Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 2

“Katonda Yasiima” Ebirabo Byabwe

“Katonda Yasiima” Ebirabo Byabwe

ABEBBULANIYA 11:4

OMULAMWA: Ebyafaayo by’enteekateeka ya Yakuwa ey’okusinza okulongoofu

1-3. (a) Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino? (b) Bintu ki ebina ebikulu ebikwata ku kusinza okulongoofu bye tugenda okwekenneenya? (Laba ekifaananyi waggulu.)

 ABBEERI yeekenneenya endiga ze. Azirabiridde bulungi okuviira ddala lwe zaazaalibwa. Kati alondamu ezimu ku zo, n’azitta, era n’aziwaayo eri Katonda ng’ekirabo. Yakuwa anaasanyukira ekikolwa kino eky’okusinza ekikoleddwa omuntu atatuukiridde?

2 Omutume Pawulo yaluŋŋamizibwa okuwandiika bw’ati ku Abbeeri: “Katonda yasiima ebirabo bye.” Naye Yakuwa teyasiima kiweebwayo kya Kayini. (Soma Abebbulaniya 11:4.) Ekyo kibaako ebibuuzo bye kireetawo. Lwaki Yakuwa yasiima ekyo Abbeeri kye yakola ate n’atasiima ekyo Kayini kye yakola? Biki bye tuyigira ku ebyo bye tusoma ku Kayini ne Abbeeri n’abantu abalala aboogerwako mu Abebbulaniya essuula 11? Eby’okuddamu mu bibuuzo bino bijja kutuyamba okumanya ebizingirwa mu kusinza okulongoofu.

3 Nga twekenneenya ebimu ku ebyo ebyaliwo okuviira ddala mu kiseera kya Abbeeri okutuuka mu kiseera kya Ezeekyeri, weetegereze ebintu ebikulu bina ebireetera Katonda okukkiriza okusinza kw’omuntu: Oyo asinza alina kuba ng’asinza Yakuwa, okusinza okwo kulina okuba okw’omutindo ogusingayo obulungi, oyo asinza alina okusinza mu ngeri esiimibwa Katonda, era alina okuba ng’alina ekiruubirirwa ekirungi.

Lwaki Okusinza kwa Kayini Tekwasiimibwa?

4, 5. Biki ebyaleetera Kayini okukimanya nti ekirabo kye yalina kukiwaayo eri Yakuwa?

4 Soma Olubereberye 4:2-5. Kayini yali akimanyi nti ekirabo kye yali akiwaayo eri Yakuwa. Ekiseera Kayini kye yali yaakamala ku nsi kyali kimumala okuyiga ebikwata ku Yakuwa. Ye ne muganda we Abbeeri baali bakunukkiriza emyaka 100 we baaweerayo ebirabo byabwe. a Bombi baali bamanyi ebikwata ku Lusuku Edeni era oboolyawo olusuku olwo baali balulengera n’okululengera. Bateekwa okuba nga baalabanga Bakerubi abaali bakuuma awayingirirwa mu lusuku olwo, omuntu yenna aleme kuyingirayo. (Lub. 3:24) Ate era bazadde baabwe bateekwa okuba nga baali baababuulira nti Yakuwa ye yatonda ebintu byonna era nti yali ayagala abantu babe n’obulamu obulungi, so si obwo kati bwe baalimu, ng’emibiri gyabwe gigenda ginafuwa mpolampola okutuusa lwe bandifudde. (Lub. 1:24-28) Okumanya ebintu ebyo kiyinza okuba nga kyaleetera Kayini okukiraba nti ekirabo kye yali alina kukiwaayo eri Katonda.

5 Kiki ekirala ekiyinza okuba nga kye kyaleetera Kayini okuwaayo ssaddaaka eri Katonda? Katonda yali yagamba nti wandibaddewo “ezzadde,” eryandibetense omutwe ‘gw’omusota’ ogwasendasenda Kaawa n’ayonoona. (Lub. 3:4-6, 14, 15) Olw’okuba Kayini ye yali omwana omubereberye, oboolyawo yalowooza nti ye yali “ezzadde” eryo. (Lub. 4:1) Ate era Yakuwa yali tannaba kulekera awo kwogera na bantu boonoonyi, kubanga n’oluvannyuma lwa Adamu okwonoona, Katonda yayogera naye, okuyitira mu malayika. (Lub. 3:8-10) Ate era Yakuwa yayogera ne Kayini oluvannyuma lwa Kayini okuwaayo ekiweebwayo kye. (Lub. 4:6) Awatali kubuusabuusa Kayini yali akimanyi nti Yakuwa agwanidde okusinzibwa.

