Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA ESOOKA

“Newakubadde nga Yafa, Akyayogera”

“Newakubadde nga Yafa, Akyayogera”

1. Lwaki Adamu ne Kaawa n’abaana baabwe baali tebasobola kugenda mu lusuku Adeni, era kiki Abbeeri kye yali ayagala ennyo kibeewo?

ABBEERI yatunuulira endiga ze nga zirya omuddo, naye ate bwe yatunulako emitala yali alengerayo ekintu ekyali kyakaayakana. Yali akimanyi nti ekyo kye yali alengera kyali kitala ekyaka omuliro era nga kyetooloola obutasalako okulemesa omuntu yenna okugenda mu lusuku Adeni. Bazadde be eyo gye baali babeera okusooka, naye kati bo n’abaana baabwe baali tebakyasobola kugendayo. Abbeeri ateekwa okuba nga yali yeebuuza obanga ddala enkolagana ya Katonda n’omuntu eyali eyonoonese ekiseera kyandituuse n’eddawo. Ekyo Abbeeri yali ayagala nnyo kibeewo.

2-4. Abbeeri ayogera atya naffe leero?

2 Abbeeri ayogera naawe leero. Oyinza okugamba nti ekyo tekisoboka, kubanga Abbeeri, omwana wa Adamu ow’okubiri, yafa dda nnyo. Bukya afa waakayita emyaka nga kakaaga, era yafuuka dda na nfuufu. Bayibuli egamba nti abafu “tebaliiko kye bamanyi.” (Mub. 9:5, 10) N’ekirala, mu Bayibuli tetusangamu kigambo na kimu Abbeeri kye yayogera. Kati olwo ayogera atya naffe?

3 Omutume Pawulo yayogera bw’ati ku Abbeeri ng’aluŋŋamizibwa omwoyo omutukuvu: “Okuyitira mu kukkiriza . . . newakubadde nga yafa, akyayogera.” (Soma Abebbulaniya 11:4.) Abbeeri ye muntu eyasooka okwoleka okukkiriza, era tulina bingi bye tusobola okumuyigirako. Ebyo bye tuyiga ku Abbeeri bwe tufuba okubissa mu nkola era ne twoleka okukkiriza okulinga okukwe, tuba ng’abamuwulira ng’ayogera naffe.

4 Tuyinza tutya okumanya ebikwata ku Abbeeri ne ku kukkiriza kwe ng’ate Bayibuli emwogerako katono nnyo? Ka tulabe.

Yaliwo ku “Ntandikwa y’Ensi”

5. Yesu yali ategeeza ki bwe yagamba nti Abbeeri yaliwo ku “ntandikwa y’ensi”? (Laba n’obugambo obuli wansi.)

5 Abbeeri y’omu ku bantu abaasookera ddala okubeera ku nsi. Yesu yagamba nti Abbeeri yaliwo “ku ntandikwa y’ensi.” (Soma Lukka 11:50, 51.) Ensi Yesu gye yali ayogerako be bantu abaali basobola okulokolebwa okuva mu kibi. Wadde nga Abbeeri ye yali omwana wa Adamu ne Kaawa ow’okubiri, kirabika ye muntu Katonda gwe yasooka okulaba ng’asobola okulokolebwa. * Ekyo nno kiraga nti Abbeeri abantu be yabeeranga nabo tebaali byakulabirako birungi.

6. Nnyonnyola ebikwata ku bazadde ba Abbeeri.

6 Wadde nga ku nsi abantu baali tebannamalako bbanga ddene, baali batandise okwolekagana n’embeera enzibu. Bazadde ba Abbeeri, Adamu ne Kaawa, bateekwa okuba nga baali bantu bacamufu era nga balabika bulungi, naye eky’ennaku baali tebakyalina nkolagana nnungi ne Katonda. Mu kusooka baali batuukiridde era nga ba kubeera ku nsi emirembe n’emirembe, naye bwe baayonoona, Yakuwa yabagoba mu lusuku Adeni. Olw’okwerowoozaako bokka ne bakulembeza bo bye baali baagala, baafuuka boonoonyi era ne bafiirwa obulamu obutaggwawo; tebaafaayo na ku biseera by’abaana baabwe eby’omu maaso.Lub. 2:15–3:24.

7, 8. Kaawa yayogera bigambo ki ng’azadde Kayini, era kiki ekiyinza okuba nga kye kyamuleetera okwogera bw’atyo?

