Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

AKASANDUUKO 20A

Okugabanyaamu Ensi

Okugabanyaamu Ensi

Okuba nti ensalo z’ensi zaali zipimiddwa bulungi, kyakakasa abo abaali mu buwaŋŋanguse nti ensi yaabwe gye baali baagala ennyo yandizziddwawo. Okwolesebwa okwo kutuyigiriza ki leero? Lowooza ku bintu bibiri ebiri mu kwolesebwa okwo:

Ekifo n’omulimu omukulu

Buli omu ku abo abandikomyewo ku butaka yandibadde n’obusika mu Nsi Ensuubize eyandizziddwawo. Mu ngeri y’emu ne leero, abaweereza ba Yakuwa bonna balina ekifo mu lusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo. Ka tube nga tugwa mu kiti ki, ffenna abali mu kibiina kya Yakuwa tulina ekifo n’omulimu omukulu ennyo mu nsi ey’eby’omwoyo. Yakuwa atwala abaweereza be bonna nga ba muwendo.

Emigabo egyenkanankana

Mu kwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna, engeri Ensi Ensuubize gye yagabanyizibwamu yasobozesa abantu baamu okugabana kyenkanyi ku bintu ebirungi byonna ebyali mu nsi eyo. Mu ngeri y’emu leero, Yakuwa asobozesa abaweereza be bonna okuganyulwa kyenkanyi mu mikisa egiri mu lusuku lwe olw’eby’omwoyo.