Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBYONGEREZEDDWAKO

Engeri y’Okuyisaamu Omuntu Agobeddwa mu Kibiina

Engeri y’Okuyisaamu Omuntu Agobeddwa mu Kibiina

Kituluma nnyo omu ku b’eŋŋanda zaffe oba mukwano gwaffe ow’oku lusegere bw’agobebwa mu kibiina olw’okukola ekibi eky’amaanyi kyokka n’agaana okwenenya. Engeri gye tutwalamu obulagirizi bwa Bayibuli obukwata ku nsonga eno esobola okulaga obanga tuli beesigwa eri Katonda era obanga tumwagala nnyo. * Weetegereze ebimu ku bibuuzo bye tuyinza okwebuuza ku nsonga eno.

Twandiyisizza tutya omuntu aba agobeddwa mu kibiina? Bayibuli egamba: “[Temukolagananga] na muntu yenna ayitibwa ow’oluganda kyokka nga mugwenyufu, oba nga wa mululu, oba ng’asinza ebifaananyi, oba nga muvumi, oba nga mutamiivu, oba nga munyazi, n’okulya temulyanga na muntu ng’oyo.” (1 Abakkolinso 5:11) Ng’eyogera ku muntu yenna ‘atasigala mu kuyigiriza kwa Kristo,’ Bayibuli egamba nti: “Temumusembezanga mu maka gammwe era temumulamusanga. Oyo amulamusa aba assa kimu naye mu bikolwa bye ebibi.” (2 Yokaana 9-11) Tetulina kukolagana n’abo ababa bagobeddwa mu kibiina wadde okwogera nabo ku bintu eby’omwoyo. Watchtower eya Ssebutemba 15, 1981, olupapula 25, yagamba nti: “Okulamusa obulamusa omuntu kiyinza okukuviirako okutandika okunyumya naye oba okumufuula mukwano gwo. Ddala twandyagadde okutandiikiriza omukwano n’omuntu aba agobeddwa mu kibiina?”

Ddala kyetaagisa okwewalira ddala omuntu aba agobeddwa mu kibiina? Yee, kyetaagisa okumwewalira ddala olw’ensonga zino wammanga. Esooka, kiraga nti tuli beesigwa eri Katonda era nti tunywerera ku Kigambo kye. Tugondera Yakuwa ka kibe nga kino kyangu okukola oba nedda. Okwagala kwe tulina eri Katonda kutuleetera okugondera ebiragiro bye byonna, nga tukimanyi nti atwagala, mwenkanya, era nti amateeka ge ga muganyulo gye tuli. (Isaaya 48:17; 1 Yokaana 5:3) Ey’okubiri, okwewala okukolagana n’omwonoonyi ateenenya kitukuuma awamu n’ekibiina kyonna ne tulema okwonoonebwa mu by’omwoyo ne mu mpisa, era kiyamba ekibiina okusigala nga kirina erinnya eddungi. (1 Abakkolinso 5:6, 7) Ey’okusatu, bwe tunywerera ku misingi gya Bayibuli kiyinza n’okuganyula oyo aba agobeddwa. Bwe tuwagira ebyo ebiba bisaliddwawo abakadde kiyinza okuleetera omwonoonyi ateenenya okwekuba mu kifuba. Okufiirwa enkolagana gy’abadde alina n’abantu b’ayagala kiyinza okumuleetera “okwerowooza” n’okukitegeera nti ekibi kye yakola kyali kya maanyi nnyo, bwe kityo n’abaako ky’akolawo okudda eri Yakuwa.​—Lukka 15:17.

Watya singa omu ku b’eŋŋanda zaffe y’aba agobeddwa? Olw’okuba tuba twagala nnyo ab’eŋŋanda zaffe, embeera ng’eyo eyinza okugezesa ennyo obwesigwa bwaffe eri Yakuwa. Twandiyisizza tutya omu ku b’eŋŋanda zaffe aba agobeddwa mu kibiina? Mu katabo kano, tetuyinza kwogera ku buli mbeera eyinza okubaawo, naye ka tulabeyo embeera za mirundi ebiri.

Esooka, oyo aba agobeddwa ayinza okuba ng’akyabeera wamu n’ab’omu maka ge abali mu mazima. Okuva bwe kiri nti okugobebwa kw’omuntu oyo tekuggyaawo luganda lw’alina na ba ŋŋanda ze, ayinza okweyongera okukolagana nabo mu bintu ebya bulijjo. Kyokka, olw’okuba aba agaanye okwenenya, omuntu oyo aba asazeewo okwekutula ku luganda olw’eby’omwoyo lw’abadde alina n’ab’eŋŋanda ze abali mu mazima. N’olwekyo ab’eŋŋanda ze abaagala okusigala nga beesigwa eri Yakuwa tebasobola kweyongera kukolagana na muntu oyo mu by’omwoyo. Ng’ekyokulabirako, oyo aba agobeddwa mu kibiina tayinza kwenyigira mu kusinza kw’amaka. Kyokka, bw’aba ng’akyali mwana muto, bazadde be baba bakyalina obuvunaanyizibwa obw’okumuyigiriza n’okumukangavvula. N’olwekyo, bazadde be bayinza okukola enteekateeka okumuyigiriza Bayibuli. *​—Engero 6:20-22; 29:17.

Ey’okubiri, oyo aba agobeddwa ayinza okuba nga tabeera na bazadde be. Wadde ng’olw’olumu kiyinza okwetaagisa okukolagana n’omuntu oyo ku nsonga ezimu ez’eka, enkolagana eyo tesaanidde kugenda wala nnyo. Ab’eŋŋanda z’omuntu oyo Abakristaayo tebasaanidde kwekwasa busongasonga basobole okwogerako naye oba okubeerako awamu naye. Obwesigwa bwe balina eri Yakuwa n’ekibiina kye bubaleetera okukolera ku bulagirizi obuli mu Byawandiikibwa obukwata ku ngeri y’Okuyisaamu omuntu aba agobeddwa mu kibiina. Bwe basigala nga beesigwa mu nsonga eno, baba booleka okwagala eri omuntu oyo era kiyinza okumuyamba okuganyulwa mu kukangavvulwa okuba kumuweereddwa. *​—Abebbulaniya 12:11.

^ lup. 1 Emisingi gya Bayibuli egikwata ku ngeri gye tusaanidde okuyisaamu abo abagobeddwa mu kibiina gikwata ne ku abo ababa bakyeyawuddeko.

^ lup. 2 Okusobola okumanya ebisingawo ebikwata ku baana abato ababa bagobeddwa mu kibiina naye nga bakyabeera ne bazadde baabwe, laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa Okitobba 1, 2001, olupapula 27-28, ne Watchtower eya Noovemba 15, 1988, olupapula 20.

^ lup. 3 Okusobola okumanya ebisingawo ebikwata ku ngeri gye tusaanidde okuyisaamu ab’eŋŋanda zaffe ababa bagobeddwa mu kibiina, laba Watchtower eya Apuli 15, 1988, olupapula 26-31, ne Ssebutemba 15, 1981, olupapula 26-31.