ESSUULA 5
‘Laba Ebintu Ebibi Ennyo eby’Omuzizo Bye Bakola’
OMULAMWA: Yuda eyonooneka mu by’omwoyo ne mu mpisa
1-3. Kiki Yakuwa kye yali ayagala Ezeekyeri alabe mu yeekaalu e Yerusaalemi, era lwaki? (Laba ekifaananyi ku lupapula 50 ne 51.)
OLW’OKUBA nnabbi Ezeekyeri kitaawe yali kabona, ateekwa okuba ng’amanyi bulungi Amateeka ga Musa. N’olwekyo, amanyi bulungi yeekaalu eri mu Yerusaalemi n’engeri gy’erina okukozesebwamu mu kusinza Yakuwa. (Ezk. 1:3; Mal. 2:7) Naye kati mu mwaka gwa 612 E.E.T., ebyo ebikolebwa mu yeekaalu ya Yakuwa byesisiwaza Abayudaaya bonna abeesigwa eri Yakuwa, nga mw’otwalidde ne Ezeekyeri.
2 Yakuwa ayagala Ezeekyeri alabe ebintu ebibi ennyo ebikolebwa mu yeekaalu era abibuulire “abakadde ba Yuda,” kwe kugamba, abakadde abali naye mu buwaŋŋanguse era abakuŋŋaanidde mu nnyumba ye. (Soma Ezeekyeri 8:1-4; Ezk. 11:24, 25; 20:1-3) Ng’akozesa omwoyo omutukuvu, Yakuwa, okuyitira mu kwolesebwa, aggya Ezeekyeri mu nnyumba ye eri mu Teru-abibu okumpi n’omugga Kebali mu Babulooni, n’amutwala e Yerusaalemi ekyesudde mayiro nnyingi ebugwanjuba bwa Babulooni. Yakuwa atuusa Ezeekyeri mu yeekaalu n’amuteeka ku mulyango ogw’ebukiikakkono ogw’oluggya olw’omunda. Awo Yakuwa w’atandikira okumulambuza yeekaalu mu kwolesebwa.
3 Ezeekyeri alaba ebintu bya mirundi ena ebibi ennyo ebiraga engeri Abayisirayiri gye boonoonese ennyo mu by’omwoyo. Kiki ekituuse ku kusinza okulongoofu? Era kiki kye tuyigira ku kwolesebwa okwo? Tugenda kulaba ebyo Yakuwa bye yalaga Ezeekyeri. Naye ka tusooke tulabe ekyo Yakuwa ky’asuubira mu abo abamusinza.
“Nze . . . Ndi Katonda Ayagala Abantu Okunneemalirako”
4. Kiki Yakuwa kye yeetaagisa abo abamusinza?
4 Emyaka nga 900 emabega, Yakuwa yali yalaga bulungi ekyo kye yeetaagisa abo abamusinza. Mu tteeka ery’okubiri mu Mateeka Ekkumi, Yakuwa yagamba Abayisirayiri nti: a “Nze Yakuwa Katonda wo, ndi Katonda ayagala abantu okunneemalirako.” (Kuv. 20:5) Mu kugamba Abayisirayiri nti ayagala ‘okumwemalirako,’ Yakuwa yakiraga nti ayagala abamusinza baleme kusinza katonda mulala yenna, okuggyako ye. Nga bwe twalaba mu Ssuula 2 ey’ekitabo kino, ekisaanyizo ekisooka eky’okusinza okulongoofu kiri nti, oyo asinza alina kusinza Yakuwa yekka. Abo abasinza Yakuwa balina kukulembeza ye mu bulamu bwabwe. (Kuv. 20:3) Ekyo kitegeeza nti Yakuwa ayagala abo abamusinza okusigala nga bayonjo mu by’omwoyo, nga tebagattika kusinza okw’amazima n’okusinza okw’obulimba. Mu mwaka gwa 1513 E.E.T., Abayisirayiri bakkiriza okugoberera ebyali mu ndagaano y’Amateeka Yakuwa gye yakola nabo. Bwe kityo beeyama okusinza Yakuwa yekka. (Kuv. 24:3-8) Yakuwa anywerera ku ndagaano z’akola, era yali asuubira n’Abayisirayiri okunywera ku ndagaano gye baakola naye.—Ma. 7:9, 10; 2 Sam. 22:26.