6, 7. Waaliwo obuzibu bwonna ku mutindo gw’ekiweebwayo kya Kayini oba mu ngeri gye yakiwaayo? Nnyonnyola.

6 Kati olwo lwaki Yakuwa teyasiima kiweebwayo kya Kayini? Kyandiba nti omutindo gwakyo tegwali mulungi? Ekyo Bayibuli tekiraga. Ekyo kyokka ky’etugamba kiri nti Kayini yaleeta “ku bibala by’ensi.” Nga wayiseewo ekiseera, Yakuwa yakiraga mu Mateeka ga Musa nti ekiweebwayo ng’ekyo kyali kikkirizibwa. (Kubal. 15:8, 9) Lowooza ne ku mbeera eyaliwo mu kiseera ekyo. Mu kiseera ekyo abantu baalyanga bimera byokka. (Lub. 1:29) Ate era olw’okuba ettaka lyonna wabweru wa Edeni Katonda yali yalikolimira, Kayini ateekwa okuba nga yakola n’amaanyi okusobola okufuna ekyo kye yawaayo eri Katonda. (Lub. 3:17-19) Yawaayo emmere gye yali aggye mu ntuuyo ze! Naye Yakuwa teyasiima kiweebwayo kya Kayini.

7 Kyandiba nti obuzibu bwava ku ngeri gye yawaayo ekirabo kye? Kyandiba nti yakiwaayo mu ngeri etakkirizibwa Katonda? Kirabika nedda. Lwaki tugamba tutyo? Kubanga Yakuwa bwe yagaana ekiweebwayo kya Kayini, teyavumirira ngeri Kayini gye yakiwaayo. Mu butuufu, Bayibuli teyogera ku ngeri Kayini oba Abbeeri gye baawaayo ebiweebwayo byabwe. Kati olwo obuzibu bwava ku ki?

Ekiruubirirwa kya Kayini tekyali kirungi (Laba akatundu 8, 9)

8, 9. (a) Lwaki Yakuwa teyasiima Kayini n’ekiweebwayo kye? (b) Kiki ekyewuunyisa ku ebyo Bayibuli by’etubuulira ku Kayini ne Abbeeri?

8 Ebyo Pawulo bye yawandiikira Abebbulaniya biraga nti ekiruubirirwa Kayini kye yalina ng’awaayo ekiweebwayo kye tekyali kirungi. Kayini teyalina kukkiriza. (Beb. 11:4; 1 Yok. 3:11, 12) Eyo ye nsonga lwaki Yakuwa teyasanyukira Kayini n’ekiweebwayo kye. (Lub. 4:5-8) Yakuwa ye Kitaffe atwagala ennyo era yafuba okutereeza omwana we Kayini. Naye Kayini yagaana okukkiriza obuyambi Yakuwa bwe yamuwa. Bwe kityo, engeri embi ezaali mu mutima gwe, gamba ‘ng’empalana, okuyomba, n’obuggya’ zeeyongera okukula. (Bag. 5:19, 20) Olw’okuba omutima gwa Kayini gwali mubi, kyaleetera Katonda obutasiima kusinza kwe. Ebyo bye tusoma ku Kayini bituyamba okukiraba nti okusinza okulongoofu kusingawo ku kukola obukozi ebintu ebiraga nti twemalidde ku Yakuwa.

9 Bayibuli etubuulira ebintu ebiwerako ebikwata ku Kayini. Etubuulira ebyo Yakuwa bye yayogera naye, ebyo Kayini bye yaddamu, era etubuulira n’amannya g’abaana be n’ebimu ku bintu bye baakola. (Lub. 4:17-24) Kyokka Bayibuli tetubuulira obanga Abbeeri yalina abaana, era tetubuulira kigambo kyonna kye yayogera. Wadde kiri kityo, ebikolwa bya Abbeeri bikyayogera gye tuli n’okutuusa leero. Mu ngeri ki?

