Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 46

Lwaki Wandyewaddeyo eri Yakuwa era n’Obatizibwa?

Lwaki Wandyewaddeyo eri Yakuwa era n’Obatizibwa?

Bw’otuukirira Yakuwa mu kusaba n’omutegeeza nti ojja kusinza ye yekka era nti ojja kukulembeza by’ayagala mu bulamu bwo, oba weewaddeyo gy’ali. (Zabbuli 40:8) Bw’oba omaze okwewaayo eri Yakuwa, obatizibwa. Bw’obatizibwa, oba olaga abalala mu lujjudde nti wamala okwewaayo eri Yakuwa. Okusalawo okwewaayo eri Yakuwa kwe kusalawo okusingayo obukulu kw’oyinza okukola, era okujja okukyusa obulamu bwo. Naye kiki ekinaakuleetera okutuuka ku kusalawo okwo okukulu ennyo?

1. Kiki ekireetera omuntu okwewaayo eri Yakuwa?

Okwagala kwe tulina eri Yakuwa kwe kutuleetera okwewaayo gy’ali. (1 Yokaana 4:10, 19) Bayibuli egamba nti: “Oyagalanga Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna, n’amaanyi go gonna.” (Makko 12:30) Tetukoma ku kugamba bugambi nti twagala Katonda, naye era tukyoleka ne mu bikolwa. Ng’omusajja n’omukazi abaagalana bwe basalawo okufumbiriganwa, naffe okwagala kwe tulina eri Yakuwa kutuleetera okusalawo okwewaayo gy’ali era n’okubatizibwa.

2. Mikisa ki Yakuwa gy’awa abo abeewaayo gy’ali ne babatizibwa?

Bw’onoobatizibwa, ojja kuba ofuuse omu ku abo abali mu maka ga Yakuwa. Awo ojja kulaba okwagala kwe mu ngeri nnyingi, era enkolagana yo ne Yakuwa ejja kweyongera okuba ey’oku lusegere. (Soma Malaki 3:16-18.) Ng’oggyeeko okuba nti Yakuwa ajja kufuuka Kitaawo, ojja kufuna baganda bo ne bannyoko ab’eby’omwoyo okwetooloola ensi yonna, abaagala Yakuwa era naawe abakwagala. (Soma Makko 10:29, 30.) Kyo kituufu nti waliwo by’olina okukola okusobola okutuukiriza ebisaanyizo by’okubatizibwa. Olina okuyiga ebikwata ku Yakuwa, okumwagala, era n’okukkiririza mu Mwana we. Oluvannyuma oba olina okwewaayo eri Yakuwa. Bw’okola ebintu ebyo era n’obatizibwa, ojja kuba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo. Bayibuli egamba nti: ‘Okubatizibwa, kaakano kubalokola.’​—1 Peetero 3:21.

YIGA EBISINGAWO

Manya ensonga lwaki kikulu okwewaayo eri Yakuwa era n’okubatizibwa.

3. Ffenna tulina okusalawo ani gwe tunaaweereza

Mu Isirayiri ey’edda, abantu abamu baali balowooza nti basobola okusinza Yakuwa, ate mu kiseera kye kimu nga basinza katonda ow’obulimba eyali ayitibwa Bbaali. Naye Yakuwa yatuma nnabbi we Eriya okubalaga nti endowooza eyo yali nkyamu. Soma 1 Bassekabaka 18:21, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Kiki Abayisirayiri kye baalina okusalawo?

Okufaananako Abayisirayiri, naffe tulina okusalawo ani gwe tunaaweereza. Soma Lukka 16:13, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Lwaki tetuyinza kusinza Yakuwa, ate mu kiseera kye kimu ne tusinza omuntu omulala oba ekintu ekirala?

  • Tuyinza tutya okulaga Yakuwa nti tusazeewo kusinza ye yekka?

4. Fumiitiriza ku kwagala Yakuwa kw’akulaze

Yakuwa atuwadde ebirabo bingi eby’omuwendo. Kiki ffe kye tuyinza okumuwa? Laba VIDIYO.

