Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 20

‘Mugabanyeemu Ensi Okuba Obusika’

‘Mugabanyeemu Ensi Okuba Obusika’

EZEEKYERI 45:1

OMULAMWA: Amakulu g’okugabanyaamu ensi

1, 2. (a) Kiki Yakuwa ky’alagira Ezeekyeri okukola? (b) Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu?

 EZEEKYERI yaakamala okufuna okwolesebwa okuyinza okuba nga kumuleetedde okulowooza ku kintu ekyaliwo emyaka nga 900 emabega mu kiseera kya Musa ne Yoswa. Mu kiseera ekyo, Yakuwa yabuulira Musa ensalo z’Ensi Ensuubize we zaali ziyita era oluvannyuma n’abuulira Yoswa engeri y’okugabanyizaamu ebika bya Isirayiri ensi eyo. (Kubal. 34:1-15; Yos. 13:7; 22:4, 9) Kyokka kati mu mwaka gwa 593 E.E.T., Yakuwa agamba Ezeekyeri ne banne be yali nabo mu buwaŋŋanguse okuddamu okugabanyizaamu ebika bya Isirayiri Ensi Ensuubize!​—Ezk. 45:1; 47:14; 48:29.

2 Okwolesebwa okwo kwalina makulu ki eri Ezeekyeri ne banne be yali nabo mu buwaŋŋanguse? Lwaki okwolesebwa okwo kuzzaamu abantu ba Katonda leero amaanyi? Kunaatuukirira ku kigero ekisingawo mu biseera eby’omu maaso?

Okwolesebwa Okulimu Ebisuubizo Bina Ebizzaamu Amaanyi

3, 4. (a) Okwolesebwa Ezeekyeri kwe yasembayo okufuna kwalimu bisuubizo ki ebina ebyawa Abayisirayiri abaali mu buwaŋŋanguse essuubi? (b) Kisuubizo ki kye tugenda okwetegereza mu ssuula eno?

3 Okwolesebwa Ezeekyeri kwe yasembayo okufuna kusangibwa mu ssuula mwenda ezisembayo mu kitabo kya Ezeekyeri. (Ezk. 40:1–48:35) Kwalimu ebisuubizo bina ebikwata ku ggwanga lya Isirayiri eryandizziddwawo, ebyazzaamu amaanyi Abayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse. Bisuubizo ki ebyo? Ekisooka, okusinza okulongoofu kwandizziddwawo mu yeekaalu ya Katonda. Eky’okubiri, bakabona n’abasumba abalungi bandikulembedde eggwanga eryo eryandizziddwawo. Eky’okusatu, abo bonna abandizzeeyo ku butaka bandifunye ekifo aw’okubeera. N’eky’okuna, Yakuwa yandizzeemu okubeera mu bo.

4 Essuula 13 n’eya 14 ez’ekitabo kino zaalaga engeri ebisuubizo ebibiri ebisooka, kwe kugamba, okuzzibwawo kw’okusinza okw’amazima n’okukulemberwa abasumba abalungi, gye byandituukiriziddwamu. Mu ssuula eno, tujja kwetegereza ekisuubizo eky’okusatu, ekikwata ku kugabanyaamu ensi buli omu n’afuna aw’okubeera. Mu ssuula eddako tugenda kulaba ekisuubizo ekiraga nti Yakuwa yandibadde mu bantu be.​—Ezk. 47:13-21; 48:1-7, 23-29.

“Ensi Eno . . . Ebaweereddwa Okuba Obusika”

5, 6. (a) Mu kwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna, kitundu ki ekyali eky’okugabanyizibwamu? (Laba ekifaananyi ku lupapula 211.) (b) Okwolesebwa okukwata ku kugabanyaamu ensi kwalina kigendererwa ki?

5 Soma Ezeekyeri 47:14. Mu kwolesebwa, Yakuwa yalaga Ezeekyeri ensi eyali ejja okufaanana “ng’olusuku Edeni.” (Ezk. 36:35) Oluvannyuma Yakuwa yagamba nti: “Kino kye kitundu kye mujja okugabanyizaamu ebika 12 ebya Isirayiri okuba obusika bwabwe.” (Ezk. 47:13) ‘Ekitundu’ ekyali eky’okugabanyizibwamu ye nsi ya Isirayiri abo abaali mu buwambe mwe baali bagenda okudda. Nga bwe kiragibwa mu Ezeekyeri 47:15-21, Yakuwa yalaga bulungi ensalo z’ensi eyo.

