Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 9

“Nja Kubawa Omutima Oguli Obumu”

“Nja Kubawa Omutima Oguli Obumu”

EZEEKYERI 11:19

OMULAMWA: Okuzzibwawo kw’okusinza okw’amazima n’engeri gye kwogerwako mu bunnabbi bwa Ezeekyeri

1-3. Abababulooni baduulira batya abaweereza ba Yakuwa, era lwaki babaduulira?

 KUBA akafaananyi ng’oli Muyudaaya mwesigwa era ng’obeera mu kibuga Babulooni. Ggwe n’Abayudaaya abalala mumaze emyaka egisukka mu 50 nga muli mu buwaŋŋanguse. Ng’enkola yo bw’eri ku Ssabbiiti, ogenda okukuŋŋaana awamu ne bakkiriza banno okusinza Yakuwa. Bw’oba ogenda, oyita mu nguudo z’ekibuga ezijjudde abantu era oyita ne ku masinzizo mangi. Abantu bangi bagenda mu masinzizo ago okusinza bakatonda abatali bamu, nga mw’otwalidde n’oyo ayitibwa Maruduki.

2 Bw’ofuluma ekibuga, osisinkana bakkiriza banno. a Mufuna ekifo ekisirifu, oboolyawo ku lubalama lw’omugga ogumu ne musaba, ne muyimba zabbuli, era ne mufumiitiriza ku Kigambo kya Katonda. Awo we muli nga musaba, tewali kibataataaganya. Muwulira maato gokka agasimbiddwa okumpi awo nga gasuukundibwa amayengo. Musuubira nti tewali muntu n’omu ajja okujja ataataaganye olukuŋŋaana lwammwe nga bwe batera okukola. Lwaki babataataaganya?

3 Eggwanga lya Babulooni liwangudde entalo nnyingi, era Abababulooni balowooza nti bakatonda baabwe ab’obulimba be babasobozesa okuwangula entalo ezo. Abababulooni balowooza nti okuzikirizibwa kwa Yerusaalemi bwali bukakafu obulaga nti katonda waabwe Maruduki asinga Yakuwa amaanyi! Bwe kityo bajerega Yakuwa n’abantu be. Batera n’okubaduulira nga babagamba nti: “Mutuyimbire olumu ku nnyimba za Sayuuni”! (Zab. 137:3) Zabbuli nnyingi zitendereza Yakuwa olw’okusobozesa Sayuuni okuwangula abalabe be. Era oboolyawo Abababulooni batera okwogera ebigambo ebijerega zabbuli ezo. Kyokka zabbuli ezimu zoogera ku Bababulooni bennyini. Ng’ekyokulabirako, emu ku zo egamba nti: “Bafudde Yerusaalemi entuumu y’ebifunfungu. . . . Abo abatwetoolodde batusekerera era batuduulira.”​—Zab. 79:1, 3, 4.

4, 5. Ssuubi ki obunnabbi bwa Ezeekyeri lye bwawa Abayudaaya, era kiki kye tugenda okulaba mu ssuula eno? (Laba ekifaananyi ku lupapula 95.)

4 Kyokka waliwo n’Abayudaaya bakyewaggula abakujerega olw’okuba okyassa obwesige bwo mu Yakuwa ne mu bannabbi be. Wadde ng’owulira ebigambo ng’ebyo ebimalamu amaanyi, okusinza okulongoofu kukuyamba ggwe n’ab’omu maka go okubudaabudibwa. Owulira bulungi buli lwe mukuŋŋaana okusaba n’okuyimbira awamu. Era okusoma Ekigambo kya Katonda kikuzzaamu nnyo amaanyi. (Zab. 94:19; Bar. 15:4) Kuba akafaananyi nga ku luno omu ku bakkiriza banno aliko ekintu eky’enjawulo ky’aleese; aleese omuzingo ogulimu obunnabbi bwa Ezeekyeri. Kikusanyusa nnyo okuwulira ekisuubizo kya Yakuwa eky’okuzzaayo abantu be mu nsi yaabwe. Obunnabbi obwo bwe buba busomebwa, owulira essanyu lingi nnyo ku mutima, era oba n’essuubi nti lumu ggwe n’ab’omu maka go mujja kuddayo mu nsi yammwe era mwenyigire mu kuzzaawo okusinza okulongoofu!

5 Obunnabbi bwa Ezeekyeri bulimu ebintu bingi Yakuwa bye yasuubiza ebikwata ku kuzzaawo okusinza okulongoofu, era ng’eno ye nsonga gye tugenda okwetegereza mu ssuula eno. Obunnabbi obwo bwatuukirizibwa butya? Butuukiriziddwa butya mu kiseera kyaffe? Era bunaatuukirizibwa butya mu biseera eby’omu maaso?

