Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 15

Weeyagalire mu Ebyo by’Oteganira

Weeyagalire mu Ebyo by’Oteganira

‘Buli muntu yeeyagalire mu ebyo by’ateganira.’​—OMUBUULIZI 3:13.

1-3. (a) Abantu bangi batwala batya emirimu gyabwe? (b) Bayibuli etukubiriza kuba na ndowooza ki ku mirimu, era bibuuzo ki bye tujja okwekenneenya mu ssuula eno?

ABANTU bangi leero bakola emirimu gye batayagala. Olw’okuba bakola emirimu gye batayagala, batuuka ekiseera nga tebakyayagala kugenda kukola. Abantu ng’abo bayinza batya okuyambibwa okufuna essanyu n’obumativu mu mirimu gyabwe?

2 Bayibuli etukubiriza okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku kukola emirimu. Egamba nti okukola kirabo era tuganyulwa mu mirimu gye tukola. Sulemaani yagamba nti: “Buli muntu asaanidde okulya n’okunywa n’okweyagalira mu ebyo byonna by’ateganira. Ekyo kye kirabo ekiva eri Katonda.” (Omubuulizi 3:13) Yakuwa atwagala nnyo era bulijjo atwagaliza ekyo ekisingayo obulungi, era ayagala tube bamativu n’emirimu gye tukola era tuganyulwe mu ebyo ebiva mu kufuba kwaffe. Okusobola okusigala mu kwagala kwe, tulina okuba n’endowooza ng’eyiye era n’okugoberera emisingi gye egikwata ku mirimu.​—Soma Omubuulizi 2:24; 5:18.

3 Mu ssuula eno, tujja kwekenneenya ebibuuzo bino: Tuyinza tutya okweyagalira mu bye tuteganira? Mirimu gya ngeri ki Abakristaayo ab’amazima gye batasaanidde kukola? Tuyinza tutya obutagwa lubege bwe kituuka ku kukola emirimu? Era mulimu ki ogusingayo obukulu gwe tusaanidde okukola? Naye, ka tusooke twogere ku bakozi abasingayo obulungi​—Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo.

OMUKOZI ASINGA BONNA N’OMUKOZI OMUKUGU

4, 5. Bayibuli ekiraga etya nti Yakuwa mukozi mulungi?

4 Yakuwa ye Mukozi Asinga Bonna. Olubereberye 1:1 wagamba nti: “Ku lubereberye Katonda yatonda eggulu n’ensi.” Katonda bwe yamaliriza okutonda ensi n’ebigirimu, yagamba nti byonna bye yali akoze byali “birungi nnyo.” (Olubereberye 1:31) Mu ngeri endala, yali mumativu olw’ebintu byonna bye yali akoze ku nsi. Awatali kubuusabuusa, Yakuwa “Katonda omusanyufu,” yafuna essanyu ppitirivu mu kukola omulimu omulungi.​—1 Timoseewo 1:11.

5 Katonda waffe omukozi omunyiikivu talekera awo kukola. Nga wayiseewo ekiseera kiwanvu nnyo bukya amaliriza okutonda ensi n’ebigirimu, Yesu yagamba nti: “N’okutuusa kaakano Kitange akola.” (Yokaana 5:17) Kiki Kitaffe ky’abadde akola? Abadde awa abantu obulagirizi era ng’abalabirira. Ataddewo ‘ekitonde ekiggya,’ nga bano be Bakristaayo abaafukibwako amafuta abajja okufugira awamu ne Yesu mu ggulu. (2 Abakkolinso 5:17) Abadde akola okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye eri abantu—eky’okusobozesa abamwagala okufuna obulamu obutaggwaawo mu nsi empya. (Abaruumi 6:23) Yakuwa ateekwa okuba nga musanyufu nnyo olw’ebyo ebiva mu mulimu ogwo. Obukadde n’obukadde bw’abantu bakkirizza obubaka bw’Obwakabaka olw’okuba Katonda abasembezza gy’ali. Era bakoze enkyukakyuka mu bulamu bwabwe okusobola okusigala mu kwagala kwe.​—Yokaana 6:44.

6, 7. Kiki ekiraga nti Yesu abadde mukozi munyiikivu okumala ekiseera kiwanvu?

