Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 11

“Nkulonze Okuba Omukuumi”

“Nkulonze Okuba Omukuumi”

EZEEKYERI 33:7

OMULAMWA: Yakuwa alonda omukuumi era n’alaga obuvunaanyizibwa omukuumi oyo bw’alina

1. Abakuumi Yakuwa b’azze alonda babadde bakola ki, naye kati kiki ekibaawo?

 OMUKUUMI ayimiridde ku bbugwe wa Yerusaalemi era yeetegereza ebiri emitala. Alengera eggye lya Babulooni nga lijja era amangu ago afuuwa ekkondeere! Naye wadde ng’afuuye ekkondeere, ekyo tekikyasobola kutaasa bantu ba mu kibuga ekyo. Okumala emyaka mingi abakuumi Yakuwa be yateekawo, oba bannabbi, babaddenga balabula abantu ku kujja kw’olunaku luno naye ng’abantu tebawuliriza. Kati eggye lya Babulooni lizingiza ekibuga Yerusaalemi. Oluvannyuma lw’okukizingiza okumala emyezi egiwerako, abasirikale ba Babulooni babbomola bbugwe, ne bayingira mu kibuga, ne basaanyaawo yeekaalu, era ne batta abamu ku bantu b’omu Yerusaalemi abatali beesigwa era abasinza ebifaananyi ate abalala ne babatwala mu buwambe.

2, 3. (a) Kiki ekinaatera okubaawo ekinaakwata ku bantu bonna mu nsi? (b) Bibuuzo ki bye tugenda okwekenneenya?

2 Leero eggye lya Yakuwa linaatera okuzikiriza abantu abatatya Katonda. (Kub. 17:12-14) Okuzikiriza okwo kujja kubaawo ku ntikko y’ekibonyoobonyo ekinene. (Mat. 24:21) Naye wakyaliwo akakisa abantu okukolera ku kulabula okubaweebwa abo Yakuwa b’alonze okukola omulimu gw’omukuumi.

3 Kiki ekyaleetera Yakuwa okuteekawo abakuumi? Bubaka ki omukuumi bw’alangirira? Baani abakoze omulimu gw’omukuumi, era ffe tulina buvunaanyizibwa ki? Ka tulabe eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo.

“Obawanga Okulabula Okuva Gye Ndi”

4. Lwaki Yakuwa yateekawo abakuumi? (Laba ekifaananyi ku lupapula 121.)

4 Soma Ezeekyeri 33:7. Mu biseera eby’edda, abakuumi baateranga okuyimirira waggulu ku bbugwe w’ekibuga okusobola okukuuma abantu abaabanga mu kibuga. Ekibuga okuba n’abakuumi bwabanga bukakafu obulaga nti omufuzi w’ekibuga ekyo afaayo ku bantu b’afuga. Wadde ng’ekkondeere ly’omukuumi lyasisimulanga abantu mu tulo, abo abaakoleranga ku kulabula okwo baawonyanga obulamu bwabwe. Mu ngeri y’emu, Yakuwa yalonda abakuumi, si lwa kuba nti yali ayagala kutiisa Bayisirayiri ng’abategeeza obubaka obw’omusango, naye lwa kuba nti yali afaayo ku bantu be era ng’ayagala bawonewo.

5, 6. Ekimu ku ebyo ebiraga nti Yakuwa mwenkanya kye kiruwa?

5 Yakuwa bwe yali alonda Ezeekyeri okuba omukuumi, waliwo engeri ze yayoleka ezituzzaamu amaanyi. Ka tulabeyo bbiri ku zo.

6 Obwenkanya: Obwenkanya bwa Yakuwa bweyolekera mu kuba nti atulamula kinnoomu awatali kyekubiira. Ng’ekyokulabirako, wadde ng’abantu abasinga obungi baagaana okukolera ku bubaka bwa Ezeekyeri, Yakuwa teyakitwala nti Abayisirayiri bonna baali bajeemu, wabula yafangayo okulaba engeri Abayisirayiri kinnoomu gye baatwalangamu obubaka obwo. Enfunda n’enfunda mu kitabo kya Ezeekyeri, Yakuwa ayogera ku kulabula “omubi” ne ku kulabula “omutuukirivu. N’olwekyo buli omu Yakuwa amusalira omusango okusinziira ku ngeri gy’atwalamu obubaka obuweebwa.​—Ezk. 33:8, 18-20.

