Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 6

“Kaakano Enkomerero Ekutuuseeko”

“Kaakano Enkomerero Ekutuuseeko”

EZEEKYERI 7:3

OMULAMWA: Engeri omusango Yakuwa gwe yasalira Yerusaalemi gye gwatuukirizibwamu

1, 2. (a) Bintu ki ebitali bya bulijjo Ezeekyeri bye yakola? (Laba ekifaananyi waggulu.) (b) Ebyo bye yakola byali bisonga ku ki?

 AMAWULIRE agakwata ku ngeri etali ya bulijjo nnabbi Ezeekyeri gye yeeyisaamu gasaasaana mu bwangu mu Bayudaaya abali mu buwaŋŋanguse e Babulooni. Okumala wiiki nnamba abadde awo mu banne ng’atudde asobeddwa era nga talina ky’ayogera. Naye kati asituka omulundi gumu n’agenda ne yeggalira mu nnyumba ye. Nga baliraanwa be abasobeddwa balaba, afuluma mu nnyumba n’akwata ettoffaali n’alyolako ekifaananyi. Era nga talina ky’ayogera, Ezeekyeri atandika okuzimba ekigo ekitono.​—Ezk. 3:10, 11, 15, 24-26; 4:1, 2.

2 Abantu abaali batunuulira Ezeekyeri bateekwa okuba nga baagenda beeyongera obungi era bayinza okuba nga beebuuza nti, ‘Bino by’akola bitegeeza ki?’ Abayudaaya abo baali bajja kukitegeera luvannyuma nti enneeyisa ya Ezeekyeri etaali ya bulijjo yali esonga ku kintu eky’entiisa ekyali kigenda okubaawo nga kyoleka obusungu bwa Yakuwa. Kintu ki ekyo? Kyakwata kitya ku ggwanga lya Isirayiri ery’edda? Ekintu ekyo kikwata kitya ku baweereza ba Yakuwa leero?

“Ddira Ettoffaali . . . Ddira Eŋŋaano . . . Ddira Ekitala Ekyogi”

3, 4. (a) Bintu ki ebisatu Ezeekyeri bye yayoleka ebyali bizingirwa mu musango Katonda gwe yasalira Yerusaalemi? (b) Ezeekyeri yakyoleka atya nti Yerusaalemi kyandizingiziddwa?

3 Awo nga mu mwaka gwa 613 E.E.T., Yakuwa yalagira Ezeekyeri okubaako ebintu by’akola ebyandiraze ebintu bisatu ebikwata ku ngeri Yakuwa gye yali agenda okutuukirizaamu omusango gwe yali asalidde Yerusaalemi. Ebintu ebyo bye bino: okuzingizibwa kw’ekibuga, okubonaabona kw’abantu baamu, n’okuzikirizibwa kw’ekibuga n’abantu baamu. a Ka twekenneenye ebintu ebyo ebisatu.

4 Okuzingizibwa kwa Yerusaalemi. Yakuwa yagamba Ezeekyeri nti: ‘Ddira ettoffaali oliteeke mu maaso go, olizingize.’ (Soma Ezeekyeri 4:1-3.) Ettoffaali lyali likiikirira ekibuga Yerusaalemi, ate ye Ezeekyeri yali akiikirira eggye lya Babulooni Yakuwa lye yali agenda okukozesa. Yakuwa era yagamba Ezeekyeri okuzimba ekigo ekitono, akole ekifunvu, era akole n’ebyuma ebimenya ebisenge. Ebintu ebyo yalina okubyetoolooza ettoffaali. Ebintu ebyo byali bikiikirira eby’okulwanyisa eggye eryandirumbye Yerusaalemi bye lyandikozesezza okukizingiza n’okukirwanyisa. Okusobola okulaga amaanyi agalinga ag’ekyuma eggye eryandirumbye Yerusaalemi ge lyandibadde nago, Ezeekyeri yalina okussa “ekikalango eky’ekyuma” wakati we n’ekibuga. Oluvannyuma yalina ‘okussa amaaso ge’ ku kibuga. Ebintu ebyo kaali “kabonero eri ennyumba ya Isirayiri” nti ekintu ekyali kitasuubirwa kyali kinaatera okubaawo. Yakuwa yali agenda kukozesa eggye ly’eggwanga eddala okuzingiza Yerusaalemi, ekibuga ekikulu eky’abantu ba Katonda, era ekyalimu yeekaalu ya Katonda!