5, 6. Lwaki Abayisirayiri baalina kusinza Yakuwa yekka?
5 Ddala kyali kigwana Yakuwa okugamba Abayisirayiri okusinza ye yekka? Yee! Yakuwa ye Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna, ye Mufuzi w’Obutonde Bwonna, ye Nsibuko y’obulamu era y’abubeezaawo. (Zab. 36:9; Bik. 17:28) Ate era Yakuwa ye yanunula Abayisirayiri. Bwe yali abawa Amateeka Ekkumi, yagamba nti: “Nze Yakuwa Katonda wo eyakuggya mu nsi ya Misiri, mu nnyumba ey’obuddu.” (Kuv. 20:2) N’olwekyo, Abayisirayiri baalina okusinza Yakuwa yekka.
6 Yakuwa takyuka. (Mal. 3:6) Bulijjo abaddenga yeetaagisa abaweereza be okumwemalirako. Lowooza ku ngeri gye yawuliramu bwe yalaba ng’Abayisirayiri bakola ebintu ebibi ennyo bye yalaga Ezeekyeri mu kwolesebwa.
Ekisooka: Ekifaananyi Ekisinzibwa Ekikwasa Obuggya
7. (a) Kiki Abayudaaya bakyewaggula kye baali bakolera ku mulyango gwa yeekaalu ogw’ebukiikakkono, era ekyo Yakuwa kyamuyisa kitya? (Laba ekifaananyi ku lupapula 52.) (b) Mu ngeri ki Yakuwa gye yakwatibwamu obuggya? (Laba obugambo obuli wansi 2.)
7 Soma Ezeekyeri 8:5, 6. Ekyo Ezeekyeri kye yalaba kiteekwa okuba nga kyamwesisiwaza nnyo! Ku mulyango gwa yeekaalu ogw’ebukiikakkono, Abayudaaya bakyewaggula baali basinza ekifaananyi. Kirabika ekifaananyi ekyo kyali kikondo ekisinzibwa ekyali kikiikirira Asera, katonda omukazi Abakanani gwe baali batwala nga mukazi wa Bbaali. Ka kibe ki ekifaananyi ekyo kye kyali kikiikirira, Abayisirayiri baamenya endagaano gye baakola ne Yakuwa. Abayisirayiri okusinza ekifaananyi ekyo kyakwasa Yakuwa obuggya kubanga ye yekka alina okusinzibwa. Yakuwa yali mutuufu okusunguwala. b (Ma. 32:16; Ezk. 5:13) Kirowoozeeko: Okumala emyaka egisukka mu 400, yeekaalu yali etwalibwa ng’ekifo Yakuwa w’abeera. (1 Bassek. 8:10-13) Naye kati olw’okuba Abayisirayiri abo bakyewaggula baali basinziza ebifaananyi munda mu yeekaalu, baaleetera Yakuwa “okwesamba ekifo [kye] ekitukuvu.”
8. Okwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna okukwata ku kifaananyi ekikwasa obuggya kutuyigiriza ki leero?
8 Okwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna okukwata ku kifaananyi ekikwasa obuggya kutuyigiriza ki leero? Eggwanga lya Yuda eryali lyewaggudde lituleetera okulowooza ku madiini ga Kristendomu. Okusinza ebifaananyi kujjudde mu madiini ago ne kiba nti Katonda tasiima kusinza kwago. Okuva bwe kiri nti Yakuwa takyuka, tuli bakakafu nti okufaananako eggwanga lya Yuda eryali lifuuse ejjeemu, amadiini ga Kristendomu ganyiiza Yakuwa. (Yak. 1:17) Tewali kubuusabuusa nti Yakuwa yeesambira ddala Abakristaayo abo ab’obulimba!
