ESSOMO 12
Kiki Ekitutuukako bwe Tufa?
Okufa bwe butaba na bulamu. Okufa kulinga otulo otw’amaanyi. (Yokaana 11:11-14) Abafu tebasobola kuwulira, kulaba, oba kulowooza kintu kyonna. (Omubuulizi 9:5,10) Eddiini ez’obulimba ziyigiriza nti abafu bagenda mu nsi ey’emyoyo okubeera ne bajjajjaabwe abaafa. Baibuli si bw’eyigiriza.
Abafu tebasobola kutuyamba, era tebayinza kutukolako kabi. Kya bulijjo abantu okukola emikolo n’okuwaayo ebiweebwayo bye balowooza nti bijja kusanyusa abafu. Kino tekisanyusa Katonda kubanga kyesigamye ku bulimba bwa Setaani. Era tekiyinza kusanyusa bafu kubanga tebalina bulamu. Tetusaanidde kutya bafu oba okubasinza. Tusaanidde kusinza Katonda yekka.—Matayo 4:10.
Abafu baliba balamu nate. Yakuwa ajja kuzuukiza abafu babeere mu lusuku lwe ku nsi. Ekiseera ekyo kiri mu maaso. (Yokaana 5:28, 29; Ebikolwa 24:15) Katonda asobola okuzuukiza abafu nga bw’oyinza okuzuukusa omuntu okuva mu tulo.—Makko 5:22, 23, 41, 42.
Endowooza nti tetufa, bulimba obusaasaanyiziddwa Setaani Omulyolyomi. Setaani ne balubaale be balowoozesa abantu nti emyoyo gy’abafu miramu era nga gireeta obulwadde n’ebizibu ebirala. Setaani abuzaabuza abantu, ng’oluusi ayitira mu birooto n’okwolesebwa. Yakuwa avumirira abo abagezaako okwogera n’abafu.—Ekyamateeka 18:10-12.