Abbeeri Yatuukiriza Ebisaanyizo eby’Okusinza Okulongoofu

10. Abbeeri yatuukiriza atya ebisaanyizo eby’okusinza okulongoofu?

10 Abbeeri yawaayo ekiweebwayo kye eri Yakuwa ng’akimanyi nti Yakuwa yekka y’agwanidde okuweebwa ebiweebwayo. Omutindo gw’ekirabo Abbeeri kye yawaayo gwe gwali gusingayo obulungi kubanga yalonda “ku bibereberye by’ekisibo kye.” Wadde nga Bayibuli tetubuulira obanga ebiweebwayo bye yabiweerayo ku kyoto oba nedda, engeri gye yabiwaayo yali ekkirizibwa mu maaso ga Katonda. Naye ekintu ekisinga obukulu ku kirabo kya Abbeeri kye kiruubirirwa kye yalina ng’akiwaayo, era tulina kinene kye tumuyigirako n’okutuusa leero, wadde nga wayise emyaka nga kakaaga. Okukkiriza okw’amaanyi n’okwagala kwe yalina eri emitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu bye byamuleetera okuwaayo eri Katonda ekirabo ekyo. Ekyo tukimanya tutya?

Abbeeri yatuukiriza ebintu ebina ebyetaagisa mu kusinza okulongoofu (Laba akatundu 10)

11. Lwaki Yesu yagamba nti Abbeeri yali mutuukirivu?

11 Okusooka, lowooza ku ekyo Yesu kye yayogera ku Abbeeri. Yesu yali amanyi bulungi Abbeeri kubanga Abbeeri we yabeerera ku nsi Yesu yali mu ggulu ng’amulaba. Yesu yali ayagala nnyo mutabani wa Adamu oyo. (Nge. 8:22, 30, 31; Yok. 8:58; Bak. 1:15, 16) N’olwekyo, Yesu okugamba nti Abbeeri yali musajja mutuukirivu, yali ayogera ku muntu gwe yali alabyeko n’agage. (Mat. 23:35) Omuntu omutuukirivu aba akkiriza nti Yakuwa y’alina okussaawo emitindo egikwata ku kituufu n’ekikyamu. Ate era ebyo by’ayogera ne by’akola biba biraga nti agoberera emitindo egyo. (Geraageranya Lukka 1:5, 6.) Kitwala ekiseera omuntu okumanyibwa ng’omutuukirivu. N’olwekyo, Abbeeri ne bwe yali tannawaayo kiweebwayo kye eri Katonda, yali amaze ekiseera ng’agoberera emitindo gya Yakuwa. Ekyo tekyali kyangu. Mukulu we Kayini tayinza kuba nga yamuteerawo ekyokulabirako ekirungi kubanga omutima gwe gwali gufuuse mubi. (1 Yok. 3:12) Maama wa Abbeeri yali yajeemera ekiragiro kya Katonda ekyali kitegeerekeka obulungi, era ne taata we yali yajeemera Katonda ng’ayagala okuba nga Katonda, yeesalirewo ekituufu n’ekikyamu. (Lub. 2:16, 17; 3:6) Abbeeri kyali kimwetaagisa okuba omuvumu ennyo okusobola okutambulira mu kkubo eryawukana ku lya bazadde be ne muganda we!

12. Njawulo ki eyaliwo wakati wa Kayini ne Abbeeri?

12 Eky’okubiri, weetegereze engeri Pawulo gye yalaga akakwate akaliwo wakati w’okukkiriza n’obutuukirivu. Yagamba nti: “Olw’okukkiriza, Abbeeri yawaayo eri Katonda ssaddaaka ey’omuwendo okusinga eya Kayini, era okuyitira mu kukkiriza okwo yakakasibwa nti yali mutuukirivu.” (Beb. 11:4) Ebigambo bya Pawulo ebyo biraga nti obutafaananako Kayini, Abbeeri yalina okukkiriza okw’amaanyi era yali ayagala okukola ebintu nga Yakuwa bw’ayagala.

13. Ekyokulabirako kya Abbeeri kituyigiriza ki?

13 Ekyokulabirako kya Abbeeri kituyigiriza nti omuntu okusobola okusinza Katonda mu ngeri gy’asiima, alina okuba ng’alina ebiruubirirwa ebirungi. Omuntu oyo aba alina okuba n’okukkiriza okw’amaanyi era ng’akkiririza mu mitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu. Ate era kituyigiriza nti, ekikolwa ekimu ekirungi omuntu ky’akola si kye kiraga nti okusinza kwe kulongoofu. Omuntu ali mu kusinza okulongoofu akyoleka mu bulamu bwe bwonna nti yeemalidde ku Katonda.

