ESSOMO 3
Weetaaga Okuyiga Ebikwata ku Katonda
Okubeera mukwano gwa Katonda, weetaaga okuyiga ebimukwatako. Mikwano gyo bamanyi erinnya lyo era balikozesa? Yee. Katonda ayagala omanye erinnya lye era olikozese. Erinnya lya Katonda ye Yakuwa. (Zabbuli 83:18; Matayo 6:9) Era oteekwa okuyiga by’ayagala ne by’atayagala. Weetaaga okumanya mikwano gye n’abalabe be. Kitwala ekiseera okumanya omuntu. Baibuli egamba nti kya magezi okuwaayo ebiseera okuyiga ebikwata ku Yakuwa.—Abeefeso 5:15,16.
Mikwano gya Katonda bakola ebimusanyusa. Lowooza ku mikwano gyo. Singa obayisa bubi era n’okola ebintu bye bataagala, baneeyongera okubeera mikwano gyo? Kya lwatu nedda! Mu ngeri y’emu, singa oyagala okubeera mukwano gwa Katonda, weetaaga okukola ebimusanyusa.—Yokaana 4:24.
Eddiini zonna tezisobozesa muntu kubeera mukwano gwa Katonda. Yesu, mukwano gwa Katonda asingayo okuba ow’oku lusegere, yayogera ku makubo abiri. Erimu ggazi era lirimu abantu bangi. Ekkubo eryo ligenda mu kuzikirira. Ekkubo eddala ffunda era lirimu abantu batono. Ekkubo eryo lye ligenda mu bulamu obutaggwaawo. Kino kitegeeza nti singa oyagala okubeera mukwano gwa Katonda, oteekwa okutegeera engeri entuufu ey’okumusinzaamu.—Matayo 7:13, 14.