ESSUULA EY’OMUNAANA
Teyaggwamu Maanyi Wadde ne mu Mbeera Enzibu
1. Lwaki abantu b’omu Siiro baali mu maziga?
SAMWIRI ateekwa okuba nga naye yali munakuwavu nnyo. Kumpi buli omu mu Siiro yali mu maziga. Tetumanyi mayumba ameka agaalimu abakazi n’abaana abaali bakuba ebiwoobe olw’okufiirwa bakitaabwe, babbaabwe, batabani baabwe, ne bannyinaabwe. Kye tumanyi kiri nti Abafirisuuti baali basse abasirikale ba Isiraeri 30,000, ng’ate baali baakamala okutta abasajja 4,000.
2, 3. Bizibu ki eby’omuddiriŋŋanwa ebyagwa mu Siiro?
2 Ekyo kye kimu ku bizibu eby’omuddiriŋŋanwa ebyagwa mu Siiro. Kofuni ne Finekaasi, batabani ba Eli Kabona Asinga Obukulu, baali batutte essanduuko y’endagaano mu lutalo. Essanduuko eyo eyabeeranga mu watukuvu ennyo mu weema kaali kabonero akaali kalaga nti Yakuwa yali wamu n’abantu be. Abantu baalowooza nti Essanduuko yandibasobozesezza okuwangula olutalo. Naye Abafirisuuti baagiwamba era ne batta ne Kofuni ne Finekaasi.
3 Ssanduuko eyo yali ebadde mu weema entukuvu mu Siiro okumala emyaka mingi ddala. Kyokka kati yali ewambiddwa. Olwakiwulira, Eli eyali ow’emyaka 98 n’ava ku ntebe kwe yali atudde n’agwa wansi n’afa. Mukaamwana we eyali afiiriddwa bba ku olwo, naye yafa ng’azaala. Bwe yali afa, yagamba nti: ‘Ekitiibwa kivudde ku Isiraeri ne kigenda mu buwaŋŋanguse.’ Mazima ddala, ekitiibwa kya Siiro kyali kigendedde ddala.
4. Biki bye tugenda okulaba mu ssuula eno?
4 Kiki ekyandiyambye Samwiri okugumira embeera eyo enzibu? Okukkiriza kwe kwali kunywevu ekimala okusobola okuyamba abantu abaali batakyalina bukuumi bwa Yakuwa wadde emikisa gye? Ffenna oluusi tufuna ebizibu ebigezesa okukkiriza kwaffe, n’olwekyo ka tulabe kye tusobola okuyigira ku Samwiri.
‘Yakola eby’Obutuukirivu’
5, 6. Kiki Bayibuli ky’eyogera ku kiseera eky’emyaka 20, era Samwiri yali akola ki mu kiseera ekyo?
5 Omuwandiisi asooka n’aleka okutubuulira ebifa ku Samwiri, n’attottola ebyatuuka ku Ssanduuko entukuvu. Atutegeeza nti Abafirisuuti baafuna ebizibu bingi nga bagiwambye, era ne kibawaliriza okugizzaayo mu Isiraeri. Bayibuli w’eddiramu okwogera ku Samwiri waba wayise emyaka 20. (1 Sam. 7:2) Yali akola ki mu kiseera ekyo? Bayibuli etubuulira.
6 Ebyawandiikibwa biraga nti ekiseera ekyo eky’emyaka 20 nga tekinnatandika, ‘ekigambo kya Samwiri kyeyongera okujjira Isiraeri yonna.’ (1 Sam. 4:1) Ebyawandiikibwa era bikiraga nti oluvannyuma lw’ebbanga eryo ery’emyaka 20, Samwiri yakyaliranga ebibuga bisatu buli mwaka okuwulira emisango n’okugonjoola ensonga endala, ate oluvannyuma n’addayo mu kabuga k’e Laama gye yabeeranga. (1 Sam. 7:15-17) Samwiri yalina eby’okukola bingi, era awatali kubuusabuusa bwe kityo bwe kyali ne mu kiseera ekyo eky’emyaka 20.
Wadde nga Bayibuli tetubuulira Samwiri bye yali akola mu bbanga ery’emyaka 20, tuyinza okuba abakakafu nti mu myaka egyo yali aweereza Yakuwa n’obunyiikivu
7, 8. (a) Kiki Samwiri kye yagamba Abaisiraeri oluvannyuma lw’emyaka 20 gye yamala ng’afuba okubayamba mu by’omwoyo? (b) Abantu baakola ki?