7. Kiki Yakuwa ky’asinziirako okulamula abantu?

7 Obwenkanya bwa Yakuwa era bweyolekera mu ngeri gy’alamulamu abantu. Yakuwa talamula bantu ng’asinziira ku ebyo bye baba baakola mu biseera eby’emabega, wabula abalamula ng’asinziira ku ngeri gye beeyisaamu nga baweereddwa okulabula. Yakuwa yagamba Ezeekyeri nti: “Bwe ŋŋamba omubi nti: ‘Ojja kufa,’ naye n’akyuka n’aleka ebibi bye, n’akola eby’obwenkanya n’eby’obutuukirivu, . . . ajja kusigala nga mulamu.” Era Yakuwa yagamba nti: “Tewali kibi na kimu ku ebyo bye yakola kinaamuvunaanibwa.” (Ezk. 33:14-16) Ku luuyi olulala, abo abakola ebikolwa eby’obujeemu kati tebasaanidde kusuubira nti Yakuwa abuusa amaaso ebikolwa byabwe ebyo eby’obujeemu olw’okuba baakolanga eby’obutuukirivu mu biseera ebyayita. Yakuwa yagamba nti singa omuntu “yeesiga obutuukirivu bwe n’akola ekibi, tewajja kuba na kimu ku bikolwa bye eby’obutuukirivu ekinajjukirwa, naye ajja kufa olw’ekibi kye yakola.”​—Ezk. 33:13.

8. Okulabula bannabbi kwe baawa kulaga kutya nti Yakuwa mwenkanya?

8 Ate era obwenkanya bwa Yakuwa bweyolekera ne mu kuba nti asooka kulabula bantu nga tannabaako ky’akolawo. Ezeekyeri yatandika omulimu gwe ng’ebula emyaka nga mukaaga amagye ga Babulooni gazikirize Yerusaalemi. Naye Ezeekyeri si ye yasooka okulabula abantu ba Katonda nti bandibadde babonerezebwa olw’ebikolwa byabwe ebibi. Emyaka egisukka mu kikumi nga Yerusaalemi tekinnazikirizibwa, Yakuwa yatuma bannabbi ab’enjawulo okukola ng’abakuumi, era nga be bano: Koseya, Isaaya, Mikka, Odedi, ne Yeremiya. Yakuwa yagamba Yeremiya okugamba Abayisirayiri nti: “Nnateekawo abakuumi abaagamba nti, ‘Muwulirize eddoboozi ly’eŋŋombe!’” (Yer. 6:17) Abababulooni bwe bajja ne bazikiriza Yerusaalemi, Yakuwa n’abakuumi abo be yassaawo baali tebasobola kunenyezebwa olw’abantu abattibwa.

9. Yakuwa yayoleka atya okwagala okutajjulukuka?

9 Okwagala: Yakuwa yalaga okwagala okutajjulukuka bwe yatuma abakuumi be okulabula abatuukirivu awamu n’abantu ababi abaali bamunakuwaza era abaali baleeta ekivume ku linnya lye. Kirowoozeeko, Abayisirayiri baali bamanyiddwa ng’abantu ba Yakuwa, naye enfunda n’enfunda baamuvangako ne basinza bakatonda ab’obulimba! Yakuwa yalaga obulumi bwe yawulira ku mutima bwe yageraageranya eggwanga lya Isirayiri ku mukazi omwenzi. (Ezk. 16:32) Wadde kyali kityo, Yakuwa teyayanguwa kubaleka. Mu kifo ky’okubeesasuza, yafuba okubayamba okutabagana naye. Yakuwa yawanga abantu be akadde akamala okwenenya. Lwaki? Yagamba Ezeekyeri nti: “Sisanyukira kufa kwa mubi, wabula njagala omuntu omubi akyuke aleke ebikolwa bye ebibi, asigale nga mulamu.” (Ezk. 33:11) Eyo ye ndowooza Yakuwa gye yalina mu kiseera ekyo, era eyo ye ndowooza gy’alina ne leero.​—Mal. 3:6.

