ESSUULA EY’OMUKAAGA
Yategeeza Katonda Ebyamuli ku Mutima
1, 2. (a) Lwaki Kaana teyali musanyufu nga yeeteekerateekera olugendo? (b) Ebyo bye tusoma ku Kaana bituyigiriza ki?
KAANA yagezaako nnyo obutalowooza ku bizibu bye bwe yali yeeteekerateekera olugendo. Ekiseera ekyo kyandibadde kiseera kya ssanyu; Erukaana bbaawe yagendanga n’ab’omu maka ge bonna e Siiro okusinza ku weema entukuvu. Yakuwa yali ayagala abantu be babe basanyufu nga bagenze mu kifo ekyo. (Soma Ekyamateeka 16:15.) Okuviira ddala mu buto bwe, Kaana ateekwa okuba nga yanyumirwanga nnyo okugenda ku mbaga ezo, naye kati yali takyazesunga.
2 Omwami we yali amwagala nnyo. Kyokka Erukaana yalina omukazi omulala eyali ayitibwa Penina, era Penina yakijjanyanga nnyo Kaana. Ne bwe baabanga bagenze ku mbaga ezo, Penina yakolanga ebintu ebirumya Kaana. Ekyo yakikolanga atya? N’ekisinga obukulu, ye Kaana okukkiriza kwamuyamba kutya mu mbeera eyo eyali enzibu ennyo? Bw’oba olina ebizibu ebikumalako essanyu, bye tusoma ku Kaana biyinza okukuzzaamu amaanyi.
“Omutima Gwo Kiki Ekigweraliikiriza?”
3, 4. Bizibu ki eby’amaanyi ebibiri Kaana bye yalina, era lwaki byombi tebyali byangu kugumira?
3 Bayibuli eyogera ku bizibu eby’amaanyi bibiri Kaana bye yalina. Ekisooka yalina muggya we, era nga muggya we oyo yali amuwalana. N’eky’okubiri yali mugumba. Okuba omugumba kiba kizibu kya maanyi nnyo eri omukazi yenna ayagala okuzaala; kyokka mu biseera ebyo ekizibu ekyo tekyabanga kyangu kugumira. Omwami n’omukyala bwe baazaalanga abaana, baamanyanga nti erinnya lyabwe terigenda kusaanawo. Omukazi obutazaala kyabanga kya buswavu era nga kireeta ekivume ku muntu.
4 Oboolyawo Kaana yandisobodde okugumira embeera eyo singa muggya we Penina yali tamucocca. Amaka omwabanga abakazi ababiri oba n’abasingawo, gaabangamu ebizibu bingi, gamba ng’okuvuganya, okuyomba, n’ebirala. Obufumbo ng’obwo bwali bwa njawulo nnyo ku obwo Katonda bwe yatandikawo mu lusuku Lub. 2:24) Wano Bayibuli eba ekiraga bulungi nti obufumbo omuli omukazi asukka mu omu tebuba bwangu, era ng’eyo ye mbeera eyaliwo mu maka ga Erukaana.
Adeni ng’omusajja alina kuwasa mukazi omu. (5. Kiki Penina kye yakolanga Kaana era lwaki?
5 Erukaana yali asinga kwagala Kaana. Abayudaaya bagamba nti Kaana gwe yasooka okuwasa, era nti Penina yamuwasa wayiseewo emyaka egiwerako. Penina yalina obuggya bungi, era alina ebintu bingi bye yakolanga okulumya Kaana. Yalina abaana bangi era ekyo kyamuleetera okuwulira nti wa kitalo. Mu kifo ky’okulumirwa munne eyali omugumba n’okumubudaabuda, y’ate yakolanga byongera kumumalako mirembe. Bayibuli egamba nti Penina yakolanga ebinyiiza Kaana ng’ayagala “okumunakuwaza.” (1 Sam. 1:6, NW) Ebyo byonna Penina bye yakola yabikolanga mu bugenderevu, ng’ekiruubirirwa kya kulumya Kaana.
