Osobola Okubeera Mukwano gwa Katonda!

Ebiri mu katabo kano biyinza okukuyamba okumanya engeri y’okukikolamu.

ESSOMO 1

Katonda Akukubiriza Ofuuke Mukwano Gwe

Abantu okuva mu bitundu byonna eby’ensi bafuuse mikwano gya Katonda. Naawe osobola okubeera mukwano gwa Katonda.

ESSOMO 2

Katonda Ye w’Omukwano Asingayo Obulungi gw’Oyinza Okufuna

Ajja kukuyigiriza engeri y’okufunamu essanyu n’obutebenkevu.

ESSOMO 3

Weetaaga Okuyiga Ebikwata ku Katonda

Ekyo kijja kukuyamba okumanya by’ayagala ne by’akyawa.

ESSOMO 4

Engeri gy’Oyinza Okuyigamu Ebikwata ku Katonda

Atuyamba okumanya bye yakola mu biseera ebyayita, by’akola kati, ne by’anaakola mu biseera eby’omu maaso.

ESSOMO 5

Mikwano gya Katonda Bajja kubeera mu Lusuku Lwe

Olusuku lwa Katonda terujja kuba ng’ensi gye tulimu kati. Luliba lutya?

ESSOMO 6

Olusuku lwa Katonda Luli Kumpi!

Tuyinza tutya okuba abakakafu?

ESSOMO 7

Okulabula Okuva mu biseera Ebyayita

Kiki kye tuyigira ku ebyo ebyaliwo mu kiseera kya Nuuwa?

ESSOMO 8

Abalabe ba katonda Be Baani?

Oyinza okubamanya ne batakubuzaabuza.

ESSOMO 9

Mikwano gya Katonda Be Baani?

Era baagala abantu bayige ki ku Yakuwa?

ESSOMO 10

Engeri y’Okuzuulamu Eddiini ey’Amazima

Waliwo ebintu ebiyinza okukuyamba okuzuula eddiini ey’amazima.

ESSOMO 11

Weesamba Eddiini Ez’Obulimba!

Oyinza otya okuzuula eddiini ez’obulimba? Lwaki mbi nnyo?

ESSOMO 12

Kiki Ekitutuukako bwe Tufa?

Bayibuli etuwa eky’okuddamu.

ESSOMO 13

Obufuusa n’Obulogo Bibi

Lwaki Katonda abivumirira?

ESSOMO 14

Mikwano gya Katonda Beewala Ebintu Ebibi

Bintu ki ebimu Katonda by’akyawa?

ESSOMO 15

Mikwano gya Katonda Bakola Ebirungi

Bintu ki ebirungi ebiyinza okutusobozesa okubeera mukwano gwa Katonda?

ESSOMO 16

Kirage Nti Oyagala Katonda

Okukuuma omukwano gwammwe, weetaaga okwogera ne mukwano gwo, okumuwuliriza, era n’okumwogerako obulungi. Tulina okukola kye kimu okusobola okuba mukwano gwa Katonda.

ESSOMO 17

Okukuuma Omukwano, Oteekwa Okubeera ow’Omukwano

Gy’okoma okuyiga ebikwata ku Yakuwa, gy’okoma okweyongera okumwagala.

ESSOMO 18

Beera Mukwano gwa Katonda Emirembe Gyonna!

Obulamu obutaggwaawo kirabo kya muwendo Katonda ky’ajja okuwa mikwano gye.