Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

AKASANDUUKO 4A

“Nnali Ntunuulira Ebiramu”

“Nnali Ntunuulira Ebiramu”

Ezeekyeri ateekwa okuba nga yali alabye emiryango gy’embiri ne yeekaalu ez’enjawulo ebiriko agabumbe aganene ag’ente ennume ezirina ebiwaawaatiro n’ag’empologoma ezirina emitwe ng’egy’abantu. Agabumbe ng’ago gaali gasangibwa mu bitundu bingi mu Bwasuli ne mu Babulooni eby’edda. Okufaananako abantu abalala, Ezeekyeri bwe yatunuuliranga agabumbe ago aganene, agamu agaali gaweza ffuuti nga 20, ateekwa okuba nga yeewuunyanga nnyo. Naye wadde ng’agabumbe ago gaali ganene nnyo, tegaalina bulamu, kubanga gaali gaakolebwa mu mayinja.

Okwawukana ku gabumbe ago, ebitonde Ezeekyeri bye yalaba byali ‘biramu.’ Eyo nga yali njawulo ya maanyi nnyo! Ezeekyeri bwe yabiraba yakwatibwako nnyo ne kiba nti yaddiŋŋana ekigambo “ebiramu” emirundi 10 mu ssuula esooka. (Ezk. 1:5-22) Ate era okwolesebwa okukwata ku biramu ebina ebitambulira okumu wansi w’entebe ya Katonda, kuteekwa okuba nga kwayamba Ezeekyeri okukitegeera nti Yakuwa alina obuyinza ku butonde bwe bwonna. Leero okwolesebwa okwo kutuyamba okukiraba nti Yakuwa asukkulumye mu buyinza n’ekitiibwa era nti obufuzi bwe bwe bw’oku ntikko.​—1 Byom. 29:11.