Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 4

‘Ebiramu eby’Obwenyi Obuna’ Be Baani?

‘Ebiramu eby’Obwenyi Obuna’ Be Baani?

EZEEKYERI 1:15

OMULAMWA: Ebiramu ebina ne kye tubiyigirako

1, 2. Lwaki Yakuwa emirundi egimu yakozesanga ebintu ebirabwako ng’alina by’ategeeza abaweereza be ku nsi?

 KUBA akafaananyi ng’ab’omu maka agamu omuli abaana abato batudde wamu nga basoma Bayibuli. Okusobola okuyamba abaana okutegeera ensonga emu eyogerwako mu Bayibuli, taata abaako ebifaananyi by’abalaga ebibayamba okugitegeera. Akamwenyumwenyu akajja ku matama g’abaana n’ebyo bye boogera ku bifaananyi by’abakubidde biraga nti taata abayambye okutegeera obulungi ensonga eyo. Ebigambo taata by’ayogera bw’abigattako ebifaananyi, kiyamba abaana be okutegeera amazima agakwata ku Yakuwa oboolyawo ge batandisobodde kutegeera olw’emyaka gyabwe.

2 Mu ngeri y’emu, Yakuwa akozesezza ebintu ebirabwako okuyamba abantu okutegeera ebintu ebiri mu ggulu bye batandisobodde kutegeera. Ng’ekyokulabirako, okusobola okuyamba abantu okutegeera ebimukwatako, Yakuwa yawa Ezeekyeri okwolesebwa okulimu ebifaananyi ebiwuniikiriza. Mu ssuula eyayita, twalaba ekimu ku bifaananyi ebyo. Kati ka twekenneenye ekimu ku bintu ebiri mu kwolesebwa okwo tulabe engeri okutegeera amakulu gaakyo gye kiyinza okutuyamba okwongera okusemberera Yakuwa.

“Ne Ndaba . . . Ebyali Bifaanana ng’Ebiramu Ebina”

3. (a) Okusinziira ku Ezeekyeri 1:4, 5, kiki Ezeekyeri kye yalaba mu kwolesebwa? (Laba ekifaananyi ku lupapula 42.) (b) Kiki kye weetegerezza ku bigambo Ezeekyeri bye yakozesa ng’annyonnyola ebyo bye yalaba?

3 Soma Ezeekyeri 1:4, 5. Ezeekyeri yagamba nti yalaba “ebyali bifaanana ng’ebiramu ebina” ng’ebitundu byabyo eby’omubiri bifaananamu ebya bamalayika, abantu, n’ensolo. Weetegereze nti Ezeekyeri yagamba nti yalaba “ebyali bifaanana” ng’ebiramu ebina. Ng’osoma ebikwata ku kwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna okuli mu ssuula 1 ey’ekitabo kya Ezeekyeri, ojja kukiraba nti nnabbi oyo enfunda n’enfunda yakozesa ebigambo nga “kyali kifaanana nga,” “kyali nga.” (Ezk. 1:13, 24, 26) Mu kukozesa ebigambo ebyo, Ezeekyeri yakiraga nti bye yalaba byali bikiikirira bukiikirizi ebintu ebitalabika ebiri mu ggulu.

4. (a) Okwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna kwamukwatako kutya? (b) Kiki Ezeekyeri ky’ateekwa okuba nga yali amanyi ku bakerubi?

4 Ebyo Ezeekyeri bye yalaba ne bye yawulira mu kwolesebwa biteekwa okuba nga byamuwuniikiriza nnyo. Ebiramu ebina byali bifaanana “ng’amanda agaaka.” Byali bitambulira ku sipiidi eringa “okumyansa kw’eggulu.” Okuwuuma kw’ebiwaawaatiro byabyo “kwali ng’okuyira kw’amazzi amangi” era omusinde gwabyo gwali “ng’ogw’eggye.” (Ezk. 1:13, 14, 24-28; laba akasanduuko ‘Nnali Ntunuulira Ebiramu.’) Mu kwolesebwa okulala Ezeekyeri kwe yafuna, yagamba nti ebiramu ebyo ebina baali “bakerubi,” oba bamalayika ab’amaanyi. (Ezk. 10:2) Okuva bwe kiri nti taata wa Ezeekyeri yali kabona, Ezeekyeri ateekwa okuba nga yali akimanyi nti bakerubi babeera kumpi n’entebe ya Yakuwa era bakola ng’abaweereza be.​—1 Byom. 28:18; Zab. 18:10.

