Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 10

Engeri y’Okuzuulamu Eddiini ey’Amazima

Engeri y’Okuzuulamu Eddiini ey’Amazima

Bw’oba oyagala okubeera mukwano gwa Katonda, oteekwa okugoberera eddiini Katonda gy’asiima. Yesu yagamba nti ‘abasinza ab’amazima’ bandisinzizza Katonda mu “mazima.” (Yokaana 4:23, 24) Waliwo engeri entuufu emu yokka ey’okusinzaamu Katonda. (Abeefeso 4:4-6) Eddiini ey’amazima etuusa mu bulamu obutaggwaawo, ate eddiini ey’obulimba etwala mu kuzikirira.​—Matayo 7:13, 14.

Osobola okwawulawo eddiini ey’amazima nga weetegereza abantu abagigoberera. Okuva Yakuwa bw’ali omulungi, abasinza be ab’amazima bateekwa okubeera abantu abalungi. Ng’omuti gw’omucungwa omulungi bwe gubaako emicungwa emirungi, n’eddiini ey’amazima ebaamu abantu abalungi.​—Matayo 7:15-20.

Mikwano gya Yakuwa bassa ekitiibwa mu Baibuli. Bamanyi nti Baibuli yava eri Katonda. Bakkiriza ky’egamba okuluŋŋamya obulamu bwabwe, okugonjoola ebizibu byabwe, n’okubayamba okuyiga ebikwata ku Katonda. (2 Timoseewo 3:16) Bagezaako okuteeka mu nkola bye babuulira.

Mikwano gya Yakuwa baagalana. Yesu yalaga abantu okwagala ng’abayigiriza ebikwata ku Katonda, era ng’awonya abalwadde. Abo abagoberera eddiini ey’amazima nabo balaga abalala okwagala. Okufaananako Yesu, tebayisaamu maaso baavu oba abantu ab’eggwanga eddala. Yesu yagamba nti abantu banditegedde abayigirizwa be olw’okwagala kwe balagaŋŋana bokka na bokka.​—Yokaana 13:35.

Mikwano gya Katonda bawa ekitiibwa erinnya lya Katonda, Yakuwa. Singa omuntu agaana okukozesa erinnya lyo, omuntu oyo yandibadde mukwano gwo? Nedda! Bwe tubeera ne mukwano gwaffe, tukozesa erinnya lye era tumwogerako ebintu ebirungi eri abalala. N’olwekyo abo abaagala okubeera mikwano gya Katonda bandikozesezza erinnya lye era ne bamwogerako eri abalala. Yakuwa ayagala tukole bwe tutyo.​—Matayo 6:9; Abaruumi 10:13, 14.

Okufaananako Yesu, mikwano gya Katonda bayigiriza abantu ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Obwakabaka bwa Katonda ye gavumenti ey’omu ggulu ejja okufuula ensi olusuku lwa Katonda. Mikwano gya Katonda babuulira abalala amawulire gano amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda.​—Matayo 24:14.

Abajulirwa ba Yakuwa bafuba okubeera mikwano gya Katonda. Bawa Baibuli ekitiibwa era baagalana bokka na bokka. Bakozesa era ne bawa erinnya lya Katonda ekitiibwa awamu n’okuyigiriza abalala ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Abajulirwa ba Yakuwa bagoberera eddiini ey’amazima ku nsi leero.