Emiwendo Emigatte Egya 2020
Ofiisi z’Amatabi ez’Abajulirwa ba Yakuwa: 87
Ensi Omulimu Gwaffe Gye Gukolebwa: 240
Ebibiina: 120,387
Abaaliwo ku Kijjukizo mu Nsi Yonna: 17,844,773
Abaalya ku Mugaati era ne Banywa ku Nvinnyo: 21,182
Ababuulizi * Bonna: 8,695,808
Ababuulizi Ababuulira Buli Mwezi: 8,424,185
Okweyongera Okubaddewo Okuva mu 2019 (%): -0.6
Abaabatizibwa *: 241,994
Abaaweereza nga Bapayoniya * Buli Mwezi: 1,299,619
Abaaweereza nga Bapayoniya Abawagizi Buli Mwezi: 338,568
Essaawa ze Baamala nga Babuulira: 1,669,901,531
Abaayigirizibwa Bayibuli * Buli Mwezi: 7,705,765
Mu mwaka gw’obuweereza ogwa 2020, * Abajulirwa ba Yakuwa baakozesa obukadde bwa ddoola 231 okulabirira bapayoniya, abaminsani, n’abalabirizi b’ebitundu mu buweereza bwabwe. Mu nsi yonna, abaweereza ku ofiisi z’amatabi bali 20,994. Bonna bali mu buweereza obw’ekiseera kyonna.
^ lup. 7 Omubuulizi y’oyo eyeenyigira mu kubuulira amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda. (Matayo 24:14) Okusobola okutegeera engeri gye tumanyaamu omuwendo gw’ababuulizi, laba ekitundu ekiri ku jw.org ekirina omutwe, “How Many of Jehovah’s Witnesses Are There Worldwide?” (“Abajulirwa ba Yakuwa Bali Bameka mu Nsi Yonna?”)
^ lup. 10 Okumanya ebisaanyizo omuntu by’alina okutuukiriza okusobola okubatizibwa ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa, laba ekitundu ekiri ku jw.org ekirina omutwe, “How Do I Become One of Jehovah’s Witnesses?” (“Nfuuka Ntya Omujulirwa wa Yakuwa?”)
^ lup. 11 Payoniya ye Mujulirwa wa Yakuwa assaawo ekyokulabirako ekirungi era eyeewaayo okubuulira amawulire amalungi okumala essaawa engereke buli mwezi.
^ lup. 14 Okumanya ebisingawo laba ekitundu ekiri ku jw.org ekirina omutwe, “What Is a Bible Study?” (“Omuntu Ayigirizibwa Atya Bayibuli?”)
^ lup. 15 Omwaka gw’obuweereza ogwa 2020 gwatandika Ssebutemba 1, 2019, ne guggwaako nga Agusito 31, 2020.