ESSUULA EY’ABIRI MU ESATU
Yayigira ku Mukama We Okusonyiwa
1. Kintu ki ekyaleetera Peetero okuwulira obubi ennyo?
PEETERO yali tayinza kwerabira kaseera ako ye ne Yesu bwe baasisinkanya amaaso. Yesu yamutunuuliza maaso ga ngeri ki? Tetumanyi; Bayibuli egamba bugambi nti, ‘Mukama waffe yakyuka, n’atunuulira Peetero.’ (Luk. 22:61) Kyokka engeri Yesu gye yatunuuliramu Peetero yamulaga nti kye yali akoze kyali kibi nnyo. Peetero yali yeegaanye Mukama we, ate nga yali akalambidde nti yali tayinza kukikola. Mazima ddala Peetero yali awulira bubi nnyo.
2. Kintu ki ekikulu ennyo Peetero kye yali yeetaaga okuyiga, era tunaaganyulwa tutya mu kwetegereza ebyamutuukako?
2 Kyokka ekyo kyali tekitegeeza nti Peetero ebibye byali bikomye. Olw’okuba yalina okukkiriza okw’amaanyi, yali asobola okwenenya era n’abaako ekintu ekirala ekikulu ennyo ky’ayigira ku Yesu, nga kuno kwe kusonyiwa. Kikulu nnyo okusonyiwa abalala. Ka twetegereze engeri Peetero gye yayigira ku Mukama we okusonyiwa.
Yalina Bingi eby’Okuyiga
3, 4. (a) Kibuuzo ki Peetero kye yabuuza Yesu, era Peetero ayinza okuba nga yali alowooza ki? (b) Yesu yakiraga atya nti Peetero yali atwaliriziddwa endowooza abantu b’omu kiseera ekyo gye baalina?
3 Emyezi nga mukaaga emabega ng’ali mu kibuga ky’ewaabwe eky’e Kaperunawumu, Peetero yali atuukiridde Yesu n’amubuuza nti: “Mukama wange, muganda wange bw’anankolanga ekibi, nnaamusonyiwanga emirundi emeka? Emirundi musanvu?” Peetero ayinza okuba nga yali alowooza nti okusonyiwa emirundi egyo gyonna kiba kinene nnyo. Ggwe ate oba abakulembeze b’eddiini ab’omu kiseera kye baayigirizanga nti omuntu yalina kusonyiwa munne emirundi esatu gyokka! Yesu yamuddamu nti: “Nkugamba nti, si mirundi musanvu, wabula emirundi nsanvu mu musanvu.”
4 Yesu yali ategeeza nti Peetero yalina okubala buli mulundi gw’aba asonyiye omuntu aba amukoze ekibi? Nedda. Yesu okugamba Peetero nti yalina okusonyiwa emirundi 77 mu kifo ky’emirundi 7, yali ategeeza nti okusonyiwa tekuliiko kkomo. (1 Kol. 13:4, 5) Yesu yakiraga nti Peetero yali atwaliriziddwa endowooza ey’obutasonyiwa balala, abantu bangi gye baalina mu kiseera ekyo. Kyokka, abo abaagala okusanyusa Katonda, balina okusonyiwa abalala awatali kkomo.
5. Ddi lwe tusingira ddala okukiraba nti kikulu okusonyiwa abalala?
5 Peetero teyawakanya Yesu. Naye ddala Yesu bye yamugamba byamutuuka ku mutima? Obukulu bw’okusonyiwa tusinga kubutegeera nga waliwo gwe tukoze ekibi era nga twagala atusonyiwe. Kati ka tuddeko emabega katono twetegereze ebyo ebyaliwo nga Yesu anaatera okuweebwayo okuttibwa. Mu kiseera ekyo ekizibu, Peetero yakola ensobi eziwerako ze yandibadde ayagala Mukama we amusonyiwe.