9, 10. Kiki kye tuyigira ku ebyo bye tusoma ku abo abaali basinziza ekifaananyi mu yeekaalu?
9 Kiki kye tuyigira ku ebyo bye tusoma ku abo abaali basinziza ekifaananyi mu yeekaalu? Okusobola okwemalira ku Yakuwa tuteekwa ‘okudduka okusinza ebifaananyi.’ (1 Kol. 10:14) Oyinza okugamba nti, ‘Nze sisobola kusinza bifaananyi!’ Naye okusinza ebifaananyi kwa ngeri nnyingi, era ng’okumu kwekusifu. Ekitabo ekimu kyogera bwe kiti ku kusinza ebifaananyi: ‘Bwe tutwala ekintu kyonna okuba ekikulu okusinga okusinza Katonda, tuba tusinza bifaananyi.’ N’olwekyo singa tutandika okukulembeza ebintu gamba ng’eby’obugagga, ssente, okwegatta, okwesanyusaamu, oba ekintu ekirala kyonna mu kifo ky’okukulembeza Yakuwa, tuba tusinza bifaananyi. (Mat. 6:19-21, 24; Bef. 5:5; Bak. 3:5) Tulina okudduka okusinza ebifaananyi okwa buli ngeri kubanga Yakuwa ayagala tusinze ye yekka!—1 Yok. 5:21.
10 Ekintu ekyo Yakuwa kye yasooka okulaga Ezeekyeri kyali ‘kibi nnyo era nga kya muzizo.’ Naye Yakuwa yagamba Ezeekyeri nti yali agenda ‘kulaba eby’omuzizo ebisingawo obubi.’ Bintu ki ebyo ebyali ebibi n’okusinga okusinziza mu yeekaalu ekifaananyi ekikwasa obuggya?
Eky’Okubiri: Abakadde 70 nga Booterereza Bakatonda ab’Obulimba Obubaani
11. Bintu ki ebibi Ezeekyeri bye yalaba ng’ayingidde mu luggya lwa yeekaalu olw’omunda okumpi n’ekyoto?
11 Soma Ezeekyeri 8:7-12. Ezeekyeri bwe yakuba ekituli mu kisenge n’ayingira mu luggya lwa yeekaalu olw’omunda okumpi n’ekyoto, yalaba ebifaananyi by’ebintu “ebyewalula ebya buli ngeri n’eby’ensolo ez’omuzizo, era n’ebifaananyi byonna ebyenyinyaza,” ebyali byoleddwa ku kisenge. c Ebifaananyi ebyo byali bikiikirira bakatonda ab’obulimba. Naye ate Ezeekyeri kye yaddako okulaba kyamukuba wala: “Abasajja 70 ku bakadde b’ennyumba ya Isirayiri” baali bayimiridde “mu kizikiza” nga booterereza bakatonda ab’obulimba obubaani. Mu Mateeka, okwotereza obubaani obw’akaloosa kyali kikiikirira essaala ezikkirizibwa ez’abaweereza ba Katonda abeesigwa. (Zab. 141:2) Naye obubaani abakadde 70 bwe baali booterereza bakatonda ab’obulimba tebwali butukuvu, era Yakuwa bwali bumuwunyira bubi. Essaala z’abakadde abo zaali ng’evvumbe eriwunya obubi. (Nge. 15:8) Abakadde abo baali beerimbalimba nga bagamba nti: “Yakuwa tatulaba.” Naye Yakuwa yali abalaba era yalaga Ezeekyeri ebyo byonna bye baali bakolera mu yeekaalu ye!