“Bajja Kugenda mu Buwaŋŋanguse, mu Buwambe”

6. Yakuwa yali alabudde atya abantu be abajeemu enfunda n’enfunda?

6 Okuyitira mu Ezeekyeri, Yakuwa yategeeza abantu be engeri gye yali agenda okubabonerezaamu olw’obujeemu bwabwe. Yakuwa yagamba nti: “Bajja kugenda mu buwaŋŋanguse, mu buwambe.” (Ezk. 12:11) Nga bwe twalaba mu Ssuula 6 ey’ekitabo kino, Ezeekyeri aliko ebintu ebitali bimu bye yakola ebyali biraga engeri ekyo gye kyandituukiriziddwamu. Naye okwo si kwe kulabula Abayisirayiri kwe baali basoose okufuna. Okuviira ddala mu biseera bya Musa, kumpi emyaka nga lukumi emabega, Yakuwa yali yalabula abantu be nti bwe bandimujeemedde ne bagaana okuleka ebikolwa byabwe ebibi, banditwaliddwa mu buwaŋŋanguse. (Ma. 28:36, 37) Ne bannabbi abalala, gamba nga Isaaya ne Yeremiya, baali balabudde Abayisirayiri ku kintu ekyo.​—Is. 39:5-7; Yer. 20:3-6.

7. Yakuwa yabonereza atya abantu be?

7 Eky’ennaku, abantu abasinga obungi tebassaayo mwoyo ku kulabula okwo. Kyanakuwaza nnyo Yakuwa okuba nti abantu be baasalawo okumujeemera, ne basinza ebifaananyi, ne bataba beesigwa gy’ali, era ne boonooneka nga bagoberera ekyokulabirako ky’abasumba ababi. Bwe kityo, Yakuwa yaleka enjala n’egwa mu nsi yaabwe era ekyo kyali kiswaza nnyo kubanga ensi eyo yali emanyiddwa ng’ensi “ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.” (Ezk. 20:6, 7) Era nga bwe yali yalagula, Yakuwa yaleka abantu be abajeemu ne batwalibwa mu buwaŋŋanguse. Mu 607 E.E.T., Nebukadduneeza kabaka wa Babulooni yazikiriza Yerusaalemi ne yeekaalu yaamu. Bangi ku Bayudaaya abaawonawo baatwalibwa mu buwaŋŋanguse e Babulooni. Nga bali eyo, baasekererwanga era baayigganyizibwanga nga bwe kyogeddwako ku ntandikwa y’essuula eno.

8, 9. Yakuwa yalabula atya ekibiina Ekikristaayo ku bakyewaggula?

8 Waliwo ekintu ekifaananako bwe kityo ekyatuuka ne ku kibiina Ekikristaayo? Yee! Okufaananako Abayudaaya ab’edda, abagoberezi ba Kristo nabo baalabulwa nga bukyali. Bwe yali yaakatandika obuweereza bwe ku nsi, Yesu yabagamba nti: “Mwekuume bannabbi ab’obulimba abajjira mu byambalo by’endiga, naye nga munda gye misege egikavvula.” (Mat. 7:15) Nga wayiseewo emyaka, omutume Pawulo naye yalabula Abakristaayo nti: “Nkimanyi nti bwe ndivaawo, emisege emikambwe giriyingira mu mmwe era tegiriyisa bulungi kisibo, era mu mmwe mmwennyini mulivaamu abantu aboogera ebintu ebikyamye okusendasenda abayigirizwa okubagoberera.”​—Bik. 20:29, 30.

9 Abakristaayo baategeezebwa engeri gye baali basobola okutegeera n’okwewala abantu abo ab’omutawaana. Abakadde mu kibiina Ekikristaayo baalagirwa okuggya bakyewaggula mu kibiina. (1 Tim. 1:19; 2 Tim. 2:16-19; 2 Peet. 2:1-3; 2 Yok. 10) Kyokka okufaananako abantu b’omu Isirayiri ne Yuda eby’edda, Abakristaayo bangi tebaafaayo ku kulabula okwo. Ekyasa ekyasooka we kyaggweerako, bakyewaggula baali basensedde ekibiina. Yokaana, omutume eyasembayo okufa, eyali akyali omulamu ng’ekyasa ekyasooka kinaatera okuggwaako, yalaba engeri ekibiina gye kyali kyonooneseemu n’engeri obujeemu gye bwali bubunye mu kibiina. Ye yekka eyali akyaliwo ng’akola ng’ekiziyiza eri obwakyewaggula. (2 Bas. 2:6-8; 1 Yok. 2:18) Kiki ekyabaawo oluvannyuma lwa Yokaana okufa?

10, 11. Olugero lwa Yesu olukwata ku ŋŋaano n’omuddo lwatuukirizibwa lutya okuva mu kyasa eky’okubiri E.E. n’okweyongerayo?

10 Yokaana bwe yamala okufa, olugero lwa Yesu olukwata ku ŋŋaano n’omuddo lwatandika okutuukirira. (Soma Matayo 13:24-30.) Nga Yesu bwe yali yagamba, Sitaani yasiga mu kibiina Ekikristaayo “omuddo,” kwe kugamba, Abakristaayo ab’obulimba, era ekibiina ne kyonooneka ku sipiidi. Nga kiteekwa okuba nga kyanakuwaza nnyo Yakuwa okulaba ng’ekibiina Omwana we kye yatandikawo kiyingiddemu okusinza ebifaananyi, emikolo n’ennaku eby’ekikaafiiri, awamu n’enjigiriza ez’obulimba ezaasibuka mu madiini ag’obulimba ne mu bafirosoofo abaali batakkiririza mu Katonda! Kiki Yakuwa kye yakolawo? Nga bwe kyali ku Bayisirayiri abataali beesigwa, Yakuwa yaleka abantu be ne batwalibwa mu buwaŋŋanguse. Okuva awo nga mu kyasa eky’okubiri E.E. n’okweyongerayo, Abakristaayo ab’obulimba baabuutikira Abakristaayo abali ng’eŋŋaano. Mu ngeri eyo ekibiina Ekikristaayo kyatwalibwa mu buwaŋŋanguse mu Babulooni Ekinene, nga gano ge madiini gonna ag’obulimba. Naye bo Abakristaayo ab’obulimba baafuuka kitundu kya Babulooni Ekinene. Abakristaayo ab’obulimba bwe beeyongera obungi, amadiini ga Kristendomu gaatandikawo.