7 Ebintu ebibi batabani ba Eli bye baakolanga byaleetera okukkiriza kw’abantu okunafuwa, era bangi baatandika okusinza ebifaananyi. Oluvannyuma lw’emyaka egyo 20, Samwiri gye yamala ng’afuba okuyamba Abaisiraeri mu by’omwoyo, yabagamba nti: “Oba nga mukomawo eri Mukama n’omutima gwammwe gwonna, kale muggyeewo bakatonda abagenyi ne Baasutaloosi bave mu mmwe, muteekereteekere Mukama emitima gyammwe, mumuweereze yekka: naye alibalokola mu mukono gw’Abafirisuuti.”
8 Abafirisuuti baali bakijjanya nnyo Abaisiraeri. Baali bafufugazza eggye ly’Abaisiraeri, era nga bawulira nti basobola okubakola kyonna kye baagala nga tewali abakuba ku mukono. Kyokka Samwiri yagamba Abaisiraeri nti bwe bandikomyewo eri Yakuwa embeera yandikyuse. Ekyo baakikola? Yee, baakikola. Baalekayo ebifaananyi byabwe ‘ne baweereza Yakuwa yekka,’ era ekyo kiteekwa okuba nga kyasanyusa nnyo Samwiri. Samwiri yagamba abantu bakuŋŋaanire e Mizupa, akabuga akaali mu kitundu eky’ensozi, ebukiikakkono wa Yerusaalemi. Abantu baagenda e Mizupa, ne
Abafirisuuti bwe baakitegeera nti abantu ba Yakuwa baali bakuŋŋaanidde e Mizupa, baakozesa akakisa ako okubalumba
9. Abafirisuuti baakola ki bwe baakitegeera nti Abaisiraeri baali bakuŋŋaanidde e Mizupa, era Abaisiraeri baakola ki?
9 Abafirisuuti bwe baakitegeera nti Abaisiraeri baali bakuŋŋaanidde e Mizupa, ne bakozesa akakisa ako babalumbe. Baasindika eggye lyabwe ligende lisaanyeewo abantu ba Yakuwa. Ekyo kyatiisa nnyo Abaisiraeri, era ne basaba Samwiri akoowoole Yakuwa abayambe. Samwiri yakoowoola Yakuwa era n’awaayo ne ssaddaaka. Eggye ly’Abafirisuuti lyatuuka awaayo ssaddaaka eyo. Mu kiseera ekyo Yakuwa yaddamu okusaba kwe. Yakuwa yayoleka obusungu bwe, “n’abwatuka okubwatuka okunene ku lunaku olwo ku Bafirisuuti,” ne babuna emiwabo.
10, 11. (a) Lwaki tuyinza okugamba nti okubwatuka Yakuwa kwe yaleeta ku ggye ly’Abafirisuuti tekwali kwa bulijjo? (b) Biki ebyava mu lutalo olwatandikira e Mizupa?
10 Naye tugambe nti Abafirisuuti abo baalinga baana bato abaddukira eri bamaama baabwe nga bawulidde eggulu eribwatuka? Nedda; bano baali basajja bazira. N’olwekyo eggulu eryo liteekwa okuba nga lyabwatuka mu ngeri etali ya bulijjo. “Okubwatuka” okwo kwandiba nga kwali kwa maanyi nnyo ekiyitiridde? Bandiba nga baakuwulira kuva ku ggulu okutaali bire, oba nga kuva mu nsozi? Ekituufu tetukimanyi, naye kye tumanyi kiri nti kwabatiisa nnyo. Abaali bazze okulumba ate kati be baali badduka. Abaisiraeri baava mu Mizupa ne babawondera okutuukira ddala e Besukari ekyali ebukiikaddyo wa Yerusaalemi.
11 Okuva ku lutalo olwo Abafirisuuti tebaddayo kulumba Baisiraeri ekiseera kyonna Samwiri kye yamala ng’alamula Isiraeri. Ebibuga byonna Abafirisuuti bye baali baawamba byakomawo mu mikono gy’Abaisiraeri.
