Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 13

‘Bategeeze Kalonda Yenna Akwata ku Yeekaalu’

‘Bategeeze Kalonda Yenna Akwata ku Yeekaalu’

EZEEKYERI 43:10

OMULAMWA: Amakulu g’okwolesebwa okukwata ku yeekaalu Ezeekyeri kwe yafuna

1-3. (a) Lwaki okwolesebwa okukwata ku yeekaalu amakula Ezeekyeri kwe yafuna kuyinza okuba nga kwamuzzaamu amaanyi? (Laba ekifaananyi waggulu.) (b) Kiki kye tugenda okulaba mu ssuula eno?

 KATI Ezeekyeri wa myaka nga 50. Yaakamala emyaka 25 mu buwaŋŋanguse. Yeekaalu y’omu Yerusaalemi yasaanyizibwawo emyaka mingi emabega. Bwe kiba nti Ezeekyeri yali asuubira okuweerezaako nga kabona mu yeekaalu eyo, essuubi eryo takyalirina. Wagenda kuyitawo emyaka emirala nga 56 Abayudaaya abali mu buwaŋŋanguse balyoke baddeyo ku butaka, era Ezeekyeri akimanyi nti ekiseera ekyo we kirituukira ayinza okuba nga takyali mulamu era tasuubira nti aliraba yeekaalu ng’eddamu okuzimbibwa. (Yer. 25:11) Kyandiba nti ekyo kimuleetera ennaku?

2 Yakuwa yalaga Ezeekyeri ekisa kingi bwe yamuwa okwolesebwa mu kiseera ekyo. Okwolesebwa okwo kuteekwa okuba nga kwazzaamu nnyo Ezeekyeri amaanyi era ne kumuwa essuubi! Mu kwolesebwa okwo, Ezeekyeri yazzibwayo ku butaka, n’ateekebwa ku lusozi oluwanvu ennyo. Ng’ali eyo, yasisinkana “omusajja eyali afaanana ng’ekikomo.” Malayika oyo yamulambuza yeekaalu amakula. (Soma Ezeekyeri 40:1-4.) Bye yalaba mu kwolesebwa okwo byalabika nga bya ddala! Ebyo Ezeekyeri bye yalaba biteekwa okuba nga byamuwuniikiriza era biteekwa okuba nga byanyweza okukkiriza kwe. Kyokka era biyinza okuba nga byamwewuunyisa. Wadde nga yeekaalu gye yalaba mu kwolesebwa yalina by’efaanaganya n’eyo gye yali amanyi eyali mu Yerusaalemi, era yalina bingi bye yali tefaanaganya nayo.

3 Okwolesebwa kuno kusangibwa mu ssuula omwenda ezisembayo ez’ekitabo kya Ezeekyeri. Tugenda kusooka tulabe endowooza gye tusaanidde okuba nayo nga twekenneenya okwolesebwa kuno tusobole okukutegeera. Ate era tugenda kulaba obanga yeekaalu Ezeekyeri gye yalaba y’emu ne yeekaalu ey’eby’omwoyo Pawulo gye yayogerako nga wayise ebyasa bingi. Oluvannyuma tujja kulaba engeri okwolesebwa okwo gye kwakwata ku Ezeekyeri ne banne be yali nabo mu buwaŋŋanguse.

Twetaaga Okugoberera Enkola Endala

4. Edda twannyonnyolanga tutya ebikwata ku yeekaalu Ezeekyeri gye yalaba, naye kati kiki kye twetaaga okukola?

4 Emabega, ebitabo byaffe bibaddenga bigamba nti yeekaalu Ezeekyeri gye yalaba y’emu ne yeekaalu ey’eby’omwoyo omutume Pawulo gye yaluŋŋamizibwa okuwandiikako mu bbaluwa ye eri Abebbulaniya. a Ekyo kyatuleetera okukitwala nti ebintu ebisinga obungi ebikwata ku yeekaalu Ezeekyeri gye yalaba birina kye bikiikirira era nti twali tusobola okumanya kye bikiikirira nga twekenneenya ebyo Pawulo bye yayogera ku weema entukuvu. Kyokka oluvannyuma lw’okwongera okufumiitiriza ku nsonga eno awamu n’okusaba Yakuwa, tukirabye nti twetaaga okugoberera enkola endala nga tunnyonnyola amakulu ga yeekaalu Ezeekyeri gye yalaba mu kwolesebwa.