10, 11. Biki bye tuyigira ku ngeri Yakuwa gye yakolaganamu n’abantu be?

10 Kiki kye tuyigira ku ngeri Yakuwa gye yalagamu Abayisirayiri obwenkanya n’okwagala? Ekisooka, bwe tuba tubuulira, tusaanidde okukitwala nti buli muntu mwawufu ku balala. Tekiba kya magezi kulowooza nti omuntu tagwana kuwulira bubaka bwaffe olw’enneeyisa ye ey’emabega, olwa langi ye, olw’eggwanga lye, olw’embeera ye ey’eby’enfuna, oba olw’olulimi lw’ayogera! Yakuwa yayamba Peetero okutegeera ekintu kino ekikulu ennyo: “Katonda tasosola, naye mu buli ggwanga omuntu amutya n’akola ekituufu amukkiriza.”​—Bik. 10:34, 35.

Abantu obatunuulira nga Yakuwa bw’abatunuulira? (Laba akatundu 10)

11 Ekintu ekirala kye tuyiga kiri nti, tulina okwekeberanga. Ebintu ebirungi bye twakola emabega tebisaanidde kutweyinuza kukola bintu bibi. Tusaanidde okukijjukira nti, okufaananako abantu be tubuulira, naffe tusobola okutwalirizibwa ebintu ebibi. Ebigambo bino Pawulo bye yagamba ekibiina ky’e Kkolinso naffe bitukwatako: “Alowooza nti ayimiridde yeegendereze aleme okugwa. Okukemebwa kwonna okubatuukako kwekwo okutuuka ku bantu bonna.” (1 Kol. 10:12, 13) Tetusaanidde ‘kwesiga butuukirivu bwaffe,’ nga tulowooza nti Katonda tasobola kutubonereza olw’ebibi bye tukola olw’okuba tulina n’ebirungi bye tukola. (Ezk. 33:13) Ka tube nga tumaze bbanga lyenkana wa nga tuweereza Yakuwa, tusaanidde okusigala nga tuli beetoowaze era nga tuli bawulize.

12. Bwe tuba nga twakola ebibi eby’amaanyi mu biseera eby’emabega, kiki kye tusaanidde okujjukira?

12 Naye watya singa twakola ebibi eby’amaanyi mu biseera eby’emabega era nga kati tubyejjusa? Ebyo bye tusoma mu kitabo kya Ezeekyeri biraga nti Yakuwa ajja kubonereza aboonoonyi abateenenya. Ate era biraga nti Yakuwa Katonda ayagala nnyo abantu. Taba awo nga buli kiseera ayagala kubabonereza. (1 Yok. 4:8) Bwe tukyoleka mu bikolwa byaffe nti twenenyezza, tetusaanidde kulowooza nti Katonda tasobola kutusonyiwa bibi bye twakola. (Yak. 5:14, 15) Yakuwa yali mwetegefu okusonyiwa Abayisirayiri abataali beesigwa, era mwetegefu naffe okutusonyiwa.​—Zab. 86:5.

“Yogera n’Abaana b’Abantu Bo”

13, 14. (a) Bubaka bwa ngeri ki abakuumi bwe baalangiriranga? (b) Bubaka ki Isaaya bwe yalangirira?

13 Soma Ezeekyeri 33:2, 3. Bubaka bwa ngeri ki abakuumi Yakuwa be yassaawo bwe baalangiriranga? Obumu ku bubaka obukulu bwe baalangiriranga bwabanga bwa kulabula. Kyokka era baalangiriranga n’amawulire amalungi. Lowooza ku byokulabirako bino wammanga.