“Buli Kiramu Kyalina Obwenyi Buna”

5. (a) Bakerubi n’obwenyi bwabwe obuna balaga batya obuyinza bwa Yakuwa n’ekitiibwa kye? (b) Era okwolesebwa okwo kutujjukiza kutya amakulu g’erinnya lya Katonda? (Laba obugambo obuli wansi.)

5 Soma Ezeekyeri 1:6, 10. Ezeekyeri era yalaba nga buli kerubi alina obwenyi buna: obwenyi bw’omuntu, obw’empologoma, obw’ente ennume, n’obw’empungu. Okulaba obwenyi obwo obuna kiteekwa okuba nga kyaleetera Ezeekyeri okukitegeera nti Yakuwa y’asukkulumye mu buyinza n’ekitiibwa. Lwaki tugamba tutyo? Kubanga obwenyi bwe yalaba bwa bitonde ebirina ekitiibwa n’obuyinza. Empologoma nsolo ya ntiisa era ya kitiibwa, ente ennume nsolo ya kiwago, empungu kinyonyi eky’entiisa, ate omuntu kye kitonde ekisinga okuba eky’ekitiibwa mu bitonde byonna Yakuwa bye yatonda ku nsi, era alina obuyinza ku bitonde ebirala byonna ebiri ku nsi. (Zab. 8:4-6) Wadde kiri kityo, Ezeekyeri yakiraba ng’ebitonde ebyo ebina ebyali bikiikiriddwa obwenyi obw’emirundi ena buli kerubi bwe yalina, byali wansi w’entebe ya Yakuwa. Ekyo kiraga nti Yakuwa ye Mufuzi ow’Oku Ntikko, era nti asobola okukozesa ebitonde bye okutuukiriza ekigendererwa kye! a Mu butuufu, ng’omuwandiisi wa Zabbuli bwe yagamba, “Obwakabaka [bwa Yakuwa] bufuga ebintu byonna.”​—Zab. 103:19; 148:13.

Ebiramu ebina n’obwenyi bwabyo byoleka ki ku buyinza bwa Yakuwa, ekitiibwa kye, awamu n’engeri ze? (Laba akatundu 5, 13)

6. Kiki ekiyinza okuba nga kyayamba Ezeekyeri okutegeera ekyo obwenyi obuna kye bukiikirira?

6 Nga wayiseewo ekiseera oluvannyuma lwa Ezeekyeri okufuna okwolesebwa okwo n’okufumiitiriza ku ebyo bye yalaba, ayinza okuba nga yajjukira engeri abaweereza ba Yakuwa abaamusookawo gye baakozesangamu ebyokulabirako by’ensolo ezitali zimu okukiikirira ebintu ebitali bimu. Ng’ekyokulabirako, Yakobo yageraageranya mutabani we Yuda ku mpologoma, ne mutabani we Benyamini ku musege. (Lub. 49:9, 27) Lwaki? Kubanga empologoma n’omusege birina engeri ezifaananako n’ezo ezandyeyolese mu batabani be abo ne bazzukulu baabwe. Okulowooza ku byokulabirako ng’ebyo kiteekwa okuba nga kyaleetera Ezeekyeri okukiraba nti n’obwenyi bwa bakerubi bwalina engeri ze bukiikirira. Ngeri ki ezo?

Engeri za Yakuwa n’Ebitonde Bye Ebiri mu Ggulu

7, 8. Obwenyi bwa bakerubi obuna bukiikirira ki?