5, 6. (a) Omutume Pawulo yayoleka atya obwetoowaze ng’annyonnyola ebikwata ku weema entukuvu? (b) Kiki Pawulo kye yayogera ku bintu ebimu ebikwata ku weema entukuvu, era tuyinza tutya okukolera ku musingi ogwo nga twekenneenya ebikwata ku yeekaalu Ezeekyeri gye yalaba mu kwolesebwa?

5 Tekiba kya magezi kugamba nti buli kimu ekikwata ku yeekaalu Ezeekyeri gye yalaba mu kwolesebwa kya bunnabbi oba nti kirina kye kikiikirira. Lwaki? Lowooza ku kyokulabirako kino. Pawulo bwe yali annyonnyola ebikwata ku weema entukuvu ne ku yeekaalu ey’eby’omwoyo, yayogera ku bintu ebitali bimu ebyali mu weema entukuvu, gamba ng’ekyoterezo ekya zzaabu, eky’okubikkako ekyali ku ssanduuko, n’ekibya ekya zzaabu ekyalimu emmaanu. Naye ku bintu ebyo, waliwo kye yalaga nti kyali kya bunnabbi oba nti kyalina kye kikiikirira? Nedda. Omwoyo omutukuvu tegwamuluŋŋamya kukola ekyo. Pawulo yagamba nti: “Kino si kye kiseera okwogera kalonda yenna akwata ku bintu bino.” (Beb. 9:4, 5) Pawulo yali mwetegefu okukolera ku bulagirizi bw’omwoyo omutukuvu n’okulindirira Yakuwa n’obugumiikiriza.​—Beb. 9:8.

6 Bwe kityo bwe kiri ne ku kwolesebwa okukwata ku yeekaalu Ezeekyeri kwe yafuna. Okwolesebwa okwo kwalimu ebintu bingi, era kya magezi okulindiriranga Yakuwa okututangaaza ku makulu gaabyo, bwe kiba kyetaagisa. (Soma Mikka 7:7.) Naye kati olwo tugambe nti omwoyo gwa Yakuwa tegulina kye gweyongedde kutumanyisa ku bikwata ku kwolesebwa kuno? Nedda!

Yeekaalu Ezeekyeri Gye Yalaba y’Emu ne Yeekaalu ey’Eby’Omwoyo?

7, 8. (a) Nkyukakyuka ki ekoleddwa mu nnyinnyonnyola yaffe? (b) Yeekaalu Ezeekyeri gye yalaba mu kwolesebwa eyawukana etya ku yeekaalu ey’eby’omwoyo Pawulo gye yayogerako?

7 Nga bwe kiragiddwa waggulu, ebitabo byaffe bimaze emyaka mingi nga bigamba nti yeekaalu Ezeekyeri gye yalaba mu kwolesebwa y’emu ne yeekaalu ey’eby’omwoyo Pawulo gye yayogerako mu bbaluwa gye yawandiikira Abebbulaniya. Naye bwe tweyongedde okwekenneenya obunnabbi bwa Ezeekyeri, tukirabye nti Ezeekyeri tayinza kuba nga yalaba yeekaalu ey’eby’omwoyo. Lwaki?

8 Ekisooka, yeekaalu Ezeekyeri gye yalaba erina engeri gy’eyawukanamu n’eyo Pawulo gye yayogerako. Lowooza ku kino: Omutume Pawulo yakiraga bulungi nti weema entukuvu eyaliwo mu kiseera kya Musa yali ekiikirira ekintu ekisinga obukulu. Okufaananako yeekaalu ya Sulemaani n’eya Zerubbaberi ezaalina pulaani y’emu, weema entukuvu nayo yalina ekisenge ekiyitibwa “Awasinga Obutukuvu.” Ekisenge ekyo Pawulo yakiyita ‘ekifo ekitukuvu ekyakolebwa n’emikono,’ era n’agamba nti ekisenge ekyo kyali ‘kifaananyi bufaananyi eky’ekifo kyennyini.’ Ekifo kyennyini kyali ki? Pawulo yagamba nti ekifo ekyo lye ‘ggulu.’ (Beb. 9:3, 24) Ezeekyeri yalaba ggulu? Nedda. Okwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna tekuliimu kiraga nti ebintu bye yalaba byali bya mu ggulu.​—Geraageranya ne Danyeri 7:9, 10, 13, 14.

9, 10. Bwe kituuka ku kuwaayo ssaddaaka, njawulo ki eriwo wakati wa yeekaalu Ezeekyeri gye yalaba ne yeekaalu ey’eby’omwoyo Pawulo gye yannyonnyola?