6 Okwolesebwa okukwata ku kugabanyaamu ensi kwalina kigendererwa ki? Okuba nti ensalo ezo zaali zipimiddwa bulungi kyakakasa Ezeekyeri ne banne be yali nabo mu buwaŋŋanguse nti ensi yaabwe gye baali baagala ennyo yali egenda kuzzibwawo. Ekyo kiteekwa okuba nga kyabazzaamu nnyo amaanyi! Naye ddala abantu ba Katonda ab’edda baaweebwa ensi eyo? Yee.

7. (a) Kiki ekyaliwo okuva mu 537 E.E.T., era kitujjukiza ki? (b) Kibuuzo ki kye tugenda okusooka okwekenneenya?

7 Mu 537 E.E.T., nga wayise emyaka nga 56 bukya Ezeekyeri afuna okwolesebwa okwo, Abayudaaya nkumi na nkumi abaali mu buwaŋŋanguse baatandika okukomawo mu nsi ya Isirayiri era ne bagibeeramu. Ekintu ekyo ekyaliwo edda kitujjukiza ekintu ekirala ekikifaananako ekibaddewo mu bantu ba Katonda mu kiseera kyaffe. Ne leero tuyinza okugamba nti abantu ba Katonda bafunye obusika. Mu ngeri ki? Yakuwa yakkiriza abaweereza be okuyingira mu nsi ey’eby’omwoyo ne bagibeeramu. N’olwekyo, okuzzibwawo kw’Ensi Ensuubize ey’edda kulina bingi bye kutuyigiriza ku kuzzibwawo kw’ensi ey’eby’omwoyo abantu ba Katonda gye balimu leero. Naye nga tetunnalaba ebyo bye kutuyigiriza, ka tusooke tuddemu ekibuuzo kino, “Lwaki tuyinza okugamba nti ensi eyo ey’eby’omwoyo weeri leero?”

8. (a) Ggwanga ki eryadda mu kifo ky’eggwanga lya Isirayiri ow’omubiri? (b) Ensi ey’eby’omwoyo oba olusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo kye ki? (c) Ensi eyo yatandikawo ddi, era baani abagibeeramu?

8 Mu kumu ku kwolesebwa Ezeekyeri kwe yasooka okufuna, Yakuwa yakiraga nti obunnabbi obukwata ku kuzzibwawo kwa Isirayiri bwandituukiriziddwa ku kigero ekisingawo oluvannyuma ‘lw’omuweereza we Dawudi,’ Yesu Kristo, okutandika okufuga nga Kabaka. (Ezk. 37:24) Ekyo kyaliwo mu 1914 E.E. Omwaka ogwo we gwatuukira, Yakuwa yali yeesamba dda eggwanga lya Isirayiri ow’omubiri nga kati akolagana n’eggwanga lya Isirayiri ow’omwoyo, nga bano be Bakristaayo abaafukibwako amafuta. (Soma Matayo 21:43; 1 Peetero 2:9.) Ng’oggyeeko okuba nti eggwanga lya Isirayiri ow’omwoyo lyadda mu kifo ky’eggwanga lya Isirayiri ow’omubiri, olusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo oba ensi ey’eby’omwoyo nayo yadda mu kifo ky’ensi ya Isirayiri. (Is. 66:8) Nga bwe twalaba mu Ssuula 17 ey’ekitabo kino, ensi ey’eby’omwoyo ye embeera ennungi ey’eby’omwoyo ensigalira y’abaafukibwako amafuta mwe babadde basinziza Yakuwa okuva mu 1919. (Laba akasanduuko 9B, “Lwaki 1919?”) Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, ‘ab’endiga endala,’ abalina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna, nabo baatandika okuyingira mu nsi eyo. (Yok. 10:16) Wadde ng’olusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo lweyongera okugaziwa leero, emikisa gyonna egirulimu tujja kugifuna mu bujjuvu oluvannyuma lwa Amagedoni.