12. Lwaki tulina okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa wadde “mu kizikiza,” era okusingira ddala baani abasaanidde okussaawo ekyokulabirako ekirungi mu nsonga eno?
12 Kiki kye tuyigira ku ebyo bye tusoma ku bakadde 70 Ezeekyeri be yalaba nga booterereza bakatonda ab’obulimba obubaani? Katonda okusobola okuwulira essaala zaffe n’okukkiriza okusinza kwaffe, tulina okusigala nga tuli beesigwa gy’ali ka tube nga tuli ‘mu nzikiza.’ (Nge. 15:29) Tusaanidde okukijjukiranga nti Yakuwa aba atulaba ekiseera kyonna. Yakuwa bw’aba nga wa ddala gye tuli, tetujja kukola mu kyama kintu kyonna kye tumanyi nti kimunyiiza. (Beb. 4:13) Okusingira ddala abakadde mu kibiina basaanidde okuteerawo abalala ekyokulabirako ekirungi nga batambuliza obulamu bwabwe ku misingi gya Bayibuli. (1 Peet. 5:2, 3) Ab’oluganda mu kibiina baba basuubira nti omukadde ayimirira mu maaso gaabwe okubayigiriza n’okubakulembera mu kusinza, akolera ku misingi gya Bayibuli ne bw’aba ‘mu nzikiza,’ kwe kugamba, ne bwe kiba nti abalala tebamulaba.—Zab. 101:2, 3.
Eky’Okusatu: “Abakazi . . . nga Bakaabira Katonda Tammuzi”
13. Kiki Ezeekyeri kye yalaba ng’abakazi bakyewaggula bakolera ku mulyango ogumu ogwa yeekaalu?
13 Soma Ezeekyeri 8:13, 14. Oluvannyuma lw’okulaga Ezeekyeri ebintu eby’omuzizo ebisooka ebibiri, Yakuwa yamugamba nti: ‘Ojja kulaba ebintu ebirala eby’omuzizo bye bakola ebibi ennyo okusinga ebyo.’ Kiki Ezeekyeri kye yaddako okulaba? “Awayingirirwa ku mulyango ogw’ebukiikakkono ogw’ennyumba ya Yakuwa,” yalabawo “abakazi abatudde nga bakaabira katonda Tammuzi.” Tammuzi yali katonda w’e Mesopotamiya ayitibwa Dumuzi mu biwandiiko by’Abasumeriya era alowoozebwa okuba nga yali muganzi wa Ishtar, katonda w’oluzaalo. d Abakazi Abayisirayiri baali bakaaba era nga kirabika baali bakola akamu ku bulombolombo obwali bukwataganyizibwa n’okufa kwa Tammuzi. Abakazi abo okukaabira Tammuzi mu yeekaalu ya Yakuwa, baali bakolera akalombolombo ak’ekikaafiiri mu kifo awaalina okuba okusinza okulongoofu. Naye okukolera akalombolombo ako mu yeekaalu ya Katonda tekyakafuula katukuvu. Mu maaso ga Yakuwa, abakazi abo bakyewaggula bye baali bakola byali ‘bya muzizo’!
14. Kya kuyiga ki kye tufuna bwe tulowooza ku ngeri Yakuwa gye yatwalamu ekyo abakazi bakyewaggula kye baali bakola?
14 Kya kuyiga ki kye tufuna bwe tulowooza ku ngeri Yakuwa gye yatwalamu ekyo abakazi abo kye baali bakola? Okusobola okukuuma okusinza kwaffe nga kulongoofu, tetusaanidde kukutabikamu bintu bya kikaafiiri. N’olwekyo, tetusaanidde kwenyigira mu mikolo egyasibuka mu kusinza okw’obulimba. Naye ddala kikulu okulowooza ku nsibuko y’emikolo egyo? Yee! Leero okukuza ennaku enkulu, gamba nga Ssekukkulu ne Ppaasika abantu bangi bakitwala ng’ekitalina mutawaana gwonna. Naye tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa yalaba obulombolombo ennaku ezikuzibwa leero mwe zaasibuka. Mu maaso ga Yakuwa, ekintu kyonna ekyasibuka mu kusinza okw’obulimba tekifuuka kirongoofu olw’okuba waba wayiseewo ekiseera kiwanvu nga kikolebwa oba olw’okuba waliwo abagezezzaako okukigattika n’okusinza okulongoofu.—2 Kol. 6:17; Kub. 18:2, 4.