9 Enjawulo endala ey’amaanyi eriwo wakati wa yeekaalu Ezeekyeri gye yalaba n’eyo Pawulo gye yayogerako ekwata ku ssaddaaka. Ezeekyeri yawulira ng’abantu, abaami, ne bakabona baweebwa obulagirizi obukwata ku kuwaayo ssaddaaka ezitali zimu. Baalina okuwangayo ssaddaaka olw’ebibi byabwe. Baalina n’okuwangayo ssaddaaka ez’emirembe, oboolyawo nabo ze baalyangako nga batudde mu bisenge bya yeekaalu ebiriirwamu. (Ezk. 43:18, 19; 44:11, 15, 27; 45:15-20, 22-25) Ssaddaaka ezo eziweebwayo entakera, ziweebwayo ne mu yeekaalu ey’eby’omwoyo?

Yeekaalu Ezeekyeri gye yalaba si ye yeekaalu ey’eby’omwoyo Pawulo gye yayogerako

10 Eky’okuddamu kyangu okutegeera. Pawulo yagamba nti: “Kristo bwe yajja nga kabona asinga obukulu ow’ebintu ebirungi ebimaze okubaawo, yayita mu weema esinga obukulu era esinga obulungi, etaakolebwa na mikono, era etali emu ku bintu ebyatondebwa ku nsi kuno. Yayingira omulundi gumu mu kifo ekitukuvu n’atufunira obulokozi obw’olubeerera, era teyayingirayo na musaayi gwa mbuzi na gwa nte ento ennume wabula na musaayi gwe gwennyini.” (Beb. 9:11, 12) N’olwekyo, mu yeekaalu ey’eby’omwoyo, ssaddaaka emu yokka ye yaweebwayo, ate yaweebwayo omulundi gumu. Ssaddaaka eyo ye ssaddaaka y’ekinunulo, era Kabona Asingira Ddala Obukulu, Yesu Kristo, ye yagiwaayo. Okuva bwe kiri nti ssaddaaka nnyingi ez’embuzi n’ente ziweebwayo mu yeekaalu Ezeekyeri gye yalaba, yeekaalu eyo teyinza kuba nga ye yeekaalu ey’eby’omwoyo.

11. Lwaki tuyinza okugamba nti mu kiseera kya Ezeekyeri ekiseera kya Katonda okubikkula amazima agakwata ku yeekaalu ey’eby’omwoyo kyali tekinnatuuka?

11 Ekyo kitutuusa ku nsonga ey’okubiri lwaki tugamba nti Ezeekyeri tayinza kuba nga yalaba yeekaalu ey’eby’omwoyo: Ekiseera kya Katonda okubikkula amazima agakwata ku yeekaalu ey’eby’omwoyo kyali tekinnatuuka. Kijjukire nti okwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna kwasooka kutegeezebwa Bayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse e Babulooni. Abayudaaya abo baali wansi w’Amateeka ga Musa. Ng’ekiseera ky’okubeera mu buwaŋŋanguse kiweddeko, Abayudaaya abo baali ba kuddayo mu Yerusaalemi bakolere ku Mateeka ago mu kusinza okulongoofu. Baali bagenda kuddamu okuzimba yeekaalu n’ekyoto kyayo, era bandyeyongedde okuweerangayo ku kyoto ekyo ssaddaaka, era ekyo baakikola okumala emyaka nga 600 egyaddirira. Lowooza ku ngeri Abayudaaya gye bandikwatiddwako singa Ezeekyeri yalagibwa yeekaalu ey’eby’omwoyo, yeekaalu kabona asinga obukulu mwe yalina okuweerayo obulamu bwe nga ssaddaaka era oluvannyuma lw’ekyo ne waba nga tewakyaliwo ssaddaaka ndala zikkirizibwa kuweebwayo! Ddala bandisobodde okutegeera okwolesebwa okwo? Ekyo tekyandibaleetedde kulekera awo kukwata Mateeka ga Musa? Bulijjo Yakuwa abikkulira abantu be amazima mu kiseera ekituufu we basobolera okugategeera obulungi.

12-14. Kakwate ki akaliwo wakati wa yeekaalu Ezeekyeri gye yalaba n’ebyo Pawulo bye yayogera ku yeekaalu ey’eby’omwoyo? (Laba akasanduuko “Yeekaalu za Njawulo, eby’Okuyiga bya Njawulo.”)

