ESSUULA 15
“Nja Kukomya Obwamalaaya Bwo”
OMULAMWA: Bye tuyigira ku ebyo ebyogerwa ku bamalaaya mu kitabo kya Ezeekyeri n’eky’Okubikkulirwa
1, 2. Malaaya wa ngeri ki asingira ddala okutwesisiwaza?
KINAKUWAZA nnyo okulaba omuntu ng’akola obwamalaaya. Kiyinza okutuleetera okwebuuza ekyamuviirako okukola obwamalaaya. Kyandiba nti yali atulugunyizibwa awaka ne kimuleetera okutandika okukola obwamalaaya ng’akyali muto? Oba kyandiba nti obwavu obusukkiridde bwe bwamuleetera okusalawo okwetunda? Oba kyandiba nti yadduka ku musajja eyali amutulugunya? Leero ebintu ng’ebyo bitera okuviirako abantu bangi okukola obwamalaaya. N’olwekyo tekyewuunyisa nti waliwo bamalaaya Yesu be yakwatirwa ekisa. Yakiraga nti bwe beenenya ne bakyusa obulamu bwabwe, bandibadde n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi.—Mat. 21:28-32; Luk. 7:36-50.
2 Kati ate ka tulowooze ku kika kya malaaya omulala. Lowooza ku mukazi asalawo kyeyagalire okukola obwamalaaya. Okukola obwamalaaya takitwala ng’ekintu ekimuswaza, wabula akitwala ng’ekintu ekimuwa obuyinza! Yeenyumiririza mu ssente n’okuganja by’afuna mu bwamalaaya. Naye watya singa omukazi oyo yalina omwami omulungi era omwesigwa naye n’asalawo okumuleka okusobola okukola obwamalaaya? Kya lwatu nti omukazi eyeeyisa bw’atyo aba yeesisiwaza nnyo. Bwe tulowooza ku mukazi oyo, kituyamba okutegeera ensonga lwaki enfunda n’enfunda Yakuwa Katonda akozesa ekigambo malaaya okulaga engeri gy’atwalamu eddiini ez’obulimba.
3. Ssuula ki ez’ekitabo kya Ezeekyeri ze tugenda okwekenneenya mu ssuula eno?
3 Ekitabo kya Ezeekyeri kirimu essuula bbiri Yakuwa mw’akozeseza ekyokulabirako kya bamalaaya okulaga obutali bwesigwa bw’abantu be abaali mu Isirayiri ne mu Yuda. (Ezk., sul. 16 ne 23) Naye nga tetunneekenneenya ssuula ezo, ka tusooke tulabeyo malaaya omulala ow’akabonero. Obwamalaaya yabutandika dda nnyo nga ne Ezeekyeri tannabaawo, nga ne Isirayiri tennabaawo, era akyabukola n’okutuusa leero. Malaaya oyo ayogerwako mu kitabo ky’Okubikkulirwa, ekisembayo mu Bayibuli.
“Nnyina wa Bamalaaya”
4, 5. “Babulooni Ekinene” kye ki, era ekyo tukimanya tutya? (Laba ekifaananyi ku lupapula 162.)
4 Mu kwolesebwa Yesu kwe yawa omutume Yokaana ku nkomerero y’ekyasa ekyasooka E.E., Yokaana yalaba malaaya. Malaaya oyo ayitibwa “malaaya omukulu” era “Babulooni Ekinene, nnyina wa bamalaaya.” (Kub. 17:1, 5) Okumala ebyasa bingi, abakulu b’amadiini n’abeekenneenya Bayibuli babadde bagezaako okumanya malaaya oyo ky’akiikirira. Abamu bagamba nti akiikirira Babulooni, Rooma, oba Ekkereziya Katolika eya Rooma. Kyokka okumala emyaka mingi bo Abajulirwa ba Yakuwa babadde bamanyi bulungi ‘malaaya oyo omukulu’ ky’akiikirira. Akiikirira amadiini gonna ag’obulimba. Ekyo tukimanya tutya?