14 Isaaya, eyaweereza nga nnabbi okuva awo nga mu mwaka gwa 778 E.E.T. okutuuka mu 732 E.E.T., yalabula abantu nti Abababulooni baali bagenda kulumba Yerusaalemi era batwale abantu baamu mu buwaŋŋanguse. (Is. 39:5-7) Naye era Yakuwa yamuluŋŋamya n’okuwandiika obubaka buno: “Wulira! Abakuumi bo bayimusizza amaloboozi gaabwe. Baleekaanira wamu olw’essanyu, kubanga Yakuwa bw’aliddamu okukuŋŋaanya ab’omu Sayuuni, balikiraba bulungi.” (Is. 52:8) Obubaka obwo Isaaya bwe yalangirira gaali mawulire malungi nnyo kubanga bwali bulaga nti okusinza okw’amazima kwandizziddwawo!

15. Bubaka ki Yeremiya bwe yalangirira?

15 Yeremiya, eyaweereza nga nnabbi okuva mu 647 E.E.T. okutuuka mu 580 E.E.T., bangi bamutwala nga nnabbi eyalangiriranga akabi. Kyo kituufu nti yayogera nnyo ku kabi Yakuwa ke yali agenda okutuusa ku Bayisirayiri abaali beeyisa obubi. a Naye era yalangirira n’amawulire amalungi nti abantu ba Katonda bandikomezeddwawo mu nsi yaabwe era okusinza okulongoofu ne kuzzibwawo.​—Yer. 29:10-14; 33:10, 11.

16. Obubaka bwa Ezeekyeri bwaganyula butya abo abaali mu buwambe e Babulooni?

16 Ezeekyeri yalondebwa okuweereza ng’omukuumi mu 613 E.E.T., era yakola omulimu ogwo okutuukira ddala awo nga mu 591 E.E.T. Ng’Essuula 5 ne 6 ez’ekitabo kino bwe ziraga, Ezeekyeri yakola n’obunyiikivu omulimu ogw’okutegeeza Abayisirayiri ku kuzikirizibwa okwali kugenda okubatuukako, bw’atyo n’aba nga yali tayinza kuvunaanibwa musaayi gw’abo abandizikiriziddwa. Ng’oggyeeko okutegeeza Abayisirayiri abaali mu buwambe nti Yakuwa yali agenda kubonereza bakyewaggula abaali mu Yerusaalemi, Ezeekyeri era yabayamba okusigala nga banywevu mu by’omwoyo basobole okukola omulimu Yakuwa gwe yali abategekedde mu biseera eby’omu maaso. Ku nkomerero y’emyaka 70 abantu be gye bandimaze mu buwambe, Yakuwa yali agenda kukomyawo ensigalira y’Abayisirayiri mu nsi yaabwe. (Ezk. 36:7-11) Abantu abandikomezeddwawo ku butaka okusingira ddala bandibadde baana na bazzukulu baabo abassaayo omwoyo ku bubaka bwa Ezeekyeri. Nga bwe kiragibwa ne mu ssuula endala eziri mu Kitundu 3 eky’ekitabo kino, Ezeekyeri yalangirira amawulire amalungi agaali galaga nti okusinza okulongoofu kwandizziddwawo mu Yerusaalemi.

17. Ddi Yakuwa lw’azzenga ateekawo abakuumi?

17 Bannabbi Yakuwa be yakozesa okulabula abantu be nga Yerusaalemi kinaatera okuzikirizibwa mu 607 E.E.T. be bokka Yakuwa b’akozesezza ng’abakuumi? Nedda. Buli lwe wabaddengawo ekintu ekikulu ekikwatagana n’okutuukirizibwa kw’ekigendererwa kye, Yakuwa abaddenga ateekawo abakuumi okulabula ababi n’okulangirira amawulire amalungi.