6 Yesu amaze ekiseera kiwanvu nnyo ng’akola n’obunyiikivu. Nga tannajja ku nsi, Katonda yamukozesa “ng’omukozi omukugu” mu kutonda ebintu byonna “mu ggulu ne ku nsi.” (Engero 8:22-31; Abakkolosaayi 1:15-17) Yesu bwe yajja ku nsi, yeeyongera okuba omukozi omunyiikivu. Bwe yali ng’akyali muto, yayiga omulimu gw’obuzimbi, era yali amanyiddwa ‘ng’omubazzi.’ * (Makko 6:3) Omulimu guno gwetaagisa amaanyi mangi n’obukugu. Mu kiseera kya Yesu tewaaliwo byuma bya masannyalaze bisala mbaawo oba ebibanda omutundirwa embaawo. Kuba akafaananyi nga Yesu agenda okuleeta emiti egy’okukolamu embaawo—agitema era n’agitwala gy’agenda okukolera. Era kuba akafaananyi ng’azimba ennyumba—asala emiti gy’akasolya, akola enzigi era n’ebibajje ebirala. Awatali kubuusabuusa, emirimu Yesu gye yakolanga gyamuleeteranga essanyu n’obumativu.

7 Yesu yali munyiikivu nnyo mu buweereza bwe. Okumala emyaka esatu n’ekitundu, yeemalira ku mulimu guno omukulu ennyo. Olw’okuba yali ayagala okutuuka ku bantu bangi nnyo nga bwe kisoboka, yakozesanga bulungi ebiseera bye, ng’azuukuka bukyali era n’ayigiriza abantu okutuusizza ddala ekiro. (Lukka 21:37, 38; Yokaana 3:2) Yagendanga “mu buli kibuga ne mu buli kabuga ng’abuulira era ng’alangirira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda.” (Lukka 8:1) Yesu yatambulanga mayiro nnyingi nnyo, ng’ayita mu makubo agaalimu enfuufu okusobola okubuulira abantu amawulire amalungi.

8, 9. Mu ngeri ki obuweereza bwa Yesu gye bwamuleetera essanyu?

8 Ddala Yesu yafuna essanyu mu buweereza bwe? Awatali kubuusabuusa! Yasiga ensigo ez’amazima ag’Obwakabaka, era yaleka ennimiro ezaali zituuse okukungulibwa. Omulimu gwa Katonda gwaleetera Yesu amaanyi n’obumativu ne kiba nti yali mwetegefu n’okwerekereza okulya osobole okugutuukiriza. (Yokaana 4:31-38) Lowooza ku ssanyu lye yalina ku nkomerero y’obuweereza bwe ku nsi bwe yagamba Kitaawe nti: “Nkugulumizza ku nsi kubanga mmalirizza omulimu gwe wampa okukola.”​—Yokaana 17:4.

9 Mazima ddala Yakuwa ne Yesu bafuna essanyu mu ebyo bye bakola. Okwagala kwe tulina eri Yakuwa kutukubiriza ‘okumukoppa.’ (Abeefeso 5:1) Okwagala kwe tulina eri Yesu kutukubiriza ‘okutambulira mu bigere bye.’ (1 Peetero 2:21) Kati ka tulabe engeri naffe gye tuyinza okweyagalira mu ebyo bye tuteganira.

ENGERI GYE TUYINZA OKWEYAGALIRA MU BYE TUTEGANIRA

Okussa mu nkola emisingi gya Bayibuli kiyinza okukuyamba okufuna essanyu mu ebyo by’okola

10, 11. Kiki ekiyinza okutuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku mulimu gwe tukola?

10 Abakristaayo ab’amazima basaanidde okukola. Twagala okuba abasanyufu era abamativu ku mirimu gyaffe, naye kino kiyinza okuba ekizibu ennyo singa tuba tukola omulimu gwe tutayagala. Kati olwo tuyinza tutya okufuna essanyu wadde nga tukola emirimu gye tutayagala?

11 Nga tuba n’endowooza ennuŋŋamu. Tuyinza obutasobola kukyusa mbeera gye tulimu, naye tuyinza okukyusa endowooza yaffe. Bwe tufumiitiriza ku ndowooza Katonda gy’alina ku kukola kiyinza okutuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku mirimu gye tukola. Ng’ekyokulabirako, bw’oba ng’oli mutwe gw’amaka, kijjukire nti omulimu gwo ka gube gwa wansi gutya, gukusobozesa okufunira ab’omu maka go bye beetaaga. Ate era, okulabirira ab’omu maka go kikulu nnyo mu maaso ga Katonda. Mu butuufu, Ekigambo kye kigamba nti oyo atalabirira ba mu maka ge, “aba mubi n’okusinga omuntu atalina kukkiriza.” (1 Timoseewo 5:8) Okukijjukira nti omulimu gwo gukusobozesa okutuukiriza obuvunaanyizibwa Katonda bwe yakuwa, kijja kukuyamba okufuna essanyu bakozi banno lye batalina.