7 Obulamu wabweru w’olusuku Adeni tebwali bwangu. Kyokka Adamu ne Kaawa bwe baazaala omwana waabwe eyasooka, Kaawa yagamba nti: “Nzadde omwana ow’obulenzi n’obuyambi bwa Yakuwa.” Ebigambo ebyo biraga nti Kaawa ayinza okuba nga yali alowooza ku ekyo Yakuwa kye yali asuubizza mu lusuku Adeni, nti waaliwo “ezzadde” eryali ligenda okuzaalibwa omukazi lizikirize omubi oyo eyabawabya. (Lub. 3:15; 4:1, NW) Kaawa oboolyawo yalowooza nti ye, ye yali omukazi oyo Yakuwa gwe yali ayogerako mu bunnabbi obwo, era nti Kayini lye ‘zzadde’ eryasuubizibwa.

8 Bwe kiba nti Kaawa bw’atyo bwe yali alowooza, yali mukyamu. Ate bwe kiba nti ye ne Adamu baagambako Kayini ekintu ekifaanana bwe kityo, kiyinza okuba nga kyamuleetera okuwulira nti wa kitalo nnyo. Nga wayiseewo ekiseera, Kaawa yazaala omwana ow’obulenzi omulala, naye ono ye erinnya lye baamutuuma teririna bwe liraga nti baalina ekintu kyonna eky’enjawulo kye baali bamusuubiramu. Baamutuuma Abbeeri, ekiyinza okuba nga kitegeeza “Omukka,” oba “Ekitagasa.” (Lub. 4:2) Kyandiba nti baamutuuma erinnya eryo olw’okuba ye baali tebamusuubiramu kya maanyi nnyo nga Kayini? Ekituufu kyennyini tetukimanyi.

9. Kiki abazadde ba leero kye bayinza okuyigira ku bazadde baffe abaasooka?

9 Abazadde mulina bingi bye muyinza okuyigira ku bazadde abo abaasooka. Ebyo bye mukola era n’ebyo bye mugamba abaana bammwe bibaleetera okwagala Yakuwa Katonda n’okufuba okunyweza enkolagana yaabwe naye, oba bibaleetera okuba n’omwoyo ogw’okwefaako bokka era n’okwetwala nti ba kitalo nnyo? Eky’ennaku Adamu ne Kaawa baalemererwa okutuukiriza obulungi obuvunaanyizibwa bwabwe ng’abazadde. Naye kati kyali kisigadde eri baana baabwe okusalawo engeri gye banditambuzzaamu obulamu bwabwe.

Kiki Ekyayamba Abbeeri Okuba n’Okukkiriza?

10, 11. Kayini ne Abbeeri baayiga kukola mirimu ki, naye Abbeeri yakulaakulanya ngeri ki?

10 Abaana abo ababiri bwe baagenda bakula, Adamu ateekwa okuba nga yabayigiriza emirimu egyandibayambye okweyimirizaawo. Kayini yafuuka mulimi, ate ye Abbeeri n’afuuka mulunzi wa ndiga.

11 Kyokka ate ekisingira ddala obukulu, Abbeeri yakulaakulanya okukkiriza okw’amaanyi. Okukkiriza kwa Abbeeri Pawulo akwogerako mu bbaluwa ze. Naye kirowoozeeko, ku nsi tewaaliwo muntu yenna eyali ataddewo ekyokulabirako ekirungi Abbeeri kye yali asobola okukoppa. Kati olwo yasobola atya okukulaakulanya okukkiriza okw’amaanyi? Waliwo ebintu bisatu ebiyinza okuba nga bye byamuyamba.

12, 13. Okwetegereza Yakuwa bye yatonda kiyinza okuba nga kyanyweza kitya okukkiriza kwa Abbeeri?

12 Ebintu Yakuwa bye yatonda. Ettaka Yakuwa yali yalikolimira ne kiba nti lyali limerako maggwa na matovu, ebyalemesanga emmere okubala obulungi. Naye wadde kyali kityo, lyalinga era libaza emmere gye baalyanga. Kyokka ebitonde ebirala gamba ng’ebisolo, ebinyonyi, ebyennyanja, ensozi, ennyanja, emigga, ebire, enjuba, omwezi, n’emmunyeenye tebyakolimirwa. Ebitonde byonna Abbeeri bye yatunuuliranga byali biraga nti Yakuwa Katonda eyabitonda mulungi, wa magezi, era ajjudde okwagala. (Soma Abaruumi 1:20.) Awatali kubuusabuusa, okufumiitiriza ku bintu Yakuwa bye yatonda kyanyweza okukkiriza kwe.