Yesu Yasonyiwa Peetero Emirundi Mingi
6. Yesu bwe yali ayigiriza abatume be obwetoowaze, Peetero yamugamba ki, era Yesu yakitwala atya?
6 Yesu yali akyalina bingi eby’okuyigiriza abatume be mu kiro, ekyo eky’ebyafaayo kye yasembayo okubeera awamu nabo nga tannattibwa. Ng’ekyokulabirako, yalina okubayigiriza obwetoowaze. Yesu yabateerawo ekyokulabirako ng’abanaaza ebigere, omulimu ogwakolebwanga abaweereza abasingayo okuba aba wansi. Mu kusooka, Peetero yeewuunya nti Yesu yali agenda kumunaaza ebigere, era n’agamba nti ebibye yali tagenda kumukkiriza kubinaaza. Kyokka ate oluvannyuma yagamba Yesu aleme kumunaaza bigere byokka, naye era amunaaze n’emikono n’omutwe. Yesu teyamusunguwalira, wabula mu bukkakkamu yamunnyonnyola ensonga eyali emukozesa ekyo.
7, 8. (a) Biki ebirala Peetero bye yakola ebyandireetedde Yesu okumunyiigira? (b) Yesu yeeyongera atya okwoleka ekisa n’omwoyo ogw’okusonyiwa?
7 Nga wayiseewo akaseera katono, Peetero alina ekirala kye yakola oboolyawo ekyandinyiizizza Yesu. Peetero n’abatume abalala baatandika okukaayana ani ku bo eyali asinga obukulu. Yesu yabayamba okukiraba nti endowooza eyo yali nkyamu naye n’abasiima olw’okumunywererako. Kyokka yagamba nti bonna baali bagenda kumwabulira. Naye era Peetero ye yagamba nti yali tajja kwabulira Yesu ne bwe kyandibadde kitegeeza kufiira wamu naye. Yesu yamugamba nti mu kiro ekyo kyennyini ng’enkoko tennakookolima emirundi ebiri, yali agenda kumwegaana emirundi esatu. Naye Peetero yakalambira n’agamba nti yali ajja kunywerera ku Yesu, era ne yeewaana n’okwewaana nti yali ajja kuba mwesigwa okusinga abatume abalala bonna!
8 Yesu muli yawulira nga yeetamiddwa Peetero? Nedda. Wadde nga Yesu yali ayolekedde ekiseera ekizibu ennyo, yeeyongera okulaba ebirungi mu batume be abo abaali batatuukiridde. Yesu yali akimanyi nti Peetero yali agenda kumwabulira, naye yamugamba nti: “Nkusabidde okukkiriza kwo kuleme okuggwaawo; era bw’olimala okwenenya, onywezanga baganda bo.” (Luk. 22:32) Mu ngeri eyo, Yesu yakiraga nti yali mukakafu nga Peetero yandizzeemu okuba omunywevu mu by’omwoyo era n’addamu okuweereza Katonda n’obwesigwa. Mazima ddala Yesu yayoleka ekisa n’omwoyo ogw’okusonyiwa!
9, 10. (a) Nsobi ki Peetero ze yakola nga bali mu nnimiro y’e Gesusemane? (b) Ensobi Peetero ze yakola zitujjukiza ki?
9 Oluvannyumako nga bagenze mu nnimiro y’e Gesusemane, Yesu yagolola Peetero emirundi egisukka mu gumu. Bwe yali agenda okusaba, Yesu yakubiriza Peetero, Yakobo, ne Yokaana okusigala nga batunula. Yesu yalina ennaku ya maanyi nnyo era nga yali yeetaaga okuzzibwamu amaanyi. Kyokka buli lwe yakomangawo ng’ava okusaba, yasanganga Peetero ne banne beebase. Naye yakyoleka nti yali ategeera embeera gye baalimu bwe yagamba nti: “Omwoyo gwagala naye omubiri munafu.”