12. Tuganyulwa tutya bwe tuba abanyiikivu era abeesigwa ku mirimu?

12 Nga tukola n’obunyiikivu era nga tuba beesigwa. Okukola n’amaanyi era n’okukola obulungi emirimu gyaffe, kiyinza okutuviiramu ebirungi. Abo abakola n’obunyiikivu era abakola obulungi emirimu gyabwe, batera okwagalibwa abo ababakozesa. (Engero 12:24; 22:29) Olw’okuba tuli Abakristaayo ab’amazima, tuteekwa okuba abeesigwa ku mirimu gyaffe—nga tetubba ssente, bintu, oba ebiseera by’abatukozesa. (Abeefeso 4:28) Nga bwe twalabye mu ssuula evuddeko, kya muganyulo okuba omwesigwa. Omukozi bw’aba amanyiddwa nti mwesigwa abalala bamwesiga nnyo. Ka kibe nti oyo atukozesa akiraba nti tuli bakozi banyiikivu oba nedda, tusobola okuba abasanyufu olw’okuba tuba tulina ‘omuntu ow’omunda omuyonjo’ era n’olw’okumanya nti tusanyusa Katonda gwe twagala ennyo.​—Abebbulaniya 13:18; Abakkolosaayi 3:22-24.

13. Bwe tweyisa obulungi ku mulimu kiki ekiyinza okuvaamu?

13 Nga tukijjukira nti empisa zaffe zireetera Katonda ettendo. Bwe tweyisa obulungi ku mulimu, abalala bakiraba. Kiki ekiyinza okuvaamu? Kiyinza okutuviirako ‘okulungiya okuyigiriza kw’Omulokozi waffe Katonda.’ (Tito 2:9, 10) Mu butuufu, empisa zaffe ennungi ziyinza okusikiriza abalala okuyiga amazima. Lowooza ku ngeri gye wandiwuliddemu nga mukozi munno akkirizza amazima olw’okuba weeyisa bulungi ku mulimu! N’ekisinga obukulu, bwe tweyisa obulungi tuweesa Yakuwa ekitiibwa era tusanyusa omutima gwe?​—Soma Engero 27:11; 1 Peetero 2:12.

OKUKOZESA AMAGEZI NGA TULONDAWO OMULIMU OGW’OKUKOLA

14-16. Bwe tuba tusalawo omulimu gwe tunaakola, bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza?

14 Bayibuli tetubuulira kalonda yenna akwata ku mirimu gye tusaanidde okukola ne gye tutasaanidde kukola. Naye kino tekitegeeza nti tusobola okukola buli mulimu gwe tuba tufunye. Ebyawandiikibwa bisobola okutuyamba okulonda emirimu emirungi egisanyusa Katonda era ne twewala egyo egitamusanyusa. (Engero 2:6) Bwe tuba tusalawo omulimu gwe tunaakola, waliwo ebibuuzo ebikulu bibiri bye tusaanidde okwebuuza.

15 Omulimu guno guzingiramu okukola ekintu ekivumirirwa mu Bayibuli? Ekigambo kya Katonda kivumirira okubba, okulimba, n’okukola ebifaananyi ebyole. (Okuva 20:4; Ebikolwa 15:29; Abeefeso 4:28; Okubikkulirwa 21:8) Twandyewaze omulimu gwonna oguyinza okutuleetera okukola ebintu ng’ebyo. Okwagala kwe tulina eri Yakuwa kwandituleetedde okwewala emirimu egizingiramu okukola ebintu ebimenya amateeka ge.​—Soma 1 Yokaana 5:3.

16 Okukola omulimu guno kinaandetera okukola ebintu ebitasanyusa Katonda oba okubiwagira? Lowooza ku kyokulabirako kino. Si kikyamu okukola ng’oyo ayaniriza abagenyi. Naye watya singa Omukristaayo aweebwa omulimu ng’ogwo mu ddwaliro eriggyamu embuto? Kyo kituufu nti aba teyeenyigidde butereevu mu kuggyamu mbuto, naye omulimu gw’akola guba teguwagira mirimu gy’eddwaliro eryo egy’okuggyamu embuto​—ekikolwa ekivumirirwa mu Kigambo kya Katonda? (Okuva 21:22-24) Olw’okuba twagala Yakuwa, tetwagala kuba na kakwate konna na bikolwa ebivumirirwa mu Byawandiikibwa.