5. Ezeekyeri yalaga atya ekyo ekyandituuse ku bantu b’omu Yerusaalemi?

5 Okubonaabona kw’abantu b’omu Yerusaalemi. Yakuwa yagamba Ezeekyeri nti: “Ddira eŋŋaano, ssayiri, ebijanjaalo, empindi, obulo, n’eŋŋaano ey’ekika ekirala . . . obifumbemu emmere,” era “emmere gy’onoolyanga onoomalanga kugipima, era buli lunaku onoolyanga sekeri 20.” Oluvannyuma Yakuwa yamunnyonnyola amakulu g’ebyo, bwe yamugamba nti: ‘Ŋŋenda kusaanyaawo amaterekero g’emmere.’ (Ezk. 4:9-16) Ku mulundi guno, Ezeekyeri yali takiikirira ggye lya Babulooni, wabula yali akiikirira bantu b’omu Yerusaalemi. Ebyo Ezeekyeri bye yakola byali biraga nti okuzingizibwa kw’ekibuga kwandiviiriddeko emmere okukendeera mu kibuga. Mu kiseera ekyo, abantu bandibadde bafumba emmere nga bagattiriza ebintu ebitatera kugattibwa wamu, ekiraga nti abantu bandibadde balya kyonna kye basanze. Enjala eyandibadde mu Yerusaalemi yandibadde ya maanyi kwenkana wa? Ezeekyeri yagamba nti: “Bataata bajja kulya abaana baabwe, n’abaana bajja kulya bakitaabwe.” Ku nkomerero abantu ‘bandikozze’ era bangi ‘enjala yandibasse ng’obusaale.’​—Ezk. 4:17; 5:10, 16.

6. (a) Bintu ki ebibiri Ezeekyeri bye yali akiikirira mu kiseera kye kimu? (b) Katonda okulagira Ezeekyeri ‘okupima enviiri n’okuzigabanyamu’ kyali kiraga ki?

6 Okuzikirizibwa kwa Yerusaalemi n’abantu baamu. Ku luno Ezeekyeri yali akiikirira ebintu bibiri mu kiseera kye kimu. Okusooka, Ezeekyeri yalaga ebintu Yakuwa bye yali agenda okukola. Yakuwa yamugamba nti: “Ddira ekitala ekyogi okikozese ng’akamweso k’omusazi w’enviiri.” (Soma Ezeekyeri 5:1, 2.) Omukono gwa Ezeekyeri ogwakwata ekitala gwali gukiikirira omukono gwa Yakuwa, kwe kugamba, engeri Yakuwa gye yali agenda okubonerezaamu abantu be ng’ayitira mu Babulooni. Eky’okubiri, Ezeekyeri yalaga ebintu Abayudaaya bye baali bagenda okuyitamu. Yakuwa yamugamba nti: ‘Mwa omutwe gwo n’ekirevu kyo.’ Ezeekyeri okumwa omutwe gwe kyali kiraga engeri Abayudaaya gye bandizingiziddwamu era ne basaanyizibwawo. Ate era Yakuwa okulagira Ezeekyeri ‘okuddira minzaani apime enviiri ze, era azigabanyeemu ebitundu bisatu,’ kyalaga nti omusango Yakuwa gwe yali asalidde Yerusaalemi gwali gujja kutuukirizibwa mu bujjuvu.

7. Lwaki Yakuwa yagamba Ezeekyeri okugabanyamu enviiri ebitundu bisatu era buli kitundu abeeko ekintu eky’enjawulo ky’akikola?

