Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 17

Okukuuma Omukwano, Oteekwa Okubeera ow’Omukwano

Okukuuma Omukwano, Oteekwa Okubeera ow’Omukwano

Omukwano gwesigama ku kwagala. Gy’okoma okuyiga ebikwata ku Yakuwa, gy’okoma okweyongera okumwagala. Okwagala kw’olina eri Katonda bwe kuneeyongera, n’okwagala kw’olina okumuweereza nakwo kujja kweyongera. Kino kijja kukuleetera okufuuka omuyigirizwa wa Yesu Kristo. (Matayo 28:19) Bwe weegatta ku kibiina ekisanyufu eky’Abajulirwa ba Yakuwa, osobola okubeera mukwano gwa Katonda olubeerera. Kiki ky’oteekwa okukola?

Oteekwa okulaga okwagala kw’olina eri Katonda ng’ogondera amateeka ge. “Kubanga kuno kwe kwagala kwa Katonda ffe okukwatanga ebiragiro bye: era ebiragiro bye tebizitowa.”​—1 Yokaana 5:3.

Teeka mu nkola by’oyiga. Yesu yagera olugero olulaga kino. Omusajja ow’amagezi yazimba ennyumba ye ku lwazi. Omusajja omusirusiru yazimba ennyumba ye ku musenyu. Omuyaga ogw’amaanyi bwe gwajja, ennyumba eyazimbibwa ku lwazi teyagwa, naye ennyumba eyazimbibwa ku musenyu yagwa n’okugwa okw’amaanyi. Yesu yagamba nti abo abawulira enjigiriza ze ne bazigoberera balinga omusajja ow’amagezi eyazimba ennyumba ku lwazi. Naye abawulira enjigiriza ze ne batazigoberera balinga omusajja omusirusiru eyazimba ku musenyu. Ku bombi, ggwe wandyagadde kubeera musajja wa ngeri ki?​—Matayo 7:24-27.

Okwewaayo. Kino kitegeeza okutuukirira Yakuwa mu kusaba n’omutegeeza nti oyagala okukola by’ayagala emirembe gyonna. Okukola Katonda by’ayagala kiraga nti oli muyigirizwa wa Yesu Kristo.​—Matayo 11:29.

Okubatizibwa. “Batizibwa weenaazeeko ebibi byo ng’okoowoola erinnya lye.”​—Ebikolwa 22:16, NW.

Wenyigire mu bujjuvu mu kuweereza Katonda. “Buli ky’okola, kikole n’emmeeme yo yonna ku bwa Yakuwa, so si ku bwa bantu.”​—Abakkolosaayi 3:23, NW.