Okugabanyaamu Ensi Kyenkanyi

9. Bulagirizi ki Yakuwa bwe yawa obukwata ku kugabanyaamu ensi?

9 Soma Ezeekyeri 48:1, 28. Oluvannyuma lw’okulaga ensalo z’ensi we zandiyise, Yakuwa yalaga engeri ensi eyo gye yandibadde egabanyizibwamu. Yalagira ensi egabanyizibwemu kyenkanyi eri ebika 12 nga batandikira ku kika kya Ddaani mu bukiikakkono okutuukira ddala ku kika kya Gaadi mu bukiikaddyo. Buli kimu ku bitundu ebyo 12 ebyagabanyizibwamu kyali kitandikira ku nsalo y’ensi ya Isirayiri ey’ebuvanjuba ne kituukira ddala ku Nnyanja Ennene, Ennyanja Meditereniyani, ebugwanjuba.​—Ezk. 47:20.

10. Okwolesebwa okukwata ku kugabanyaamu ensi kuyinza okuba nga kwakakasa ki abo abaali mu buwaŋŋanguse?

10 Okwolesebwa okukwata ku kugabanyaamu ensi kuyinza okuba nga kwakakasa ki abo abaali mu buwaŋŋanguse? Okuba nti Ezeekyeri yaweebwa kalonda yenna akwata ku kugabanyaamu ensi kiteekwa okuba nga kyayamba Abayisirayiri abaali mu buwaŋŋanguse okukiraba nti okugabanyaamu ensi kwandikoleddwa mu ngeri entegeke obulungi. Ate era okuba nti ensi yagabanyizibwamu kyenkanyi eri ebika byonna 12 kyalaga nti buli muntu eyandizzeeyo ku butaka yandifunye obusika. Tewandibaddewo n’omu eyandizzeeyo mu nsi eyo eyandizziddwawo atandibadde na wa kubeera.

11. Biki bye tuyigira ku kwolesebwa okukwata ku kugabanyaamu ensi? (Laba akasanduuko “Okugabanyaamu Ensi.”)

11 Bya kuyiga ki ebizzaamu amaanyi bye tufuna mu kwolesebwa okwo? Bakabona, Abaleevi, n’abaami si be bokka abaafuna ebifo mu Nsi Ensuubize eyali ezziddwawo, wabula n’abantu bonna okuva mu bika 12 baafuna ebifo. (Ezk. 45:4, 5, 7, 8) Mu ngeri y’emu leero, abaafukibwako amafuta ‘n’ab’ekibiina ekinene’ abalina obuvunaanyizibwa obw’amaanyi mu kibiina si be bokka abalina ekifo mu lusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo, wabula n’abalala bonna ab’ekibiina ekinene balina ekifo mu lusuku olwo. a (Kub. 7:9) Ka tube nga tugwa mu kiti ki, ffenna abali mu kibiina kya Yakuwa, tulina ekifo n’omulimu omukulu ennyo mu nsi ey’eby’omwoyo. Ekyo nga kituzzaamu nnyo amaanyi!

Ka tube nga tulina buvunaanyizibwa ki mu kibiina kya Yakuwa, Yakuwa asiima okufuba kwaffe (Laba akatundu 11)

Enjawulo ya Mirundi Ebiri​—Ne Bye Tuyiga

12, 13. Biragiro ki Yakuwa bye yawa ebikwata ku ngeri y’okugabanyizaamu ebika ensi?

12 Ebimu ku biragiro Yakuwa bye yawa Ezeekyeri ebikwata ku kugabanyaamu ensi biyinza okuba nga byewuunyisa Ezeekyeri kubanga byali bya njawulo ku ebyo bye yawa Musa. Lowooza ku njawulo ya mirundi ebiri. Esooka ekwata ku nsi; ate endala ekwata ku abo abandibadde mu nsi eyo.

13 Esooka, ensi. Yakuwa yalagira Musa okuwa ebika ebinene ettaka ddene okusinga ebika ebitono. (Kubal. 26:52-54) Naye mu kwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna, Yakuwa yalagira nti ebika byonna biweebwe “emigabo egyenkanankana [“buli omu nga muganda we,” obugambo obuli wansi.].” (Ezk. 47:14) N’olwekyo obuwanvu bw’ebitundu ebyaweebwa buli kimu ku bika 12, okuva ku nsalo ey’ebukiikakkono okutuuka ku nsalo ey’ebukiikaddyo, bwali bwenkanankana. Bwe kityo, Abayisirayiri bonna ka babe ba mu kika ki bandibadde bagabana kyenkanyi ebintu ebirungi eby’Ensi eyo Ensuubize.