10 Tewaayita kiseera kinene ne wajja ekibinja ky’abantu nga bakutte emimuli, ebitala, n’emiggo. Abatume wano kyali kibeetaagisa okukwata embeera n’obwegendereza, kyokka ye Peetero yasowolayo ekitala n’asalako okutu kwa Maluko, omuddu wa kabona asinga obukulu. Mu bukkakkamu Yesu yamugamba nti ekyo kye yali akoze kyali kikyamu. Yesu yawonya gwe baali basazeeko okutu, era n’akiraga nti abagoberezi be tebasaanidde kukwata bissi, omusingi Abakristaayo ab’amazima gwe banywereddeko n’okutuusa kati. (Mat. 26:47-55; Luk. 22:47-51; Yok. 18:10, 11) Peetero yali akoze ensobi nnyingi. Ensobi ezo ze yakola zitujjukiza nti ffenna twonoona emirundi mingi. (Soma Yakobo 3:2.) Ani ku ffe ateetaaga kusonyiyibwa Katonda buli lunaku? Ekiro ekyo kyennyini, Peetero yakolayo ensobi endala ey’amaanyi ennyo.
Peetero Akola Ensobi ey’Amaanyi Ennyo
11, 12. (a) Peetero yalaga atya obuvumu oluvannyuma lw’okukwatibwa kwa Yesu? (b) Peetero yalemererwa atya okukola kye yali yeerayiridde?
11 Okuva bwe kyali nti baali baagala ye, Yesu yagamba ekibinja ky’abantu abaali bazze okumukwata baleke abatume be bagende. Peetero bwe yalaba nga Yesu bamukutte era nga bamusibye, awo ye n’abatume abalala ne badduka.
12 Kyokka ye Peetero ne Yokaana bwe baali badduka baayimirirako, oboolyawo okumpi n’ennyumba ya Ana, eyaliko Kabona Asinga Obukulu, era ng’eyo Yesu gye yasooka okutwalibwa okuwozesebwa. Yesu bwe yali atwalibwayo, Peetero ne Yokaana bajja nabo bagoberera, naye ‘nga babeesuddeko akabanga.’ (Mat. 26:58; Yok. 18:12, 13) Peetero teyali musajja mutiitiizi. N’okugoberera obugoberezi ekibinja ky’abantu abo abaali bakutte Yesu kyali kyetaagisa obuvumu. Baali bakutte ebissi, ate nga Peetero yali yaakamala okutuusa ebisago ku omu ku bo. Naye wadde nga Peetero yali ayolese obuvumu n’abagoberera, yali tannayoleka kwagala kwa maanyi nga bwe yali agambye, nti yali mwetegefu okufiira awamu ne Mukama we.
13. Engeri yokka entuufu ey’okugobereramu Kristo y’eruwa?
14. Peetero yali ludda wa ekiro ekyo nga bawozesa Yesu?
14 Peetero bwe yagenda ng’agoberera okulaba Yesu gye baali bamutwala, yeesanga atuuse ku mulyango gw’ennyumba ya Kayaafa kabona asinga obukulu. Kayaafa yali musajja mugagga nnyo era yalina n’obuyinza bungi. Amaka g’omuntu nga Kayaafa gaabanga n’oluggya olunene era nga galiko n’ekisaakaate. Peetero bwe yatuuka ku mulyango baamugaana okuyingira. Yokaana eyali yayingidde edda yajja n’agamba omukuumi eyali ku mulyango akkirize Peetero ayingire. Kirabika Peetero teyasigala kumpi ne Yokaana, ate era teyayingira mu nnyumba awaali Mukama we. Yasigala mu luggya awaali aboota omuliro, ng’alaba abo abaali batwalibwa mu nnyumba okuwa obujulizi obw’obulimba ku Yesu.
15, 16. Obunnabbi bwa Yesu obulaga nti Peetero yali wa kumwegaana emirundi esatu bwatuukirizibwa butya?
