Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

AKASANDUUKO 10C

Busobola Okutuyamba Okuddamu Okuyimirira

Busobola Okutuyamba Okuddamu Okuyimirira

Waliwo ekintu ekizzaamu amaanyi kye tuyiga mu kwolesebwa okuli mu Ezeekyeri 37:1-14, era nga kisobola okutuyamba mu mbeera ze tuyitamu. Kintu ki ekyo?

Oluusi tuyinza okuwulira ng’ebizibu bye twolekagana nabyo mu bulamu bitusukiriddeko era tuyinza okuwulira nga tuweddemu amaanyi. Bwe twesanga mu mbeera eyo, okufumiitiriza ku kwolesebwa kwa Ezeekyeri okukwata ku kuzzibwawo kw’abantu ba Katonda kisobola okutuzzaamu amaanyi. Lwaki? Obunnabbi obwo butuyigiriza nti Katonda asobola okuleetera amagumba amakalu okulamuka asobola okutuwa amaanyi ge twetaaga okwaŋŋanga ebizibu bye tuba twolekagana nabyo, nga mw’otwalidde n’ebyo ebirabika ng’eby’amaanyi ennyo.​—Soma Zabbuli 18:29; Baf. 4:13.

Tusaanidde okukijjukira nti ebyasa bingi emabega nga Ezeekyeri tannabaawo, nnabbi Musa yakiraga nti Yakuwa alina amaanyi mangi era ayagala okugakozesa okuyamba abantu be. Musa yagamba nti: “Okuva edda n’edda Katonda abadde kiddukiro, emikono gye egy’emirembe n’emirembe gikuwanirira.” (Ma. 33:27) Mazima ddala, tusobola okuba abakakafu nti bwe tuddukira eri Katonda waffe nga twolekagana n’ebizibu, ajja kutuwanirira, atuyambe okuddamu okuyimirira.​—Ezk. 37:10.