Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

AKASANDUUKO 9E

Ebiseera “Eby’okuzza Obuggya Ebintu Byonna”

Ebiseera “Eby’okuzza Obuggya Ebintu Byonna”

EBIKOLWA 3:21

Omutume Peetero bwe yayogera ku “biseera eby’okuzza obuggya ebintu byonna,” yali ayogera ku kiseera eky’essanyu ekyanditandise nga Yesu atuuziddwa ku ntebe y’obwakabaka ne kituukira ddala ku nkomerero y’Obufuzi bwe obw’Emyaka Olukumi.

  1. 1914​—Yesu atuuzibwa ku ntebe y’obwakabaka mu ggulu. Abantu ba katonda baggibwa mu buwambe obw’eby’omwoyo mu 1919

    Ennaku ez’Enkomerero

  2. AMAGEDONI​—Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi butandika, era “okuzza obuggya ebintu byonna” kugaziwa ne kuzingiramu n’okufuula ensi Olusuku lwa Katonda

    Obufuzi obw’Emyaka Olukumi

  3. ENKOMERERO Y’OBUFUZI OBW’EMYAKA OLUKUMI​—Yesu amaliriza omulimu ogw’okuzza obuggya ebintu byonna era awaayo Obwakabaka eri Kitaawe

    Olusuku lwa Katonda

OBUFUZI BWA YESU BUJJA . . .

  • kuleetera erinnya lya Katonda okugulumizibwa

  • kuggyawo endwadde

  • kuggyawo okukaddiwa

  • kusobozesa abafu okuzuukira

  • kuleetera abantu abeesigwa okufuuka abatuukiridde

  • kusobozesa ensi okufuuka Olusuku lwa Katonda