 7 Lwaki Yakuwa yagamba Ezeekyeri okugabanyamu ebitundu bisatu enviiri ze yali asaze era buli kitundu abeeko ekintu eky’enjawulo ky’akikola? (Soma Ezeekyeri 5:7-12.) Ezeekyeri yayokera ekitundu ekisooka eky’enviiri “munda mu kibuga” okulaga abaaliwo nti abamu ku bantu b’omu Yerusaalemi bandifiiridde mu kibuga ekyo. Ezeekyeri yasalaasalira ekitundu eky’okubiri eky’enviiri “ku njuyi zonna ez’ekibuga” okulaga nti abamu ku bantu b’omu Yerusaalemi bandibadde battirwa wabweru w’ekibuga. Ekitundu eky’okusatu eky’enviiri yakisaasaanya ne kitwalibwa empewo okulaga nti abamu ku bantu b’omu Yerusaalemi bandisaasaanidde mu mawanga amalala, naye nti ‘ekitala kyandibawondedde.’ N’olwekyo, eyo yonna abo abandiwonyewo gye bandigenze tebandifuniddeyo mirembe.

8. (a) Ekintu ekirala Ezeekyeri kye yakola kyawa ssuubi ki? (b) Obunnabbi obukwata ku ‘nviiri entonotono’ bwatuukirira butya?

8 Naye waliwo n’ekintu ekirala Ezeekyeri kye yakola ekyawa essuubi. Ku nviiri ze yasala, Yakuwa yamugamba nti: “Toolako enviiri ntonotono ozisibe mu kikondoolo ky’ekyambalo kyo.” (Ezk. 5:3) Ekyo kye yamugamba kyalaga nti Abayudaaya abatonotono abandibadde basaasaanidde mu mawanga bandibadde bawonawo. Abamu ku Bayudaaya abo, abaali bakiikirirwa ‘enviiri entonotono,’ bandibadde bamu ku abo abandikomyewo e Yerusaalemi oluvannyuma lw’emyaka 70 abantu ba Katonda gye bandimaze mu buwambe e Babulooni. (Ezk. 6:8, 9; 11:17) Obunnabbi obwo bwatuukirira? Yee. Oluvannyuma lw’emyaka egiwerako ng’Abayudaaya bavudde mu buwambe e Babulooni, nnabbi Kaggayi yagamba nti abamu ku Bayudaaya abaali basaasaanye baali bakomyewo e Yerusaalemi. Be basajja “abakadde abaalaba ennyumba eyasooka,” kwe kugamba, yeekaalu ya Sulemaani. (Ezer. 3:12; Kag. 2:1-3) Yakuwa yakakasa nti okusinza okulongoofu kukuumibwa, nga bwe yali asuubizza. Ebisingawo ebikwata ku kukomezebwawo kw’Abayudaaya okuva mu buwambe bijja kwogerwako mu Ssuula 9 ey’ekitabo kino.​—Ezk. 11:17-20.

Obunnabbi Buno Butulaga Ki ku Bigenda Okubaawo mu Maaso?

9, 10. Ebyo Ezeekyeri bye yakola bituleetera kulowooza ku bintu ki ebigenda okubaawo mu biseera eby’omu maaso?

9 Ebintu Ezeekyeri bye yakola bituleetera okulowooza ku bintu ebikulu ebyogerwako mu Bayibuli ebigenda okubaawo mu biseera eby’omu maaso. Ebimu ku byo bye biruwa? Nga bwe kyali ku kibuga Yerusaalemi eky’edda, Yakuwa ajja kukozesa gavumenti z’ensi okukola ekintu ekitasuubirwa. Ajja kuzikozesa okulumba eddiini zonna ez’obulimba eziri ku nsi. (Kub. 17:16-18) Ng’okuzikirizibwa kwa Yerusaalemi bwe kwali “akabi akatali ka bulijjo,” ‘n’ekibonyoobonyo ekinene’ awamu n’olutalo Amagedoni olugenda okukifundikira bijja kuba bintu ‘ebitabangawoko.’​—Ezk. 5:9; 7:5; Mat. 24:21.