12. Bayibuli eba etegeeza ki bw’egamba nti Samwiri ‘yakola eby’obutuukirivu,’ era kiki ekyamuyamba okukola bw’atyo?
12 Nga wayise ebyasa bingi, omutume Pawulo yamenya amannya g’abo ‘abaakola eby’obutuukirivu,’ era n’erya Samwiri lyalimu. (Beb. 11:32, 33) Samwiri yakola ebirungi mu maaso ga Katonda era n’akubiriza n’abalala okukola kye kimu. Yasobola okukubiriza abalala okukola ebirungi olw’okuba yali mugumiikiriza. Omulimu ogwo yagukola n’obwesigwa wadde nga yayolekagana n’embeera ezaali zisobola okumumalamu amaanyi. Ate era Samwiri yalaganga okusiima olw’ebyo Yakuwa bye yakoleranga abantu be. Abaisiraeri bwe baawangula Abafirisuuti e Mizupa, Samwiri yasimba ejjinja ery’okujjukirirangako engeri Yakuwa gye yali ayambye abantu be.
13. (a) Ngeri ki ze tulina okuba nazo bwe tuba twagala okuba nga Samwiri? (b) Ddi omuntu lw’alina okukulaakulanya engeri ng’eza Samwiri?
13 Naawe oyagala ‘okukola eby’obutuukirivu’? Bwe kiba kityo, koppa Samwiri obe mugumiikiriza, obe muwombeefu, era obeerenga omuntu asiima. (Soma 1 Peetero 5:6.) Ani ku ffe ateetaaga kuba na ngeri ezo? Kyali kirungi nti Samwiri yakulaakulanya engeri ezo ng’akyali muto, kubanga zaamuyamba nnyo okuyita mu bizibu bye yayolekagana nabyo mu bukulu bwe.
“Batabani Bo Tebatambulira mu Makubo Go”
14, 15. (a) Kizibu ki eky’amaanyi Samwiri kye yayolekagana nakyo ‘ng’akaddiye’? (b) Samwiri naye yalinga Eli abaana be bwe baakola ensobi? Nnyonnyola.
14 We tuddiramu okusoma ku Samwiri, ‘aba akaddiye.’ Samwiri yalina batabani be babiri, Yoweeri ne Abiya, be yali awadde obuvunaanyizibwa obw’okumuyambako mu kulamula, naye eky’ennaku abaana be abo tebaakola ekyo kye yali abasuubiramu. Wadde nga ye yakolanga eby’obutuukirivu era nga wa mazima, abaana
15 Lumu abakadde ab’omu Isiraeri baagenda ne beemulugunyiza Samwiri, ne bamugamba nti: “Batabani bo tebatambulira mu makubo go.” (1 Sam. 8:4, 5) Samwiri yali amanyi ebintu batabani be bye baali bakola? Bayibuli tetubuulira. Kyokka obutafaananako Eli, Samwiri ateekwa okuba nga yafuba okugolola batabani be. Yakuwa yanenya Eli era n’amubonereza olw’okulemererwa okugolola abaana be n’olw’okubawa ekitiibwa okusinga Katonda. (1 Sam. 2:27-29) Tetulina we tusoma nti Samwiri yalemererwa okugolola batabani be.
16. Abazadde abalina abaana abajeemu bawulira batya, era ekyokulabirako kya Samwiri kiyinza kitya okubayamba?
16 Bayibuli tetubuulira bulumi na buswavu Samwiri bye yawulira ng’ategedde ebintu ebibi batabani be bye baali bakola, naye abazadde bangi bategeera bulungi obulumi omuntu bw’awulira ng’omwana we akoze ebitasaana. Mu nnaku zino ze tulimu, abaana bangi tebagondera bazadde baabwe. (Soma 2 Timoseewo 3:1-5.) Ebyo bye tusoma ku Samwiri biyinza okuyamba abazadde abalina abaana abajeemu. Samwiri yasigala nga mwesigwa wadde ng’abaana be bo baasalawo okukwata ekkubo ekkyamu. Bwe tufuba okugolola n’okukangavvula abaana baffe kyokka bo ne bagaana okukyusaamu, ekyokulabirako ekirungi kye tussaawo kikyayinza okubayamba. Ate era abazadde abasigala nga beesigwa basanyusa Kitaabwe ow’omu ggulu, Yakuwa Katonda, nga Samwiri bwe yakola.