11 Mu kiseera ekyo ekyali ekizibu ennyo nga Kristendomu yeeyongedde okuyitimuka, waaliwo Abakristaayo ab’amazima, Yesu be yayita “eŋŋaano” mu lugero lwe. Okufaananako Abayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse aboogerwako mu Ezeekyeri 6:9, Abakristaayo abo tebeerabira Katonda ow’amazima. Abamu ku bo baayoleka obuvumu ne bawakanya enjigiriza za Kristendomu ez’obulimba. Baasekererwa era baayigganyizibwa. Yakuwa yali agenda kuleka abantu be babeere mu madiini ag’obulimba emirembe gyonna? Nedda! Nga bwe kyali eri Abayisirayiri ab’edda, Yakuwa yayoleka obusungu bwe ku kigero ekisaana era okumala ekiseera ekituufu. (Yer. 46:28) Ate era Yakuwa yawa abantu be essuubi. Kati ka tuddemu tulowooze ku Bayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse mu Babulooni eky’edda era tulabe engeri Yakuwa gye yabawa essuubi nti ekiseera kyandituuse ne bava mu buwambe.

Okumala emyaka mingi, Abakristaayo ab’amazima baayigganyizibwa nnyo Babulooni Ekinene (Laba akatundu 10, 11)

“Obusungu Bwange Bujja Kukoma”

12, 13. Lwaki Yakuwa yandirekedde awo okusunguwalira abantu be abaali mu buwaŋŋanguse mu kiseera kya Ezeekyeri?

12 Yakuwa yategeeza abantu be nti yali abasunguwalidde, naye era yabagamba nti obusungu bwe bwandituuse ekiseera ne bukoma. Yagamba nti: “Obusungu bwange bujja kukoma, n’ekiruyi kyange kijja kukkakkana, era nja kuba mumativu. Bwe nnaamala okubamalirako ekiruyi kyange, bajja kumanya nti nze Yakuwa ayogedde nabo, njagala abantu okunneemalirako.” (Ezk. 5:13) Lwaki ekiseera kyandituuse obusungu bwa Yakuwa ne bukoma?

13 Mu Bayudaaya abaatwalibwa mu buwaŋŋanguse mwalimu abeesigwa n’abataali beesigwa. Ate era ng’ayitira mu Ezeekyeri, Katonda yakiraga nti abamu ku bantu be bandyenenyezza nga bali mu buwaŋŋanguse. Abayudaaya abo abandyenenyezza bandyatudde ebibi byabwe era ne beegayirira Yakuwa abasonyiwe. (Ezk. 6:8-10; 12:16) Ezeekyeri, Danyeri, awamu ne banne ba Danyeri abasatu be bamu ku Bayudaaya abaali abeesigwa. Mu butuufu, Danyeri yaliwo ng’Abayudaaya batwalibwa mu buwaŋŋanguse ne bwe baali nga bavaayo. Essaala Danyeri gye yasaba nga yeenenyeza Yakuwa olw’ebibi bya Isirayiri esangibwa mu Danyeri essuula 9. Ebigambo bye yayogera byoleka bulungi enneewulira Abayisirayiri bangi abaali beenenyezza era abaali baagala okuddamu okufuna emikisa gya Yakuwa gye baalina. Obunnabbi bwa Ezeekyeri obwali bukwata ku kuteebwa kw’Abayisirayiri n’okuzzibwayo ku butaka buteekwa okuba nga bwabazzaamu nnyo amaanyi.

14. Lwaki Yakuwa yali agenda kuzzaayo abantu be mu nsi yaabwe?

14 Naye waliwo ensonga enkulu eyali egenda okuleetera Yakuwa okuggya abantu be mu buwambe n’okuzzaawo okusinza okulongoofu. Yakuwa yali agenda kubaggya mu buwaŋŋanguse si lwa kuba nti baali bagwana okununulibwa, naye lwa kuba nti ekiseera kyali kituuse addemu okutukuza erinnya lye mu maaso g’amawanga gonna. (Ezk. 36:22) Abababulooni baali bagenda kukimanya nti bakatonda baabwe bonna ab’obulimba gamba nga Maruduki, baali tebalina bwe bali bw’obageraageranya ku Yakuwa Mukama Afuga Byonna. Kati ka tulabe ebintu bitaano Yakuwa bye yasuubiza era bye yagamba Ezeekyeri okutegeeza Abayudaaya be yali nabo mu buwaŋŋanguse. Tugenda kusooka tulabe engeri ebisuubizo ebyo gye byatuukirizibwamu mu biseera by’Abayisirayiri, ate oluvannyuma tulabe engeri gye bituukiriziddwamu ku kigero ekisingawo.

