Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 13

Obufuusa n’Obulogo Bibi

Obufuusa n’Obulogo Bibi

Setaani ayagala wenyigire mu busamize. Bangi bawaayo ebiweebwayo eri bajjajjaabwe abaafa oba emyoyo gy’abafu baleme kutuukibwako kabi. Kino bakikola olw’okuba batya amaanyi g’emyoyo. Bambala empeta oba obukomo eby’obusamize. Banywa oba beesiga “eddagala” lye batwala nti lirina amaanyi ag’obusamize. Abamu bakweka mu maka gaabwe oba mu ttaka ebintu bye balowooza nti birina amaanyi okubakuuma. Abalala bakozesa “eddagala” ly’obusamize kubanga balowooza nti lijja kubatuusa ku buwanguzi mu bizineesi, ebigezo ku masomero, oba nga boogereza.

Obukuumi obusingayo obulungi bw’olina eri Setaani kwe kubeera ne Yakuwa nga mukwano gwo. Yakuwa Katonda ne bamalayika be ba maanyi nnyo okusinga Setaani ne balubaale be. (Yakobo 2:19; Okubikkulirwa 12:9) Yakuwa mwetegefu okulaga amaanyi ge ku lwa mikwano gye​—abo abamunywereddeko ddala.​—2 Ebyomumirembe 16:9, NW.

Ekigambo kya Katonda kigamba: “Temukolanga bya busamize.” Yakuwa avumirira obusamize n’obulogo kubanga ebikolwa bino biyinza okuteeka omuntu butereevu wansi w’amaanyi ga Setaani Omulyolyomi.​—Eby’Abaleevi 19:26, NW.