Okufumiitiriza ku bitonde kyayamba Abbeeri okukimanya nti Omutonzi ajjudde okwagala

13 Abbeeri ateekwa okuba nga yafumiitirizanga ne ku bintu eby’omwoyo. Mukube akafaananyi ng’ali ku ttale alunda endiga ze. Omulimu gw’okulunda endiga gwali gwetaagisa okutambula ennyo. Abbeeri yatwalanga endiga ze ku nsozi ne mu biwonvu, era yazisomosanga n’emigga ng’anoonya awali amazzi n’omuddo omulungi. Ku nsolo eziri ku nsi, kirabika ng’endiga zo zeetaaga obulagirizi n’obukuumi obw’enjawulo okuva eri abantu. Abbeeri naye yandiba nga yakiraba nti yali yeetaaga obulagirizi n’obukuumi okuva eri oyo asinga abantu bonna amagezi n’amaanyi. Ebintu nga bino alina okuba nga yabirowoozangako nnyo era n’abiteeka mu kusaba, bwe kityo okukkiriza kwe ne kweyongera okunywezebwa.

14, 15. Okufumiitiriza ku ebyo Yakuwa bye yali agambye nti bijja kubaawo kyayamba kitya Abbeeri?

14 Ebisuubizo bya Yakuwa. Adamu ne Kaawa bateekwa okuba nga baabuulira abaana baabwe ensonga eyabaviirako okugobebwa mu lusuku Adeni. Ekyo Abbeeri ateekwa okuba nga yakifumiitirizaako nnyo.

15 Yakuwa yali agambye Adamu ne Kaawa nti ettaka lyali likolimiddwa. Abbeeri yali akiraba nti ebigambo ebyo byali bituukiridde, kubanga amaggwa n’amatovu yali abiraba. Yakuwa era yali agambye nti Kaawa yandifunye obulumi bungi nnyo ng’azaala, era Kaawa bwe yayongera okuzaala abaana abalala, Abbeeri ateekwa okuba nga yakitegeera nti nnyina yalumwanga nnyo ng’azaala. N’ekirala, Yakuwa yali agambye nti Kaawa yandibadde ayaayaanira nnyo okwagalibwa omwami we, era nti Adamu yandibadde afuga mukazi we. Ebyo nabyo Abbeeri yabiraba. Byonna Yakuwa bye yayogera byatuukirira. Bwe kityo Abbeeri yalina bingi ebyamuyamba okukkiririza mu kisuubizo kya Yakuwa ekikwata ku ‘zzadde’ eryanditereezezza ebyo byonna ebyasoba mu Adeni.Lub. 3:15-19.

16, 17. Kiki Abbeeri ky’ayinza okuba nga yayigira ku bakerubi?

16 Abaweereza ba Yakuwa. Mu bantu abaaliwo mu kiseera ekyo tewaali n’omu yali ateereddewo Abbeeri kyakulabirako kirungi. Wadde kyali kityo, abantu si bye bitonde byokka ebitegeera ebyaliwo ku nsi mu kiseera ekyo. Adamu ne Kaawa bwe baagobebwa mu lusuku, Yakuwa teyaddamu kubakkiriza bo n’abaana baabwe okuyingirayo. Ku mulyango oguyingira mu lusuku yassaawo bakerubi—bamalayika ab’eddaala erya waggulu ennyo—awamu n’ekitala ekyali kyaka omuliro era nga kyetooloola obutasalako.Soma Olubereberye 3:24.

17 Kuba akafaananyi nga Abbeeri akyali mulenzi muto ng’aliko w’ayimiridde ng’atunuulira bakerubi. Bakerubi abo baali balina emibiri abantu gye baali basobola okulaba, era Abbeeri ateekwa okuba nga yali akiraba nti baali ba maanyi nnyo. Ate era ‘n’ekitala’ ekyo ekyali kyaka omuliro era nga kyetooloola obutasalako kiteekwa okuba nga kyamwewuunyisanga nnyo. Naye waliwo akaseera konna Abbeeri lwe yalabako nga bakerubi abo bavuddewo awo oba nga beetamiddwa okukuuma ku mulyango ogwali guyingira mu Adeni? Nedda. Bakerubi abo tebaasegukangawo awo emisana n’ekiro, mwaka ku mwaka, okumalira ddala emyaka mingi. Ekyo kyayamba Abbeeri okukitegeera nti Yakuwa Katonda yalinayo abaweereza be abeesigwa. Yali akiraba nti bakerubi abo baali bawulize okusinga omuntu omulala yenna ku nsi. Ekyo kiteekwa okuba nga nakyo kyanyweza nnyo okukkiriza kwe.