5 Malaaya oyo avunaanibwa olw’okwenda ne “bakabaka b’ensi,” oba bannabyabufuzi. N’olwekyo tasobola kuba ng’akiikirira bya bufuzi. Ate era ekitabo ky’Okubikkulirwa kiraga nti “abasuubuzi b’oku nsi,” oba enteekateeka y’eby’obusuubuzi, bakungubaga bwe balaba nga Babulooni Ekinene kizikiriziddwa. N’olwekyo, Babulooni Ekinene tekisobola kuba nga kikiikirira enteekateeka y’eby’obusuubuzi. Kati malaaya oyo y’ani? Bayibuli eraga nti avunaanibwa ‘olw’ebikolwa eby’obusamize,’ olw’okusinza ebifaananyi, n’olw’okulimba. Ebintu ebyo ebimuvunaanibwa bye bintu ebikolebwa mu madiini ag’obulimba. Era weetegereze nti malaaya oyo ayogerwako ng’atudde oba alina obuyinza obw’ekigero ku bafuzi b’ensi. Ate era malaaya oyo ayigganya abaweereza ba Yakuwa Katonda. (Kub. 17:2, 3; 18:11, 23, 24) Ekyo kyennyini amadiini ag’obulimba kye gazze gakola n’okutuusa leero.
6. Lwaki Babulooni Ekinene kiyitibwa “nnyina wa bamalaaya”?
6 Ng’oggyeeko okuba nti Babulooni Ekinene kiyitibwa “malaaya omukulu,” era kiyitibwa “nnyina wa bamalaaya.” Lwaki? Amadiini ag’obulimba geekutuddekutuddemu ebibiina bingi nnyo. Muno mw’osanga amadiini amanene ddala n’obudiinidiini obutonotono. Katonda bwe yatabulatabula ennimi mu Babeeri eky’edda, oba Babulooni, abantu abaasaasaanira mu bitundu ebitali bimu eby’ensi baagenda n’enjigiriza ez’obulimba, era ekyo ne kiviirako amadiini mangi ag’obulimba okutandikibwawo. Kituukirawo okuba nti amadiini ag’obulimba gayitibwa “Babulooni Ekinene” kubanga mu kibuga Babulooni mwe mwasibuka eddiini ez’obulimba! (Lub. 11:1-9) N’olwekyo eddiini zonna ez’obulimba zisobola okutwalibwa ng’ezirina maama omu, malaaya omukulu. Sitaani akozesa nnyo amadiini ago okuleetera abantu okwenyigira mu by’obusamize, okusinza ebifaananyi, n’okwenyigira mu bikolwa ebirala ebitaweesa Katonda kitiibwa. N’olwekyo tekyewuunyisa nti Katonda akubiriza abantu nti: “Mukifulumemu abantu bange, bwe muba nga temwagala kussa kimu nakyo mu bibi byakyo”!—Soma Okubikkulirwa 18:4, 5.
7. Lwaki kikulu nnyo abantu okufuluma Babulooni Ekinene?
7 Okoledde ku kulabula okwo? Kijjukire nti Yakuwa yatonda abantu nga beetaaga okusinza. (Mat. 5:3) Ekyetaago ekyo okusobola okukolebwako mu ngeri entuufu omuntu alina okuba mu kusinza okulongoofu. Abaweereza ba Yakuwa tebaagala kuba na kakwate konna na ddiini za bulimba. Naye ekyo Sitaani si ky’ayagala. Ayagala okuleetera abantu ba Katonda okwenda mu by’omwoyo, era emirundi mingi ekyo asobodde okukikola. Ekiseera kya Ezeekyeri we kyatuukira, abantu ba Katonda baali bamaze ekiseera kiwanvu nga benda mu by’omwoyo. Okwekenneenya ebyafaayo by’abantu ba Katonda abo kijja kutuyamba okuyiga bingi ebikwata ku mitindo gya Katonda, obwenkanya bwe, n’obusaasizi bwe.
‘Wafuuka Malaaya’
8-10. Kisaanyizo ki eky’okusinza okulongoofu ekituyamba okumanya engeri Yakuwa gy’awuliramu ng’abantu beenyigira mu kusinza okw’obulimba? Waayo ekyokulabirako.
8 Mu kitabo kya Ezeekyeri Yakuwa yakozesa ekyokulabirako kya bamalaaya okulaga engeri gye yali awuliramu. Mu ssuula bbiri ez’ekitabo ekyo, Ezeekyeri yaluŋŋamizibwa okulaga obulumi Yakuwa bwe yawulira ng’abantu be bafuuse abatali beesigwa gy’ali. Lwaki yabageraageranya ku bamalaaya?