15 Peetero bwe yali ali awo ng’ekitangaala ky’omuliro kimukubyeemu, omuwala eyali amukkirizza okuyingira yasobola okumwetegereza obulungi. Omuwala oyo yalumiriza Peetero nti: “Naawe obadde ne Yesu Omugaliraaya!” Peetero yeekanga era ne yeegaana nga bwe yali tamanyi Yesu, era n’agamba nti ebyo omuwala bye yali ayogera yali tabitegeera. Yagenda n’ayimirira kumpi n’omulyango nga tayagala bantu bamulabe, naye era waaliwo omuwala omulala eyamulaba era n’agamba nti: “Omusajja ono yabadde ne Yesu Omunnazaaleesi.” Peetero yalayira nti: “Omuntu oyo simumanyi!” (Mat. 26:69-72; Mak. 14:66-68) Oboolyawo ng’amaze okwegaana Yesu omulundi guno ogw’okubiri, Peetero lwe yawulira enkoko ng’ekookolima, naye olw’ebirowoozo ebingi bye yalina mu kiseera ekyo teyalowooza ku bigambo Yesu bye yali amugambye essaawa ntono nnyo emabega.
16 Mu kaseera ako Peetero yali akyagezaako okwebuzaabuza baleme kumutegeera. Naye abantu abaali mu luggya baasembera we yali. Omu ku bo yalina oluganda ku Maluko, Peetero gwe yali asazeeko okutu. Yagamba Peetero nti: “Saakulabye ng’oli naye mu nnimiro?” Peetero yeegaana era n’alayira n’okulayira nti akolimirwe bw’aba ng’alimba. Ogwo gwe gwali omulundi ogw’okusatu nga Peetero yeegaana Yesu. Yali yaakamala okwegaana Yesu omulundi ogw’okusatu, enkoko n’ekookolima omulundi ogw’okubiri.
17, 18. (a) Peetero yawulira atya bwe yakitegeera nti yali akoze ekibi eky’amaanyi ennyo? (b) Kiki Peetero ky’ayinza okuba nga yalowooza nti tekisoboka?
17 Mu kiseera ekyo Yesu baali baakamala okumuleeta waggulu ku lubalaza olwali lutunudde mu luggya Peetero we yali. Nga bwe kyalagiddwa ku ntandikwa y’essuula eno, Yesu ne Peetero baasisinkanya amaaso. Awo Peetero we yakitegeerera nti yali akoze ekibi eky’amaanyi ennyo. Peetero yava mu luggya n’atambula n’agenda ng’alumirizibwa ekibi kye yali akoze. Ennaku yamuyitirirako n’atulika n’akaaba nnyo.18 Omuntu bw’akola ekibi eky’amaanyi ng’ekyo Peetero kye yakola, kyangu nnyo okulowooza nti tasobola kusonyiyibwa. Peetero naye ayinza okuba nga bw’atyo bwe yalowooza. Ddala Peetero yali ayinza okusonyiyibwa?
Ddala Peetero Yali Tasobola Kusonyiyibwa?
19. Peetero yali awulira atya oluvannyuma lw’okwegaana Yesu, naye tukakasiza ku ki nti teyaggweramu ddala maanyi?
19 Peetero ennaku gye yalina ku mutima yamweyongera bwe yalaba ebyatuuka ku Mukama we enkeera. Ateekwa okuba nga yejjusa ebintu bingi Yesu bwe yafa olweggulo oluvannyuma lw’okutulugunyizibwa ennyo. Era ateekwa okuba nga yanyolwa nnyo mu mutima buli lwe yalowooza ku bulumi ye kennyini bwe yali aleetedde Mukama we olunaku olwo. Wadde nga Peetero yanakuwala nnyo, teyaggweramu ddala maanyi. Ebyawandiikibwa biraga nti mu kaseera katono yali ali wamu ne bakkiriza banne. (Luk. 24:33) Awatali kubuusabuusa, abatume bonna baawulira bubi olw’engeri gye baali beeyisizzaamu ekiro ekyo, era buli omu yabudaabuda munne.