Eky’Okuna: Abasajja 25 nga “Bavunnamidde Enjuba”
15, 16. Kiki abasajja 25 kye baali bakolera mu luggya lwa yeekaalu olw’omunda, era lwaki ekyo kye baali bakola kyanyiiza nnyo Yakuwa?
15 Soma Ezeekyeri 8:15-18. Yakuwa bwe yali agenda okulaga Ezeekyeri ekintu eky’omuzizo eky’okuna era ekisembayo, yaddamu n’amugamba nti: “Ojja kulaba eby’omuzizo ebibi ennyo n’okusinga ebyo.” Oboolyawo Ezeekyeri yeebuuza nti: ‘Kiki ekiyinza okuba ekibi ennyo okusinga ebyo bye mmaze okulaba?’ Mu kiseera kino Ezeekyeri yali mu luggya lwa yeekaalu olw’omunda. Ku mulyango gwa yeekaalu yalabawo abasajja 25 nga bavunnamye okusinza “enjuba nga batunudde ebuvanjuba.” Abasajja abo baanyiiza Yakuwa ne bakatagga. Mu ngeri ki?
16 Lowooza ku kino: Yeekaalu ya Katonda yazimbibwa ng’omulyango gwayo gutunudde buvanjuba. Abantu abaayingiranga mu yeekaalu okusinza Yakuwa baabanga batunudde bugwanjuba, ng’emigongo bagikubye buvanjuba. Naye abasajja 25 abaalabibwa mu kwolesebwa, yeekaalu “baali bagikubye amabega” nga batunudde ebuvanjuba basobole okusinza enjuba. Mu kukola ekyo, baakuba Yakuwa amabega kubanga yeekaalu ye yali “ennyumba ya Yakuwa.” (1 Bassek. 8:10-13) Abasajja abo 25 baali bakyewaggula. Beesamba Yakuwa era baajeemera ekiragiro ekiri mu Ekyamateeka 4:15-19. Nga baanyiiza nnyo Yakuwa Katonda, oyo yekka agwanidde okusinzibwa!
Yakuwa ayagala abo abamusinza basinze ye yekka
17, 18. (a) Kiki kye tuyigira ku ebyo bye tusoma ku basajja abaali basinziza enjuba mu yeekaalu? (b) Nkolagana ki Abayisirayiri abaali bafuuse bakyewaggula gye baayonoona, era baagyonoona mu ngeri ki?
17 Kiki kye tuyigira ku ebyo bye tusoma ku basajja abo abaali basinza enjuba? Okusinza kwaffe okusobola okusigala nga kulongoofu, Yakuwa gwe tulina okutunuulira okutuwa obulagirizi. Kijjukire nti “Yakuwa Katonda ye njuba yaffe,” era Ekigambo kye “kye kitangaala” ekimulisa ekkubo lyaffe. (Zab. 84:11; 119:105) Okuyitira mu Kigambo kye n’ebitabo ebinnyonnyola Bayibuli ebikubibwa ekibiina kye, Yakuwa atuwa obulagirizi, tusobole okuba n’obulamu obw’essanyu kati n’okufuna obulamu obutaggwaawo mu biseera eby’omu maaso. Singa tusalawo okugoberera amagezi g’ensi eno ku ngeri y’okutambuzaamu obulamu bwaffe, tuba tukubye Yakuwa amabega. Ekyo kinyiiza nnyo Yakuwa era kimuleetera obulumi. Tetwagala kunyiiza Yakuwa Katonda waffe! Okwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna era kutuyamba okukiraba nti tulina okwewalira ddala abo abeesamba amazima, nga bano be bakyewaggula.—Nge. 11:9.
