ESSOMO 58
Sigala ng’Oli Mwesigwa eri Yakuwa
Abakristaayo ab’amazima bamalirivu obutakkiriza kintu kyonna oba muntu yenna kubalemesa kuweereza Yakuwa. Tuli bakakafu nti naawe oli mumalirivu okuweereza Yakuwa. Yakuwa akutwala nti oli wa muwendo nnyo bw’oba omwesigwa gy’ali. (Soma 1 Ebyomumirembe 28:9.) Mbeera ki eziyinza okukifuula ekizibu gy’oli okuba omwesigwa eri Yakuwa, era kiki ekiyinza okukuyamba?
1. Abalala bayinza batya okugezaako okukulemesa okuba omwesigwa eri Yakuwa?
Abantu abamu bagezaako okutulemesa okuweereza Yakuwa. Baani abayinza okugezaako okukulemesa okuweereza Yakuwa? Abamu ku abo abaaliko abaweereza ba Yakuwa naye nga kati boogera eby’obulimba ku kibiina kya Yakuwa nga baagala okusaanyaawo okukkiriza kwaffe. Abantu abo bayitibwa bakyewaggula. Ate era, n’abakulembeze b’amadiini abamu boogera eby’obulimba ku Bajulirwa ba Yakuwa okusobola okuleetera abantu abatali banywevu okuva mu mazima. Kiba kya kabi nnyo gye tuli okukubaganya ebirowoozo n’abantu abo, okusoma ebitabo byabwe, okugenda ku mikutu gyabwe egya Intaneeti ne tusoma bye baba bataddeyo, oba okulaba vidiyo zaabwe. Yesu bwe yali ayogera ku abo abagezaako okulemesa abalala okuweereza Yakuwa, yagamba nti: “Abo mubaleke. Be bakulembeze abazibe b’amaaso. Kale omuzibe w’amaaso bw’akulembera muzibe munne, bombi bagwa mu kinnya.”—Matayo 15:14.
2. Ebyo bye tusalawo biraga bitya nti tuli beesigwa eri Yakuwa?
Okwagala kwe tulina eri Yakuwa kutuleetera obutaba na kakwate konna n’eddiini ez’obulimba. Omulimu gwe tukola, ebibiina bye tulimu, oba ekintu ekirala kyonna kye twenyigiramu, tebirina kuba na kakwate konna n’eddiini ez’obulimba. Yakuwa atugamba nti: ‘Mufulume mu Babulooni Ekinene mmwe abantu bange.’—Okubikkulirwa 18:2, 4.
YIGA EBISINGAWO
Manya engeri gy’oyinza obutakkiriza muntu yenna kukuleetera butaba mwesigwa eri Yakuwa. Ate era laba engeri gy’oyinza okulagamu nti oli mwesigwa eri Yakuwa ng’ova mu Babulooni Ekinene.
3. Weekuume abayigiriza ab’obulimba
Kiki kye tusaanidde okukola bwe tuwulira abalala nga boogera bubi ku kibiina kya Yakuwa? Soma Engero 14:15, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
-
Lwaki tetusaanidde kumala gakkiriza buli kimu kye tuba tuwulidde?
Soma 2 Yokaana 9-11, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
-
Bakyewaggula tusaanidde okukolagana nabo?
-
Ne bwe tuba nga tetukolagana butereevu na bakyewaggula, tuyinza kusanga wa enjigiriza zaabwe?
-
Olowooza Yakuwa awulira atya bw’atulaba nga tuwuliriza ebintu ebibi ebimwogerwako oba ebyogerwa ku kibiina kye?
4. Sigala ng’oli mwesigwa eri Katonda nga waliwo akoze ekibi eky’amaanyi
Bwe tukimanyaako nti waliwo omuntu mu kibiina akoze ekibi eky’amaanyi, kiki kye tusaanidde okukola? Lowooza ku musingi ogumu oguli mu mateeka Katonda ge yawa eggwanga lwa Isirayiri ery’edda. Soma Eby’Abaleevi 5:1.
Nga bwe kiragibwa mu kyawandiikibwa ekyo, bwe tukimanyaako nti waliwo akoze ekibi eky’amaanyi, tusaanidde okutegeeza abakadde. Naye ng’ekyo tetunnakikola, kiba kikolwa kya kisa okusooka okukubiriza omuntu oyo ye kennyini okubuulira abakadde ekibi kye yakoze. Bw’agaana okubabuulira, olw’okuba twagala okuba abeesigwa eri Yakuwa, ffe tubabuulira. Bwe tukola bwe tutyo, kiba kiraga kitya nti tulina okwagala okutajjulukuka . . .
-
eri Yakuwa?
-
eri omwonoonyi?
-
n’eri abalala mu kibiina?
5. Weewale okuba n’akakwate konna ne Babulooni Ekinene
Soma Lukka 4:8 ne Okubikkulirwa 18:4, 5, oluvannyuma oddemu ebibuuzo bino:
-
Erinnya lyange likyaliyo mu nkalala eziraga bammemba b’eddiini emu ey’obulimba?
-
Waliwo ekibiina oba ekitongole kye ndimu ekirina akakwate n’eddiini endala?
-
Omulimu gwe nkola gulina engeri gye guwagiramu eddiini ey’obulimba?
-
Waliwo embeera endala yonna enneetaagisa okweyawula ku ddiini ez’obulimba?
-
Ku bibuuzo ebyo bwe kubaako kye nzizeemu nti yee, nkyukakyuka ki ze nsaanidde okukola?
Bulijjo salawo mu ngeri ekusobozesa okuba n’omuntu ow’omunda omulungi, era eraga nti oli mwesigwa eri Yakuwa.
ABAMU BAGAMBA NTI: “Nnina okumanya ebyo bakyewaggula bye boogera ku Bajulirwa ba Yakuwa nsobole okulwanirira amazima.”
-
Olowooza ekyo kiba kya magezi? Lwaki ogamba bw’otyo?
MU BUFUNZE
Okusobola okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa, tulina okwewala okukolagana n’abo abagezaako okutuwabya.
Okwejjukanya
-
Lwaki tetusaanidde kuwuliriza bakyewaggula?
-
Kiki kye tusaanidde okukola bwe tukimanyaako nti mukkiriza munnaffe yakoze ekibi eky’amaanyi?
-
Tuyinza tutya okufuluma mu Babulooni Ekinene nga Bayibuli bw’etugamba?
LABA EBISINGAWO
Manya ky’osaanidde okukola nga waliwo aboogera ebintu ebitali bituufu ku Bajulirwa ba Yakuwa.
“Omanyi Byonna Ebizingirwamu?” (Omunaala gw’Omukuumi, Agusito 2018)
Oyinza otya okumanya ebibiina oba ebintu ebikolebwa, ebiwagira Babulooni Ekinene?
Biki abantu abamu bye bakola okugezaako okunafuya okukkiriza kwaffe?
Mu kitundu ekirina omutwe, “Nnali Nnoonya Katonda Okuviira Ddala mu Buto,” soma ku musajja omu eyali kabona mu ddiini y’Abashinto eyava mu ddiini eyo.
“Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu” (Omunaala gw’Omukuumi, Okitobba 1, 2011)