Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

AKASANDUUKO 16B

Okusinda n’Okukaaba, Okussa Akabonero, Okwasaayasa—Bibaawo Ddi era Bitya?

Okusinda n’Okukaaba, Okussa Akabonero, Okwasaayasa—Bibaawo Ddi era Bitya?

Okwolesebwa okusangibwa mu Ezeekyeri essuula 9 kutuukirizibwa ne mu kiseera kyaffe. Okumanya ebyo ebigenda okubaawo mu biseera eby’omu maaso kisobola okutuyamba obutatya nkomerero egenda okujja

“Okusinda n’okukaaba”

DDI: Mu nnaku ez’enkomerero, ng’ekibonyoobonyo ekinene tekinnabaawo

KIKOLEBWA KITYA: Abantu ab’emitima emirungi bakyoleka mu bigambo ne mu bikolwa nti bakyawa ebintu ebibi ebikolebwa mu nsi. Abantu abo bassaayo omwoyo ku mawulire amalungi agabuulirwa, beeyongera okwoleka engeri za Kristo, beewaayo eri Yakuwa era ne babatizibwa, era bawagira baganda ba Kristo

“Okussa akabonero”

DDI: Mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene

KIKOLEBWA KITYA: Omusajja alina akacupa ka bwiino ow’omuwandiisi akiikirira Yesu Kristo bw’anajja okulamula amawanga gonna. Ab’ekibiina ekinene bajja kwawulwawo ng’endiga, kwe kugamba, bajja kussibwako akabonero basobole okuwonawo ku Amagedoni

“Okwasaayasa”

DDI: Ku Amagedoni

KIKOLEBWA KITYA: Yesu Kristo n’eggye lye ery’omu ggulu, erijja okubaamu bamalayika ne banne 144,000 abajja okufuga naye, bajja kuzikiririza ddala ensi ya Sitaani, ate bawonyewo abaweereza ba Yakuwa ab’amazima bayingire mu nsi empya