Abasajja ab’Edda Abeesigwa Nabo Baatuukiriza Ebisaanyizo

14. Lwaki Yakuwa yasiima ebirabo Nuuwa, Ibulayimu, ne Yakobo bye baawaayo?

14 Abbeeri ye muntu atatuukiridde eyasooka okusinza Yakuwa mu ngeri entuufu, naye si ye yasembayo. Omutume Pawulo yamenya n’abalala abaasinza Yakuwa mu ngeri gy’asiima, nga muno mwe mwali abasajja nga Nuuwa, Ibulayimu, ne Yakobo. (Soma Abebbulaniya 11:7, 8, 17-21.) Abasajja abo bonna baawaayo ebiweebwayo eri Yakuwa era Yakuwa yasiima ebiweebwayo byabwe. Lwaki? Kiri kityo kubanga ng’oggyeeko okuba nti baliko bye baakola ebiraga nti baali beemalidde ku Katonda, baatuukiriza n’ebintu ebirala ebyetaagisa mu kusinza okulongoofu. Ka twetegereze ebibakwatako.

Ebiweebwayo Nuuwa bye yawaayo byakyoleka kaati nti Yakuwa yekka y’alina okusinzibwa (Laba akatundu 15, 16)

15, 16. Nuuwa yatuukiriza atya ebisaanyizo ebina eby’okusinza okulongoofu?

15 Nuuwa yazaalibwa nga wayise emyaka 126 gyokka oluvannyuma lwa Adamu okufa; naye mu kiseera ekyo ensi yali ejjudde okusinza okw’obulimba. b (Lub. 6:11) Mu bantu bonna abaaliwo ng’Amataba ganaatera okujja, Nuuwa n’ab’omu maka ge bokka be baali basinza Yakuwa mu ngeri entuufu. (2 Peet. 2:5) Oluvannyuma lw’Amataba, Nuuwa yazimba ekyoto asobole okuwaayo ssaddaaka eri Yakuwa, era nga kino kye kyoto ekisooka okwogerwako mu Bayibuli. Ekyo Nuuwa kye yakola kyakyoleka kaati eri ab’omu maka ge n’eri abantu abalala abandivudde mu ye nti Yakuwa yekka y’alina okusinzibwa. Nuuwa yalonda “ku nsolo zonna ennongoofu, ne ku bibuuka byonna ebirongoofu,” n’awaayo ebiweebwayo eri Yakuwa. (Lub. 8:20) Omutindo gw’ebiweebwayo ebyo gwe gwali gusingayo obulungi kubanga Yakuwa kennyini ye yali yagamba nti ensolo ezo nnongoofu.​—Lub. 7:2.

16 Ssaddaaka ezo Nuuwa yaziweerayo ku kyoto kye yazimba. Engeri gye yaziwaayo yali ekkirizibwa? Yee. Bayibuli egamba nti Nuuwa bwe yawaayo ssaddaaka ezo, Yakuwa yawunyirwa evvumbe eddungi era bw’atyo n’awa Nuuwa ne batabani be omukisa. (Lub. 8:21; 9:1) Naye ensonga eyasinga okuleetera Yakuwa okukkiriza ssaddaaka ezo eri nti Nuuwa yaziwaayo ng’alina ekiruubirirwa ekirungi. Ssaddaaka ezo zaayongereza ku bintu ebirala Nuuwa bye yali akoze ebyali biraga nti yalina okukkiriza okw’amaanyi era nti yali ayagala okukola ebintu nga Yakuwa bw’ayagala. Olw’okuba bulijjo Nuuwa yagonderanga Yakuwa era ng’akolera ku mitindo gye egy’obutuukirivu, Bayibuli egamba nti “yatambula ne Katonda ow’amazima.” N’ekyavaamu, Nuuwa yamanyibwa ng’omusajja omutuukirivu.​—Lub. 6:9; Ezk. 14:14; Beb. 11:7.

17, 18. Ibulayimu yatuukiriza atya ebisaanyizo ebina eby’okusinza okulongoofu?

17 Ibulayimu naye yali abeera mu kitundu okusinza okw’obulimba gye kwali kusimbye amakanda. Ekibuga Uli, Ibulayimu gye yali abeera, kyalimu yeekaalu ennene eya katonda w’omwezi eyali ayitibwa Nanna. c Waliwo n’ekiseera taata wa Ibulayimu we yasinziza bakatonda ab’obulimba. (Yos. 24:2) Naye Ibulayimu yasalawo okusinza Yakuwa. Ibulayimu ayinza okuba nga yayiga ebikwata ku Katonda ow’amazima okuyitira mu Seemu, omu ku baana ba Nuuwa. Nuuwa ne Seemu baabeerawoko mu kiseera kye kimu okumala emyaka 150.