6, 7. (a) Wadde nga Erukaana yafubanga okubudaabuda Kaana, nsonga ki eziyinza okuba nga ze zaaleetera Kaana obutamubuulira ebyo muggya we bye yali amukola? (b) Eky’okuba nti Kaana yali mugumba kitegeeza nti Yakuwa yali amubonereza? Nnyonnyola. (Laba obugambo obuli wansi.)
6 Kirabika Penina yasinganga kulumya Kaana bwe baabanga bagenze e Siiro. Nga bali eyo, Erukaana yatoolanga ku biweebwayo ebyabanga biweereddwayo eri Yakuwa n’awa ‘batabani ba Penina bonna ne bawala be’ emigabo. Kaana ataalina mwana yafunanga mugabo gwe gwokka. Mu kiseera ekyo Penina yakolanga ebyaleeteranga Kaana okujjukira ennaku ye ey’obutazaala, era Kaana yakaabanga n’atuuka n’okulemwa okulya. Erukaana bwe yakiraba nti Kaana yali munakuwavu era nga talya, yagezaako okumubudaabuda, n’amubuuza nti: “Kaana okaabira ki? Kiki ekikulobera okulya? N’omutima gwo kiki ekigweraliikiriza? Nze sisinga baana kkumi gy’oli obulungi?”
7 Ekirungi, Erukaana yakitegeera nti ekyali kinakuwaza Kaana bwali butazaala. Yamugumyanga, era ekyo kiteekwa okuba nga kyamuzzangamu nnyo amaanyi. * Ebintu ebibi Penina bye yakolanga Kaana, Erukaana teyabyogerako era Bayibuli tetubuulira obanga Kaana ekizibu kino yakimubuulirako. Oboolyawo Kaana yakiraba nti okubuulira bba ebyo Penina bye yali amukola kyandyogedde kukalubya mbeera. Ddala Erukaana yali alina ky’asobola okukolawo? Kaana okubuulira Erukaana tekyandireetedde Penina kumuyisa bubi n’okusingawo, era abaana ba Penina awamu n’abaweereza be nabo tebandimwegasseeko mu kucocca Kaana? Ekizibu kye tekyandivuddewo, wabula yandyeyongedde bweyongezi kuwulira nti talina mirembe mu maka ge.
Kaana bwe yayisibwa obubi yasaba Yakuwa amuyambe
8. Omuntu bw’akukola ebintu ebyoleka obuggya oba obukyayi, lwaki kizzaamu amaanyi okukimanya nti Yakuwa Katonda wa bwenkanya?
8 Ka kibe nti Erukaana yamanya ebyo Penina bye yali akola Kaana oba nedda, Yakuwa Katonda yali abiraba. Ekigambo kye kiraga nti byonna yali abiraba, era kino kyandibadde kya kuyiga eri abo abakola bannaabwe ebintu ebyoleka obuggya oba obukyayi, ne bwe biba birabika ng’ebitali bya maanyi. Ku luuyi olulala, abantu abalinga Kaana, ab’emirembe era abayisibwa obubi awatali nsonga, baddamu nnyo amaanyi bwe bakimanya nti ekiseera kituuka Katonda ow’obwenkanya n’abaako ky’akolawo. (Soma Ekyamateeka 32:4.) Oboolyawo ekyo Kaana yali akimanyi, era ng’eyo ye nsonga lwaki yasaba Yakuwa amuyambe.
‘Teyaddamu Kunakuwala’
9. Eky’okuba nti Kaana yagenda e Siiro wadde nga yali amanyi muggya we bwe yandyeyisizza kituyigiriza ki?
9 Ku makya, ab’omu maka ga Erukaana baali mu keetalo. Bonna, nga mw’otwalidde n’abaana, baali beetegekera lugendo. Okuva e Laama gye baali babeera okutuuka e Siiro gye baali balaga, baali bagenda kutambula olugendo olusukka mu mayiro 20. * Olugendo olwo omuntu yalutambuliranga olunaku lumu oba bbiri. Kaana yali amanyi muggya we bwe yandyeyisizza, kyokka teyasigala waka. Kaana yateerawo abaweereza ba Katonda bonna ekyokulabirako ekirungi. Tekiba kya magezi kukkiriza nneeyisa y’abalala embi okutulemesa okusinza Katonda. Singa tulekera awo okusinza Katonda, tetujja kufuna buyambi bwe twetaaga okusobola okugumira embeera enzibu ze tuba twolekaganye nazo.