9 Okusobola okufuna eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo, tusaanidde okujjukira ekimu ku bisaanyizo ebikulu eby’okusinza okulongoofu bye twalaba mu Ssuula 5 ey’ekitabo kino. Mu Mateeka Yakuwa ge yawa Abayisirayiri yabagamba nti: “Tobanga na bakatonda balala okuggyako nze. . . . Nze Yakuwa Katonda wo, ndi Katonda ayagala abantu okunneemalirako.” (Kuv. 20:3, 5) Era oluvannyuma Yakuwa yaddamu okukkaatiriza ensonga eyo ng’agamba nti: “Tovunnamiranga katonda mulala yenna, kubanga Yakuwa amanyiddwa nga Katonda ayagala abantu okumwemalirako. Ye Katonda ayagala abantu okumwemalirako.” (Kuv. 34:14) Kyeyoleka kaati nti Yakuwa tasobola kusiima kusinza kwaffe okuggyako nga tusinza ye yekka.
10 Okusobola okutegeera ensonga eyo obulungi, ka tulowooze ku bufumbo. Omwami n’omukyala buli omu alina ebintu by’asuubira okuba nga munne abikolera ye yekka. Singa omu ku bo atandika okukolagana mu ngeri etasaana n’omuntu omulala atali munne mu bufumbo, munne aba mutuufu okukwatibwa obuggya oba okuwulira nti aliiriddwamu olukwe. (Soma Abebbulaniya 13:4.) Mu ngeri y’emu, bwe kituuka ku kusinza, Yakuwa aba mutuufu okuwulira nti aliiriddwamu olukwe, abantu be abeewaayo gy’ali bwe batandika okusinza bakatonda ab’obulimba. Ekyo akyoleka bulungi mu Ezeekyeri essuula 16.
11. Kiki Yakuwa kye yayogera ku Yerusaalemi ne ku ngeri gye kyatandikawo?
11 Ebigambo ebisingayo obungi Yakuwa bye yayogera mu kitabo kya Ezeekyeri biri mu ssuula 16 ey’ekitabo ekyo, era obwo bwe bumu ku bunnabbi obusingayo obuwanvu mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya. Yakuwa akozesa ekibuga Yerusaalemi okukiikirira eggwanga lya Yuda eritaali lyesigwa. Alaga entandikwa ya Yerusaalemi embi n’engeri gye yamulyamu olukwe. Yerusaalemi yali ng’omwana omuwere asuuliddwa, atali muyonjo, era nga tewali amufaako. Bazadde be baali Bakanani, abakaafiiri abaali babeera mu nsi eyo. Mu butuufu, Yerusaalemi kyamala emyaka mingi nga kifugibwa abantu b’omu Kanani abayitibwa Abayebusi, okutuusa Dawudi lwe yakiwamba. Yakuwa yakwatirwa ekisa omwana oyo eyali asuuliddwa, n’amulongoosa, era n’atandika okumulabirira. Nga wayise ekiseera, Yerusaalemi yafuuka nga mukyala we. Mu butuufu, Abayisirayiri abaali mu kibuga ekyo baali mu ndagaano ne Yakuwa era ng’endagaano eyo baali baagikola kyeyagalire mu biseera bya Musa. (Kuv. 24:7, 8) Yerusaalemi bwe kyafuuka ekibuga ekikulu ekya Isirayiri, Yakuwa yakiwa emikisa, n’akigaggawaza, era n’akirungiya ng’omwami omugagga bw’ayambaza mukyala we gw’ayagala amajolobero.—Ezk. 16:1-14.
12. Yerusaalemi kyatandika kitya obutaba kyesigwa?
12 Weetegereze ekyaddirira. Yakuwa yagamba nti: “Wafuna amalala olw’obulungi bwo n’ofuuka malaaya olw’ettutumu lyo. Wayendanga n’abo bonna abaayitangawo, obulungi bwo ne buba bwabwe.” (Ezk. 16:15) Mu kiseera kya Sulemaani, Yakuwa yawa abantu be emikisa mingi era n’abagaggawaza, ne kiba nti Yerusaalemi kyafuuka ekibuga ekisingayo okulabika obulungi mu kiseera ekyo. (1 Bassek. 10:23, 27) Naye mpolampola abantu be baatandika obutaba beesigwa gy’ali. Olw’okuba Sulemaani yali ayagala okusanyusa bakazi be ab’amawanga amalala, yaleeta bakatonda ab’obulimba mu kibuga ekyo, bw’atyo n’akifuula ekitali kirongoofu. (1 Bassek. 11:1-8) Ate abamu ku bakabaka abaamuddirira baakola n’ekisingawo obubi ku ekyo, kubanga bajjuza ensi ya Isirayiri okusinza okw’obulimba. Yakuwa yawulira atya ng’abantu be bakola ebikolwa ebyo ebitali bya bwesigwa era eby’obwamalaaya? Yagamba nti: “Ebintu ng’ebyo tebisaanidde kubaawo era tebyandibaddewo.” (Ezk. 16:16) Naye abantu be abaali bamujeemedde baayongera okukola ebintu ebibi ennyo!
