Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 7

Okulabula Okuva mu biseera Ebyayita

Okulabula Okuva mu biseera Ebyayita

Yakuwa tajja kukkiriza bantu babi kwonoona Olusuku lwe. Mikwano gye bokka be bajja okulubeeramu. Kiki ekijja okutuuka ku bantu ababi? Okufuna eky’okuddamu, lowooza ku lugero olw’amazima olukwata ku Nuuwa. Nuuwa yaliwo enkumi n’enkumi z’emyaka egiyise. Yali musajja mulungi eyagezangako bulijjo okukola Yakuwa by’ayagala. Naye abantu abalala ku nsi baakolanga ebintu ebibi. N’olwekyo, Yakuwa yagamba Nuuwa nti Yali agenda kuleeta amataba okuzikiriza abantu ababi abo bonna. Yagamba Nuuwa okuzimba eryato ye n’ab’omu maka ge basobole okuwonawo ng’Amataba gazze.​—Olubereberye 6: 9-18.

Nuuwa n’ab’omu maka ge baazimba eryato. Nuuwa yalabula abantu nti Amataba gaali gajja, naye tebaamuwuliriza. Beeyongera kukola ebintu ebibi. Eryato bwe lyaggwa okuzimbibwa, Nuuwa yayingiza ebisolo munda mu lyato, era ye n’ab’omu maka ge nabo ne bayingira. Awo Yakuwa n’aleeta enkuba ey’amaanyi ennyo. Enkuba yatonnyera ennaku 40 emisana n’ekiro. Amazzi gajjula ensi yonna.​—Olubereberye 7: 7-12.

Abantu ababi baafiirwa obulamu bwabwe, naye Nuuwa n’ab’omu maka ge baawonyezebwawo. Yakuwa yabawonyawo mu Mataba ne babeera mu nsi eggiddwamu obubi. (Olubereberye 7:22, 23) Baibuli egamba nti nate ekiseera kijja Yakuwa azikirize abo abagaana okukola ekituufu. Abantu abalungi tebajja kuzikirizibwa. Bajja kubeerawo emirembe gyonna mu Lusuku lwa Katonda ku nsi.​—2 Peetero 2: 5, 6, 9.

Leero abantu bangi bakola ebintu ebibi. Ensi ejjudde emitawaana. Yakuwa atuma Abajulirwa be enfunda n’enfunda okulabula abantu, kyokka abantu abasinga obungi tebaagala kuwuliriza bigambo bya Yakuwa. Tebaagala kukyusa ngeri zaabwe. Tebaagala kukkiriza Katonda ky’ayogera ku kituufu n’ekikyamu. Kiki ekirituuka ku bantu bano? Ekiseera kirituuka ne bakyuka? Bangi tebajja kukyuka. Ekiseera kijja ababi lwe banaazikirizibwa obutaddayo kubaawo nate.​—Zabbuli 92:7.

Ensi tejja kuzikirizibwa; ejja kufuulibwa olusuku lwa Katonda. Abafuuka mikwano gya Katonda bajja kubeerawo emirembe gyonna mu Lusuku lwa Katonda ku nsi.​—Zabbuli 37:29.