ESSOMO 9
Mikwano gya Katonda Be Baani?
Yesu Kristo Mwana wa Yakuwa era ye mukwano gwe asingayo okuba ow’oku lusegere. Nga tannajja ku nsi ng’omuntu, Yesu yaliwo mu ggulu ng’ekitonde eky’omwoyo eky’amaanyi. (Yokaana 17:5) Oluvannyuma yajja ku nsi okuyigiriza abantu amazima agakwata ku Katonda. (Yokaana 18:37) Era yawaayo obulamu bwe okulokola abantu abawulize okuva mu kibi n’okufa. (Abaruumi 6:23) Yesu kati ye Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda, gavumenti ey’omu ggulu egenda okuleeta Olusuku lwa Katonda ku nsi eno.—Okubikkulirwa 19:16.
Bamalayika nabo mikwano gya Katonda. Bamalayika tebaasooka kubeera ku nsi nga bantu. Baatonderwa mu ggulu nga Katonda tannakola nsi. (Yobu 38: 4-7) Waliwo obukadde n’obukadde bwa bamalayika. (Danyeri 7:10) Mikwano gya Katonda bano ab’omu ggulu baagala abantu bayige amazima agakwata ku Yakuwa.—Okubikkulirwa 14:6,7.
Katonda alina emikwano ku nsi; abayita bajulirwa be. Omujulirwa mu kkooti ayogera byonna by’amanyi ku muntu oba ku kintu. Abajulirwa ba Yakuwa bategeeza abalala bye bamanyi ku Yakuwa n’ekigendererwa kye. (Isaaya 43:10) Okufaananako bamalayika, Abajulirwa baagala okukuyamba oyige amazima agakwata ku Yakuwa. Baagala naawe obeere mukwano gwa Katonda.