Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 5

Mikwano gya Katonda Bajja kubeera mu Lusuku Lwe

Mikwano gya Katonda Bajja kubeera mu Lusuku Lwe

Olusuku lwa Katonda terujja kufaanana ng’ensi eno mwe tuli kati. Katonda teyayagala nsi ebeeremu mitawaana, nnaku, bulumi na kubonaabona. Mu biseera eby’omu maaso, Katonda ajja kufuula ensi olusuku lwe. Olusuku lwa Katonda lulifaanana lutya? Ka tulabe Baibuli ky’egamba.

Abantu abalungi. Olusuku lwa Katonda lujja kubeeramu mikwano gya Katonda. Buli omu ajja kukolera munne ebintu ebirungi. Bajja kutambulira mu makubo ga Katonda ag’obutuukirivu.​—Engero 2:21.

Emmere nnyingi. Mu Lusuku lwa Katonda, tejja kubaayo njala. Baibuli egamba: “Wanaabangawo [emmere] nnyingi mu nsi.”​—Zabbuli 72:16.

Amayumba amalungi n’emirimu egisanyusa. Mu Lusuku lwa Katonda ku nsi, buli maka gajja kuba n’ennyumba yaago. Buli muntu ajja kukola emirimu egireeta essanyu erya nnamaddala.​—Isaaya 65: 21-23.

Emirembe mu nsi yonna. Abantu tebajja kuddamu kulwana oba okufiira mu ntalo. Ekigambo kya Katonda kigamba: “[Katonda] aggyawo entalo.”​—Zabbuli 46: 8, 9.

Obulamu obulungi. Baibuli esuubiza: “N’oyo atuulamu [mu Lusuku lwa Katonda] talyogera nti Ndi mulwadde.” (Isaaya 33:24) Era, tejja kubaayo mulema oba muzibe w’amaaso oba kiggala oba oyo atasobola kwogera.​—Isaaya 35: 5, 6.

Enkomerero y’obulumi, ennaku, n’okufa. Ekigambo kya Katonda kigamba: “Okufa tekulibaawo nate; so tewaabengawo nate nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa: eby’olubereberye biweddewo.”​—Okubikkulirwa 21:4.

Abantu ababi bajja kuba bavuddewo. Yakuwa asuubiza: “Ababi balimalibwawo okuva mu nsi, n’abo abasala enkwe balisimbulirwamu ddala.”​—Engero 2:22.

Abantu bajja kuba nga baagalana era nga bassiŋŋanamu ekitiibwa. Tewajja kubaawo butali bwenkanya, kunyigirizibwa, mululu, na bukyayi. Abantu bajja kubeera bumu era bajja kugoberera amakubo ga Katonda ag’obutuukirivu.​—Isaaya 26:9.