Ekiseera kyonna Abbeeri kye yamala ku nsi, yakiraba nti bakerubi baali bawulize eri Yakuwa

18. Biki ebisobola okutuyamba okunyweza okukkiriza kwaffe?

18 Okufumiitiriza ku bitonde bya Yakuwa, ne ku bisuubizo bye, era ne ku kyokulabirako bamalayika kye bassaawo, kyayamba Abbeeri okweyongera okumanya Yakuwa, era n’okunyweza okukkiriza kwe. Mazima ddala tulina bingi bye tuyigira ku Abbeeri! Naddala abavubuka, kibazzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti basobola okuba n’okukkiriza okw’amaanyi wadde ng’abantu abalala be babeera nabo tebassaawo kyakulabirako kirungi. Leero tulina bingi ebisobola okutuyamba okunyweza okukkiriza kwaffe: ebintu Yakuwa bye yatonda, Bayibuli, era n’abaweereza ba Yakuwa bangi abooleka okukkiriza okw’amaanyi be tusobola okukoppa.

Ensonga Lwaki Ekiweebwayo kya Abbeeri Kyasinga Ekya Kayini

19. Kintu ki ekikulu ennyo Abbeeri kye yategeera?

19 Okukkiriza kwa Abbeeri bwe kwagenda kweyongera, yayagala nnyo akwoleke mu bikolwa. Naye waaliwo ekintu kyonna omuntu obuntu kye yali asobola okuwa Omutonzi w’ebintu byonna? Kya lwatu nti Katonda yali talina kye yeetaaga kuva eri bantu. Kyokka Abbeeri yamala n’ategeera ekintu ekikulu ennyo, nti Yakuwa yandisanyuse nnyo singa amuwa ekisingayo obulungi mu bye yalina, era ng’akikola n’ekigendererwa ekituufu.

Abbeeri ekiweebwayo kye yakiwaayo lwa kukkiriza; Kayini teyayoleka kukkiriza

20, 21. Kayini ne Abbeeri baawaayo biweebwayo ki eri Yakuwa, era Yakuwa yawulira atya?

20 Abbeeri yasalawo okuwaayo eri Yakuwa endiga okuva mu kisibo kye. Yalondamu endiga ezaali zisinga obulungi, embereberye, n’awaayo eri Yakuwa ebitundu ebyali bisinga obulungi. Ne Kayini naye yayagala okufuna emikisa gya Yakuwa, era bw’atyo yasalawo okuwaayo ebimu ku birime bye. Naye ekigendererwa kye yalina mu kuwaayo ekiweebwayo ekyo tekyali ng’ekya Abbeeri, era enjawulo eyo yeeyoleka nga bawaayo ebiweebwayo byabwe.

21 Batabani ba Adamu abo bombi bayinza okuba ng’ebiweebwayo byabwe baabiteeka ku byoto era ne babikoleezaako omuliro. Era bayinza okuba ng’oboolyawo baabiweerayo mu kifo bakerubi we baali basobola okubalabira. Bakerubi bye bitonde byokka ebyali bikiikirira Yakuwa ku nsi mu kiseera ekyo. Yakuwa yakolawo ki? Bayibuli egamba nti: ‘Yakuwa yasiima Abbeeri era n’akkiriza ekiweebwayo kye.’ (Lub. 4:4, NW) Bayibuli tetubuulira ngeri Katonda gye yakyolekamu nti yali asiimye ekiweebwayo kya Abbeeri.

22, 23. Lwaki Yakuwa yasiima ekiweebwayo kya Abbeeri?

22 Lwaki Yakuwa yasiima ekiweebwayo kya Abbeeri naye n’atasiima kya Kayini? Abbeeri yawaayo ekiweebwayo eky’ensolo ennamu, n’ayiwa omusaayi gwayo. Oboolyawo Abbeeri yakitegeera nti ekiweebwayo ng’ekyo kyandibadde kya muwendo nnyo mu maaso ga Yakuwa. Nga wayiseewo ebikumi n’ebikumi by’emyaka, Katonda yagamba abaana ba Isirayiri okuwaayo omwana gw’endiga ogutaliiko kamogo. Ssaddaaka eyo yali esonga ku ssaddaaka y’omwana we eyali atuukiridde, “omwana gw’endiga owa Katonda,” eyali agenda okuwaayo omusaayi gwe ogutaaliko musango. (Yok. 1:29; Kuv. 12:5-7) Mazima ddala ebyo byonna Abbeeri yali tabimanyi.