20. Kintu ki eky’amagezi Peetero kye yakola, era ekyo kituyigiriza ki?
20 Wadde nga yali akoze ensobi ey’amaanyi, ekyo Peetero kye yakola kyali kya magezi nnyo. Omuweereza wa Katonda ne bw’aba akoze ensobi nnene kwenkana wa, Katonda asobola okumusonyiwa singa aba yeenenyezza. (Soma Engero 24:16.) Peetero yayoleka okukkiriza okw’amaanyi bwe yaddamu okukuŋŋaana ne baganda be wadde nga yali awulira ennaku ya maanyi. Omuntu bw’aba alina ensobi ey’amaanyi gy’akoze era nga muli awulira ennaku ey’amaanyi, aba awulira ng’ayagala kubeera yekka; naye ekyo kiba kya kabi nnyo. (Nge. 18:1) Ekintu ekisingayo okuba eky’amagezi omuntu oyo kye yandibadde akola mu kiseera ekyo, kwe kubeera okumpi ne bakkiriza banne asobole okuddamu amaanyi mu by’omwoyo.
21. Olw’okuba yali wamu n’abayigirizwa abalala, Peetero yafuna mawulire ki?
21 Nga Peetero ali wamu n’abayigirizwa abalala, baafuna amawulire agaabeewuunyisa ennyo. Baategeezebwa nti omulambo gwa Yesu gwali teguliiyo mu ntaana. Peetero ne Yokaana badduka okugenda ku ntaana omulambo gwa Yesu mwe gwali guteekeddwa. Oboolyawo olw’okuba Yokaana yali muto ku Peetero, yadduka n’asooka Peetero okutuuka ku ntaana; naye bwe yalaba ng’ejjinja eddene eryali liteekeddwa ku mulyango gw’entaana liggiddwako, yatya okuyingira munda. Kyokka ye Peetero bwe yatuuka yayingira butereevu. Naye yasanga entaana njereere!22. Kiki ekyayamba Peetero okuggwamu okubuusabuusa era n’okuggwako ennaku?
22 Peetero yakikkiriza nti Yesu yali azuukidde? Teyakkiririzaawo, wadde nga waaliwo abakazi abaali babagambye nti bamalayika baali babalabikidde ne babagamba nti Yesu yali azuukidde. (Luk. 23: 55–24:11) Naye olunaku olwo we lwaggwerako, okubuusabuusa kwali kumuweddemu era nga n’ennaku emuweddeko. Yesu yali azuukiziddwa era nga kati yali kitonde kya mwoyo! Yesu yalabikira abatume be bonna. Naye nga tannalabikira batume balala, yasooka n’alabikira Peetero. Abatume baagamba nti: “Mazima ddala Mukama waffe yazuukidde era yalabikidde Simooni!” (Luk. 24:34) Era nga wayiseewo ekiseera, n’omutume Pawulo bwe yali ayogera ku ebyo ebyaliwo ku lunaku olwo yagamba nti Yesu “yalabikira Keefa, ate n’alabikira n’ekkumi n’ababiri.” (1 Kol. 15:5) Keefa ne Simooni nago gaali mannya ga Peetero. Kirabika Peetero yali yekka Yesu bwe yamulabikira ku lunaku olwo.
Peetero yakola ensobi nnyingi era Mukama we n’amusonyiwa; ani ku ffe ateetaaga kusonyiyibwa buli lunaku?
23. Lwaki kirungi Omukristaayo aba akoze ekibi eky’amaanyi okujjukira ekyo ekyatuuka ku Peetero?
23 Bayibuli tetubuulira byaliwo mu kaseera ako nga Yesu alabikidde Peetero. Peetero alina okuba nga yasanyuka nnyo okulaba Mukama we ng’azuukidde era n’okuba nti yali afunye akakisa okumwenenyeza. Awatali kubuusabuusa Peetero yali ayagala Yesu amusonyiwe, era tuli bakakafu nti Yesu yamusonyiyira ddala. Kiba kirungi Abakristaayo ababa bakoze ekibi eky’amaanyi okujjukira ebyo ebyatuuka ku Peetero ng’ayonoonye. Tetusaanidde kulowooza n’omulundi n’ogumu nti Katonda tayinza kutusonyiwa. Mazima ddala Yesu alinga Kitaawe, oyo ‘asonyiyira ddala ennyo.’
