Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

AKASANDUUKO 14A

Bye Tuyiga mu Kwolesebwa Ezeekyeri Kwe Yafuna

Bye Tuyiga mu Kwolesebwa Ezeekyeri Kwe Yafuna

Okusinza Okulongoofu Kugulumizibwa era Kukuumibwa

Yeekaalu eyogerwako mu kwolesebwa eri “ku lusozi oluwanvu ennyo” (1). Tufubye okugulumiza okusinza okulongoofu ne kuba nga kwe kulina ekifo ekisooka mu bulamu bwaffe?

Bbugwe (2) awamu n’ekibangirizi ekinene ebyetoolodde yeekaalu (3), bitujjukiza nti tetulina kukkiriza kintu kyonna kwonoona kusinza kwaffe. Bwe kiba nti n’ebintu ebikolebwa mu bulamu obwa bulijjo tetulina kubigattika na kusinza okulongoofu, kati olwo omuweereza wa Yakuwa teyandisinzeewo nnyo okwewala ebikolwa ebitali birongoofu oba eby’obugwenyufu?​—Ezk. 42:20.

Emikisa egy’Olubeerera

Omugga gukulukuta okuva mu yeekaalu ne gugenda nga gugaziwa ne guleeta mu nsi obulamu era ne gugigimusa (4). Emikisa egyo gijja kwogerwako mu Ssuula 19 ey’ekitabo kino.

Bonna Balina Okugoberera Emitindo Gye Gimu

Emiryango emiwanvu egy’ebweru (5) n’egy’omunda (9) gitujjukiza nti abo bonna abeenyigira mu kusinza okulongoofu Yakuwa abeetaagisa okukolera ku mitindo gye egya waggulu egy’empisa. Weetegereze nti emiryango egy’ebweru n’egy’omunda gifaanagana era girina ebipimo bye bimu. Ekyo kituukirawo kubanga Yakuwa yeetaagisa abantu be bonna okutambulira ku mitindo gye gimu, ka babe nga balina buvunaanyizibwa ki.

Ekijjulo ku Mmeeza ya Yakuwa

Ebisenge ebiriirwamu (8) bitujjukiza nti mu biseera eby’edda, abantu baalinga basobola okulya ku ssaddaaka ze baaleetanga ku yeekaalu, mu ngeri eyo ne baba ng’abaliira awamu ne Yakuwa ekijjulo. Ekyo si bwe kiri mu yeekaalu ey’eby’omwoyo, Abakristaayo mwe basinziza leero, kubanga “ssaddaaka emu” yokka yamala dda okuweebwayo. (Beb. 10:12) Wadde kiri kityo, tuwaayo ssaddaaka ey’okutendereza.​—Beb. 13:15.

Obukakafu Katonda bw’Awa

Ebipimo bya yeekaalu eyo bisobola okukuyitirirako ng’osoma. Naye birina ekintu ekikulu kye bituyigiriza: Ebipimo bya yeekaalu ebyo bwali bukakafu obulaga nti ekigendererwa kya Yakuwa eky’okuzzaawo okusinza okulongoofu kyandituukiridde. Wadde nga Ezeekyeri talaba muntu yenna mu kwolesebwa kuno, alaga nti Yakuwa yawabula bakabona, abaami, n’abantu. Abaweereza ba Katonda bonna balina okunywerera ku mitindo gye egy’obutuukirivu.