18 Nga bwe tulabye, Ezeekyeri yalaba ebintu bina ebyesisiwaza ebyali biraga nti Yuda yali eyonoonese nnyo mu by’omwoyo. Okuba nti Abayisirayiri baali boonoonese mu by’omwoyo, kyaleetera enkolagana eyaliwo wakati waabwe ne Katonda okwonooneka. Okusinza kw’abantu bwe kwonooneka n’empisa zaabwe zoonooneka. N’olwekyo tekyewuunyisa nti Abayisirayiri abaali bafuuse bakyewaggula baakola ebintu ebibi ebya buli ngeri, ekyaviirako enkolagana yaabwe ne Katonda awamu ne bantu bannaabwe okwonooneka. Kati ka tulabe engeri Yakuwa gye yaluŋŋamyamu nnabbi Ezeekyeri okulaga engeri empisa z’abantu b’omu Yuda bakyewaggula gye zaali zoonoonese ennyo.
Okwonooneka mu Mpisa—“Bakolera mu Ggwe eby’Obugwenyufu”
19. Abantu ba Yakuwa baali boonoonese batya mu mpisa?
19 Soma Ezeekyeri 22:3-12. Eggwanga lya Yuda lyali lyonoonese nnyo mu mpisa okuviira ddala waggulu ku bakulembeze okutuukira ddala wansi ku bantu aba bulijjo. “Abaami,” oba abakulembeze, baakozesanga obuyinza bwabwe okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango. Okutwalira awamu, abantu baakoppa abakulembeze baabwe mu kumenya Amateeka ga Katonda. Mu maka, abaana baalinga “banyooma” bazadde baabwe, era abantu beegattanga n’abo be baalinako oluganda. Abayisirayiri abajeemu baakumpanyanga abagwira era baayisanga bubi bamulekwa ne bannamwandu. Abasajja Abayisirayiri baaganzanga baka baliraanwa baabwe. Abantu baalina omululu ogususse. Baalyanga enguzi, banyaganga abalala, era baggyanga amagoba mangi ku abo be baawolanga. Nga kiteekwa okuba nga kyanakuwaza nnyo Yakuwa okulaba ng’abantu be yakola nabo endagaano basambajja amateeka ge. Abayisirayiri baalemererwa okukiraba nti Amateeka ago yali agabawadde olw’okuba yali abaagala! Yakuwa yagamba Ezeekyeri okugamba abantu abo abaali boonoonese nti baali ‘bamwerabiridde ddala.’
20. Ebyo Ezeekyeri bye yayogera ku kwonooneka kw’empisa okwaliwo mu Yuda bikwata bitya ku kiseera kyaffe?
20 Kiki kye tuyigira ku ebyo Ezeekyeri by’ayogera ku kwonooneka kw’empisa okwaliwo mu Yuda? Okwonooneka kw’empisa okwaliwo mu Yuda kufaananako n’okwo okuliwo leero. Abafuzi bakozesa bubi obuyinza bwabwe era banyigiriza abantu aba bulijjo. Abakulu b’amadiini, nnaddala aga Kristendomu, basabira abo ababa bagenda okulwana entalo eziviiriddeko abantu bangi okufiirwa obulamu bwabwe. Abakulu b’amadiini basambajja emitindo gya Bayibuli egitegeerekeka obulungi egikwata ku by’okwegatta. N’ekivuddemu, emitindo gy’empisa mu nsi gyeyongera kusereba buli lukya. Tewali kubuusabuusa nti nga Yakuwa bwe yagamba eggwanga lya Yuda eryali lyewaggudde, ne leero agamba Kristendomu nti: “Onneerabiridde ddala.”