10, 11. (a) Lwaki Kaana yagenda mangu ku weema entukuvu? (b) Kaana yategeeza atya Yakuwa ebyamuli ku mutima?
10 Erukaana n’ab’omu maka ge baali batambudde olunaku lwonna nga bayita mu nsozi, era kaakano baali banaatera okutuuka e Siiro. Akabuga Siiro kaali ku kasozi, era kaali keetooloddwa obusozi obulala. Mu kiseera ekyo, Kaana ateekwa okuba nga yali alowooza nnyo ku ebyo bye yali agenda okutegeeza Yakuwa mu kusaba. Bwe baatuuka, bonna baaliira wamu emmere, naye Kaana yavaawo mangu n’agenda ku weema ya Yakuwa entukuvu. Eli Kabona Asinga
Obukulu yali atudde ku mulyango, naye Kaana teyamulaba, kubanga ebirowoozo bye byonna byali ku Katonda we. Yali mukakafu nti essaala gye yandisabidde awo ku weema entukuvu yandiwuliddwa. Ka kibe nti tewaaliwo ategeera kizibu kye mu bujjuvu, Kitaawe ow’omu ggulu ye yali akitegeera. Kaana ennaku yamuyitirirako n’atandika okukaaba.11 Kaana yayogera ne Yakuwa mu mutima gwe ng’eno bw’asikondoka, era emimwa gye gyali gikankana. Yatwala akaseera akawerera ddala ng’ayogera ne Kitaawe ow’omu ggulu, ng’amubuulira ennaku eyamuli ku mutima. Kyokka wadde nga Kaana yali asaba Katonda amuwe omwana, naye yali ayagala abeeko ky’amuwa. Bw’atyo yeeyama nti bwe yandizadde omwana ow’obulenzi yandimuwaddeyo aweereze Yakuwa obulamu bwe bwonna.
12. Okusinziira ku ebyo bye tusoma ku Kaana, kiki kye tusaanidde okujjukira ku bikwata ku kusaba?
12 Kaana yateerawo abaweereza ba Yakuwa bonna ekyokulabirako ekirungi ku bikwata ku kusaba. Yakuwa ayagala abantu be bamutegeeze byonna ebibali ku mutima, ng’omwana bw’ategeeza muzadde we ebimuli ku mutima. (Soma Zabbuli 62:8; 1 Abassessaloniika 5:17.) Omutume Peetero yaluŋŋamizibwa okuwandiika ebigambo bino ebitukubiriza okusaba: ‘Mumukwase byonna ebibeeraliikiriza, kubanga abafaako.’
13, 14. (a) Ndowooza ki enkyamu Eli gye yalina ku Kaana? (b) Kaana yatuteerawo kyakulabirako ki mu ngeri gye yaddamu Eli?
13 Obutafaananako Yakuwa atulumirirwa, abantu bayinza obutatukwatirwa kisa oba obutategeera bulungi ngeri gye twewuliramu. Kaana bwe yali asaba nga bw’akaaba, yawulira eddoboozi ly’omuntu. Eddoboozi eryo lyali lya Eli kabona asinga obukulu eyali okumpi awo ng’amutunuulidde. Yamugamba nti: “Olituusa wa okutamiiranga? Weggyeeko omwenge gwo.” Eli yali amulabye ng’akankana emimwa, ng’asikondoka, era nga yenna ali awo tategeerekeka. Naye mu kifo ky’okumubuuza kye yali abadde, ye yakitwala nti yali atamidde.
14 Nga kiteekwa okuba nga kyaluma nnyo Kaana okuwulira ebigambo ebifaanana bwe bityo, ate nga biva mu muntu eyalina ekifo eky’obuvunaanyizibwa! Kyokka ne mu mbeera eno Kaana yalaga okukkiriza okw’amaanyi, bw’atyo n’atuteerawo ekyokulabirako ekirungi ennyo. Teyakkiriza butali butuukirivu bwa muntu mulala kumulemesa kusinza Yakuwa. Yaddamu Eli n’obuwombeefu era n’amunnyonnyola ekizibu kye. Eli yategeera ensobi ye era n’amugamba nti: “Genda mirembe: era Katonda wa Isiraeri akuwe ebyo by’omusabye.”