18 Ekiseera kyonna Ibulayimu kye yamala nga mulamu, yawaayo ebiweebwayo bingi. Kyokka ebiweebwayo ebyo byonna yabiwaayo eri Yakuwa, oyo yekka agwanidde okusinzibwa. (Lub. 12:8; 13:18; 15:8-10) Naye Ibulayimu yali mwetegefu okuwa Yakuwa ebiweebwayo ebiri ku mutindo ogusingayo obulungi? Ekibuuzo ekyo kyaddibwamu bulungi, Ibulayimu bwe yakiraga nti yali mwetegefu okuwaayo omwana we Isaaka gwe yali ayagala ennyo. Ku mulundi ogwo, Yakuwa yabuulira Ibulayimu engeri yennyini gye yalina okuwaayo ekiweebwayo ekyo. (Lub. 22:1, 2) Ibulayimu yali mwetegefu okukola byonna Yakuwa bye yali amugambye. Mu butuufu, Yakuwa ye yakoma ku Ibulayimu aleme kutta mwana we. (Lub. 22:9-12) Yakuwa yakkiriza okusinza kwa Ibulayimu kubanga Ibulayimu yali asinza Yakuwa ng’alina ebiruubirirwa ebirungi. Pawulo yagamba nti: ‘Ibulayimu yakkiririza mu Yakuwa n’abalibwa okuba omutuukirivu.’​—Bar. 4:3.

Yakobo yateerawo ab’omu maka ge ekyokulabirako ekirungi (Laba akatundu 19, 20)

19, 20. Yakobo yatuukiriza atya ebisaanyizo ebina eby’okusinza okulongoofu?

19 Yakobo yamala ekiseera kiwanvu mu Kanani, ensi Yakuwa gye yasuubiza okuwa Ibulayimu ne bazzukulu be. (Lub. 17:1, 8) Abantu b’omu Kanani baali beenyigira mu kusinza okw’obulimba okwali kujjudde ebikolwa eby’obugwenyufu ne kiba nti Yakuwa yagamba nti ensi eyo yali egenda “kusesema abo abagibeeramu.” (Leev. 18:24, 25) Yakobo bwe yali ng’alina emyaka 77, yava mu Kanani, n’awasa, era oluvannyuma n’addayo mu nsi eyo ng’alina abantu bangi mu maka ge. (Lub. 28:1, 2; 33:18) Kyokka abamu ku b’omu maka ge baali batwaliriziddwa okusinza okw’obulimba. Wadde kyali kityo, Yakuwa bwe yagamba Yakobo okugenda e Beseri azimbe ekyoto, Yakobo yasitukiramu. Naye Yakobo yasooka n’agamba ab’omu nju ye nti: “Muggyeewo bakatonda abalala abali mu mmwe, mwetukuze.” Oluvannyuma yakolera ku bulagirizi bwe yali aweereddwa.​—Lub. 35:1-7.

20 Yakobo yazimba ebyoto ebiwerako mu Nsi Ensuubize, kyokka ebyoto ebyo byonna yabizimbira Yakuwa, oyo agwanidde okusinzibwa. (Lub. 35:14; 46:1) Omutindo gw’ebiweebwayo bye, engeri gye yasinzangamu Katonda, n’ebiruubirirwa bye yalina byonna byali birungi ne kiba nti Bayibuli egamba nti Yakobo ‘teyaliiko kya kunenyezebwa.’ Ekyo kiraga nti yali asiimibwa mu maaso ga Katonda. (Lub. 25:27) Yakobo yassaawo ekyokulabirako ekirungi abantu b’eggwanga lya Isirayiri eryandivudde mu ye kye baali basaanidde okukoppa.​—Lub. 35:9-12.

21. Ebyo bye tusoma ku basajja abeesigwa ab’edda bituyigiriza ki ku kusinza okulongoofu?

21 Ebyo bye tusoma ku basajja abo abeesigwa abaaliwo edda bituyigiriza ki ku kusinza okulongoofu? Okufaananako abasajja abo, naffe twetooloddwa abantu, oboolyawo omuli n’ab’eŋŋanda zaffe, abasobola okutulemesa okwemalira ku Yakuwa. Okusobola okusigala nga tuli beesigwa, tulina okuba n’okukkiriza okunywevu n’okuba abakakafu nti emitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu gye gisingayo obulungi. Twoleka okukkiriza okwo nga tugondera Yakuwa era nga tukozesa ebiseera byaffe, amaanyi gaffe, n’ebintu byaffe okumuweereza. (Mat. 22:37-40; 1 Kol. 10:31) Nga kituzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti bwe tusinza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna, mu ngeri gy’asiima, era nga tulina ebiruubirirwa ebirungi, atutwala okuba abatuukirivu!​—Soma Yakobo 2:18-24.