7 Abawandiisi ba Bayibuli abaaliwo nga Ezeekyeri tannabaawo, empologoma, empungu, n’ente ennume baabikwataganya na ki? Lowooza ku bigambo bino ebiri mu Bayibuli: “Omusajja omuzira [omuvumu] alina omutima ng’ogw’empologoma.” (2 Sam. 17:10; Nge. 28:1) ‘Empungu ebuuka waggulu’ era “amaaso gaayo galaba wala.” (Yob. 39:27, 29) “Olw’amaanyi g’ente ennume ebikungulwa biba bingi.” (Nge. 14:4) Nga tusinziira ku byawandiikibwa ng’ebyo, tuzze tukiraga mu bitabo byaffe nti obwenyi bw’empologoma bukiikirira obwenkanya obuva mu kwoleka obuvumu; obwenyi bw’empungu bukiikirira amagezi agalengerera ebintu ewala; obwenyi bw’ente ennume bukiikirira amaanyi amangi ennyo.

8 Ate bwo ‘obwenyi bw’omuntu’? (Ezk. 10:14) Buteekwa okuba nga bukiikirira engeri abantu bokka gye basobola okwoleka naye nga zo ensolo tezisobola kugyoleka, kubanga abantu baatondebwa mu kifaananyi kya Katonda. (Lub. 1:27) Engeri eyo eragibwa mu biragiro bya Katonda bino: “Oyagalanga Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna” era “oyagalanga munno nga bwe weeyagala.” (Ma. 6:5; Leev. 19:18) Bwe tugondera ebiragiro ebyo ne twoleka okwagala okwa nnamaddala, tuba twoleka okwagala kwa Yakuwa. Ng’omutume Yokaana bwe yagamba, “tulina okwagala kubanga [Katonda] ye yasooka okutwagala.” (1 Yok. 4:8, 19) N’olwekyo, ‘obwenyi bw’omuntu’ bukiikirira okwagala.

9. Engeri ezikiikirirwa obwenyi bwa bakerubi z’ani?

9 Engeri ezo z’ani? Okuva bwe kiri nti obwenyi obwo bwa bakerubi, engeri ezo z’abo bonna bakerubi be bakiikirira, nga bino bye bitonde bya Yakuwa ebyesigwa eby’omwoyo ebiri mu ggulu. (Kub. 5:11) Ate era olw’okuba Yakuwa ye yatonda bakerubi, ye Nsibuko y’engeri ezo. (Zab. 36:9) N’olwekyo, obwenyi bwa bakerubi bukiikirira engeri za Yakuwa. (Yob. 37:23; Zab. 99:4; Nge. 2:6; Mi. 7:18) Yakuwa ayoleka atya engeri ezo?

10, 11. Tuganyulwa tutya mu ngeri za Yakuwa ennya enkulu?

10 Obwenkanya. Olw’okuba Yakuwa ye Katonda “ayagala obwenkanya,” ‘tasosola.’ (Zab. 37:28; Ma. 10:17) Ka tube bagagga oba baavu oba ka tube nga twakulira mu mbeera ki, ffenna Yakuwa atuwa enkizo ey’okubeera abaweereza be tusobole okufuna emikisa egy’olubeerera. Amagezi. Olw’okuba Yakuwa Katonda “wa magezi,” yatuwa ekitabo ekijjudde “amagezi” agatuganyula. (Yob. 9:4; Nge. 2:7) Bwe tukolera ku magezi agali mu Bayibuli kituyamba okwaŋŋanga ebizibu bye twolekagana nabyo mu bulamu n’okuba n’obulamu obw’amakulu. Amaanyi. Olw’okuba Yakuwa Katonda “wa maanyi nnyo,” akozesa omwoyo gwe omutukuvu okutuwa “amaanyi agasinga ku ga bulijjo.” Ekyo kitusobozesa okugumira ebigezo byonna bye twolekagana nabyo, ka bibe binene bitya.​—Nak. 1:3; 2 Kol. 4:7; Zab. 46:1.