15, 16. (a) Kaana yawulira atya bwe yagenda ku weema entukuvu n’asinza Yakuwa era n’amutegeeza ebyamuli ku mutima? (b) Tuyinza tutya okukoppa Kaana nga tulina ebitweraliikiriza?
1 Sam. 1:18, NW) Mu The Jerusalem Bible olunyiriri olwo lusoma nti: “Teyaddamu kuba munyiikaavu.” Kaana yafuna obuweerero. Yali ng’eyali yeetikkudde omugugu gwe n’agussa ku Kitaawe ow’omu ggulu alina amaanyi agatenkanika. (Soma Zabbuli 55:22.) Waliwo ekizibu kyonna ekiyinza okumulema okugonjoola? Nedda
16 Bwe tuba mu nnaku oba ng’ebizibu bituyitiriddeko, tusaanidde tukole nga Kaana, ebitweraliikiriza byonna tubitegeeze Oyo Bayibuli gw’eyita “Awulira okusaba.” (Zab. 65:2) Bwe tumusaba nga tuli bakakafu nti ajja kutuyamba, naffe tujja kufuna “emirembe gya Katonda egisingira ewala ebirowoozo byonna.”
“Tewali Lwazi Oluliŋŋanga Katonda Waffe”
17, 18. (a) Erukaana yalaga atya nti yali awagira mukyala we mu ekyo kye yali yeeyamye? (b) Kiki Penina kye yali takyayinza kukola Kaana?
17 Enkeera Kaana yaddayo ku weema entukuvu ne Erukaana. Ateekwa okuba nga yali amubuulidde kye yali yeeyamye, kubanga Amateeka ga Musa gaali gagamba nti omusajja yali asobola okusazaamu obweyamo mukazi we bwe yabanga akoze. (Kubal. 30:10-15) Naye omusajja oyo omwesigwa teyabusazaamu, wabula ye ne Kaana baasinza Yakuwa ku weema entukuvu ne balyoka baddayo ewaabwe.
18 Ddi Penina lwe yakitegeera nti bye yali akola byali tebikyalumya Kaana? Bayibuli tetubuulira, naye ebigambo nti Kaana ‘teyaddamu kunakuwala’ biraga nti okuva mu kiseera ekyo Kaana yali musanyufu. Penina yalwaddaaki n’akiraba nti eby’ettima bye yali akola Kaana byali tebikyamulumya. Okuva awo Bayibuli teddamu kumwogerako.
19. Kiki Kaana kye yategeera oluvannyuma lw’ekiseera, era bwe yazaala omwana yakiraga atya nti teyeerabira ngeri gye yali amufunyeemu?
19 Emyezi bwe gyagenda giyitawo, Kaana yakitegeera nti ali lubuto, era essanyu lye ne lyeyongerera ddala. Kyokka teyeerabira nti Yakuwa ye yamusobozesa okufuna olubuto olwo. Bwe yazaala omwana, yamutuuma erinnya Samwiri, eritegeeza nti “Erinnya lya Katonda,” era nga kirabika lirina amakulu ag’okukoowoola erinnya lya Katonda nga bwe yakola. Omwaka ogwo Erukaana n’ab’omu maka ge bwe baali bagenda e Siiro, Kaana teyagenda nabo. Yasigala waka n’omwana okutuusa lwe yamuggya ku mabeere ng’awezezza emyaka ng’esatu. Kaana bwe yaggya omwana oyo ku mabeere, yatandika
okwetegekera olunaku lwe yandimuwaddeyo.20. Kaana ne Erukaana baatuukiriza batya obweyamo bwe baali bakoze eri Yakuwa?
20 Kaana ateekwa okuba nga tekyamubeerera kyangu kuleka mwana we e Siiro. Kyo kituufu yali akimanyi nti Samwiri yandirabiriddwa bulungi, era oboolyawo abamu ku bakazi abaaweerezanga ku weema entukuvu be bandibadde bamulabirira. Naye Samwiri yali akyali muto nnyo, era tewali muzadde yandyagadde kwawukana na mwana we ng’akyali muto bw’atyo. Kyokka Kaana ne Erukaana baatwala Samwiri e Siiro awatali kuwalirizibwa kwonna. Baawaayo ssaddaaka nga bali eyo ku nnyumba ya Katonda, Samwiri ne bamukwasa Eli, era ne bajjukiza Eli obweyamo Kaana bwe yali akoledde eyo.
21. Essaala Kaana gye yasaba eraga etya nti yalina okukkiriza okw’amaanyi? (Laba n’akasanduuko “ Essaala Ebbiri Ennungi Ennyo.”)
21 Nga bali eyo Kaana yasaba, era essaala ye Katonda yalaba nti esaanira okuteekebwa mu Kigambo kye ekyaluŋŋamizibwa. Bw’osoma ebigambo bye ebiri mu 1 Samwiri 2:1-10 osobola okukiraba nti bye yayogera byonna byayoleka okukkiriza okw’amaanyi kwe yalina. Yatendereza Yakuwa olw’engeri gy’akozesaamu amaanyi ge okutoowaza ab’amalala, okuwa abanyigirizibwa emikisa, n’okusaanyaawo abantu oba okubanunula mu kufa. Yatendereza Kitaawe ow’omu ggulu olw’obutukuvu bwe, olw’obwenkanya bwe, n’olw’obwesigwa bwe. Kaana yali mutuufu okugamba nti: “Tewali lwazi oluliŋŋanga Katonda waffe.” Yakuwa yeesigika, takyuka, era kiddukiro eri abo bonna abanyigirizibwa era abamweyuna.
22, 23. (a) Lwaki tuyinza okugamba nti Samwiri yali akimanyi nti bazadde be baali bamwagala? (b) Mikisa ki emirala Yakuwa gye yawa Kaana?
22 Nga Samwiri yali wa mukisa okuba ne maama eyali ayagala ennyo Yakuwa. Wadde nga Samwiri yali tabeera na 1 Samwiri 2:19.) Kuba akafaananyi ng’amwambaza ekizibaawo ekyo, ng’eno bw’amugamba ebigambo ebimuzzaamu amaanyi. Mazima ddala Samwiri yali wa mukisa okuba ne maama alinga oyo, era bwe yakula yaleetera bazadde be awamu n’eggwanga lye essanyu.
maama we, yali mukakafu nti yali amwagala nnyo. Buli mwaka Kaana yagendanga e Siiro n’amutwalira ekizibaawo kye yayambalanga ng’aweereza ku weema entukuvu. Kaana kennyini ye yatunganga ekizibaawo ekyo. (Soma23 Yakuwa teyeerabira Kaana. Yamuwa omukisa n’azaalira Erukaana abaana abalala bataano. (1 Sam. 2:21) Naye omukisa ogusinga gyonna Kaana gye yafuna ye nkolagana ey’oku lusegere gye yalina ne Yakuwa, Kitaawe ow’omu ggulu, era ng’enkolagana eyo yeeyongera okunywera emyaka bwe gyagenda giyitawo. Fuba okukoppa okukkiriza kwa Kaana, naawe Yakuwa akuwe emikisa.
^ lup. 7 Wadde nga Bayibuli egamba nti Yakuwa “yali amufudde mugumba,” tewali kintu kyonna kiraga nti Katonda yali abonereza omukazi oyo eyali omwetoowaze era omwesigwa. (1 Sam. 1:5, NW) Oluusi Bayibuli egamba nti Katonda akoze ekintu, so ng’aba akirese bulesi ne kibaawo okumala ekiseera.
^ lup. 9 Kirabika akabuga Laama Erukaana mwe yabeeranga kaali kayitibwa Alimasaya mu kiseera kya Yesu, era ekyo kye kisinziirwako okugamba nti olugendo olwo lwali lusukka mu mayiro 20.