10 Ekigambo kya Katonda kiraga nti abantu kinnoomu abali mu madiini ag’obulimba bajja kuba nga bakyaliwo oluvannyuma lw’okuzikirizibwa kw’amadiini ago. Olw’entiisa abantu abo gye banaaba nayo, bajja kwegatta ku bantu abalala abanaaba banoonya ebifo eby’okwekwekamu. (Zek. 13:4-6; Kub. 6:15-17) Embeera yaabwe ejja kufaananako ey’abantu abaawonawo nga Yerusaalemi kizikiriziddwa ne basaasaanira mu mawanga amalala. Nga bwe tulabye mu  katundu 7, wadde nga baasigala bakyali balamu okumala akaseera, Yakuwa yasowolayo ‘ekitala okubawondera.’ (Ezk. 5:2) Mu ngeri y’emu, abantu abo abanaaba basigaddewo ng’amadiini ag’obulimba gazikiriziddwa ne bwe baneekweka wa, tebajja kusimattuka kitala kya Yakuwa. Bajja kuttibwa wamu n’abantu abalala bonna abalinga embuzi ku lutalo Amagedoni.​— Ezk. 7:4; Mat. 25:33, 41, 46; Kub. 19:15, 18.

Ekiseera kijja kutuuka tulekere awo okulangirira amawulire amalungi

11, 12. (a) Okutegeera obunnabbi bwa Ezeekyeri obukwata ku kulumbibwa kwa Yerusaalemi kikwata kitya ku ngeri gye tutwalamu omulimu gw’okubuulira leero? (b) Nkyukakyuka ki eyinza okubaawo mu mulimu gwaffe ogw’okubuulira?

11 Okutegeera amakulu g’obunnabbi buno kikwata kitya ku ngeri gye tutwalamu omulimu gw’okubuulira? Kituleetera okukiraba nti tulina okukola kyonna ekisoboka okuyamba abantu okufuuka abaweereza ba Yakuwa. Lwaki? Ekiseera kye tusigazzaayo okufuula “abantu b’omu mawanga gonna abayigirizwa” kitono ddala. (Mat. 28:19, 20; Ezk. 33:14-16) “Omuggo” (gavumenti z’ensi) bwe gunaatandika okulumba amadiini ag’obulimba, tujja kuba tetukyabuulira bubaka obukwata ku bulokozi. (Ezk. 7:10) Mu kifo ky’okulangirira amawulire amalungi, tujja kusirika busirisi, nga Ezeekyeri bwe yasirika n’aba nga ‘takyaliko ky’ayogera,’ kwe kugamba, nga takyalangirira bubaka bwe yali alangirira. (Ezk. 3:26, 27; 33:21, 22) Oluvannyuma lw’okuzikirizibwa kw’amadiini ag’obulimba, abantu ‘bajja kwagala nnyo okumanya nnabbi by’ayoleseddwa,’ naye tewali bubaka buwonyaawo bulamu bujja kubabuulirwa. (Ezk. 7:26) Ekiseera ky’okubabuulira obubaka obwo n’okubafuula abayigirizwa ba Kristo kijja kuba kiweddeko.

12 Naye omulimu gwaffe ogw’okubuulira gujja kuba tegunnakoma. Lwaki? Kubanga mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene tuyinza okutandika okulangirira obubaka obw’omusango obujja okuba ng’omuzira ogw’amaanyi. Obubaka obwo bujja kukyoleka kaati nti enkomerero y’ensi eno embi etuuse.​—Kub. 16:21.

“Laba, Olunaku Lujja!”

