Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 11

Weesamba Eddiini Ez’Obulimba!

Weesamba Eddiini Ez’Obulimba!

Setaani ne balubaale be tebaagala oweereze Katonda. Baagala okuggya abantu bonna okuva ku Katonda singa kisoboka. Kino bakikola batya? Engeri emu kwe kuyitira mu ddiini ez’obulimba. (2 Abakkolinso 11:13-15) Eddiini eba ya bulimba singa teyigiriza mazima ga Baibuli. Eddiini ey’obulimba efaananako ssente ez’ekikwangala​—ziyinza okulabika ng’entuufu, naye tezirina mugaso. Ziyinza okukuleetera emitawaana mingi.

Obulimba bw’eddiini tebuyinza kusanyusa Yakuwa, Katonda ow’amazima. Yesu bwe yali ku nsi, waaliwo ekibiina ky’eddiini ekyali kyagala okumutta. Baalowooza nti ensinza yaabwe yali ntuufu. Baagamba: “Tulina Kitaffe omu, ye Katonda.” Ekyo Yesu yakikkiriza? Nedda! Yabagamba: “Mmwe muli ba kitammwe Setaani.” (Yokaana 8:41, 44) Leero, abantu bangi balowooza nti basinza Katonda, naye mu butuufu baweereza Setaani ne balubaale be!​—1 Abakkolinso 10:20.

Ng’omuti omubi bwe gubaako ebibala ebibi, n’eddiini ez’obulimba zibaamu abantu abakola ebintu ebibi. Ensi ejjudde emitawaana olw’ebintu ebibi abantu bye bakola. Waliwo obukaba, okulwana, obubbi, okunyigiriza abalala, obutemu, n’okukwata abakazi. Bangi abakola ebintu bino balina eddiini, naye eddiini yaabwe tebakubiriza kukola bintu ebirungi. Tebayinza kubeera mikwano gya Katonda okuggyako nga balekedde awo okukola ebintu ebibi.​—Matayo 7:17, 18.

Eddiini ez’obulimba ziyigiriza abantu okusinza ebifaananyi. Katonda agamba nti tetuteekwa kusinza bifaananyi. Kino kya magezi. Ggwe wandikyagadde singa omuntu omu tayogera naawe kyokka ng’ayogera n’ekifaananyi kyo? Omuntu oyo ayinza okubeera mukwano gwo owa nnamaddala? Nedda, tayinza. Yakuwa ayagala abantu boogere naye, so si na kibumbe oba ekifaananyi, ekitalina bulamu.​—Okuva 20:4, 5.

Eddiini ez’obulimba ziyigiriza nti si kibi okutta abalala mu kiseera ky’olutalo. Yesu yagamba nti mikwano gya Katonda bandibadde baagalana bokka na bokka. Tetutta bantu be twagala. (Yokaana 13:35) Kiba na kikyamu ffe okutta abantu ababi. Abalabe ba Yesu bwe bajja okumukwata, teyakkiriza bayigirizwa be kumulwanirira.​—Matayo 26:51, 52.

Eddiini ez’obulimba ziyigiriza nti ababi bajja kubonyaabonyezebwa mu muliro ogutazikira. Kyokka, Baibuli eyigiriza nti ekibi kivaamu kufa. (Abaruumi 6:23) Yakuwa Katonda wa kwagala. Katonda ow’okwagala yandibonyaabonyezza abantu emirembe gyonna? Kya lwatu nedda! Mu Lusuku lwa Katonda, wajja kubaawo eddiini emu yokka, eyo Yakuwa gy’asiima. (Okubikkulirwa 15:4) Eddiini zonna ezeesigamiziddwa ku bulimba bwa Setaani zijja kuba zivuddewo.