti Sitaani alina amaanyi mangi era nti wa bulabe, ekyo si bwe kiri mu bitundu ebirala eby’ensi. Mu bitundu ebyo, Sitaani aleetedde abantu
okukkiriza nti alina amaanyi mangi nnyo. Ekyo kireetedde abamu okutya ennyo badayimooni. Abantu baagala nnyo okwogera ku bintu badayimooni bye bakola era bangi banyumirwa okubiwuliriza. Naffe twandiwuliriza era ne tubuulira abalala ebintu ng’ebyo? Nedda. Waliwo ensonga bbiri enkulu lwaki abaweereza ba Katonda ow’amazima bandyewaze okukola bwe batyo.20. Omuntu asobola atya okubunyisa ppokopoko wa Sitaani mu butali bugenderevu?
20 Ensonga esooka, omuntu bw’abunyisa ebyo ebyogerwa ku bintu badayimooni bye bakola, aba ayamba Sitaani okutuukiriza ebigendererwa bye. Atya? Ekigambo kya Katonda kiraga nti Sitaani asobola okukola eby’amagero, naye era kirabula nti akozesa ‘obubonero obw’obulimba n’obulimba.’ (2 Abassessalonika 2:9, 10) Okuva bwe kiri nti Sitaani mulimba nnyo, amanyi engeri y’okubuzaabuzaamu abo abettanira eby’obusamize era n’okubaleetera okukkiriza ebintu ebitali bituufu. Abantu ng’abo bayinza okukikkiririza ddala nti baalaba era ne bawulira ebintu ebimu ebikwataganyizibwa ne badayimooni era bayinza n’okubyogerako ng’ebyaliwo ddala. Abamu bayinza n’okusavuwaza nga boogera ku bintu ng’ebyo. Singa Omukristaayo abunyisa ebintu ng’ebyo, ajja kuba akola Omulyolyomi, “kitaawe w’obulimba,” ky’ayagala. Ajja kuba abunyisa ppokopoko wa Sitaani.—Yokaana 8:44; 2 Timoseewo 2:16.
21. Okusingira ddala emboozi zaffe zandibadde zikwata ku ki?
21 Eyokubiri, ne bwe kiba nti mu biseera eby’emabega Omukristaayo yalina akakwate n’emyoyo emibi, yandyewaze okubinyumiza bakkiriza banne buli kiseera. Lwaki? Tukubirizibwa nti: ‘Mwekalirize Yesu, Omubaka Omukulu era Omutuukiriza w’okukkiriza kwaffe.’ (Abebbulaniya 12:2) Mazima ddala, ebirowoozo byaffe tusaanidde kubissa ku Kristo, so si ku Sitaani. Yesu bwe yali ku nsi, teyanyumiza bayigirizwa be ebyo ebikwata ku myoyo emibi, wadde nga yali asobola okwogera ku bintu bingi ebikwata ku ebyo Sitaani bye yali asobola okukola n’ebyo bye yali tasobola kukola. Wabula, Yesu essira yalissa ku mawulire amalungi ag’Obwakabaka. N’olwekyo, twandikopye Yesu n’abatume, nga tunyumya ku “bintu bya Katonda eby’ekitalo.”—Ebikolwa 2:11; Lukka 8:1; Abaruumi 1:11, 12.
22. Kiki kye tuyinza okukola okwongera ku “ssanyu eribeera mu ggulu”?
22 Kyo kituufu nti Sitaani akozesa ebintu ebitali bimu, nga mw’otwalidde n’eby’obusamize, okugezaako okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa. Kyokka, bwe tukyawa ekibi ne tunywerera ku kirungi, tetujja kuwa Mulyolyomi kakisa kutuleetera kwenyigira mu by’obusamize eby’engeri yonna. (Abeefeso 4:27) Lowooza ku “ssanyu eriba mu ggulu” bwe tweyongera okuba ‘abanywevu nga tuziyiza enkwe z’Omulyolyomi’ okutuusa lw’aliggibwawo!—Lukka 15:7; Abeefeso 6:11.
^ lup. 16 Amannya agaweebwa Sitaani (Omuziyiza, Omuwaayiriza, Omulimba, Omukemi) tegalaga nti alina obusobozi bw’okumanya ekiri mu mitima gyaffe ne mu birowoozo byaffe. Kyokka, Yakuwa ye ayogerwako nga “akebera emitima,” ate ye Yesu ayogerwako nga ‘akebera ebirowoozo eby’omunda n’emitima.’—Engero 17:3; Okubikkulirwa 2:23.
^ lup. 18 Okusobola okumanya ebisingawo, laba ekitundu “A Health Test for You?” ekiri mu Watchtower eya Ddesemba 15, 1994, olupapula 19-22, n’ekitundu “The Bible’s Viewpoint: Your Choice of Medical Treatment—Does It Matter?” mu Awake! eya Jjanwali 8, 2001.