ESSOMO 1
Katonda Akukubiriza Ofuuke Mukwano Gwe
Katonda ayagala obeere mukwano gwe. Wali okirowoozezzaako nti osobola okubeera mukwano gw’Omuntu asingayo ekitiibwa mu butonde bwonna? Ibulayimu, eyaliwo edda ennyo, yayitibwa mukwano gwa Katonda. (Yakobo 2:23) Abantu abalala aboogerwako mu Baibuli nabo baali mikwano gya Katonda era baaweebwa emikisa mingi. Leero, abantu okuva mu bitundu byonna eby’ensi bafuuse mikwano gya Katonda. Naawe osobola okubeera mukwano gwa Katonda.
Okubeera mukwano gwa Katonda kisinga okubeera mukwano gw’omuntu obuntu. Katonda atuukiriza ebyo mikwano gye abeesigwa bye bamusuubiramu. (Zabbuli 18:25) Okubeera mukwano gwa Katonda kisinga okubeera n’eby’obugagga. Omugagga bw’afa, abalala batwala ssente ze. Kyokka, mikwano gya Katonda balina eky’obugagga omuntu yenna ky’atayinza kubatwalako.—Matayo 6:19.
Abamu bayinza okugezaako okukulemesa okuyiga ebikwata ku Katonda. Abamu ku mikwano gyo n’ab’omu maka go bayinza okukola kino. (Matayo 10:36, 37) Singa abalala bakusekerera oba bakutiisatiisa, weebuuze, ‘Ani gwe njagala okusanyusa—bantu oba Katonda?’ Lowooza ku kino: Singa omuntu akugamba okulekera awo okulya, wandimugondedde? Kya lwatu nedda! Weetaaga okulya okubeera omulamu. Naye Katonda asobola okukuwa obulamu emirembe gyonna! N’olwekyo, tokkiriza muntu yenna kukulemesa kuyiga ngeri gy’oyinza okufuukamu mukwano gwa Katonda.—Yokaana 17:3.