Abamu ku Bayisirayiri baawaayo abaana baabwe nga ssaddaaka eri bakatonda ab’obulimba gamba nga Moleki
13. Bintu ki ebibi abantu ba Katonda ab’omu Yerusaalemi bye baali bakola?
13 Lowooza ku bulumi Yakuwa bwe yali awulira ng’ayogera ku bintu ebibi abantu be bye baali bakola. Yagamba nti: “Batabani bo ne bawala bo be wanzaalira wabawaayo nga ssaddaaka eri ebifaananyi—obwamalaaya bwo buba tebugenze wala nnyo? Watta abaana bange n’obawaayo nga ssaddaaka ng’obookya mu muliro.” (Ezk. 16:20, 21) Ebintu ebibi ennyo abantu b’omu Yerusaalemi bye baali bakola bitulaga Sitaani bw’ali omubi ennyo. Sitaani ayagala nnyo okuleetera abantu ba Yakuwa okwenyigira mu bikolwa ng’ebyo ebyesisiwaza! Naye Yakuwa alaba buli kimu. Ate asobola okuggyawo n’ebintu ebisingayo obubi Sitaani by’akola era ajja kubiggyawo.—Soma Yobu 34:24.
14. Baganda ba Yerusaalemi ababiri Yakuwa be yayogerako be baani, era ani ku abo abasatu eyasinga okuba omubi?
14 Naye Yerusaalemi yalemererwa okukiraba nti ebikolwa bye byali bibi nnyo. Yeeyongera okukola obwamalaaya. Yakuwa yagamba nti Yerusaalemi yali asinga bamalaaya abalala obutaba na nsonyi, kubanga ye ye yasasulanga abo abaayendanga naye! (Ezk. 16:34) Katonda yagamba nti Yerusaalemi yali nga “nnyina,” nga gano ge mawanga amakaafiiri edda agaabeeranga mu kitundu ekyo. (Ezk. 16:44, 45) Ate era Yakuwa yagamba nti muganda wa Yerusaalemi omukulu yali Samaliya, era nga Samaliya ye yasooka Yerusaalemi okwenda mu by’omwoyo. Yakuwa era yayogera ne ku muganda wa Yerusaalemi omulala ayitibwa Sodomu, era ng’ono yamukozesa mu ngeri ya kugereesa, kubanga yali yazikirizibwa dda olw’amalala ge n’olw’obugwenyufu. Yakuwa yali ayagala kukikkaatiriza nti Yerusaalemi yali mubi okusinga baganda be abo ababiri, Samaliya ne Sodomu! (Ezk. 16:46-50) Wadde ng’abantu ba Katonda baalabulwa enfunda n’enfunda, baagaana okuwuliriza ne beeyongera okukola ebikolwa ebibi.
15. Yakuwa yalina kigendererwa ki okusalira Yerusaalemi omusango, era ssuubi ki lye yawa abantu be?
15 Kiki Yakuwa kye yali agenda okukola? Yagamba Yerusaalemi nti: “Ŋŋenda kukuŋŋaanya baganzi bo bonna be wasanyusanga” era “nja kukuwaayo mu mikono gyabwe.” Amawanga Yerusaalemi ge yali akolagana nago, gaali gagenda kumuzikiriza gasaanyeewo obulungi bwe n’ebintu bye eby’omuwendo. Yakuwa era yagamba nti: “Bajja kukukuba amayinja, era bakutte n’ebitala byabwe.” Yakuwa yalina kigendererwa ki okusalira Yerusaalemi omusango ogwo? Yali tayagala kusaanyaawo bantu be, wabula yagamba nti: “Nja kukomya obwamalaaya bwo.” Era yagattako nti: “Nja kukumalirako ekiruyi kyange, obusungu bwange bukuveeko; era nja kukkakkana mbe nga sikyali munyiivu.” Nga bwe kyalagibwa mu Ssuula 9 ey’ekitabo kino, ekigendererwa kya Yakuwa kyali kya kuzzaayo abantu be ku butaka n’okubayamba okuddamu okumusinza mu ngeri gy’asiima. Lwaki? Yagamba nti: “Nja kujjukira endagaano gye nnakola naawe ng’okyali muto.” (Ezk. 16:37-42, 60) Obutafaananako bantu be, ye Yakuwa yali agenda kukyoleka nti mwesigwa!—Soma Okubikkulirwa 15:4.