13. Lwaki Yakuwa yagamba Ezeekyeri okwebakira ku ludda olwa kkono ate oluvannyuma ku lwa ddyo?

13 Ng’oggyeeko okulaga engeri Yerusaalemi gye kyandizikiriziddwamu, Ezeekyeri aliko bye yakola ebyali biraga ddi lwe kyandizikiriziddwa. Yakuwa yagamba Ezeekyeri okwebakira ku ludda lwe olwa kkono okumala ennaku 390 ne ku ludda lwe olwa ddyo okumala ennaku 40. Buli lunaku lwali lukiikirira mwaka. (Soma Ezeekyeri 4:4-6; Kubal. 14:34) Eky’okwebakira ku ludda olwa kkono n’olwa ddyo, oboolyawo nga kino Ezeekyeri yakikolanga okumala essaawa ntono buli lunaku, kyali kisonga ku mwaka gwennyini Yerusaalemi lwe kyandizikiriziddwa. Emyaka 390 egy’okwonoona kwa Isirayiri gyatandika mu mwaka gwa 997 E.E.T., omwaka obwakabaka obw’ebika 12 mwe bwayawulirwamu ebitundu bibiri. (1 Bassek. 12:12-20) Emyaka 40 egy’okwonoona kwa Yuda kirabika gyatandika mu mwaka gwa 647 E.E.T., omwaka Yeremiya mwe yalondebwa okuba nnabbi okulabula obwakabaka bwa Yuda ku kuzikirizibwa okwali kugenda okujja. (Yer. 1:1, 2, 17-19; 19:3, 4) N’olwekyo, ebiseera ebyo byombi byaggwaako mu mwaka gwa 607 E.E.T., omwaka gwennyini Yerusaalemi mwe kyazikirizibwa nga Yakuwa bwe yali agambye. b

Ezeekyeri yalaga atya omwaka gwennyini Yerusaalemi mwe kyandizikiriziddwa? (Laba akatundu 13)

14. (a) Ezeekyeri yakyoleka atya nti yali mukakafu nti Yakuwa yali ajja kuleeta enkomerero mu kiseera ekituufu? (b) Biki ebyandibaddewo nga Yerusaalemi kinaatera okuzikirizibwa?

14 Mu kiseera Ezeekyeri mwe yafunira obunnabbi obukwata ku nnaku 390 n’ennaku 40, ayinza okuba nga teyamanya mwaka gwennyini Yerusaalemi mwe kyandizikiriziddwa. Wadde kyali kityo, ng’ebula emyaka mitono Yerusaalemi kizikirizibwe, yalabula Abayudaaya enfunda n’enfunda ku kuzikirizibwa okwali kujja. Yabagambanga nti: “Kaakano enkomerero ekutuuseeko.” (Soma Ezeekyeri 7:3, 5-10.) Ezeekyeri teyalina kubuusabuusa nti Yakuwa yali ajja kuleeta enkomerero eyo mu kiseera kyennyini kye yali ategese. (Is. 46:10) Ezeekyeri yayogera ne ku bintu ebyandibaddewo nga Yerusaalemi kinaatera okuzikirizibwa. Yagamba nti: “Wajja kubaawo emitawaana egy’omuddiriŋŋanwa.” Emitawaana egyo, gyandiviiriddeko embeera z’abantu, enteekateeka z’eddiini, awamu n’enteekateeka z’eby’obufuzi okugootaana.​—Ezk. 7:11-13, 25-27.

Yerusaalemi bwe kyazingizibwa kyalinga “entamu” eri “ku kyoto” (Laba akatundu 15)