15. Nkyukakyuka ki eyandibaddewo mu ngeri abo abandizzeeyo ku butaka gye bandisinzizzaamu?

15 EKISUUBIZO 1. Okusinza ebifaananyi n’ebikolwa ebirala ebibi ebikwataganyizibwa n’okusinza okw’obulimba byandiweddewo. (Soma Ezeekyeri 11:18; 12:24.) Nga bwe twalaba mu Ssuula 5 ey’ekitabo kino, Yerusaalemi ne yeekaalu yaamu byali byonooneddwa okusinza okw’obulimba, gamba ng’okusinza ebifaananyi. Bwe kityo abantu baali boonoonese nnyo nga tebakyalina nkolagana ne Yakuwa. Ng’ayitira mu Ezeekyeri, Yakuwa yakiraga nti ekiseera kyandituuse Abayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse ne baddamu okumusinza mu ngeri ennongoofu era gy’asiima. Emikisa gyonna Abayisirayiri gye bandifunye nga bazzeeyo ku butaka gyali gyesigamye ku nsonga eno enkulu: okuzzibwawo kw’enteekateeka ya Yakuwa ey’okusinza okulongoofu.

16. Kiki ekikwata ku nsi ya Isirayiri Yakuwa kye yasuubiza abantu be?

16 EKISUUBIZO 2. Okuzzibwayo mu nsi yaabwe. Yakuwa yagamba Abayisirayiri abaali mu buwaŋŋanguse nti: “Nja kubawa ensi ya Isirayiri.” (Ezk. 11:17) Ekisuubizo ekyo kyali kikulu nnyo, kubanga Abababulooni, abaali bawambye abantu be, tebakkirizanga bantu be baawambanga kuddayo mu nsi yaabwe. (Is. 14:4, 17) Ate era Yakuwa yakiraga nti Abayisirayiri abandizzeeyo ku butaka bwe bandisigadde nga beesigwa, ensi yaabwe yandibadde ngimu ng’ebala emmere, era bandisobodde okukola emirimu egibaganyula. Tebandizzeemu kulumwa njala.​—Soma Ezeekyeri 36:30.

17. Kiki Abayisirayiri kye bandizzeemu okukola?

17 EKISUUBIZO 3. Okuddamu okuwaayo ebiweebwayo ku kyoto kya Yakuwa. Nga bwe twalaba mu Ssuula 2 ey’ekitabo kino, okusinziira ku Mateeka, okuwaayo ebiweebwayo ne ssaddaaka kyali kintu kikulu nnyo mu kusinza okulongoofu. Abayudaaya abandizzeeyo ku butaka bwe bandisigadde nga bawulize era nga balongoofu mu by’omwoyo, Yakuwa yandibadde akkiriza ebiweebwayo byabwe. Bwe kityo Yakuwa yandibadde abasonyiwa ebibi byabwe era bandibadde n’enkolagana ey’oku lusegere naye. Yakuwa yagamba nti: “Ab’ennyumba ya Isirayiri bonna . . . banampeererezanga mu nsi. Eyo gye nnaabasiimira, era eyo gye mujja okundeetera bye munaaba muwaddeyo n’ebibala ebibereberye eby’ebiweebwayo byammwe, ebintu byammwe byonna ebitukuvu.” (Ezk. 20:40) Okusinza okulongoofu kwandizziddwawo era ekyo kyandiviiriddeko abantu ba Katonda okufuna emikisa.

18. Yakuwa yandirabiridde atya abantu be?

18 EKISUUBIZO 4. Okuggyawo abasumba ababi. Emu ku nsonga eyaviirako abantu ba Katonda okwonooneka yali nti abo abaali batwala obukulembeze baali babi. Yakuwa yasuubiza okubaako ky’akolawo. Ng’ayogera ku basumba abo ababi, Yakuwa yagamba nti: “Nja kubaggyako omulimu gw’okuliisa endiga zange . . . Nja kununula endiga zange mu kamwa kaabwe.” Era Yakuwa yasuubiza nti: “Nja kulabirira endiga zange.” (Ezk. 34:10, 12) Ekyo yandikikoze atya? Yandikozesezza abasajja abeesigwa okulunda endiga ze.

19. Kiki Yakuwa kye yasuubiza ekikwata ku bumu?

19 EKISUUBIZO 5. Abantu ba Yakuwa okuba obumu. Lowooza ku ngeri abaweereza ba Katonda abeesigwa gye baawulirangamu bwe baalaba abantu ba Katonda nga tebali bumu mu kiseera nga tebannatwalibwa mu buwaŋŋanguse. Bannabbi ab’obulimba n’abasumba ababi baaleetera abantu okujeemera bannabbi abeesigwa abaali bakiikirira Yakuwa. Abantu baatuuka n’okwekutulakutulamu obubiina. N’olwekyo, ekimu ku bintu ebyazzaamu ennyo abantu ba Katonda amaanyi, kye kisuubizo kino Yakuwa kye yayogera okuyitira mu Ezeekyeri: “Nja kubawa omutima oguli obumu era mbateekemu omwoyo omuggya.” (Ezk. 11:19) Abayudaaya abandizzeeyo ku butaka bwe bandisigadde nga bali bumu ne Yakuwa era nga bali bumu ne Bayudaaya bannaabwe, tewandibaddewo mulabe yandisobodde kubawangula. Era bandizzeemu okuweesa Yakuwa ekitiibwa mu kifo ky’okuvumisa erinnya lye.

20, 21. Ebyo Yakuwa bye yasuubiza abantu be abandizzeeyo ku butaka byatuukirizibwa bitya?