16, 17. (a) Lwaki tetukyagamba nti Okola ne Okoliba bakiikirira Kristendomu? (Laba akasanduuko “Ab’oluganda Ababiri Bamalaaya.”) (b) Biki bye tuyiga mu Ezeekyeri essuula 16 ne 23?
16 Ebyo Yakuwa bye yayogera mu ssuula 16 ey’ekitabo kya Ezeekyeri birina bingi bye bituyigiriza ku mitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu, ku bwenkanya bwe, ne ku busaasizi bwe. Era ne Ezeekyeri essuula 23 erina bingi by’etuyigiriza ku nsonga ezo. Leero Abakristaayo ab’amazima bassaayo omwoyo ku ebyo Yakuwa bye yayogera ku bwamalaaya abantu be bwe baali bakola. Tetwagala kunakuwaza Yakuwa ng’abantu b’omu Yuda ne Yerusaalemi bwe baakola! N’olwekyo tulina okukyayira ddala okusinza ebifaananyi okw’engeri yonna. Kino kizingiramu okwewala omululu n’okwagala ebintu, kubanga ezo nazo ngeri za kusinza bifaananyi. (Mat. 6:24; Bak. 3:5) Tusaanidde okusiima Yakuwa olw’okuzzaawo okusinza okulongoofu mu nnaku zino ez’enkomerero n’olw’okuba nti tajja kukkiriza kusinza okwo kuddamu kwonoonebwa! Yakuwa yakola “endagaano ey’olubeerera” ne Isirayiri ow’omwoyo, era endagaano eyo tejja kumenyebwa kubanga Isirayiri ow’omwoyo ajja kusigala nga mwesigwa; tajja kukola bwamalaaya. (Ezk. 16:60) N’olwekyo, enkizo gye tulina ey’okubeera mu bantu ba Katonda abayonjo tusaanidde okugitwala nga ya muwendo nnyo.
17 Naye ebyo Yakuwa by’ayogera ku bamalaaya mu kitabo kya Ezeekyeri bituyigiriza ki ku “malaaya omukulu,” Babulooni Ekinene? Ka tulabe.
“Tekiriddamu Kulabika Nate”
18, 19. Kufaanagana ki okuliwo wakati wa bamalaaya aboogerwako mu Ezeekyeri ne malaaya ayogerwako mu kitabo ky’Okubikkulirwa?
18 Yakuwa takyuka. (Yak. 1:17) Engeri gye yali atwalamu eddiini ez’obulimba edda era bw’azitwala ne leero. N’olwekyo tekyewuunyisa kulaba nti waliwo okufaanagana kungi bw’ogeraageranya omusango gwe yasalira bamalaaya aboogerwako mu kitabo kya Ezeekyeri n’ekyo ekigenda okutuuka ku “malaaya omukulu” ayogerwako mu kitabo ky’Okubikkulirwa.
19 Ng’ekyokulabirako, weetegereze nti Yakuwa teyabonereza butereevu bamalaaya aboogerwako mu Ezeekyeri, wabula yakozesa amawanga ge baali benda nago mu by’omwoyo. Mu ngeri y’emu, eddiini ez’obulimba zivunaanibwa omusango gw’okwenda ne “bakabaka b’ensi.” Naye ani agenda okuzibonereza? Bayibuli egamba nti bakabaka b’ensi ‘balikyawa malaaya, balimuzikiriza, balimuleka bukunya, balirya omubiri gwe era balimwokera ddala omuliro.’ Lwaki gavumenti z’ensi zigenda kwefuulira malaaya oyo? Bayibuli egamba nti Katonda ajja ‘kukiteeka mu mitima gyazo okutuukiriza ekirowoozo kye.’—Kub. 17:1-3, 15-17.
