Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okwejjukanya Ekitundu 3

Okwejjukanya Ekitundu 3

Kubaganya ebirowoozo ku bibuuzo bino wammanga n’omusomesa wo:

  1. Soma Engero 27:11.

    • Lwaki oyagala okuba omwesigwa eri Yakuwa?

      (Laba Essomo 34.)

  2. Oyinza otya okusalawo mu ngeri ey’amagezi ku nsonga Bayibuli gy’etewaako tteeka lyonna?

    (Laba Essomo 35.)

  3. Oyinza otya okubeera omwesigwa mu bintu byonna?

    (Laba Essomo 36.)

  4. Soma Matayo 6:33.

    • Bwe kituuka mu mirimu ne ssente, oyinza otya ‘okusooka okunoonya Obwakabaka’?

      (Laba Essomo 37.)

  5. Oyinza otya okulaga nti obulamu obutwala nga bwa muwendo nga Yakuwa bw’abutwala?

    (Laba Essomo 38.)

  6. Soma Ebikolwa 15:29.

    • Oyinza otya okugondera etteeka lya Yakuwa erikwata ku musaayi?

    • Olowooza okugondera etteeka eryo kituganyula?

      (Laba Essomo 39.)

  7. Soma 2 Abakkolinso 7:1.

    • Kitegeeza ki okuba abayonjo mu mubiri ne mu mpisa?

      (Laba Essomo 40.)

  8. Soma 1 Abakkolinso 6:9, 10.

    • Bayibuli eyogera ki ku by’okwegatta? Okkiriziganya n’ekyo ky’egamba ku nsonga eyo?

    • Bayibuli eyogera ki ku kunywa omwenge?

      (Laba Essomo 41 ne 43.)

  9. Soma Matayo 19:4-6, 9.

    • Bayibuli eyogera ki ku bufumbo?

    • Lwaki obufumbo n’okugattululwa birina okukolebwa mu mateeka?

      (Laba Essomo 42.)

  10. Ezimu ku nnaku enkulu n’emikolo ebitasanyusa Katonda bye biruwa, era lwaki tebimusanyusa?

    (Laba Essomo 44.)

  11. Soma Yokaana 17:16 ne Ebikolwa 5:29.

    • Biki ebinaakuyamba obutabaako ludda lw’owagira mu by’obufuzi?

    • Etteeka ly’abantu bwe liba nga likontana n’etteeka lya Katonda, kiki ky’osaanidde okukola?

      (Laba Essomo 45.)

  12. Soma Makko 12:30.

    • Oyinza otya okukiraga nti oyagala Yakuwa?

      (Laba Essomo 46 ne 47.)