23 Naye Abbeeri yawaayo ekyo ekyali kisingayo okuba eky’omuwendo mu bye yalina. Yawaayo ekiweebwayo kye eri Yakuwa olw’okuba yali amwagala era olw’okuba yalina okukkiriza, era eyo ye nsonga lwaki Yakuwa yamusiima era n’asiima n’ekiweebwayo kye.

24. (a) Lwaki tuyinza okugamba nti ekiweebwayo kya Kayini ku bwakyo tekyaliko buzibu? (b) Mu ngeri ki Kayini gye yali ng’abantu bangi leero?

24 Bayibuli eraga nti Yakuwa ‘teyasiima Kayini era teyasiima kiweebwayo kye.’ (Lub. 4:5, NW) Ekiweebwayo kya Kayini ku bwakyo tekyaliko buzibu, kubanga oluvannyuma Amateeka ga Katonda gakkiriza abantu okuwaayo ebiweebwayo eby’emmere. (Leev. 6:14, 15) Naye Bayibuli egamba nti “ebikolwa bye byali bibi.” (Soma 1 Yokaana 3:12.) Okufaananako abantu bangi leero, Kayini yalowooza nti okulabika obulabisi nti atya Katonda kyali kimala. Kyokka waayita ekiseera kitono, ebikolwa bye ne bikyoleka bulungi nti teyalina kukkiriza kwa namaddala, era nti yali tayagala Yakuwa.

25, 26. Yakuwa yalabula atya Kayini, naye Kayini ye yakola ki?

25 Kayini bwe yakiraba nti yali tasanyusizza Yakuwa, yagezaako okukyusaamu abe nga Abbeeri? Nedda; mu kifo ky’ekyo Kayini yakyawa bukyayi muganda we. Yakuwa yalaba ekyali mu mutima gwa Kayini era n’agezaako okumuyamba. Yamugamba nti ekkubo lye yali akutte lyali ligenda kumuleetera okwonoona, era nti bwe yandikyusizza amakubo ge ‘yandisiimiddwa.’Lub. 4:6, 7.

26 Kayini teyawuliriza Katonda bye yamugamba. Yagamba muganda we nti amuwerekereko ku ttale era bwe baatuuka eyo n’amutta. (Lub. 4:8) Tuyinza okugamba nti Abbeeri ye muntu eyasooka okuttibwa olw’okukkiriza kwe. Naye wadde yali afudde, ebibye byali tebikomye awo.

27. (a) Lwaki tuyinza okuba abakakafu nti Abbeeri ajja kuzuukizibwa? (b) Tusaanidde kukola ki bwe tuba twagala okulaba Abbeeri mu nsi empya?

27 Mu ngeri ey’akabonero, omusaayi gwa Abbeeri gwakaabirira Yakuwa awoolere eggwanga, era Yakuwa yabonereza Kayini olw’ekyo kye yali akoze. (Lub. 4:9-12) Bye tusoma ku Abbeeri birina kye bituyigiriza. Abbeeri teyawangaala nnyo ng’abantu b’omu kiseera ekyo, kubanga yafa ng’oboolyawo alina emyaka nga kikumi gyokka. Kyokka ekiseera kye yamala nga mulamu yakikozesa okusanyusa Yakuwa. Yafa ng’akimanyi nti Kitaawe ow’omu ggulu, Yakuwa, yali amwagala nnyo era nti yali asiima bye yali akola. (Beb. 11:4) Tuli bakakafu nti Yakuwa amujjukira, era nti ajja kumuzuukiza mu nsi empya. (Yok. 5:28, 29) Naawe olibaayo n’olaba Abbeeri? Kijja kusoboka singa onoofuba okuwuliriza by’akugamba era n’oyoleka okukkiriza okulinga okukwe.

^ lup. 5 Ebigambo “ku ntandikwa y’ensi” birina amakulu ag’okusiga ensigo, oba okuzaala, n’olwekyo birina akakwate n’abaana b’abantu abaasookera ddala. Naye lwaki Yesu yakwataganya Abbeeri ‘n’entandikwa y’ensi,’ so si Kayini, ate nga Kayini ye mwana Adamu ne Kaawa gwe baasooka okuzaala? Ebintu Kayini bye yakola byalaga nti yajeemera Yakuwa Katonda mu bugenderevu. Okufaananako bazadde be, kirabika Kayini naye tali mu abo abanaazuukizibwa ne banunulwa.