Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 14

Mikwano gya Katonda Beewala Ebintu Ebibi

Mikwano gya Katonda Beewala Ebintu Ebibi

Setaani akema abantu okukola ebintu ebibi. Omuntu ayagala okubeera mukwano gwa Katonda alina okukyawa Yakuwa by’akyawa. (Zabbuli 97:10) Bino bye bimu ku bintu mikwano gya Katonda bye beewala:

Obukaba. “Toyendanga.” (Okuva 20:14) Okwetaba n’omuntu nga temunnafumbiriganwa nakyo kikyamu.​—1 Abakkolinso 6:18.

Obutamiivu. “Abatamiivu . . . tebalisikira bwakabaka bwa Katonda.”​—1 Abakkolinso 6:10.

Okutta, Okuggyamu Olubuto. “Tottanga.”​—Okuva 20:13.

Okubba. “Tobbanga.” ​—Okuva 20:15.

Okulimba. Yakuwa akyawa “olulimi olulimba.”​—Engero 6:17.

Ettemu n’Obutafuga Busungu. “Omuntu yenna ayagala ettemu [Yakuwa] amukyawa.” (Zabbuli 11:5, NW) “Ebikolwa by’omubiri [bizingiramu] . . . obusungu.”​—Abaggalatiya 5:19, 20.

Okukuba Zzaala. “Temwegattanga naye, omuntu yenna . . . bw’aba nga . . . wa mululu.”​—1 Abakkolinso 5:11, NW.

Obukyayi olwa Langi n’Amawanga. “Mwagalenga abalabe bammwe, musabirenga ababayigganya.”​—Matayo 5:43,44.

Ebintu Katonda by’atugamba biganyula ffe. Si kyangu buli kiseera okwewala okukola ebintu ebibi. Awamu n’obuyambi bwa Yakuwa era n’obuyambi bw’Abajulirwa be, osobola okwewala okukola ebintu ebitasanyusa Katonda.​—Isaaya 48:17; Abafiripi 4:13; Abaebbulaniya 10:24, 25.