14. Ebiragiro Yakuwa bye yawa ebikwata ku bagwira byali byawukana bitya ku ebyo ebyali mu Mateeka ga Musa?

14 Ey’okubiri, ababeera mu nsi. Amateeka ga Musa gaali gawa abagwira obukuumi era nga gabakkiriza okusinza Yakuwa, naye tebaalina mugabo mu nsi ya Isirayiri. (Leev. 19:33, 34) Kyokka ekyo Yakuwa kye yalagira Ezeekyeri kyali kya njawulo ku ekyo kye yalagira mu Mateeka. Yakuwa yamugamba nti: “Omugwira mujja kumuwa obusika mu kitundu ky’ekika mwe yasenga.” Mu kuwa ekiragiro ekyo, Yakuwa yaggyawo enjawulo ey’amaanyi eyaliwo wakati ‘w’enzaalwa za Isirayiri’ n’abagwira abaali mu nsi ya Isirayiri. (Ezk. 47:22, 23) Mu kwolesebwa okwo Ezeekyeri kwe yafuna okukwata ku nsi ezziddwawo, yalaba ng’abantu abaagirimu baali batwalibwa kyenkanyi era nga bali bumu mu kusinza Yakuwa.​—Leev. 25:23.

15. Kintu ki ekikwata ku Yakuwa kye tuyigira ku biragiro ebikwata ku nsi ne ku bantu abandigibaddemu?

15 Ebiragiro ebyo eby’emirundi ebiri ebikwata ku nsi ne ku bantu abandigibaddemu biteekwa okuba nga byakakasa abo abaali mu buwaŋŋanguse nti Yakuwa yandibawadde ebifo ebyenkanankana, ka babe nzaalwa za Isirayiri oba bagwira abasinza Yakuwa. (Ezer. 8:20; Nek. 3:26; 7:6, 25; Is. 56:3, 8) Ebiragiro ebyo era byakkaatiriza bulungi nnyo nti: Yakuwa abaweereza be bonna abatwala nga ba muwendo. (Soma Kaggayi 2:7.) Ekyo ffenna kituzzaamu amaanyi ka tube nga tulina ssuubi lya kugenda mu ggulu oba lya kubeera ku nsi.

16, 17. (a) Okwekenneenya ebikwata ku nsi n’abantu abandigibaddemu kituganyula kitya? (b) Kiki kye tujja okwekenneenya mu ssuula eddako?

16 Okwekenneenya ebikwata ku nsi ne ku bantu abandigibaddemu kituganyula kitya? Kitujjukiza nti abaweereza ba Katonda mu nsi yonna tulina okuba obumu n’okukitwala nti ffenna twenkana. Yakuwa tasosola. Buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza nti: ‘Nkoppa Yakuwa ne siba musosoze? Bakkiriza bannange bonna mbawa ekitiibwa, ka babe ba langi ki, oba nga bali mu mbeera ki?’ (Bar. 12:10) Kitusanyusa nnyo okuba nti ffenna Yakuwa atuwadde ekifo mu lusuku lwe olw’eby’omwoyo, mwe tumuweerereza n’omutima gwaffe gwonna era mwe tufunira emikisa gye.​—Bag. 3:26-29; Kub. 7:9.

Okufaananako Yakuwa, naffe tetusosola era tuwa abalala ekitiibwa? (Laba akatundu 15, 16)

17 Kati ka twekenneenye ekisuubizo eky’okuna ekiri mu kitundu ekisembayo mu kwolesebwa Ezeekyeri kwe yasembayo okufuna. Yakuwa yasuubiza nti yandibadde wamu n’abantu abandikomyewo okuva mu buwaŋŋanguse. Ekisuubizo ekyo kituyigiriza ki? Eky’okuddamu tujja kukiraba mu ssuula eddako.

a Okusobola okulaba ekifo n’obuvunaanyizibwa obw’enjawulo Yakuwa by’awadde bakabona n’omwami mu nsi ey’eby’omwoyo, laba Essuula 14 ey’ekitabo kino.