Yakuwa akulaze atya okwagala? Soma Zabbuli 104:14, 15 ne 1 Yokaana 4:9, 10, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Biki Yakuwa by’akukoledde by’osiima ennyo?

  • Ebintu ebyo bikuyigiriza ki ku Yakuwa?

Bwe tufuna ekirabo ekirungi, tuba twagala okusiima oyo aba akituwadde. Soma Ekyamateeka 16:17, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Bw’olowooza ku birungi byonna Yakuwa by’akukoledde, kiki kye wandikoze okulaga nti osiima?

5. Bw’oneewaayo eri Yakuwa ojja kufuna emikisa mingi

Bangi balowooza nti okufuna ettutumu, okuba n’omulimu omulungi, oba okuba ne ssente ennyingi, kye kisobozesa omuntu okuba omusanyufu. Naye ddala ekyo kituufu? Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino wammanga.

  • Wadde ng’omuzannyi gwe tulabye mu vidiyo yali ayagala nnyo okusamba omupiira, lwaki yasalawo okuguleka?

  • Yasalawo okwewaayo eri Yakuwa mu kifo ky’okwemalira ku kusamba omupiira. Olowooza yasalawo bulungi? Lwaki ogamba bw’otyo?

Omutume Pawulo bwe yali tannafuuka Mukristaayo, yali yeemalidde ku mulimu ogwali guyinza okumuviirako okufuna ettutumu. Omusomesa eyali omukenkufu mu mateeka g’Abayudaaya ye yali yamusomesa. Naye ebyo byonna yabyerekereza okusobola okufuuka Omukristaayo. Pawulo yejjusa olw’ekyo kye yakola? Soma Abafiripi 3:8, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Lwaki Pawulo yagamba nti ebyo bye yali atuuseeko nga tannafuuka Mukristaayo byali “ng’ebisasiro”?

  • Kiki kye yafuna oluvannyuma lw’okufuuka Omukristaayo?

  • Bw’ogeraageranya okuweereza Yakuwa ku ngeri endala yonna gye wandikozesezzaamu obulamu bwo, kiki ky’oyinza okugamba?

Pawulo bwe yafuuka Omukristaayo, yafuna bingi okusinga ebyo bye yeefiiriza

ABAMU BAGAMBA NTI: “Nkimanyi nti gano ge mazima, naye siri mwetegefu kubatizibwa.”

  • Lwaki olowooza nti kya magezi okwewaayo eri Yakuwa?

MU BUFUNZE

Okwagala kwe tulina eri Yakuwa kwe kutuleetera okwewaayo gy’ali era n’okubatizibwa.

Okwejjukanya

  • Lwaki tusaanidde okusinza Yakuwa era n’okumuweereza n’omutima gwaffe gwonna?

  • Mikisa ki Yakuwa gy’awa abo abeewaayo gy’ali ne babatizibwa?

  • Wandyagadde okwewaayo eri Yakuwa?

Eky’okukolako

LABA EBISINGAWO

Laba ensonga lwaki omuyimbi ne munnabyamizannyo baasalawo okwewaayo eri Yakuwa.

Ebibuuzo Abavubuka bye Beebuuza—Obulamu Bwange Nnaabukozesa Ntya?—Bwe Nzijukira Gye Nvudde (6:54)

Manya ensonga endala ezandikuleetedde okwewaayo eri Yakuwa.

“Lwaki Osaanidde Okwewaayo eri Yakuwa?” (Omunaala gw’Omukuumi, Jjanwali 15, 2010)

Mu vidiyo eno ey’oluyimba, laba essanyu abo abeewaayo eri Yakuwa lye bafuna.

Nze Nneewaayo gy’Oli (4:30)

Mu kitundu ekirina omutwe, “Okumala Emyaka, Nnali Nneebuuza Ensonga Lwaki Weetuli” laba ekyaleetera omukazi omu okulowooza ku bye yali atwala nti bye bisinga obukulu mu bulamu.

“Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu” (Watchtower, Noovemba 1, 2012)