Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 14

Tuyinza Tutya Okusinza Katonda mu Ngeri gy’Asiima?

Tuyinza Tutya Okusinza Katonda mu Ngeri gy’Asiima?

Nga bwe kiragibwa mu ssomo erivuddeko, tekiri nti buli ddiini esiimibwa mu maaso ga Katonda. Kyokka tusobola okusinza Omutonzi waffe mu ngeri gy’asiima. Kusinza kwa ngeri ki oba ddiini ki esiimibwa mu maaso ga Katonda? (Yakobo 1:27, obugambo obuli wansi) Weetegereze ekyo Bayibuli ky’eyigiriza.

1. Tuyinza tutya okumanya engeri entuufu ey’okusinzaamu Katonda?

Bayibuli esobola okutuyamba okumanya engeri entuufu ey’okusinzaamu Katonda. Yesu yagamba Katonda nti: “Ekigambo kyo ge mazima.” (Yokaana 17:17) Amadiini agamu tegagoberera mazima agali mu Kigambo kya Katonda, Bayibuli. Mu kifo ky’ekyo, gagoberera enjigiriza n’obulombolombo bw’abantu. Naye Yakuwa tasiima abo ‘abaleka amateeka ge.’ (Soma Makko 7:9.) Ku luuyi olulala, tusanyusa omutima gwa Katonda bwe tunywerera ku Bayibuli era ne tukolera ku magezi agagirimu.

2. Yakuwa tusaanidde kumusinza tutya?

Olw’okuba Yakuwa ye Mutonzi waffe, tusaanidde kusinza ye yekka. (Okubikkulirwa 4:11) Ekyo kitegeeza nti tulina okumwagala era tetulina kukozesa bifaananyi oba bibumbe mu kusinza.​—Soma Isaaya 42:8.

Okusinza kwaffe kulina okuba ‘okutukuvu era nga kusiimibwa’ mu maaso ga Yakuwa. (Abaruumi 12:1) Ekyo kitegeeza nti tulina okutambuliza obulamu bwaffe ku mitindo gy’empisa gy’atuteereddewo. Ng’ekyokulabirako, abo abaagala Yakuwa baagala emitindo gye yateerawo abafumbo era bagigoberera. Ate era beewala emize emibi, gamba ng’okunywa ssigala, okukozesa ebiragalalagala, okutamiira, n’okunywa omwenge omungi. a

3. Lwaki tusaanidde okusinza Yakuwa nga tuli wamu ne bakkiriza bannaffe?

Enkuŋŋaana ze tuba nazo buli wiiki zituwa akakisa ‘okutendereza Yakuwa mu kibiina.’ (Zabbuli 111:1, 2) Engeri emu gye tutenderezaamu Katonda kwe kuyimba ennyimba ezimutendereza. (Soma Zabbuli 104:33.) Yakuwa ayagala tubeewo mu nkuŋŋaana kubanga atwagala era akimanyi nti kijja kutuyamba okufuna obulamu obutaggwaawo. Bwe tukuŋŋaana awamu tuzziŋŋanamu amaanyi.

YIGA EBISINGAWO

Laba ensonga lwaki Yakuwa tatukkiriza kukozesa bifaananyi mu kusinza. Laba engeri gye tuyinza okutenderezaamu Katonda.

4. Tetusaanidde kukozesa bifaananyi mu kusinza

Tumanya tutya nti okukozesa ebifaananyi mu kusinza tekisanyusa Katonda? Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino wammanga.

  • Kiki ekyaliwo abantu ba Katonda abamu mu biseera eby’edda bwe baagezaako okumusinza nga bakozesa ekifaananyi?

Abantu abamu bakozesa ebifaananyi mu kusinza nga balowooza nti bibayamba okusemberera Katonda. Naye ddala ebifaananyi bisobola okuyamba abantu okusemberera Katonda? Soma Okuva 20:4-6 ne Zabbuli 106:35, 36, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Bifaananyi ki oba bibumbe ki by’olabye ng’abantu babikozesa mu kusinza?

  • Yakuwa atwala atya okukozesa ebifaananyi mu kusinza?

  • Ggwe eky’okukozesa ebifaananyi mu kusinza okitwala otya?

5. Bwe tusinza Yakuwa yekka kituyamba obutabuzaabuzibwa njigiriza za bulimba

Laba engeri okusinza Yakuwa mu ngeri gy’asiima gye kisobola okutusumulula mu njigiriza ez’obulimba. Laba VIDIYO.

Soma Zabbuli 91:14, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Kiki Yakuwa ky’asuubiza okutukolera bwe tumwagala era ne tuba nga ye yekka gwe tusinza?

6. Tusinza Katonda nga tuli mu nkuŋŋaana z’ekibiina

Tutendereza Yakuwa era tuzziŋŋanamu amaanyi nga tubaako bye tuddamu mu nkuŋŋaana. Soma Zabbuli 22:22, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Onyumirwa okuwulira abalala bye baddamu mu nkuŋŋaana?

  • Wandyagadde okubaako ky’oddamu mu nkuŋŋaana?

7. Kisanyusa nnyo Yakuwa bwe tubuulirako abalala bye tuyiga

Waliwo engeri nnyingi ze tuyinza okuyitiramu okubuulira abalala ku mazima agali mu Bayibuli. Soma Zabbuli 9:1 ne 34:1, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Kiki ky’oyize mu Bayibuli kye wandyagadde okubuulirako omuntu omulala?

ABAMU BAGAMBA NTI: “Tekisoboka kusanyusa Katonda.”

  • Ggwe olowooza otya?

MU BUFUNZE

Tusanyusa Omutonzi waffe bwe tusinza ye yekka, bwe tumutendereza mu nkuŋŋaana z’ekibiina, era bwe tubuulirako abalala bye tuyiga.

Okwejjukanya

  • Tuyinza tutya okumanya engeri entuufu ey’okusinzaamu Katonda?

  • Lwaki tulina kusinza Yakuwa yekka?

  • Lwaki tusaanidde okusinziza awamu n’abo abaagala okusanyusa Katonda?

Eky’okukolako

LABA EBISINGAWO

Mu kitundu ekirina omutwe, “Sikyali Muddu wa Bifaananyi,” laba ekyayamba omukazi omu okulekera awo okusinza ebifaananyi.

“Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu” (Omunaala gw’Omukuumi, Okitobba 1, 2011)

Laba ebisobola okukuyamba okubaako by’oddamu mu nkuŋŋaana.

“Tendereza Yakuwa mu Kibiina” (Omunaala gw’Omukuumi, Jjanwali 2019)

Laba engeri omuvubuka omu gye yaganyulwa mu nkuŋŋaana z’ekibiina wadde nga mu kusooka tekyamwanguyiranga kuzigendamu.

Yakuwa Yandabirira (3:07)

Abantu bangi bakwataganya omusaalaba n’Obukristaayo, naye ddala tusaanidde okugukozesa mu kusinza?

“Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa Tebakozesa Musaalaba mu Kusinza?” (Kiri ku mukutu)

a Ebintu ebyo bijja kwogerwako mu masomo agali mu maaso.