Eggwanga Eryali Lisinza mu Ngeri Entuufu

22-24. Amateeka gaayamba gatya Abayisirayiri okumanya ani eyalina okuweebwa ebiweebwayo, omutindo gw’ebiweebwayo bye baalina okuwaayo, n’engeri gye baalina okubiwaayo?

22 Yakuwa yawa bazzukulu ba Yakobo Amateeka, n’abayamba okumanya obulungi bye baalina okukola okusobola okumusanyusa. Bwe bandigondedde Yakuwa, bandifuuse ‘ekintu kye ekiganzi’ era “eggwanga ettukuvu.” (Kuv. 19:5, 6) Weetegereze engeri Amateeka ago gye gaalambikamu obulungi ebisaanyizo ebina ebizingirwa mu kusinza okulongoofu.

23 Yakuwa yalaga bulungi ani Abayisirayiri gwe baalina okusinza. Yabagamba nti: “Tobanga na bakatonda balala okuggyako nze.” (Kuv. 20:3-5) Omutindo gw’ebiweebwayo bye baalina okuwaayo gwalina okuba nga gwe gusingayo obulungi. Ng’ekyokulabirako, ensolo ze baawangayo zaalina okuba ennamu obulungi, nga teziriiko bulemu bwonna. (Leev. 1:3; Ma. 15:21; geraageranya Malaki 1:6-8.) Abaleevi baaganyulwanga nnyo mu bintu ebyaweebwangayo eri Yakuwa, naye nabo kinnoomu baalina okubaako kye bawaayo eri Yakuwa. Ekyo kye baawangayo kyalina okuggibwa “ku birabo byonna ebisingayo obulungi” bye baaweebwanga. (Kubal. 18:29) Ku bikwata ku ngeri gye baalina okusinzaamu Yakuwa, Abayisirayiri baaweebwa obulagirizi obukwata ku biweebwayo bye baalina okuwaayo, wa we baalina okubiweerayo, n’engeri gye baalinanga okubiwaayo eri Yakuwa. Okutwalira awamu, Abayisirayiri baaweebwa amateeka agasukka mu 600 agandibayambye okumanya engeri gye baalina okweyisaamu, era baagambibwa nti: “Mufeeyo nnyo okukola byonna Yakuwa Katonda wammwe by’abalagidde. Temukyukanga kudda ku ddyo oba ku kkono.”​—Ma. 5:32.

24 Abayisirayiri baalina okufaayo wa we baalina okuweerayo ebiweebwayo byabwe? Yee. Yakuwa yabalagira okuzimba weema, era weema eyo ye yali entabiro y’okusinza okulongoofu. (Kuv. 40:1-3, 29, 34) Mu kiseera ekyo, Omuyisirayiri yenna eyabanga ayagala ekiweebwayo kye kikkirizibwe mu maaso ga Katonda, yalina okukireetanga ku weema. d​—Ma. 12:17, 18.

25. Bwe kituuka ku biweebwayo, kiki Yakuwa kye yali asinga okutwala ng’ekikulu? Nnyonnyola.

25 Kyokka Yakuwa kye yali asinga okutwala ng’ekikulu, kye kiruubirirwa Omuyisirayiri kye yabanga nakyo ng’awaayo ekirabo kye! Omuyisirayiri yalinanga okuba ng’ayagala Yakuwa n’emitindo gye. (Soma Ekyamateeka 6:4-6.) Abayisirayiri bwe baasinzanga Yakuwa nga batuukiriza butuukiriza luwalo, Yakuwa yagaananga ebiweebwayo byabwe. (Is. 1:10-13) Okuyitira mu nnabbi Isaaya, Yakuwa yakiraga nti tasobola kubuzaabuzibwa bikolwa bya bunnanfuusi. Yagamba nti: “Abantu bano . . . banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa; naye emitima gyabwe gindi wala.”​—Is. 29:13.