17. (a) Bintu ki bye tuyinza okulowoozaako nga tetunnasalawo mulimu gwe tunaakola? (Laba akasanduuko ku  lupapula 177.) (b) Omuntu waffe ow’omunda ayinza atya okutuyamba okusalawo mu ngeri esanyusa Katonda?

17 Ebibuuzo ebikulu ebiri mu katundu 15 ne 16 bisobola okutuyamba okulonda omulimu ogusaanira ogw’okukola. Ate era, waliwo n’ebintu ebirala bye tusaanidde okulowoozaako nga tulonda omulimu ogw’okukola. * Omuddu omwesigwa tatubuulira kye tulina kukola mu buli mbeera yonna eyinza okubalukawo. Eno ye nsonga lwaki kitwetaagisa okukozesa amagezi. Nga bwe twayiga mu Ssuula ey’Okubiri, tulina okutendeka omuntu waffe ow’omunda nga tukozesa Ekigambo kya Katonda. Bwe tutendeka ‘obusobozi bwaffe obw’okutegeera’ omuntu waffe ow’omunda asobola okutuyamba okusalawo mu ngeri esanyusa Katonda era ne tusigala mu kwagala kwe.​—Abebbulaniya 5:14.

OKUBEERA N’ENDOWOOZA ETAGUDDE LUBEGE KU MIRIMU GYE TUKOLA

18. Lwaki si kyangu kusalawo mu ngeri esanyusa Yakuwa?

18 Si kyangu kusalawo mu ngeri esanyusa Yakuwa mu ‘nnaku zino ez’enkomerero’ era ‘enzibu ennyo.’ (2 Timoseewo 3:1) Emirimu mizibu okufuna naye ne bwe giba nga gifunise kyangu okugifiirwa. Abakristaayo ab’amazima bakimanyi nti kikulu nnyo okukola n’amaanyi okusobola okulabirira ab’omu maka gaabwe. Naye singa tuleka emirimu gyaffe okutufuga oba ne tutwalirizibwa omwoyo gw’ensi ogw’okunoonya eby’obugagga, kiyinza okutulemesa okukulembeza eby’omwoyo. (1 Timoseewo 6:9, 10) Kati ka tulabe engeri gye tuyinza okukulembeza “ebintu ebisinga obukulu.”​—Abafiripi 1:10.

19. Lwaki tusaanidde okwesiga Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna, era ekyo kituyamba kwewala ki?

19 Weesige Yakuwa n’omutima gwo gwonna. (Soma Engero 3:5, 6.) Ddala tusaanidde okumwesiga n’omutima gwaffe gwonna? Awatali kubuusabuusa, tusaanidde, kubanga atufaako. (1 Peetero 5:7) Amanyi bulungi bye twetaaga n’okutusinga, era tayinza kulemererwa kubituwa. (Zabbuli 37:25) N’olwekyo kiba kirungi okufumiitiriza ku bigambo bino: “Temubeeranga na mpisa ya kwagala ssente, naye mubeerenga bamativu ne bye mulina. Kubanga [Katonda] yagamba nti: ‘Sirikuleka n’akatono era sirikwabulira.’” (Abebbulaniya 13:5) Ab’oluganda bangi abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna bagambye nti Katonda abawadde bye beetaaga mu bulamu. Bwe tuba abakakafu nti Yakuwa ajja kutulabirira tetujja kweraliikirira kisukkiridde ku ngeri gye tuyinza okulabirira ab’omu maka gaffe. (Matayo 6:25-32) Tetujja kukkiriza mulimu gwe tukola kutulemesa okubuulira amawulire amalungi n’okubeerawo mu nkuŋŋaana.​—Matayo 24:14; Abebbulaniya 10:24, 25.

20. Kitegeeza ki okuba n’eriiso eritunula awamu, era osobola otya okuba n’eriiso eritunula awamu?

20 Beera n’eriiso eritunula awamu. (Soma Matayo 6:22, 23.) Okubeera n’eriiso eritunula awamu kitegeeza okweggyako ebintu ebiteetaagisa. Omukristaayo alina eriiso eritunula awamu ebirowoozo bye byonna abiteeka ku kintu kimu—okukola Katonda by’ayagala. Singa tuba n’eriiso eritunula awamu, tetujja kuluubirira mulimu gusasula ssente nnyingi n’obulamu obw’okwejalabya. Era tetujja kwagala kufuna buli ekiri ku mulembe na buli kirungi abasuubuzi kye bagamba nti tukyetaaga okusobola okubeera abasanyufu. Osobola otya okubeera n’eriiso eritunula awamu? Weewale amabanja agateetaagisa. Toba na bintu bingi nnyo ebisobola okutwala ebiseera byo ebisinga obungi awamu n’ebirowoozo byo. Kolera ku kubuulirira kwa Bayibuli okukwata ku kubeera abamativu “n’eby’okulya n’eby’okwambala.” (1 Timoseewo 6:8) Fuba okulaba nti weggyako ebintu ebiteetaagisa.

