AKASANDUUKO 12A
Okugatta Awamu Emiggo Ebiri
Yakuwa alagira Ezeekyeri omuggo ogumu aguwandiikeko nti “gwa Yuda” ate omulala aguwandiikeko nti “gwa Yusufu, omuggo gwa Efulayimu.”
“gwa Yuda”
MU BISEERA BY’EDDA
Obwakabaka bwa Yuda obw’ebika ebibiri
MU KISEERA KYAFFE
Abaafukibwako amafuta
“gwa Yusufu, omuggo gwa Efulayimu”
MU BISEERA BY’EDDA
Obwakabaka bwa Isirayiri obw’ebika ekkumi
MU KISEERA KYAFFE
Ab’endiga endala
“gibe ng’omuggo gumu mu mukono gwo”
MU BISEERA BY’EDDA
537 E.E.T. Abaweereza ba Katonda ab’amazima baakomawo okuva mu mawanga amalala, ne baddamu okuzimba Yerusaalemi, era ne basinza Yakuwa nga bali ggwanga limu.
MU KISEERA KYAFFE
Okuva mu 1919, abantu ba Katonda bazze bategekebwa era baweereza Katonda nga bali “ekisibo kimu.”