12 Kati olwo kakwate ki akaliwo wakati wa yeekaalu Ezeekyeri gye yalaba n’ebyo Pawulo bye yannyonnyola ebikwata ku yeekaalu ey’eby’omwoyo? Tusaanidde okukijjukira nti Pawulo bwe yali annyonnyola ebikwata ku yeekaalu ey’eby’omwoyo, bye yannyonnyola teyabyesigamya ku yeekaalu Ezeekyeri gye yalaba mu kwolesebwa wabula yabyesigamya ku weema entukuvu eyaliwo mu kiseera kya Musa. Kyo kituufu nti Pawulo yayogera ku bintu ebitali bimu ebyali mu yeekaalu ya Sulemaani n’eya Zerubbaberi, era nga byali ne mu yeekaalu Ezeekyeri gye yalaba. Naye okutwalira awamu, Ezeekyeri ne Pawulo tebaayogera ku bintu bye bimu. b Baawandiika ku bintu bya njawulo kyokka nga bye baawandiika birina engeri gye bikwataganamu. Mu ngeri ki?

13 Mu bufunze tuyinza okugamba nti: Yeekaalu Pawulo gye yayogerako etuyamba okumanya ebikwata ku nteekateeka Yakuwa gy’ataddewo ey’okusinza, ate yeekaalu Ezeekyeri gye yalaba etuyamba okumanya ebikwata ku mitindo gya Yakuwa egy’okusinza. Okusobola okutuyamba okumanya ebikwata ku nteekateeka ya Yakuwa ey’okusinza okulongoofu, Pawulo annyonnyola amakulu g’ebintu ebiri mu yeekaalu ey’eby’omwoyo, gamba nga kabona asinga obukulu, ssaddaaka, ekyoto, n’Awasinga Obutukuvu. Naye okusobola okukiraga nti emitindo gya Yakuwa egikwata ku kusinza okulongoofu gya waggulu nnyo, okwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna kulimu kalonda mungi atuyamba okumanya bingi ebikwata ku mitindo gya Yakuwa.

14 Kati olwo enkyukakyuka ekwata ku ngeri gye tutegeeramu yeekaalu Ezeekyeri gye yalaba etukwatako etya? Ne leero tulina bingi bye tuyiga mu kwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna. Okusobola okulaba engeri gye tuganyulwa mu kwolesebwa okwo, ka tusooke tulabe engeri gye kwaganyulamu Abayudaaya abeesigwa abaaliwo mu kiseera kya Ezeekyeri ne mu biseera ebyaddirira.

Okwolesebwa Okwo Kwalina Makulu Ki eri Abayudaaya Abaali mu Buwaŋŋanguse?

15. (a) Bubaka ki obukulu obwali mu kwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna? (b) Njawulo ki eriwo wakati w’ebyo ebiri mu Ezeekyeri essuula 8 n’ebyo ebiri mu Ezeekyeri essuula 40 okutuuka ku 48?

15 Okusobola okulaba engeri Bayibuli gy’eddamu ekibuuzo ekyo, ka tusooke tulabe eby’okuddamu mu bibuuzo ebirala ebikulu. Ekisooka, okutwalira awamu bubaka ki obukulu obwali mu kwolesebwa okwo? Obubaka obwo bwali nti, okusinza okulongoofu kwandizziddwawo! Ekyo Ezeekyeri yakitegeera bulungi. Ezeekyeri yali yamala dda okuwandiika ebyo ebiri mu ssuula 8 ey’ekitabo kya Ezeekyeri, Yakuwa mwe yalagira embeera embi eyali mu yeekaalu ey’omu Yerusaalemi. Naye kati, Ezeekyeri ateekwa okuba nga yasanyuka okuwandiika ebikwata ku yeekaalu eyogerwako mu ssuula 40 okutuuka ku 48, eyali ey’enjawulo ennyo ku eyo eyali mu Yerusaalemi. Mu yeekaalu eno okusinza okulongoofu tekwonooneddwa wabula kuli ddala nga bwe kusaanidde okuba. Mu yeekaalu eyo Amateeka Yakuwa ge yawa Abayisirayiri gaali gagobererwa ddala bulungi.

16. Okwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna okukwata ku yeekaalu kwakkaatiriza kutya obunnabbi Isaaya bwe yali yayogera emyaka nga 100 emabega?