11 Okwagala. Olw’okuba Yakuwa alina ‘okwagala okutajjulukuka,’ tasobola kwabulira baweereza be abeesigwa. (Zab. 103:8; 2 Sam. 22:26) N’olwekyo, bwe tuwulira nga tuweddemu amaanyi olw’okuba tetukyasobola kuweereza Yakuwa nga bwe twakolanga edda, olw’obulwadde oba olw’okukaddiwa, kituzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yakuwa ajjukira okwagala kwe twamulaga mu biseera eby’emabega. (Beb. 6:10) Mu butuufu ne mu kiseera kino tuganyulwa nnyo mu bwenkanya bwa Yakuwa, amagezi ge, amaanyi ge, n’okwagala kwe, era tujja kweyongera okuganyulwa mu ngeri ze ezo enkulu mu biseera ebijja mu maaso.

12. Kiki kye tusaanidde okumanya ku busobozi bwe tulina obw’okutegeera engeri za Yakuwa?

12 Kyokka tusaanidde okukijjukira nti ebyo bye tumanyi ku ngeri za Yakuwa “bitono nnyo” ddala. (Yob. 26:14) ‘Omuyinza w’Ebintu Byonna tetuyinza kumutegeerera ddala,’ kubanga “obukulu bwe tebunoonyezeka.” (Yob. 37:23; Zab. 145:3) N’olwekyo, tetusobola kumenya ngeri za Yakuwa ne tuzimalayo. (Soma Abaruumi 11:33, 34.) Mu butuufu, okwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna kulaga nti engeri za Yakuwa tezibalika era n’ekigero kw’azoolekera tetusobola kukimanya ne tukimalayo. (Zab. 139:17, 18) Ekyo kiragibwa kitya mu kwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna?

‘Obwenyi Buna, Ebiwaawaatiro Bina, Enjuyi Nnya’

13, 14. Obwenyi bwa bakerubi obuna bukiikirira ki, era lwaki tugamba bwe tutyo?

13 Mu kwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna, yalaba nga buli omu ku bakerubi alina obwenyi buna. Ekyo kiraga ki? Kijjukire nti mu Kigambo kya Katonda, nnamba nnya etera okukozesebwa okukiikirira obujjuvu bw’ekintu. (Is. 11:12; Mat. 24:31; Kub. 7:1) Mu kwolesebwa kuno, Ezeekyeri ayogera ku nnamba nnya emirundi egitakka wansi wa 10! (Ezk. 1:5-18) Ekyo kiraga ki? Nga bakerubi abana bwe bakiikirira ebitonde byonna eby’omwoyo ebyesigwa, n’obwenyi obuna obwa bakerubi bwonna awamu bukiikirira engeri za Yakuwa zonna. b

14 Okusobola okutegeera ensonga lwaki obwenyi bwa bakerubi obuna bukiikirira engeri ezisukka mu nnya, lowooza ku nnamuziga ezoogerwako mu kwolesebwa. Wadde nga buli emu ku nnamuziga ezo yeewuunyisa, bw’ozitunuulira zonna awamu okiraba nti zikola ng’omusingi eggaali kwe litudde. Mu ngeri y’emu, engeri ennya ezikiikirirwa obwenyi obwo obuna, zonna awamu zikola ng’omusingi engeri za Yakuwa endala zonna kwe zeesigamye.