‘Tuteerewo Kabaka’
17. Kiki abakadde b’omu Isiraeri kye baasaba Samwiri abakolere, era yawulira atya?
17 Ebyo batabani ba Samwiri bye baakola byavaamu ebizibu eby’amaanyi. Abakadde b’omu Isiraeri baagamba Samwiri nti: ‘Tuteerewo kabaka atulamulenga okufaananako amawanga amalala.’ Kino kyaleetera Samwiri okuwulira nti ye gwe baali bataagala abalamule? Ggwe ate oba yali amaze emyaka mingi ng’alamula abantu ba Yakuwa, kyokka kati baali baagala kabaka y’aba abalamula so si nnabbi nga ye. Amawanga agaali gabeetoolodde gaalina bakabaka, era ekyo nabo kye baali baagala. Samwiri yawulira atya? Bayibuli egamba nti: “Ekigambo ekyo kyanyiiza nnyo Samwiri.”
18. Yakuwa yagumya atya Samwiri, era yalaga atya nti ekyo Abaisiraeri kye baali bakoze kyali kibi nnyo?
18 Weetegereze ekyo Yakuwa kye yagamba Samwiri oluvannyuma lwa Samwiri okumutuukirira mu kusaba. Yamugamba nti: “Wulira
19, 20. (a) Yakuwa bwe yagamba Samwiri okufuka amafuta ku Sawulo, yakikola na mutima ki? (b) Samwiri yeeyongera atya okuyamba abantu ba Yakuwa?
19 Yakuwa bwe yagamba Samwiri okufuka amafuta ku Sawulo, yakikola na mutima ki? Yakikola yeeganya? Abantu bangi bwe batyo bwe bandikoze mu mbeera ng’eyo, naye Samwiri si bwe yakola. Yafuka amafuta ku Sawulo era n’agamba abantu nti kabaka oyo Yakuwa gwe yali abateereddewo. Samwiri yanywegera Sawulo okumuyozaayoza era n’okulaga nti yali ajja kumugondera. Yagamba abantu nti: “Mulabye oyo Mukama gw’alonze, nga tewali amwenkana mu bantu bonna?”
20 Mu kifo ky’okutunuulira obunafu bwa Sawulo, Yakuwa gwe yali alonze, Samwiri yatunuulira engeri ennungi ze yalina. Ate ku bikwata ku buweereza bwe, Samwiri yali tafaayo ku ki abantu abo kye baali bamulowoozaako; kye yali afaako ye ngeri gye yali aweerezzaamu Katonda. (1 Sam. 12:1-4) Yatuukiriza bulungi obuvunaanyizibwa bwe, n’alabula abantu ku ebyo ebyandyonoonye enkolagana yaabwe ne Yakuwa, era n’abakubiriza okusigala nga beesigwa eri Yakuwa. Ebigambo bye byabatuuka ku mutima era ne bamusaba abasabire. Yabagamba nti: “Kikafuuwe nze okulekayo okubasabira ne nnyonoona mu maaso ga Yakuwa: nnaabayigirizanga ekkubo eddungi era eggolokofu.”
Ebyo bye tusoma ku Samwiri bitulaga nti tetwandikwatiddwa buggya wadde okunyiiga ng’abalala baweereddwa enkizo
21. Ekyokulabirako kya Samwiri kituyamba kitya singa omuntu omulala aweebwa enkizo gye tubadde twagala?
21 Wawulira otya ng’omuntu omulala aweereddwa enkizo gye wali oyagala? Ekintu ekyo kyakuyisa bubi? Twandikoppye ekyokulabirako kya Samwiri ne tutakwatirwa balala buggya. (Soma Engero 14:30.) Mu kibiina kya Yakuwa mulimu eby’okukola bingi era buli omu asobola okubaako ky’akola ne kimuwa essanyu.
‘Olituusa Wa Okunakuwala Olwa Sawulo?’
22. Lwaki tekyewuunyisa nti Samwiri alina ebirungi bye yalaba mu Sawulo?
22 Tekyewuunyisa nti Samwiri alina ebirungi bye yalaba mu Sawulo. Sawulo yali musajja muwanvu, ng’alabika bulungi, era nga muvumu nnyo. Yali mutetenkanya, era nga mu kusooka yali muwombeefu. (1 Sam. 10:22, 23, 27) Sawulo yalina ekintu ekirala eky’omuwendo ennyo, nga kino kye kirabo eky’eddembe ery’okwesalirawo. (Ma. 30:19) Ekirabo ekyo yakikozesa bulungi?