16 Okusinza okulongoofu okusobola okuzzibwawo nga bwe kulina ddala okuba, kwandibadde kulina okuba nga kuli mu kifo kya waggulu nnyo. Emyaka egisukka mu 100 emabega, nnabbi Isaaya yali yaluŋŋamizibwa okuwandiika nti: “Mu nnaku ezisembayo, olusozi lw’ennyumba ya Yakuwa lulinywezebwa waggulu w’ensozi, era luligulumizibwa waggulu w’obusozi.” (Is. 2:2) Isaaya yakiraga nti okusinza okw’amazima kwandizziddwawo era ne kuba nga kuli waggulu nnyo, nga kulinga olusozi olusingayo okuba olugulumivu. Ezeekyeri yeesanga ali ludda wa mu kwolesebwa kwe yafuna? Yali “ku lusozi oluwanvu ennyo,” ng’atunuulira ennyumba ya Yakuwa! (Ezk. 40:2) N’olwekyo okwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna kwakakasa nti okusinza okulongoofu kwandizziddwawo.

Yeekaalu Ezeekyeri gye yalaba yali ku lusozi oluwanvu ennyo (Laba akatundu 16)

17. Mu bufunze biki ebiri mu Ezeekyeri essuula 40 okutuuka ku 48?

17 Mu bufunze ka tulabe ebyo Ezeekyeri bye yalaba ne bye yawulirwa ebiri mu Ezeekyeri essuula 40 okutuuka ku 48. Ezeekyeri yeetegereza malayika ng’apima emiryango, bbugwe, empya, ne yeekaalu. (Ezk. 40-42) Oluvannyuma yalaba ekintu eky’ettendo: Okujja kwa Yakuwa mu yeekaalu mu kitiibwa! Yakuwa yabuulirira abantu be abaamujeemera, era n’abuulirira ne bakabona n’abaami. (Ezk. 43:1-12; 44:10-31; 45:9-12) Ezeekyeri yalaba omugga ogukulukuta nga guva mu yeekaalu ne gugenda mu Nnyanja Enfu, ne guleeta obulamu n’emikisa. (Ezk. 47:1-12) Era yalaba ensi ng’egabanyiziddwamu ebitundu eby’enjawulo ebyenkanankana, ng’ekifo ekitukuvu, kwe kugamba okusinza okulongoofu, kiri wakati. (Ezk. 45:1-8; 47:13–48:35) Bubaka ki obukulu obwali mu kwolesebwa okwo? Kya lwatu nti Yakuwa yali akakasa abantu be nti okusinza okulongoofu kwandizziddwawo era ne kuba mu kifo kya waggulu nnyo. Yakuwa yandizze mu yeekaalu ye era n’asigala omwo, n’akakasa nti okusinza okulongoofu kusigalawo. Era ng’asinziira mu yeekaalu eyo, Yakuwa yandyeyongedde okuwa abantu emikisa. Bandiwonyezeddwa, bandifunye obulamu, era bandibadde mu mirembe mu nsi ezziddwawo.

Yeekaalu Ezeekyeri gye yalaba yali eraga engeri Yakuwa gye yandizzizzaawo okusinza okulongoofu (Laba akatundu 17)

18. Ebyo ebiri mu kwolesebwa okukwata ku yeekaalu Ezeekyeri gye yalaba birina kutwalibwa nga bwe biri ddala? Nnyonnyola.

18 Eky’okubiri, ebyo ebiri mu kwolesebwa okwo byali bya kutwalibwa ddala nga bwe biri? Nedda. Ezeekyeri ne banne be yali nabo mu buwaŋŋanguse bayinza okuba nga baakirabirawo nti tebaalina kubitwala nga bwe biri, wabula nti byalina amakulu amakusike. Lwaki? Kijjukire nti yeekaalu Ezeekyeri gye yalaba yali “ku lusozi oluwanvu ennyo.” Wadde ng’ekyo kyali kikwatagana bulungi n’obunnabbi bwa Isaaya, kyali tekikwatagana n’ekifo yeekaalu ey’omu Yerusaalemi we yali. Yeekaalu ya Sulemaani yali yazimbibwa ku Lusozi Moliya olwali mu Yerusaalemi, era mu kifo ekyo mwe bandizzeemu okugizimba. Naye Moliya lwali ‘lusozi luwanvu nnyo’? Nedda. Mu butuufu, Olusozi Moliya lwetooloddwa ensozi endala ezirwenkana oba ezirusinga. Ate era yeekaalu Ezeekyeri gye yalaba ne bbugwe waayo byali binene nga tebisobola kugya ku Lusozi Moliya. Byali tebisobola na kugya mu kibuga Yerusaalemi eky’omu kiseera kya Sulemaani! Ate era abo abaali mu buwaŋŋanguse baali tebasobola kusuubira nti omugga gwandibadde guva mu yeekaalu ne gukulukuta ne gugenda mu Nnyanja Enfu, ne gugizzaamu obulamu. Okugatta ku ekyo, olw’okuba Ensi Ensuubize yali ya nsozi, ensalo ezaawula ebika zaali tezisobola kuba ntereevu, nga bwe kiragibwa mu kwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna. N’olwekyo, ebyali mu kwolesebwa okwo tebyalina kutwalibwa nga bwe biri.