Yakuwa Ali Kumpi n’Abaweereza Be Bonna Abeesigwa

15. Kintu ki ekikulu Ezeekyeri kye yayiga mu kwolesebwa kwe yasooka okufuna?

15 Okwolesebwa Ezeekyeri kwe yasooka okufuna kwamuyamba okuyiga ekintu ekikulu ekikwata ku nkolagana ye ne Yakuwa. Kintu ki ekyo? Akiraga mu bigambo ebisooka mu kitabo kya Ezeekyeri. Oluvannyuma lw’okugamba nti yali “mu nsi y’Abakaludaaya,” Ezeekyeri yagamba nti: “Omukono gwa Yakuwa gwanzijako nga ndi eyo.” (Ezk. 1:3) Weetegereze nti Ezeekyeri yalaga nti okwolesebwa okwo teyakufunira Yerusaalemi, wabula ng’ali eyo mu Babulooni. c Ekyo kyayigiriza ki Ezeekyeri? Kyamuyigiriza nti wadde nga yali mu buwaŋŋanguse ng’ali wala nnyo ne Yerusaalemi awaali yeekaalu, Yakuwa yali akyali kumpi naye era Ezeekyeri yali asobola okumusinza mu ngeri gy’asiima. Yakuwa okulabikira Ezeekyeri ng’ali e Babulooni kyayamba Ezeekyeri okukiraba nti okuba ng’asinza Yakuwa mu ngeri gy’asiima kyali tekisinziira ku kitundu oba ekifo mw’ali. Wabula kyali kisinziira ku mbeera y’omutima gwe n’okuba nti yali ayagala okuweereza Yakuwa.

16. (a) Okwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna kutukakasa ki? (b) Kiki ekikuleetera okuweereza Yakuwa n’omutima gwo gwonna?

16 Lwaki ekyo Ezeekyeri kye yayiga kituzzaamu amaanyi leero? Kituyamba okukimanya nti bwe tuweereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna asigala ali wamu naffe, ka tube nga tuli ludda wa, ka tube nga twolekagana na bizibu ki, oba ka tube nga tuli mu mbeera ki. (Zab. 25:14; Bik. 17:27) Olw’okuba Yakuwa alina okwagala okutajjulukuka, tayanguwa kuleka baweereza be, wabula abagumiikiriza. (Kuv. 34:6) N’olwekyo ka tube nga tuli ludda wa, okwagala kwa Yakuwa okutajjulukuka kututuukako. (Zab. 100:5; Bar. 8:35-39) Ate era okwolesebwa okwo Ezeekyeri kwe yafuna okulaga obutukuvu bwa Yakuwa n’obuyinza bwe obw’ensusso kutujjukiza nti Yakuwa gwe tugwanidde okusinza. (Kub. 4:9-11) Nga kitusanyusa nnyo okuba nti Yakuwa yakozesa ebintu ng’ebyo Ezeekyeri bye yalaba mu kwolesebwa okutuyamba okumanya ebintu ebikulu ebimukwatako awamu n’engeri ze! Bwe tweyongera okumanya engeri za Yakuwa kituyamba okwongera okumusemberera era kituleetera okumutendereza n’okumuweereza n’omutima gwaffe gwonna, n’amaanyi gaffe gonna.​—Luk. 10:27.

Yakuwa asigala atwagala ka tubeere mu mbeera ki (Laba akatundu 16)

17. Bibuuzo ki ebijja okuddibwamu mu ssuula eziddako?

17 Naye eky’ennaku kiri nti, mu kiseera kya Ezeekyeri, okusinza okulongoofu kwayonoonebwa. Ekyo kyajjawo kitya? Yakuwa yakolawo ki? Era ebintu ebyo ebyaliwo edda bitukwatako bitya leero? Ebibuuzo bino bijja kuddibwamu mu ssuula eziddako.

a Ebyo Ezeekyeri by’ayogera ku biramu ebyo bitujjukiza amakulu g’erinnya lya Yakuwa eritegeeza nti “Aleetera Ebintu Okubaawo.” Ng’agamu ku makulu g’erinnya lye bwe galaga, Yakuwa asobola okuleetera ebitonde bye okufuuka kyonna ky’ayagala okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye.​—Laba Ebyongerezeddwako A4 mu Enkyusa ey’Ensi Empya.

b Okumala emyaka, ebitabo byaffe bizze byogera ku ngeri za Yakuwa ez’enjawulo nga 50.​—Laba Watch Tower Publications Index, wansi w’omutwe “Yakuwa,” “Engeri za Yakuwa.”

c Omwekenneenya wa Bayibuli omu yagamba nti: ‘Ekigambo “eyo,” kiraga nti Ezeekyeri yeewuunya nnyo okulaba nga Katonda amulabikidde eyo mu Babulooni, era ekyo kiteekwa okuba nga kyamuzzaamu nnyo amaanyi!’