Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 8

Abalabe ba katonda Be Baani?

Abalabe ba katonda Be Baani?

Omulabe wa Katonda omukulu ye Setaani Omulyolyomi. Kitonde kya mwoyo ekyajeemera Yakuwa. Setaani yeeyongera okulwanyisa Katonda era aleetera abantu emitawaana mingi. Setaani mubi. Mulimba era mutemu.​—Yokaana 8:44.

Ebitonde ebirala eby’omwoyo byegatta ku Setaani mu kujeemera Katonda. Baibuli ebayita balubaale. Okufaananako Setaani, balubaale balabe b’abantu. Baagala okulumya abantu. (Matayo 9: 32, 33; 12:22) Yakuwa ajja kuzikiririza ddala Setaani ne balubaale be. Basigazzaayo akaseera katono okuleetera abantu emitawaana.​—Okubikkulirwa 12:12.

Singa oyagala okubeera mukwano gwa Katonda, toteekwa kukola ebyo Setaani by’ayagala okole. Setaani ne balubaale tebaagala Yakuwa. Balabe ba Katonda, era baagala okukufuula omulabe wa Katonda. Oteekwa okulondawo gw’oyagala okusanyusa​—Setaani oba Yakuwa. Singa oyagala obulamu obutaggwaawo, oteekwa okulondawo okukola Katonda by’ayagala. Setaani alina obukodyo bungi era n’engeri nnyingi z’abuzaabuzaamu abantu. Abantu abasinga obungi ababuzaabuzizza.​—Okubikkulirwa 12:9.