19-21. Yakuwa yali ayagala okwolesebwa kwe yawa Ezeekyeri kukwate kutya ku bantu, era lwaki kwandibakutteko bwe kutyo?

19 Eky’okusatu, okwolesebwa okwo kwalina kukwata kutya ku bantu abaaliwo mu kiseera kya Ezeekyeri? Abantu bwe bandifumiitirizza ku mitindo gya Yakuwa egya waggulu egy’okusinza okulongoofu, kyandibaleetedde okukwatibwa ensonyi. Yakuwa yagamba Ezeekyeri nti: “Tegeeza ab’ennyumba ya Isirayiri kalonda yenna akwata ku yeekaalu.” Ezeekyeri yalina okutegeeza Abayisirayiri kalonda yenna akwata ku yeekaalu basobole ‘okwekkaanya pulaani yaayo.’ Lwaki abantu baalina okufumiitiriza ku yeekaalu eyo? Nga bwe tulabye, Yakuwa yali tayagala bagizimbe, wabula yali ayagala “bakwatibwe ensonyi olw’ensobi zaabwe.”​—Soma Ezeekyeri 43:10-12.

20 Lwaki okwolesebwa okwo kwandireetedde abantu ab’emitima emirungi okukwatibwa ensonyi? Yakuwa yagamba Ezeekyeri nti: “Omwana w’omuntu ssaayo omwoyo, weetegereze, era wuliriza bulungi ebyo byonna bye nkugamba ebikwata ku mateeka n’ebiragiro bya yeekaalu ya Yakuwa.” (Ezk. 44:5) Enfunda n’enfunda Ezeekyeri yawulira ebikwata ku mateeka n’ebiragiro. (Ezk. 43:11, 12; 44:24; 46:14) Ate era enfunda n’enfunda Ezeekyeri yajjukizibwa ebikwata ku mitindo gya Yakuwa, omwali n’egyo egikwata ku bipimo ebituufu eby’obuwanvu n’obuzito bw’ebintu. (Ezk. 40:5; 45:10-12; geraageranya ne Engero 16:11.) Mu kwolesebwa kuno, Ezeekyeri yakozesa ebigambo ebirina akakwate “n’okupima” oba “ebipimo” emirundi egisukka mu 50!

21 Kiki Yakuwa kye yali agezaako okutegeeza abantu be bwe yayogera ku bipimo, obuzito, amateeka, n’ebiragiro? Kirabika yali ayagala bajjukire ekintu kino ekikulu: Yakuwa yekka y’alina obuyinza okussaawo emitindo egikwata ku kusinza okulongoofu. Abo abaali bavudde ku mitindo egyo baalina okukwatibwa ensonyi! Naye okwolesebwa okwo kwayamba kutya Abayudaaya okutegeera ensonga eyo? Mu ssuula eddako, tujja kulabayo ebyokulabirako ku nsonga eyo. Ekyo era kijja kutuyamba okulaba engeri okwolesebwa okwo gye kutukwatako leero.

Lwaki okwolesebwa okukwata ku yeekaalu kwandireetedde abantu ab’emitima emirungi okukwatibwa ensonyi? (Laba akatundu 19-21)

a Yeekaalu ey’eby’omwoyo ye nteekateeka ya Yakuwa ey’okusinza okulongoofu eyeesigamiziddwa ku ssaddaaka ya Yesu Kristo. Yeekaalu eyo yatandikawo mu 29 E.E.

b Ng’ekyokulabirako, Pawulo yayogera ku kabona asinga obukulu ne ku buvunaanyizibwa bwe yalina ku Lunaku olw’Okutangirirako Ebibi olwabangawo buli mwaka. (Beb. 2:17; 3:1; 4:14-16; 5:1-10; 7:1-17, 26-28; 8:1-6; 9:6-28) Naye mu kwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna, kabona asinga obukulu tayogerwako era n’Olunaku olw’Okutangirirako Ebibi terwogerwako.