15. Ebimu ku bintu ebiri mu bunnabbi bwa Ezeekyeri ebyatandika okutuukirizibwa okuva mu mwaka gwa 609 E.E.T. bye biruwa?

15 Nga wayise emyaka mitono oluvannyuma lwa Ezeekyeri okulangirira nti Yerusaalemi kyali kigenda kuzikirizibwa, obunnabbi obwo bwatandika okutuukirizibwa. Mu mwaka gwa 609 E.E.T., Ezeekyeri yakimanyaako nti Yerusaalemi kyali kitandise okulumbibwa. Mu kiseera ekyo ekkondeere lyafuuyibwa okuyita abantu okujja okulwanirira ekibuga kyabwe, naye nga Ezeekyeri bwe yali agambye, “tewali n’omu” yajja kulwana. (Ezk. 7:14) Abantu b’omu Yerusaalemi tebaakuŋŋaana wamu kulwanyisa Bababulooni abaali babalumbye. Abayudaaya abamu bayinza okuba nga baalowooza nti Yakuwa yali ajja kubalwanirira. Yakuwa yali yabalwanirira Abaasuli bwe baali balumbye Yerusaalemi, malayika wa Yakuwa n’azikiriza abasinga obungi ku bo. (2 Bassek. 19:32) Naye ku luno, tewali malayika yajja kubalwanirira. Mu kaseera katono, ekibuga Yerusaalemi ekyali kizingiziddwa kyalinga “entamu” eteekeddwa “ku kyoto,” era abantu baamu baalinga “ebifi by’ennyama” ebiri mu ntamu. (Ezk. 24:1-10) Oluvannyuma lwa Yerusaalemi okuzingizibwa okumala emyezi 18, kyazikirizibwa.

“Mweterekere eby’Obugagga mu Ggulu”

16. Tuyinza tutya leero okukyoleka nti tuli bakakafu nti Yakuwa nti ajja kutuukiriza mu kiseera ekituufu omusango gwe yasala?

16 Kiki kye tuyiga mu bunnabbi bwa Ezeekyeri buno? Bulina kye butuyigiriza ku mulimu gw’okubuulira gwe tukola n’engeri abantu gye beeyisaamu nga tubabuulidde? Yakuwa yasalawo dda ddi amadiini ag’obulimba lwe gajja okuzikirizibwa, era nga kino kijja kubaawo mu kiseera kyennyini kye yasalawo. (2 Peet. 3:9, 10; Kub. 7:1-3) Tetumanyidde ddala lunaku lwennyini ekyo lwe kinaabaawo. Wadde kiri kityo, okufaananako Ezeekyeri, tweyongera okukola omulimu Yakuwa gwe yatuwa ogw’okulabula abantu nga tubagamba enfunda n’enfunda nti: “Kaakano enkomerero ekutuuseeko.” Lwaki tulina okuddiŋŋana obubaka obwo? Olw’ensonga y’emu Ezeekyeri gye yalina. c Abantu abasinga obungi be yagamba nti Yakuwa yali agenda kuzikiriza Yerusaalemi tebakkiriza ekyo kye yabagamba. (Ezk. 12:27, 28) Oluvannyuma abamu ku Bayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse e Babulooni baakyoleka nti baalina omutima omuwulize, era baamala ne bakomawo mu nsi yaabwe. (Is. 49:8) Mu ngeri y’emu leero, abantu abasinga obungi tabakkiriza nti ensi eno ejja kuzikirizibwa. (2 Peet. 3:3, 4) Wadde kiri kityo, ng’ekiseera ky’abantu okukkiriza obubaka obuva eri Katonda tekinnaggwaako, twagala okuyamba abantu ab’emitima emirungi okuzuula ekkubo erijja okubatuusa mu bulamu obutaggwaawo.​—Mat. 7:13, 14; 2 Kol. 6:2.

Wadde nga bangi tebawuliriza, tweyongera okunoonya abantu ab’emitima emirungi (Laba akatundu 16)

Lwaki abantu b’omu Yerusaalemi eky’edda ‘baasuula ffeeza waabwe mu nguudo’? (Laba akatundu 17)

17. Biki ebinaabaawo mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene?

17 Obunnabbi bwa Ezeekyeri era bulaga nti amadiini ag’obulimba bwe ganaaba gazikirizibwa, abantu abagalimu tebajja kugalwanirira. Mu kifo ky’ekyo, bwe banaakiraba nti okuwanjaga kwabwe nti “Mukama waffe, Mukama waffe” tekuddibwamu, ‘emikono gyabwe gijja kunafuwa,’ era bajja ‘kukankana.’ (Ezk. 7:3, 14, 17, 18; Mat. 7:21-23) Kiki ekirala kye bajja okukola? (Soma Ezeekyeri 7:19-21.) Yakuwa agamba nti: “Bajja kusuula ffeeza waabwe mu nguudo.” Ebigambo ebyo ebyatuukirira ku bantu b’omu Yerusaalemi eky’edda nabyo biraga ekijja okubaawo mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene. Mu kiseera ekyo, abantu bajja kukiraba nti ssente tezisobola kubawonya kabi akanaaba kaboolekedde.

