Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

AKASANDUUKO 9D

Obunnabbi Obukwata ku Kutwalibwa mu Buwambe n’Okukomezebwawo

Obunnabbi Obukwata ku Kutwalibwa mu Buwambe n’Okukomezebwawo

Obunnabbi bungi obukwata ku Bayudaaya okutwalibwa mu buwambe mu Babulooni eky’edda bwatuukirira ku kigero ekisingawo ekibiina Ekikristaayo bwe kyatwalibwa mu buwambe mu Babulooni Ekinene. Laba ebyokulabirako bino wammanga.

1. OKULABULA

2. OBUWAMBE

3. BAGGIBWA MU BUWAMBE

OKUTUUKIRIZIBWA OKWASOOKA

Nga 607 E.E.T. Tegunnatuuka​—Isaaya, Yeremiya, ne Ezeekyeri balabula abantu ba Yakuwa; naye obwakyewaggula bugenda mu maaso

607 E.E.T.​—Yerusaalemi kizikirizibwa; abantu ba Katonda batwalibwa mu buwambe e Babulooni

537 E.E.T. n’Okweyongerayo​—Abayisirayiri abeesigwa baddayo e Yerusaalemi, baddamu okuzimba yeekaalu, era okusinza okulongoofu kuzzibwawo

OKUTUUKIRIZIBWA OKUSINGAWO

Mu Kyasa Ekyasooka E.E.​—Yesu, Pawulo, ne Yokaana balabula ekibiina Ekikristaayo, naye obwakyewaggula bugenda mu maaso

Ku Ntandikwa y’Ekyasa eky’Okubiri E.E.​—Abakristaayo ab’amazima batwalibwa mu buwambe mu Babulooni Ekinene

1919 E.E. n’Okweyongerayo​—Nga Yesu atandise okufuga, abaafukibwako amafuta abeesigwa baggibwa mu buwambe obw’eby’omwoyo era okusinza okulongoofu ne kuzzibwawo