Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

AKASANDUUKO 7B

Ebigambo Ebikulu Ebiddiŋŋanwa mu Kitabo kya Ezeekyeri

Ebigambo Ebikulu Ebiddiŋŋanwa mu Kitabo kya Ezeekyeri

“Omwana w’Omuntu”

BIRIMU EMIRUNDI EGISUKKA MU 90

Emirundi egisukka mu 90, Ezeekyeri ayitibwa “omwana w’omuntu.” (Ezk. 2:1) Mu ngeri eyo Yakuwa yamujjukiza nti wadde nga yali afunye enkizo ey’amaanyi, yali muntu buntu. Ate mu bitabo by’Enjiri, ne Yesu ayitibwa “Omwana w’omuntu” emirundi nga 80. Ekyo kyalaga nti bwe yali ku nsi yali muntu ddala so si malayika eyali yeeyambazza omubiri gw’omuntu.​—Mat. 8:20.

‘Bajja Kumanya nti Nze Yakuwa’

BIRIMU EMIRUNDI EGISUKKA MU 50

Emirundi egisukka mu 50, Ezeekyeri yawandiika ebigambo bya Yakuwa bino: ‘Abantu bajja kumanya nti nze Yakuwa.’ Ebigambo ebyo bikyoleka bulungi nti Yakuwa ye yekka agwanidde okusinzibwa.​—Ezk. 6:7.

“Yakuwa, Mukama Afuga Byonna”

BIRIMU EMIRUNDI 217

Ebigambo “Yakuwa, Mukama Afuga Byonna” birimu emirundi 217. Ekyo kikkaatiriza obukulu bw’erinnya lya Katonda era kiraga nti ebitonde byonna Yakuwa abirinako obuyinza.​—Ezk. 2:4.