21. Kiki kye tuyigira ku kwonooneka kw’empisa okwali mu Yuda?
21 Kiki kye tuyigira ku kwonooneka kw’empisa okwali mu Yuda? Okusobola okusinza Yakuwa mu ngeri gy’asiima, tulina okuba abayonjo mu mpisa. Ekyo si kyangu mu nsi eno ennyonoonefu mu mpisa. (2 Tim. 3:1-5) Naye tumanyi bulungi engeri Yakuwa gy’atwalamu ebikolwa ebibi. (1 Kol. 6:9, 10) Tunywerera ku mitindo gya Yakuwa egy’empisa olw’okuba tumwagala era twagala amateeka ge. (Zab. 119:97; 1 Yok. 5:3) Empisa zaffe bwe zoonooneka kiba kiraga nti tetwagala Katonda waffe omutukuvu era omuyonjo. Tetwagala Yakuwa kutugamba nti: “Onneerabiridde ddala.”
22. (a) Oluvannyuma lw’okulaba engeri Yakuwa gye yayanikamu ebikolwa ebibi ebyali bikolebwa mu Yuda, kiki ky’omaliridde okukola? (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu ekiddako?
22 Waliwo ebintu ebikulu bye tuyize mu kwekenneenya engeri Yuda gye yali eyonooneseemu mu by’omwoyo ne mu mpisa. Awatali kubuusabuusa, tuli bamalirivu okusinza Yakuwa yekka. N’olw’ensonga eyo, tulina okwewala okwenyigira mu kusinza ebifaananyi okw’engeri yonna, era tulina okufuba okusigala nga tuli bayonjo mu mpisa. Naye kiki Yakuwa kye yakola abantu be abo abataali beesigwa? Bwe yali amaze okulaga Ezeekyeri ebintu ebibi ebyali bikolebwa mu yeekaalu, Yakuwa yamugamba nti: “Nja kubamalirako ekiruyi kyange.” (Ezk. 8:17, 18) Twagala okumanya Yakuwa kye yakola abantu ba Yuda abataali beesigwa kubanga ekyo kye yabakola ky’ajja okukola n’abantu ababi abaliwo leero. Mu ssuula eddako tujja kulaba engeri omusango Yakuwa gwe yasalira Yuda gye gwatuukirizibwamu.
a Mu kitabo kya Ezeekyeri, ekigambo “Isirayiri” emirundi mingi kikozesebwa okutegeeza abantu b’omu Yuda ne Yerusaalemi.—Ezk. 12:19, 22; 18:2; 21:2, 3.
b Ekigambo “obuggya” kituyamba okukiraba nti Yakuwa akitwala nga kikulu nnyo abaweereza be okuba abeesigwa gy’ali. Kino kituleetera okulowooza ku busungu n’obuggya omusajja by’afuna nga mukyala we ayenze. (Nge. 6:34) Okufaananako omusajja oyo, Yakuwa yali mutuufu okusunguwala ng’abantu be yali akoze nabo endagaano bamenye endagaano eyo ne batandika okusinza ebifaananyi. Ekitabo ekimu kigamba nti: “Obuggya bwa Yakuwa . . . buva ku kuba nti mutukuvu. Olw’okuba ye yekka ye Mutukuvu . . . , tasobola kugabana kitiibwa kye na muntu mulala yenna oba na kintu kirala kyonna.” —Kuv. 34:14.
c Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekyavvuunulwa ‘ebifaananyi ebyenyinyaza’ kiyinza okuba nga kirina akakwate n’ekigambo eky’Olwebbulaniya ekitegeeza “obusa,” era nga kikozesebwa okutegeeza ekintu ekinyoomebwa.
d Tewaliiwo bukakafu bulaga nti Tammuzi lye linnya eddala erya Nimuloodi.