20 Abayudaaya abaddayo ku butaka baalaba ebisuubizo ebyo ebitaano nga bituukirira? Lowooza ku bigambo bino omusajja omwesigwa Yoswa bye yayogera: “Tewali kigambo kyonna ku bisuubizo byonna ebirungi Yakuwa Katonda wammwe bye yabasuubiza ekitatuukiridde. Byonna bituukiridde gye muli. Tewali na kimu kitatuukiridde.” (Yos. 23:14) Byonna Yakuwa bye yasuubiza mu kiseera kya Yoswa byatuukirira, era n’ebyo bye yasuubiza Abayudaaya abaddayo ku butaka byatuukirira.

21 Abayudaaya baalekayo okusinza ebifaananyi era baalekayo n’ebintu ebirala ebibi ebyali bikolebwa mu kusinza okw’obulimba ebyali byonoonye enkolagana yaabwe ne Yakuwa. Wadde nga kyali kirabika ng’ekitasoboka, baddamu okubeera mu nsi yaabwe, ne balima, era ne banyumirwa obulamu. Ekimu ku bintu bye baasooka okukola kwe kuzzaawo ekyoto kya Yakuwa mu Yerusaalemi, era ne bawaayo eri Yakuwa ebiweebwayo ebikkirizibwa ku kyoto ekyo. (Ezer. 3:2-6) Yakuwa yabateerawo abasumba abalungi gamba nga Ezera eyali kabona omwesigwa era omukoppolozi, Nekkemiya ne Zerubbaberi abaali bagavana, Yoswa eyali kabona asinga obukulu, ne Kaggayi, Zekkaliya, ne Malaki, bannabbi abaali abavumu. Abantu bwe baakolera ku bulagirizi obwali buva eri Yakuwa, baafuna obumu obwali bumaze ekiseera ekiwanvu nga tebuliiwo.​—Is. 61:1-4; soma Yeremiya 3:15.

22. Tumanya tutya nti obunnabbi obukwata ku kuzzibwawo kw’okusinza okulongoofu bwandituukiriziddwa ku kigero ekisingawo mu biseera eby’omu maaso?

22 Awatali kubuusabuusa, okutuukirizibwa okwasooka okukwata ku bunnabbi bw’okuzzaawo okusinza okulongoofu kwazzaamu nnyo abantu ba Katonda amaanyi. Kyokka obunnabbi obwo bwali bugenda kutuukirira ku kigero ekisingawo mu kiseera eky’omu maaso. Ekyo tukimanya tutya? Yakuwa yalaga nti ebisuubizo ebyo yandibituukirizza singa abantu be bandisigadde nga bawulize gy’ali. Kyokka oluvannyuma lw’ekiseera, Abayudaaya baddamu ne bajeemera Yakuwa. Naye nga Yoswa bwe yagamba, byonna Yakuwa by’asuubiza bituukirira. N’olwekyo, ebisuubizo ebyo byandituukiriziddwa ku kigero ekisingawo mu biseera eby’omu maaso. Ka tulabe engeri gye byatuukirizibwamu.

“Nja Kubasiima”

23, 24. Ebiseera “eby’okuzza obuggya ebintu byonna” byatandika ddi, era byatandika bitya?

23 Okusinziira ku Bayibuli tukimanyi nti ennaku ez’enkomerero zaatandika mu 1914. Kyokka ffe abaweereza ba Yakuwa ekyo tekitumalaako ssanyu. Mu butuufu, Bayibuli eraga nti waliwo ekintu eky’essanyu ekyatandika mu 1914. Mu mwaka ogwo, ebiseera “eby’okuzza obuggya ebintu byonna” byatandika. (Bik. 3:21) Ekyo tukimanya tutya? Lowooza ku ekyo ekyaliwo mu 1914. Mu mwaka ogwo Yesu yafuulibwa kabaka mu ggulu! Mu ngeri ki ekyo gye kyali entandikwa y’okuzza obuggya ebintu? Kijjukire nti Yakuwa yasuubiza Kabaka Dawudi nti entebe ye ey’obwakabaka eribeerawo emirembe n’emirembe. (1 Byom. 17:11-14) Mu 607 E.E.T. Abababulooni bwe baazikiriza Yerusaalemi, obufuzi bwa bakabaka abava mu lunyiriri lwa Dawudi bwaggibwawo.

24 Yesu “Omwana w’omuntu,” yali wa mu lunyiriri lwa Dawudi era bwe kityo yali agwana okutuula ku ntebe ya Dawudi ey’obwakabaka. (Mat. 1:1; 16:13-16; Luk. 1:32, 33) Mu 1914, Yakuwa bwe yatuuza Yesu ku ntebe y’obwakabaka, ebiseera “eby’okuzza obuggya ebintu byonna” byatandika. Kati Yakuwa yali agenda kukozesa Kabaka oyo atuukiridde okweyongera okukola omulimu ogw’okuzza obuggya ebintu.

25, 26. (a) Abakristaayo ab’amazima baggibwa ddi mu buwaŋŋanguse mu Babulooni Ekinene, era ekyo tukimanya tutya? (Laba n’akasanduuko “Lwaki Tugamba nti Baggibwayo mu 1919?”) (b) Kiki ekyatandika okutuukirizibwa okuva mu 1919 n’okweyongerayo?