18. Kiki kye tuyigira ku bunnabbi bwa Ezeekyeri bwe kituuka ku bintu bye tusaanidde okukulembeza?

18 Kiki kye tuyiga mu bunnabbi bwa Ezeekyeri obwo? Kikulu nnyo okumanya ebyo bye tusaanidde okukulembeza. Lowooza ku kino: Abantu b’omu Yerusaalemi baamala kulaba ng’ekibuga kyabwe kigenda kuzikirizibwa, nga nabo bagenda kuzikirizibwa, era nga n’eby’obugagga byabwe tebisobola kubataasa, olwo ne balaga nti baali bategedde ebyo bye baali basaanidde okukulembeza. Baasuula eri eby’obugagga byabwe ne batandika okwagala “okumanya nnabbi by’ayoleseddwa,” naye ekyo baakikola buyise. (Ezk. 7:26) Okwawukana ku bantu abo, ffe tukimanyi bulungi nti enkomerero y’ensi eno esembedde. Olw’okuba tukkiririza mu bisuubizo bya Katonda, tukulembeza ebintu ebisinga obukulu. Twemalidde ku kunoonya eby’obugagga eby’omwoyo eby’olubeerera, ebitajja kusuulibwa “mu nguudo.”​—Soma Matayo 6:19-21, 24.

19. Obunnabbi bwa Ezeekyeri butukwatako butya leero?

19 Mu bufunze, obunnabbi bwa Ezeekyeri obukwata ku kuzikirizibwa kwa Yerusaalemi butukwatako butya leero? Butuyamba okukiraba nti tusigazza ekiseera kitono ddala okuyamba abantu okufuuka abaweereza ba Katonda. N’olwekyo, omulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa tusaanidde okugukola n’obunyiikivu. Kitusanyusa nnyo bwe tulaba ng’abantu ab’emitima emirungi basazeewo okusinza Kitaffe, Yakuwa. Kyokka n’abo abatasalawo kusinza Yakuwa tweyongera okubalabula nga Ezeekyeri bwe yeeyongera okulabula abantu b’omu kiseera kye nti: “Kaakano enkomerero ekutuuseeko.” (Ezk. 3:19, 21; 7:3) Ate era tuli bamalirivu okweyongera okwesiga Yakuwa n’okukulembeza okusinza okulongoofu mu bulamu bwaffe.​—Zab. 52:7, 8; Nge. 11:28; Mat. 6:33.

a Tetuba bakyamu kugamba nti ebyo byonna Ezeekyeri bye yakola yabikolera mu maaso g’abantu. Lwaki? Kubanga Yakuwa bwe yali amulagira okukola ebintu ebimu, gamba ng’okufumba omugaati n’okwetikka omugugu, yamulagira okubikola ng’abantu “balaba.”​—Ezk. 4:12; 12:7.

b Bwe yaleka Yerusaalemi okuzikirizibwa, Yakuwa yatuukiriza omusango gwe yali asalidde obwakabaka bwa Yuda obw’ebika ebibiri n’obwa Isirayiri obw’ebika ekkumi. (Yer. 11:17; Ezk. 9:9, 10) Laba Insight on the Scriptures, Omuz. 1, lup. 462, wansi wa “Okuva mu 997 E.E.T. Okutuuka ku Kuzikirizibwa kwa Yerusaalemi.”

c Weetegereze nti mu Ezeekyeri 7:5-7, Yakuwa akozesa ebigambo “ejja” ne “egenda kujja” emirundi egiwerera ddala etaano.