21. Lwaki tulina okumanya ebintu ebisinga obukulu, era kiki kye tusaanidde okukulembeza mu bulamu bwaffe?

21 Kulembeza eby’omwoyo. Olw’okuba tuba n’eby’okukola bingi buli lunaku, tulina okumanya ebintu bye tusaanidde okukulembeza. Bwe tutakola ekyo, ebintu ebitali bikulu nnyo biyinza okututwalako ebiseera byaffe, ne tutaba na biseera bya kukola bintu ebisinga obukulu. Kiki kye tusaanidde okukulembeza mu bulamu bwaffe? Abantu bangi mu nsi essira basinga kuliteeka ku kufuna obuyigirize obwa waggulu kibasobozese okufuna omulimu omulungi mu nteekateeka y’ebintu eno. Kyokka, ye Yesu yakubiriza abagoberezi be ‘okusooka okunoonyanga obwakabaka.’ (Matayo 6:33) Mu butuufu, ng’Abakristaayo ab’amazima tukulembeza Obwakabaka bwa Katonda mu bulamu bwaffe. Ebyo bye tusalawo, ebiruubirirwa bye tussaawo, ne bye tukola byonna, bisaanidde okulaga nti kye tutwala ng’ekikulu, bwe Bwakabaka bwa Katonda n’okukola Katonda by’ayagala.

OKUKOLA N’OBUNYIIKIVU MU BUWEEREZA

Tusobola okulaga nti twagala Yakuwa nga tukulembeza omulimu gw’okubuulira mu bulamu bwaffe

22, 23. (a) Mulimu ki ogusinga obukulu eri Abakristaayo, era tuyinza tutya okukiraga nti gwe gusinga obukulu? (Laba akasanduuko ku  lupapula 180.) (b) Omaliridde kukola ki ku bikwata ku mulimu gw’okola?

22 Olw’okuba tukimanyi nti tuli mu nnaku ez’enkomerero, twemalira ku mulimu ogusinga obukulu eri Abakristaayo ab’amazima, nga guno gwe mulimu gw’okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa. (Matayo 24:14; 28:19, 20) Okufaananako Yesu, eyatuteerawo ekyokulabirako, naffe twagala okwemalira ku mulimu oguwonya obulamu. Tuyinza tutya okukiraga nti omulimu guno mukulu nnyo gye tuli? Abaweereza ba Katonda abasinga obungi bakola omulimu gw’okubuulira n’omutima gwabwe gwonna. Abamu basazeewo okuweereza nga bapayoniya oba abaminsani. Olw’okuba bamanyi nti kikulu nnyo okussaawo ebiruubirirwa eby’omwoyo, abazadde bangi bakubirizza abaana baabwe okuluubirira obuweereza obw’ekiseera kyonna. Naye ddala ababuulizi b’Obwakabaka bafuna essanyu mu buweereza bwabwe? Awatali kubuusabuusa! Tusobola okuba abasanyufu era abamativu mu bulamu era ne tufuna n’emikisa mingi singa tuweereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna.​—Soma Engero 10:22.

23 Bangi ku ffe kitwetaagisa okukola essaawa nnyingi okusobola okulabirira ab’omu maka gaffe. Kijjukire nti Yakuwa ayagala tufune essanyu mu ebyo bye tukola. Singa bye tulowooza ne bye tukola bituukagana n’endowooza ya Yakuwa era ne tukolera ne ku misingi gye, tusobola okuba abamativu ku mirimu gyaffe. N’olwekyo, ka tubeere bamalirivu obutakkiriza mirimu gyaffe kutuwugula okuva ku mulimu ogusinga obukulu ogw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda. Bwe tukulembeza omulimu guno mu bulamu bwaffe, tuba tulaga nti twagala Yakuwa era tujja kusigala mu kwagala kwe.

^ lup. 6 Kigambibwa nti ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa ‘omubazzi’ “kitegeeza omuntu eyakozesanga emiti oba embaawo okuzimba ennyumba oba okubajja ebintu ebitali bimu.”

^ lup. 17 Okumanya ebisingawo ku bye tusaanidde okulowoozaako nga tetunnasalawo mulimu gwe tunaakola, laba Watchtower, eya Apuli 15, 1999, empapula 28-30, n’eya Jjulaayi 15, 1982, olupapula 26.