25 Ekimu ku bintu Yesu bye yasooka okukola nga yaakafuuka Kabaka kwe kwegatta ku Kitaawe okwekenneenya enteekateeka y’okusinza okulongoofu ku nsi. (Mal. 3:1-5) Nga Yesu bwe yakiraga mu lugero lw’eŋŋaano n’omuddo, waali wayise ekiseera kiwanvu nga kizibu okwawula Abakristaayo abaafukibwako amafuta ab’amazima abalinga eŋŋaano ku Bakristaayo ab’obulimba abalinga omuddo. b Naye kati mu 1914 ekiseera ky’amakungula kyali kituuse, era enjawulo wakati w’omuddo n’eŋŋaano yali yeeyoleka bulungi. Okumala emyaka egiwerako ng’omwaka gwa 1914 tegunnatuuka, Abayizi ba Bayibuli abeesigwa baali bazze baanika enjigiriza za Kristendomu ez’obulimba era nga batandise okweyawula ku madiini ag’obulimba. Ekiseera kya Yakuwa okubaggya mu buwambe kyali kisembedde. Bwe kityo ku ntandikwa ya 1919, nga waakayita emyaka mitono bukya ‘ekiseera ky’amakungula’ kitandika, abantu ba Katonda baggibwa mu buwambe mu Babulooni Ekinene. (Mat. 13:30) Kati baali tebakyali mu buwaŋŋanguse!

26 Obunnabbi bwa Ezeekyeri obukwata ku kuzzibwawo kw’okusinza okulongoofu bwatandika okutuukirizibwa ku kigero ekyali kitabangawo mu byafaayo by’abantu ba Katonda. Kati ka tulabe engeri ebisuubizo ebitaano bye tulabye gye bituukiriziddwamu ku kigero ekisingawo.

27. Yakuwa yayamba atya abantu be okulekera awo okusinza ebifaananyi?

27 EKISUUBIZO 1. Okusinza ebifaananyi n’ebikolwa ebirala ebibi ebyasibuka mu madiini ag’obulimba byandiggiddwawo. Awo ng’ekyasa 19 kinaatera okuggwaako ne ku ntandikwa y’ekyasa 20, Abakristaayo abeesigwa baali bakuŋŋaana wamu era baali batandise okulekayo enjigiriza n’ebikolwa by’amadiini ag’obulimba. Baalekayo enjigiriza, gamba ng’eyo egamba nti Katonda ali mu busatu, ey’omwoyo ogutafa, n’ey’omuliro ogutazikira, kubanga si za mu Byawandiikibwa era zaasibuka mu madiini ag’obulimba. Era baakiraga kaati nti okukozesa ebifaananyi mu kusinza kuba kusinza bifaananyi. Ate era oluvannyuma lw’ekiseera, abantu ba Katonda baakitegeera nti okukozesa omusaalaba mu kusinza nakwo kuba kusinza bifaananyi.​—Ezk. 14:6.

28. Abantu ba Yakuwa bazzibwayo batya mu nsi yaabwe?

28 EKISUUBIZO 2. Okuzzibwayo mu nsi yaabwe ey’eby’omwoyo. Abakristaayo ab’amazima bwe baava mu madiini ag’obulimba, baayingira mu nsi yaabwe ey’eby’omwoyo, ng’eno ye mbeera ennungi ey’eby’omwoyo, mwe batandizzeemu kulumwa njala ya bya mwoyo. (Soma Ezeekyeri 34:13, 14.) Nga bwe tujja okulaba mu Ssuula 19 mu kitabo kino, Yakuwa awadde abantu be emmere nnyingi nnyo ey’eby’omwoyo nga bali mu nsi yaabwe eyo ey’eby’omwoyo.​—Ezk. 11:17.

29. Omulimu gw’okubuulira gwayongerwamu gutya amaanyi mu 1919?

29 EKISUUBIZO 3. Okuddamu okuwaayo ebiweebwayo ku kyoto kya Yakuwa. Mu kyasa ekyasooka E.E., Yakuwa yakiraga nti Abakristaayo tebeetaaga kuwaayo ssaddaaka za nsolo, wabula nti balina kuwaayo ssaddaaka ezisingira ewala ez’ensolo, nga bino bye bigambo bye boogera nga bamutendereza era nga babuulira abalala ebimukwatako. (Beb. 13:15) Ekiseera Abakristaayo kye baamala nga bali mu buwaŋŋanguse, tewaaliwo nteekateeka ya kuwaayo ssaddaaka ezo. Naye bwe baali banaatera okuva mu buwaŋŋanguse, baatandika okuwaayo ssaddaaka ezo ez’okutendereza. Baali bakola omulimu gw’okubuulira era nga batendereza Katonda mu nkuŋŋaana zaabwe. Okuva mu 1919 n’okweyongerayo, “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” yayongera amaanyi mu mulimu gw’okubuulira era n’ayongera okuguteekateeka obulungi. (Mat. 24:45-47) Bwe kityo abantu bangi nnyo beeyongera okuwaayo ssaddaaka ku kyoto kya Yakuwa!

