Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebbaluwa Okuva eri Akakiiko Akafuzi

Ebbaluwa Okuva eri Akakiiko Akafuzi

Baganda Baffe Abaagala Yakuwa:

Mu mwaka gwa 1971, abo abaaliwo ku lukuŋŋaana olunene olwalina omutwe ogugamba nti “Erinnya lya Katonda,” baasanyuka nnyo okufuna ebitabo ebipya ebitali bimu. Ebitabo ebyo bangi baabyogerako ng’ekirabo “omuntu yenna kye yali tasuubira.” Ow’oluganda omu yayogera bw’ati ku kimu ku bitabo ebyo: “Kye kitabo ekikyasinzeeyo okunnyonnyola obulungi ebintu ebijja mu maaso!” Yali ayogera ku kitabo ki? Yali ayogera ku kitabo ekiyitibwa “The Nations Shall Know That I Am Jehovah”—How? Naye lwaki ekitabo ekyo kyakwata nnyo ku bantu? Kubanga kyali kinnyonnyola obunnabbi obutali bumu obuli mu kitabo kya Ezeekyeri, ate ng’obunnabbi obwo bukwata ku biseera by’abantu bonna eby’omu maaso.

Okuva mu mwaka ekitabo ‘Know Jehovah’ lwe kyafulumizibwa, omuwendo gw’abantu ba Katonda gweyongedde nnyo okuva ku babuulizi akakadde kamu n’ekitundu okutuuka ku babuulizi abasukka mu bukadde munaana. (Is. 60:22) Abaweereza ba Yakuwa abo bonna awamu boogera ennimi ezisukka mu 900. (Zek. 8:23) Bangi ku bo tebafunangako kakisa kusoma kitabo kinnyonnyola obunnabbi obuli mu kitabo kya Ezeekyeri.

Ate era emyaka bwe gyagenda giyitawo oluvannyuma lwa 1971, ekitangaala kyagenda kyeyongera okwaka, ne tweyongera okutegeera amazima mangi agali mu Bayibuli. (Nge. 4:18) Ng’ekyokulabirako, mu 1985 twatandika okutegeera obulungi engeri ‘ab’endiga endala’ gye bayitibwa abatuukirivu olw’okubeera mikwano gya Katonda. (Yok. 10:16; Bar. 5:18; Yak. 2:23) Ate mu 1995 twakitegeera nti okulamula abantu nti ‘ndiga’ oba nti ‘mbuzi’ kujja kubaawo mu kiseera ‘ky’ekibonyoobonyo ekinene.’ (Mat. 24:21; 25:31, 32) Enkyukakyuka ezo zonna zaatusobozesa okwongera okutegeera ebiri mu kitabo kya Ezeekyeri.

“Omwana w’omuntu, weetegereze, owulirize n’obwegendereza, era osseeyo omwoyo ku byonna bye nnaakulaga, kubanga eyo ye nsonga lwaki oleeteddwa wano.”​—EZEEKYERI 40:4

Ne mu myaka egyakayita, ekitangaala kyeyongedde okwaka. Lowooza ku ebyo bye tuyiga mu ngero Yesu ze yagera. Eby’okuyiga ebirimu tweyongedde okubitegeera obulungi. Nnyingi ku ngero ezo zikwata ku bintu ebijja okubaawo mu kibonyoobonyo ekinene ekinaatera okutuuka. Ate era waliwo enkyukakyuka ezibaddewo ezikwata ku ngeri gye tutegeeramu obunnabbi obuli mu kitabo kya Ezeekyeri. Mu bunnabbi obwo mwe muli obwo obukwata ku Googi ow’e Magoogi (essuula 38 ne 39), omulimu gw’omusajja alina akacupa ka bwino w’omuwandiisi (essuula 9), olusenyi olujjudde amagumba amakalu, n’okugattibwa awamu okw’emiggo ebiri (essuula 37). Olw’enkyukakyuka ezo ezibaddewo ezikwata ku ngeri gye tutegeeramu ebintu ebitali bimu, ebyo ebiri mu kitabo ‘Know Jehovah’ ekyawandiikibwa emyaka mingi emabega byetaaga okukyusibwa.

N’olwekyo tekyewuunyisa nti abaweereza ba Yakuwa bangi babadde beebuuza nti, “Tulifuna ddi ekitabo ekirimu okunnyonnyola okupya okukwata ku bunnabbi bwa Ezeekyeri?” Ekitabo ekyo tukifunye era nga kye kino ekirina omutwe ogugamba nti Yakuwa Azzaawo Okusinza Okulongoofu! Bw’onoosoma essuula 22 ezikirimu era n’ofumiitiriza ku bifaananyi ebirungi ebikirimu, ojja kukiraba nti ab’oluganda baanoonyereza n’obwegendereza nga bawandiika ekitabo kino. Baasaba nnyo Yakuwa abayambe okutegeera ensonga lwaki yawandiisa ebyo ebiri mu kitabo kya Ezeekyeri. Baafumiitiriza nnyo ku bibuuzo nga bino: Biki abo abaaliwo mu kiseera kya Ezeekyeri bye baayigira mu ebyo ebiri mu kitabo kya Ezeekyeri, era bya kuyiga ki ffe bye tufunamu? Bunnabbi ki obwogera ku bintu ebikyali mu maaso? Ebintu ebiri mu kitabo kya Ezeekyeri birina kye bikiikirira? Eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo bituyamba okutegeera obulungi ebyo ebiri mu kitabo kya Ezeekyeri, kye tunyumirwa ennyo okusoma.

Bw’osoma ekitabo kya Ezeekyeri okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero, okwatibwako nnyo bw’olowooza ku kitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kya Yakuwa. Ate era okwatibwako nnyo bw’olowooza ku mitindo egya waggulu Yakuwa gy’ateereddewo ebitonde eby’omu ggulu n’eby’oku nsi ebyagala okumusinza mu ngeri gy’asiima. Ekitabo Okusinza Okulongoofu kijja kukuleetera okweyongera okusiima ebyo Yakuwa by’akoledde abantu be n’ebyo by’ajja okubakolera mu biseera eby’omu maaso. Era ojja kukiraba nti ekitabo kino kikkaatiriza ensonga enkulu bbiri. Esooka, okusobola okusiimibwa mu maaso ga Yakuwa, tulina okukimanya n’okukikkiriza nti ye Mufuzi w’Obutonde Bwonna. Ey’okubiri, tulina okusinza Yakuwa mu ngeri gy’asiima n’okutuukanya obulamu bwaffe n’emitindo gye egya waggulu.

Tusuubira nti ekitabo kino kijja kukuleetera okuba omumalirivu okusinza Yakuwa mu ngeri eweesa erinnya lye ekkulu era ettukuvu ekitiibwa. Era tusuubira nti kijja kukuyamba okweyongera okulindirira ekiseera amawanga gonna lwe gajja okumanya nti ye Yakuwa.—Ezk. 36:23; 38:23.

Kitaffe Yakuwa k’akuyambe okutegeera ebyo ebiri mu kitabo kye yaluŋŋamya nnabbi Ezeekyeri okuwandiika.

Ffe baganda bammwe,

Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa