Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

AKASANDUUKO 2B

Ezeekyeri—Obulamu Bwe n’Ekiseera We Yabeererawo

Ezeekyeri—Obulamu Bwe n’Ekiseera We Yabeererawo

Erinnya Ezeekyeri litegeeza “Katonda Agumya.” Wadde ng’obunnabbi bwa Ezeekyeri bulimu okulabula kungi, okutwalira awamu obubaka obubulimu bukwatagana n’amakulu g’erinnya lye. Bunyweza okukkiriza kw’abo abaagala okusinza Katonda mu ngeri gy’asiima.

BANNABBI ABAALIWO MU KISEERA KYA EZEEKYERI

  • YEREMIYA,

    kitaawe yali kabona, okusingira ddala yaweerereza mu Yerusaalemi (647-580 E.E.T.)

  • KULUDA

    yaweerereza mu kiseera ekitabo ky’Amateeka we kyazuulibwa mu yeekaalu awo nga mu 642 E.E.T.

  • DANYERI,

    yali wa mu kika kya Yuda omwavanga bakabaka, yatwalibwa mu Babulooni mu 617 E.E.T.

  • KAABAKUUKU

    kirabika yaweerereza mu Yuda ku ntandikwa y’obufuzi bwa Yekoyakimu

  • OBADIYA

    yalangirira omusango Yakuwa gwe yali asalidde Edomu, oboolyawo mu kiseera Yerusaalemi we kyazikiririzibwa

BAAWEEREZA DDI NGA BANNABBI? (EMYAKA GYONNA GIRI MU E.E.T.)

EBINTU EBIKULU EBYALIWO MU KISEERA KYA EZEEKYERI (EMYAKA GYONNA GIRI MU E.E.T.)

  1. a.643: Azaalibwa

  2. 617: Atwalibwa mu buwambe e Babulooni

  3. 613: Atandika okuweereza nga nnabbi; afuna okwolesebwa okukwata ku Yakuwa

  4. 612: Afuna okwolesebwa okukwata ku bwakyewaggula obwali mu yeekaalu

  5. 611: Atandika okulangirira omusango ogwali gusaliddwa Yerusaalemi

  6. 609: Mukyala we afa era Yerusaalemi kitandika okuzingizibwa omulundi ogwasembayo

  7. 607: Ategeezebwa nti Yerusaalemi kizikiriziddwa

  8. 593: Afuna okwolesebwa okukwata ku yeekaalu

  9. 591: Alanga obulumbaganyi Nebukadduneeza bwe yali agenda okukola ku Misiri; amaliriza okuwandiika ekitabo kye

BAKABAKA BA YUDA N’ABA BABULOONI

  1. 659-629: Yosiya atumbula okusinza okw’amazima naye afiira mu lutalo ng’alwana ne Falaawo Neeko

  2. 628: Yekoyakazi afuga bubi okumala emyezi esatu era Falaawo Neeko amuwamba

  3. 628-618: Yekoyakimu kabaka mubi era Falaawo Neeko amussa wansi w’obufuzi bwe

  4. 625: Nebukadduneeza awangula eggye lya Misiri

  5. 620: Nebukadduneeza alumba Yuda omulundi ogusooka n’assa Yekoyakimu kabaka w’omu Yerusaalemi wansi w’obufuzi bwe

  6. 618: Yekoyakimu ajeemera Nebukadduneeza era kirabika afiira mu kiseera Abababulooni we balumbira Ensi Ensuubize omulundi ogw’okubiri

  7. 617: Yekoyakini, era amanyiddwa nga Yekoniya, kabaka mubi era afugira emyezi esatu gyokka ne yeewaayo mu mikono gya Nebukadduneeza

  8. 617-607: Zeddeekiya, kabaka mubi era atya abantu, Nebukadduneeza amussa wansi w’obuyinza bwe

  9. 609: Zeddeekiya ajeemera Nebukadduneeza, Nebukadduneeza n’alumba Yuda omulundi ogw’okusatu

  10. 607: Nebukadduneeza azikiriza Yerusaalemi, awamba Zeddeekiya, amuggyamu amaaso, era amutwala e Babulooni