30. Kiki Yesu kye yakola okusobozesa abantu be okuba n’abasumba abalungi?

30 EKISUUBIZO 4. Okuggyawo abasumba ababi. Kristo yanunula abantu ba Katonda okuva mu mikono gy’abasumba ba Kristendomu ababi abeenoonyeza ebyabwe. N’abasumba abaali mu kibiina kya Kristo abaali beeyisa ng’abasumba abo nabo baggibwako obuvunaanyizibwa obwo. (Ezk. 20:38) Yesu, Omusumba Omulungi, yakakasa nti endiga ze zirabirirwa bulungi. Mu 1919 yalonda omuddu omwesigwa era ow’amagezi. Ab’oluganda abo abaafukibwako amafuta abatonotono abeesigwa baawoma omutwe mu kuliisa abantu ba Katonda emmere ey’eby’omwoyo era abantu ba Katonda baatandika okulabirirwa obulungi. Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, abakadde baatendekebwa okuyambako mu kulabirira “ekisibo kya Katonda.” (1 Peet. 5:1, 2) Ebigambo ebiri mu Ezeekyeri 34:15, 16 bitera okukozesebwa okujjukiza abakadde Abakristaayo ekyo Yakuwa ne Yesu kye babasuubiramu.

31. Yakuwa yatuukiriza atya obunnabbi obuli mu Ezeekyeri 11:19?

31 EKISUUBIZO 5. Abantu ba Yakuwa okuba obumu. Ebyasa bwe bizze biyitawo, Kristendomu yeeyawuddeyawuddemu ebibiina by’eddiini nkumi na nkumi, nga mw’otwalidde n’obudiinidiini obutonotono bungi obutakwatagana era obuli ku mbiranye. Naye ye Yakuwa akoze ekintu ekyewuunyisa ennyo mu bantu be. Ekyo kye yagamba Ezeekyeri nti, “Nja kubawa omutima oguli obumu,” kituukiridde ku kigero ekya waggulu. (Ezk. 11:19) Okwetooloola ensi, Kristo alina abagoberezi bukadde na bukadde abaava mu mawanga ag’enjawulo ne mu madiini ag’enjawulo, abagagga n’abaavu. Wadde kiri kityo, bonna bayigirizibwa amazima ge gamu era bakola omulimu gwe gumu nga bali bumu. Yesu bwe yali anaatera okuttibwa, yasaba Katonda ayambe abagoberezi be babe bumu. (Soma Yokaana 17:11, 20-23.) Yakuwa azzeemu essaala eyo mu kiseera kyaffe ku kigero ekya waggulu.

32. Okwatibwako otya bw’olowooza ku ngeri obunnabbi obukwata ku kuzza ebintu obuggya gye butuukiriziddwamu? (Laba n’akasanduuko “Obunnabbi Obukwata ku Kutwalibwa mu Buwambe n’Okukomezebwawo.”)

32 Tekikusanyusa nnyo okubeerawo mu kiseera kino ng’okusinza okulongoofu kuzzibwawo? Leero tulaba bulungi okutuukirizibwa kw’obunnabbi bwa Ezeekyeri mu kibiina kya Yakuwa. Tewali kubuusabuusa nti Yakuwa asiima abantu be leero, nga bwe yayogera okuyitira mu Ezeekyeri. (Ezk. 20:41) Nga nkizo ya maanyi okuba mu bantu ba Katonda abaggibwa mu buwambe obw’eby’omwoyo, era nga kati bali bumu, baliisibwa bulungi mu by’omwoyo, era batendereza Yakuwa mu nsi yonna! Kyokka obumu ku bunnabbi bwa Ezeekyeri obukwata ku kuzzibwawo kw’okusinza okulongoofu bujja kutuukirizibwa ku kigero ekisingawo mu biseera eby’omu maaso.

“Efaanana ng’Olusuku Edeni”

33-35. (a) Obunnabbi obuli mu Ezeekyeri 36:35 bwalina makulu ki eri Abayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse? (b) Obunnabbi obwo bulina makulu ki eri abantu ba Yakuwa leero? (Laba n’akasanduuko “Ebiseera eby’Okuzza Obuggya Ebintu Byonna.”)

33 Nga bwe tulabye, ebiseera “eby’okuzza obuggya ebintu byonna” byatandika na kuzzaawo kabaka ava mu lunyiriri lwa Dawudi era ekyo kyaliwo mu 1914 Yesu bwe yafuulibwa Kabaka. (Ezk. 37:24) Ekyaddirira, Yakuwa yawa Kristo obuyinza okuzzaawo okusinza okulongoofu mu bantu be oluvannyuma lw’Abakristaayo ab’amazima okumala emyaka mingi nga bali mu buwaŋŋanguse obw’eby’omwoyo. Naye omulimu gwa Kristo ogw’okuzzaawo ebintu gwakoma awo? Nedda! Omulimu ogwo gujja kweyongera okukolebwa ne ku kigero ekisingawo mu biseera eby’omu maaso, nga bwe kiragibwa mu bunnabbi bwa Ezeekyeri.

34 Ng’ekyokulabirako, lowooza ku bigambo bino ebyaluŋŋamizibwa: “Abantu bajja kugamba nti: ‘Ensi eyali efuuse amatongo kaakano efaanana ng’olusuku Edeni.’” (Ezk. 36:35) Ekisuubizo ekyo kyalina makulu ki eri Ezeekyeri ne banne be yali nabo mu buwaŋŋanguse? Kya lwatu nti baali tebasuubira kisuubizo ekyo kutuukirizibwa mu bujjuvu mu kiseera kyabwe, kwe kugamba, baali tebasuubira nti ensi yaabwe mwe baali bagenda okuzzibwa yandibadde efuukira ddala ng’olusuku Edeni Yakuwa kennyini lwe yasimba! (Lub. 2:8) Awatali kubuusabuusa, baakitegeera nti Yakuwa yali abakakasa nti ensi yaabwe yandibadde nnungi nnyo era nga ngimu.