Okusinza ku Yeekaalu

26. Mu kusooka, yeekaalu Sulemaani gye yazimba yakozesebwa etya mu kusinza okulongoofu?

26 Nga wayise ebyasa ebiwerako oluvannyuma lw’Abayisirayiri okuyingira mu Nsi Ensuubize, Kabaka Sulemaani yazimba ekifo eky’okusinzizaamu ekyali kirabika obulungi era ekyali eky’ebbeeyi ennyo okusinga weema. (1 Bassek. 7:51; 2 Byom. 3:1, 6, 7) Mu kusooka, ebiweebwayo byonna ebyaweebwangayo ku yeekaalu byaweebwangayo eri Yakuwa yekka. Sulemaani n’abantu be baawangayo ebiweebwayo bingi nnyo nga biri ku mutindo ogwa waggulu ennyo era baabiwangayo mu ngeri eyali eragiddwa mu Mateeka ga Katonda. (1 Bassek. 8:63) Kyokka okuba nti ekizimbe ekyo kyali kya bbeeyi n’okuba nti Abayisirayiri baawangayo ebiweebwayo bingi nnyo si kye kyaleetera Yakuwa okusiima okusinza kwabwe. Yakuwa kye yatwala ng’ekikulu kye kiruubirirwa kye baalina nga bawaayo ebirabo byabwe. Ensonga eyo Sulemaani yagikkaatiriza bwe baali bawaayo yeekaalu eri Yakuwa. Yagamba nti: “Omutima gwammwe ka gwemalire ku Yakuwa Katonda waffe, nga mutambulira mu mateeka ge era nga mukwata ebiragiro bye nga bwe mukola leero.”​—1 Bassek. 8:57-61.

27. Kiki bakabaka ba Isirayiri n’abantu be baali bafuga kye baakola, era Yakuwa yakolawo ki?

27 Eky’ennaku, Abayisirayiri tebeeyongera kukolera ku bulagirizi obwo. Baalemererwa okutuukiriza ebimu ku bisaanyizo by’okusinza okulongoofu. Bakabaka ba Isirayiri n’abantu be baali bafuga bakkiriza emitima gyabwe okwonoonebwa, baalekera awo okwesiga Yakuwa, era baava ku mitindo gye egy’obutuukirivu. Yakuwa yatuma bannabbi be enfunda n’enfunda okubawabula n’okubalabula ku ebyo ebyandivudde mu bikolwa byabwe. (Yer. 7:13-15, 23-26) Omu ku bannabbi abo yali Ezeekyeri. Ezeekyeri yaliwo mu kiseera ekyali ekizibu ennyo mu byafaayo by’okusinza okulongoofu.

Ezeekyeri Yalaba Okusinza Okulongoofu nga Kwonoonebwa

28, 29. Biki bye tumanyi ku Ezeekyeri? (Laba akasanduuko “Ezeekyeri​—Obulamu Bwe n’Ekiseera We Yabeererawo.”)

28 Ezeekyeri yali amanyi bulungi engeri okusinza Yakuwa gye kwatambulangamu ku yeekaalu Sulemaani gye yazimba. Kitaawe yali kabona, era ayinza okuba nga yagendanga ku yeekaalu okuweereza. (Ezk. 1:3) Kirabika mu myaka gya Ezeekyeri egy’obuto, ebintu byali bitambula bulungi. Kitaawe ateekwa okuba nga yamuyigiriza ebikwata ku Yakuwa n’Amateeka ge. Mu butuufu, awo nga mu kiseera Ezeekyeri we yazaalibwa, “ekitabo ky’Amateeka” kyazuulibwa mu yeekaalu. e Kabaka omulungi Yosiya eyali afuga mu kiseera ekyo yakwatibwako nnyo ebyo bye yawulira mu kitabo ekyo n’ayongera amaanyi mu kuzzaawo okusinza okulongoofu.​—2 Bassek. 22:8-13.

Taata wa Ezeekyeri ateekwa okuba nga yamuyigiriza ebikwata ku Yakuwa n’Amateeka ge (laba akatundu 28)

29 Okufaananako abasajja abeesigwa abaamusookawo, Ezeekyeri yatuukiriza ebisaanyizo ebina eby’okusinza okulongoofu. Ng’ebyo ebiri mu kitabo kya Ezeekyeri bwe biraga, Ezeekyeri yaweereza Yakuwa yekka, yamuwanga ekisingayo obulungi, yakolanga ebyo Yakuwa bye yamulagiranga, era yabikolanga mu ngeri Yakuwa gy’ayagala. Ebyo byonna Ezeekyeri yabikola olw’okuba yalina okukkiriza okw’amaanyi. Naye abantu abasinga obungi abaaliwo mu kiseera kye si bwe baali. Ezeekyeri yakula awulira obunnabbi bwa Yeremiya, eyatandika okuweereza nga nnabbi mu mwaka gwa 647 E.E.T., era eyeeyongera okulangirira n’obunyiikivu omusango Yakuwa gwe yali asaze.