20. Kiki ekiraga nti okuzikirizibwa kwa Babulooni kujja kuba kwa nkomeredde?
20 N’olwekyo, Yakuwa ajja kukozesa amawanga okutuukiriza omusango gwe yasalira amadiini gonna ag’obulimba, nga mw’otwalidde ne Kristendomu. Ekibonerezo eky’okugazikiriza kijja kuba kya nkomeredde; tajja kugasonyiwa, era amadiini ago tegajja kuweebwa kakisa kalala kukyusa makubo gaago. Ekitabo ky’Okubikkulirwa kigamba nti Babulooni Ekinene “tekiriddamu kulabika nate.” (Kub. 18:21) Bwe kinaamala okuzikirizibwa, bamalayika ba Katonda bajja kusanyuka nnyo era bagambe nti: “Mutendereze Ya! Omukka oguva mu Babulooni gunyooka emirembe n’emirembe.” (Kub. 19:3) Babulooni kijja kuzikirizibwa era tekijja kuddamu kubaawo nate. Yakuwa tajja kuddamu kukkiriza madiini ag’obulimba kubaawo nate goonoone okusinza okulongoofu. Babulooni ekinene bwe kinaamala okuzikirizibwa, mu ngeri ey’akabonero, omukka gwakyo gujja kusigala nga gunyooka emirembe n’emirembe.
21. Okuzikirizibwa kw’amadiini ag’obulimba ejja kuba ntandikwa ya kiseera ki, era ekiseera ekyo kinaakomekkerezebwa na ki?
21 Gavumenti z’ensi bwe zineefuulira Babulooni Ekinene ne zikizikiriza, zijja kuba zituukiriza omusango Yakuwa gwe yakisalira, era ekyo kijja kuba kintu kikulu nnyo mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Yakuwa. Eyo y’ejja okuba entandikwa y’ekibonyoobonyo ekinene ekitabangawo. (Mat. 24:21) Ekibonyoobonyo ekinene kijja kutuuka ku ntikko yaakyo ku lutalo Amagedoni, era nga mu lutalo olwo Yakuwa ajja kusaanyizaawo ddala enteekateeka y’ebintu eno embi. (Kub. 16:14, 16) Ng’essuula eziddako ez’ekitabo kino bwe ziraga, ekitabo kya Ezeekyeri kitubuulira bingi ebikwata ku ebyo ebinaabaawo mu kibonyoobonyo ekinene. Naye biki bye tuyize mu Ezeekyeri essuula 16 ne 23 bye twagala okukolerako?
22, 23. Okulowooza ku ebyo ebyogerwa ku bamalaaya aboogerwako mu kitabo kya Ezeekyeri n’eky’Okubikkulirwa kyandikutte kitya ku ngeri gye tuweerezaamu Yakuwa?
22 Sitaani ayagala okwonoona abo abali mu kusinza okulongoofu. Ky’asinga okwagala kwe kutuggya ku kusinza okulongoofu, tutandike okweyisa nga bamalaaya aboogerwako mu kitabo kya Ezeekyeri. Kyokka tusaanidde okukijjukira nti, bwe kituuka ku kusinza, Yakuwa ayagala tumwemalireko era tasobola kugumiikiriza butali bwesigwa! (Kubal. 25:11) Tusaanidde okuba abamalirivu okwesambira ddala eddiini zonna ez’obulimba, twewalire ddala okukwata “ku kintu kyonna ekitali kirongoofu” mu maaso ga Katonda. (Is. 52:11) Ate era tusaanidde okwewala okubaako oludda lwonna lwe tuwagira mu by’obufuzi ne mu bukuubagano bw’ensi eno. (Yok. 15:19) Mwoyo gwa ggwanga tugutwala ng’eddiini endala ey’obulimba Sitaani gy’abunyisa, era tugwewalira ddala.
23 N’ekisinga obukulu, enkizo gye tulina ey’okusinziza Yakuwa mu yeekaalu ye ey’eby’omwoyo ennyonjo era ennongoofu tusaanidde okugitwala nga ya muwendo. Ka bulijjo tukirage nti enkizo eyo tugitwala nga ya muwendo nnyo, nga twewala okuba n’akakwate konna n’amadiini ag’obulimba awamu n’ebikolwa byago eby’obwamalaaya!