Ebirala Ebiraga nti Yesu Yasonyiwa Peetero
24, 25. (a) Nnyonnyola ebyaliwo ekiro ekyo nga Peetero agenze okuvuba ku Nnyanja y’e Ggaliraaya. (b) Kiki Peetero kye yakola nga Yesu akoze ekyamagero?
24 Yesu yagamba abatume be bagende e Ggaliraaya era eyo gye yali agenda okubasisinkana. Bwe baatuuka eyo, Peetero yasalawo okugenda ku Nnyanja y’e Ggaliraaya okuvuba. Waliwo n’abayigirizwa abalala abaagenda naye. Eno ye nnyanja Peetero gye yavubirangako nga tannafuuka mutume. Olw’okuba yali alina obumanyirivu bwa maanyi
25 Awo ng’emmambya esala, waliwo omuntu eyali ku lubalama lw’ennyanja eyabakoowoola n’abagamba basuule obutimba bwabwe ku ludda olulala olw’eryato. Baakola kye yabagamba era ne bakwasa ebyennyanja ebiwerera ddala 153! Peetero yategeera Oyo eyabagamba, era yabuuka mu lyato ne yebbika mu mazzi n’awuga okutuuka ku lukalu. Ng’abayigirizwa bonna batuuse ku lukalu, Yesu yabayita bagende balye ebyennyanja bye yali akaliridde. Bwe baali banyumya ebirowoozo yasinga kubissa ku Peetero.
26, 27. (a) Kakisa ki Yesu ke yawa Peetero emirundi esatu? (b) Yesu yakiraga atya nti yali asonyiyidde ddala Peetero?
27 Mu ngeri eyo, Yesu yakiraga nti Peetero yali akyali wa mugaso nnyo gy’ali n’eri Kitaawe. Peetero yali agenda kubeera n’obuvunaanyizibwa bwa maanyi mu kibiina ekikulemberwa Kristo. Nga buno bwali bukakafu bwa maanyi nnyo obulaga nti Yesu yali asonyiyidde ddala Peetero! Peetero ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo ng’asonyiyiddwa era yafuna eky’okuyiga ekikulu ennyo.
28. Peetero yatuukana atya n’amakulu g’erinnya lye?
28 Peetero yeetikka obuvunaanyizibwa obwo okumala emyaka mingi era n’abutuukiriza bulungi. Yanyweza baganda be nga Yesu bwe yali amulagidde ng’anaatera okuttibwa. Peetero yafuba nnyo okuzzaamu abagoberezi ba Kristo amaanyi era n’okubaliisa mu by’omwoyo. Ate era yayoleka ekisa n’obugumiikiriza obw’ekitalo ennyo mu kutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo. Mazima ddala yatuukana bulungi nnyo n’erinnya Peetero, oba Olwazi, Yesu lye yamutuuma. Yayoleka okukkiriza okunywevu ng’olwazi, era bw’atyo n’ateerawo bakkiriza banne ekyokulabirako ekirungi ennyo. Ebbaluwa ebbiri ze yawandiika eziri mu Bayibuli zitukakasa bulungi nnyo ensonga eyo. Ebbaluwa ezo era ziraga nti Peetero teyeerabira ekintu ekikulu ennyo ekikwata ku kusonyiwa Yesu kye yamuyigiriza.
29. Tuyinza tutya okwoleka okukkiriza okulinga okwa Peetero era n’ekisa ekiringa ekya Mukama waffe?
29 Okufaananako Peetero, ka naffe tuyige okusonyiwa abalala. Tusaba Katonda buli lunaku okutusonyiwa ensobi ennyingi ze tukola? Tukikkiriza nti Katonda asobola okutusonyiwa ne tuddamu okuba n’enkolagana ennungi naye? Naffe tusonyiwa abo ababa batukoze ekibi? Bwe tukola bwe tutyo, tuba twoleka okukkiriza okulinga okwa Peetero era n’ekisa ekiringa ekya Mukama waffe.