30. (a) Obunnabbi obuli mu kitabo kya Ezeekyeri bulaga ki? (b) Obunnabbi kye ki, era obunnabbi obwayogerwa Ezeekyeri busaanidde kutegeerwa butya? (Laba akasanduuko “Okutegeera Obunnabbi bwa Ezeekyeri.”)

30 Ebyo bye tusoma mu kitabo kya Ezeekyeri biraga nti abantu ba Katonda baali bawabye okuva ku kusinza okulongoofu. (Soma Ezeekyeri 8:6.) Yakuwa bwe yatandika okubonereza Yuda, Ezeekyeri yali omu ku abo abaatwalibwa mu buwambe e Babulooni. (2 Bassek. 24:11-17) Wadde nga Ezeekyeri yatwalibwa mu buwambe, tekyali nti Katonda yali amubonereza. Yakuwa yalina omulimu gwe yali ayagala Ezeekyeri akole mu bantu be abaali mu buwaŋŋanguse. Okwolesebwa okwewuunyisa n’obunnabbi obuli mu kitabo kya Ezeekyeri byalaga engeri okusinza okulongoofu gye kwandizziddwawo mu Yerusaalemi. Kyokka era biraga engeri okusinza okulongoofu gye kujja okuzzibwaawo mu bujjuvu mu biseera eby’omu maaso.

31. Ekitabo kino kigenda kutuyamba kitya?

31 Mu bitundu ebiddako eby’ekitabo kino, tujja kulaba ebikwata ku kifo Yakuwa gy’abeera, engeri okusinza okulongoofu gye kwayonoonebwamu, engeri Yakuwa gye yazzaawo okusinza okulongoofu, engeri gye yakuumamu abantu be, n’ebikwata ku biseera eby’omu maaso abantu bonna lwe baliba nga basinza Yakuwa yekka. Mu ssuula eddako, tugenda kwetegereza okwolesebwa okusooka Ezeekyeri kwe yafuna. Kujja kutuyamba okukuba akafaananyi ku kitiibwa kya Yakuwa n’ekitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kye, era ekyo kijja kutuyamba okwongera okulaba ensonga lwaki Yakuwa yekka y’alina okusinzibwa.

a Abbeeri ayinza okuba nga yazaalibwa nga wayise emyaka mitono oluvannyuma lwa Adamu ne Kaawa okugobebwa mu Edeni. (Lub. 4:1, 2) Olubereberye 4:25 wagamba nti Katonda yalonda Seezi “okudda mu kifo kya Abbeeri.” Adamu yalina emyaka 130 we yazaalira Seezi, nga Abbeeri amaze okuttibwa mu bukambwe. (Lub. 5:3) N’olwekyo, Abbeeri ayinza okuba nga yalina emyaka nga 100 Kayini we yamuttira.

b Olubereberye 4:26 wagamba nti mu kiseera kya Enosi, muzzukulu wa Adamu, “abantu baatandika okukoowoola erinnya lya Yakuwa.” Naye kirabika ekyo abantu baali bakikola mu ngeri evvoola Yakuwa, oboolyawo ng’erinnya lya Yakuwa balikwataganya n’ebifaananyi.

c Nanna yali katonda omusajja era yali ayitibwa Sin. Wadde ng’abantu b’omu Uli baali basinza bakatonda ab’enjawulo, yeekaalu n’ebyoto ebisinga obungi mu kibuga ekyo byali bya Nanna.

d Kirabika oluvannyuma lw’essanduuko entukuvu okuggibwa mu weema entukuvu, Yakuwa yakkiriza Abayisirayiri okuweerayo ebiweebwayo byabwe ne mu bifo ebirala.​​—1 Sam 4:3, 11; 7:7-9; 10:8; 11:14, 15; 16:4, 5; 1 Byom. 21:26-30.

e Kirabika Ezeekyeri yalina emyaka 30 mu 613 E.E.T., we yatandikira okuweereza nga nnabbi. N’olwekyo, kirabika yazaalibwa awo nga mu 643 E.E.T. (Ezk. 1:1) Yosiya yatandika okufuga mu 659 E.E.T., era ekitabo ky’Amateeka kyazuulibwa awo nga mu mwaka ogwa 18 ogw’obufuzi bwe, kwe kugamba, wakati w’omwaka 642 E.E.T ne 641 E.E.T.