23. Kiki Sawulo kye yafuna, era kyamuleetera kukola ki?
23 Kya nnaku nti abantu bwe bafuna obuyinza, emirundi egisinga bafuuka ba malala. Mu kiseera kitono ne Sawulo yafuna amalala. Teyakolera ku biragiro Yakuwa bye yamuwa okuyitira mu Samwiri. Lumu Samwiri bwe yalwawo okujja okuwaayo ekiweebwayo, Sawulo yasalawo okukiwaayo, wadde nga Samwiri ye yali agenda okugiwaayo. Samwiri yamunenya era n’amugamba nti obwakabaka tebwandisigadde mu lunyiriri lwe. Mu kifo ky’okwenenya, Sawulo yeeyongera bweyongezi kukola bibi.
24. (a) Nsobi ki Sawulo gye yakola Yakuwa bwe yamutuma okugenda okulwanyisa Abamaleki? (b) Sawulo yakola ki bwe baamunenya, era Yakuwa yasalawo ki?
24 Yakuwa yatuma Samwiri agambe Sawulo agende alwanyise Abamaleki. Sawulo era yagambibwa n’okutta kabaka waabwe Agagi eyali omubi ennyo. Kyokka Sawulo teyamutta, era ne ku munyago, yalekawo ebisolo ebyali bisinga okulabika obulungi. Samwiri bwe yamunenya olw’ensobi gye yali akoze, engeri gye yamuddamu yalaga nti yali akyuse nnyo. Mu kifo ky’okwetoowaza n’akkiriza ensobi ye, Sawulo yeekwasa obusongasonga, era ensobi n’agezaako okugiteeka ku balala. Bwe yagamba nti ebisolo byali bya kuweebwayo eri Yakuwa, Samwiri yamugamba nti: “Laba, okugonda kusinga ssaddaaka obulungi.” Yamubuulira n’ekyo Yakuwa kye yali asazeewo: Obwakabaka bwali bugenda kumuggibwako buweebwe omuntu omulala. *
25, 26. (a) Lwaki Samwiri yanakuwala nnyo olwa Sawulo, era Yakuwa yamugamba ki? (b) Samwiri bwe yagenda mu maka ga Yese Yakuwa yamugamba ki?
25 Eky’okuba nti Sawulo teyagondera Yakuwa kyaluma nnyo Samwiri.
26 Abantu basobola okukyuka ne bava ku Yakuwa, n’olwekyo Yakuwa teyeesigama ku muntu omu okutuukiriza ekigendererwa kye. Omuntu gw’abadde akozesa bw’alekera awo okuba omwesigwa, afunayo omulala okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye. Samwiri yalekera awo okukungubaga olwa Sawulo, n’akola nga Yakuwa bwe yamulagira, n’agenda e Besirekemu mu maka ga Yese. Eyo yasangayo batabani ba Yese abaali balabika obulungi ennyo. Naye Yakuwa yamugamba nti tatunuulira ndabika yaabwe ey’okungulu. (Soma 1 Samwiri 16:7.) Oluvannyuma Dawudi eyali asembayo obuto bwe yajja, Yakuwa yalaga Samwiri nti oyo gwe yali alonze.
Samwiri yakiraba nti Yakuwa ayamba abaweereza be mu buli mbeera yonna, k’ebe nzibu etya
27. (a) Kiki ekyayamba Samwiri okweyongera okuba n’okukkiriza okunywevu? (b) Owulira otya bw’olowooza ku kyokulabirako ekirungi Samwiri kye yatuteerawo?
27 Mu myaka gye egy’obukadde, Samwiri yeeyongera okukiraba nti Yakuwa yali mutuufu okusalawo okuggyako Sawulo obwakabaka n’abuwa Dawudi. Sawulo yakwatirwa Dawudi obuggya n’agezaako okumutta, era n’ava ne ku kusinza okw’amazima. Kyokka Dawudi yayoleka engeri ennungi
^ lup. 24 Samwiri yatta Agagi. Agagi n’ab’ennyumba ye baali tebagwanira kulagibwa kisa. “Kamani Omwagaagi” ayogerwako mu kitabo kya Eseza, era eyagezaako okusaanyaawo abantu ba Katonda alabika yali omu ku bazzukulu ba Agagi.