35 Ekisuubizo ekyo kitukwatako kitya leero? Naffe tetusuubira nsi kufuuka lusuku lwa Katonda mu kiseera kino ng’ekyafugibwa Sitaani Omulyolyomi. Naye tukimanyi nti ebigambo ebyo bituukirira mu by’omwoyo leero. Abaweereza ba Yakuwa tuli mu nsi ey’eby’omwoyo eyazzibwawo, ng’eno ye mbeera ennungi ey’eby’omwoyo mwe tuweerereza Yakuwa era ng’okumuweereza kye tukulembeza mu bulamu bwaffe. Ensi eno ey’eby’omwoyo egenda yeeyongera okulungiwa buli lukya. Kati ate obunnabbi obwo bunaatuukirizibwa butya mu biseera eby’omu maaso?

36, 37. Bisuubizo ki ebijja okutuukirizibwa mu lusuku lwa Katonda?

36 Oluvannyuma lw’olutalo Amagedoni, Yesu n’ensi yennyini kwe tuli ajja kugizza buggya. Mu kiseera ky’Obufuzi bwe obw’Emyaka Olukumi, ajja kuwa abantu obulagirizi basobole okulongoosa ensi ebeerere ddala nga Yakuwa bwe yali ayagala ebeere, ng’efaananira ddala ng’olusuku Edeni! (Luk. 23:43) Mu kiseera ekyo, abantu bonna bajja kuba bumu era nga balabirira bulungi ensi. Tewajja kubaawo kintu kyonna kibatiisa oba kibatuusaako kabi. Lowooza ku kiseera ekisuubizo kino lwe kirituukirira: “Nja kukola nazo endagaano ey’emirembe, era ensi nja kugimalamu ensolo enkambwe, endiga zange zisobolenga okubeera mu ddungu nga tewali kye zitya era zeebake mu bibira.”​—Ezk. 34:25.

37 Kirowoozeeko! Mu nsi empya, ojja kuba osobola okugenda mu kitundu kyonna eky’ensi nga tolina kintu kyonna ky’otya. Tewali nsolo ejja kukutuusaako bulabe. Tewajja kubaawo kintu kyonna kikumalako mirembe. Ojja kuba osobola okutambula wekka mu kibira ekinene, ng’onyumirwa okulaba obulungi bwakyo, era ng’osobola okwebakayo era n’ozuukuka nga totuusiddwako kabi konna!

Lowooza ku kiseera lw’oliba ng’osobola ‘okwebaka mu kibira’ n’ototuukibwako kabi konna (Laba akatundu 36, 37)

38. Owulira otya bw’olowooza ku kisuubizo ekiri mu Ezeekyeri 28:26?

38 Ate era tujja kulaba ng’ekisuubizo kino kituukirira: “[Ensi] bajja kugibeeramu nga bali mu mirembe, bazimbe amayumba era basimbe ennimiro z’emizabbibu, era bajja kubeera mu mirembe bwe nnaabonereza abo bonna ababeetoolodde ababajooga; era bajja kumanya nti nze Yakuwa Katonda waabwe.” (Ezk. 28:26) Oluvannyuma lwa Yakuwa okuzikiriza abalabe be, ensi yonna ejja kubaamu emirembe n’obutebenkevu. Bwe tunaaba tulabirira ensi, tujja kusobola n’okwerabirira awamu n’ab’omu maka gaffe. Tujja kuzimba amayumba amalungi tugabeeremu, era tujja kusimba n’ensuku z’emizabbibu.

39. Lwaki osobola okuba omukakafu nti obunnabbi Ezeekyeri bwe yayogera obukwata ku nsi empya bujja kutuukirira?

39 Ddala okkiriza nti ebisuubizo ebyo bijja kutuukirira? Lowooza ku bisuubizo bya Katonda by’olabye nga bituukirira mu kiseera kino eky’okuzza “ebintu byonna obuggya.” Wadde nga Sitaani afubye nnyo okulwanyisa okusinza okulongoofu, Yesu asobodde okuzzaawo okusinza okulongoofu mu kiseera kino ekizibu ennyo. Obwo bukakafu bwa maanyi obulaga nti ebyo byonna Katonda bye yasuubiza okuyitira mu Ezeekyeri bijja kutuukirira!

a Abayudaaya abasinga obungi abaali mu buwaŋŋanguse baabeeranga wamu mu byalo ebyali byesudde akabanga okuva mu kibuga Babulooni. Ng’ekyokulabirako, Ezeekyeri yali abeera wamu n’Abayudaaya abaali babeera okumpi n’Omugga Kebali. (Ezk. 3:15) Kyokka waaliwo n’Abayudaaya abatonotono abaali babeera mu kibuga. Mu abo mwe mwali “ab’olulyo olulangira n’abaana b’abakungu.”​—Dan. 1:3, 6; 2 Bassek. 24:15.

b Ng’ekyokulabirako, tetuyinza kumanyira ddala baani ku abo abaagezaako okuleetawo enkyukakyuka mu Kristendomu mu kyasa ekya 16 abaali Abakristaayo abaafukibwako amafuta.