Emiwendo Emigatte Egya 2021
Ofiisi z’Amatabi ez’Abajulirwa ba Yakuwa: 87
Ensi Omulimu Gwaffe Gye Gukolebwa: 239
Ebibiina: 119,297
Abaaliwo ku Kijjukizo mu Nsi Yonna: 21,367,603
Abaalya ku Mugaati era ne Banywa ku Nvinnyo: 20,746
Ababuulizi Bonna *: 8,686,980
Ababuulizi Ababuulira Buli Mwezi: 8,480,147
Okweyongera Okubaddewo Okuva mu 2020: 0.7
Abaabatizibwa *: 171,393
Abaaweereza nga Bapayoniya * Buli Mwezi: 1,350,138
Abaaweereza nga Bapayoniya Abawagizi Buli Mwezi: 398,504
Essaawa ze Baamala nga Babuulira: 1,423,039,931
Abayizi ba Bayibuli * Buli Mwezi: 5,908,167
Mu mwaka gw’obuweereza ogwa 2021, * Abajulirwa ba Yakuwa baakozesa obukadde bwa ddoola $229 okulabirira bapayoniya, abaminsani, n’abalabirizi abakyalira ebibiina mu buweereza bwabwe. Mu nsi yonna, abaweereza ku ofiisi z’amatabi bali 20,595. Bonna bali mu buweereza obw’ekiseera kyonna.
^ lup. 7 Omubuulizi y’oyo eyeenyigira mu kubuulira amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda. (Matayo 24:14) Okusobola okutegeera engeri gye tumanyaamu omuwendo gw’ababuulizi, laba ekitundu ekiri ku jw.org ekirina omutwe, “How Many of Jehovah’s Witnesses Are There Worldwide?” (“Abajulirwa ba Yakuwa Bali Bameka mu Nsi Yonna?”)
^ lup. 10 Okumanya ebisaanyizo omuntu by’alina okutuukiriza okusobola okubatizibwa ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa, laba ekitundu ekiri ku jw.org ekirina omutwe, “How Do I Become One of Jehovah’s Witnesses?” (“Nfuuka Ntya Omujulirwa wa Yakuwa?”)
^ lup. 11 Payoniya ye Mujulirwa wa Yakuwa assaawo ekyokulabirako ekirungi era eyeewaayo okubuulira amawulire amalungi okumala essaawa engereke buli mwezi.
^ lup. 14 Okumanya ebisingawo laba ekitundu ekiri ku jw.org ekirina omutwe, Enteekateeka y’Abajulirwa ba Yakuwa ey’Okuyigiriza Abantu Bayibuli Ebeera Etya?
^ lup. 15 Omwaka gw’obuweereza ogwa 2021 gwatandika Ssebutemba 1, 2020, ne guggwaako nga Agusito 31, 2021.