Abakuumi mu Kyasa Ekyasooka

18. Mulimu ki Yokaana Omubatiza gwe yakola?

18 Mu kyasa ekyasooka E.E., Yokaana Omubatiza yakola ng’omukuumi. Yalabula Abayisirayiri nti Yakuwa yali anaatera okubeesamba. (Mat. 3:1, 2, 9-11) Naye ekyo si kye kyokka kye yakola. Yesu yagamba nti Yokaana ye ‘mubaka’ eyateekerateekera Masiya ekkubo. (Mal. 3:1; Mat. 11:7-10) Obumu ku bubaka Yokaana bwe yalangirira bwali buzingiramu okutegeeza abantu amawulire amalungi agakwata ku ‘Mwana gw’Endiga,’ Yesu, eyali agenda ‘okuggyawo ebibi by’ensi.’​—Yok. 1:29, 30.

19, 20. Yesu n’abayigirizwa be baali batya ng’abakuumi?

19 Mu bakuumi bonna Yakuwa be yali alonze, Yesu y’atwala ekifo ekisooka. Okufaananako Ezeekyeri, Yesu yasindikibwa eri “ennyumba ya Isirayiri.” (Ezk. 3:17; Mat. 15:24) Yesu yalabula nti eggwanga lya Isirayiri Katonda yali anaatera okulyesamba era nti Yerusaalemi kyali kigenda kuzikirizibwa. (Mat. 23:37, 38; 24:1, 2; Luk. 21:20-24) Naye omulimu ogusinga obukulu Yesu gwe yakola gwali gwa kulangirira mawulire amalungi.​—Luk. 4:17-21.

20 Yesu bwe yali ku nsi yagamba abayigirizwa be nti: “Mubeere bulindaala.” (Mat. 24:42) Abayigirizwa be bassaayo omwoyo ku bigambo bye ebyo ne bakola ng’omukuumi ne balabula Abayisirayiri ab’omubiri nti Yakuwa yali agenda kubeesamba awamu n’ekibuga Yerusaalemi eky’oku nsi. (Bar. 9:6-8; Bag. 4:25, 26) Okufaananako abakuumi abaabasooka, abayigirizwa ba Yesu nabo baalangirira amawulire amalungi. Agamu ku mawulire amalungi ge baalangirira gaali nti Ab’amawanga nabo baali bagenda kulondebwa babe mu Isirayiri wa Katonda era nabo babe n’enkizo ey’okukolera awamu ne Kristo okuzzaawo okusinza okulongoofu ku nsi.​—Bik. 15:14; Bag. 6:15, 16; Kub. 5:9, 10.

21. Kyakulabirako ki Pawulo kye yassaawo?

21 Omutume Pawulo y’omu ku bakuumi abaaliwo mu kyasa ekyasooka abassaawo ekyokulabirako ekirungi ennyo. Yatuukiriza bulungi nnyo omulimu ogwamuweebwa. Okufaananako Ezeekyeri, Pawulo yali akimanyi nti bw’atandituukirizza buvunaanyizibwa bwe yandibadde avunaanibwa omusaayi gw’abantu. (Bik. 20:26, 27) Ate era okufaananako abakuumi abalala, Pawulo teyakoma ku kulabula bulabuzi bantu naye era yalangirira n’amawulire amalungi. (Bik. 15:35; Bar. 1:1-4) Mu butuufu, ng’aluŋŋamizibwa omwoyo omutukuvu, Pawulo yajuliza ebigambo bino ebiri mu bunnabbi bwa Isaaya: “Ebigere by’abo abalangirira amawulire amalungi . . . nga birabika bulungi,” era n’akiraga nti byali bikwata ku mulimu abagoberezi ba Yesu gwe baali bakola, ogw’okubuulira amawulire ag’Obwakabaka bwa Katonda.​—Is. 52:7, 8; Bar. 10:13-15.

22. Kiki ekyaliwo oluvannyuma lw’okufa kw’abatume?

22 Oluvannyuma lw’abatume okufa, bakyewaggula abaali baalagulwako baasensera ekibiina Ekikristaayo. (Bik. 20:29, 30; 2 Bas. 2:3-8) Mu kiseera ekiwanvu ekyayitawo, Abakristaayo ab’obulimba abalinga omuddo baabuutikira abagoberezi ba Kristo abalinga eŋŋaano era n’obubaka obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda bwabuutikirwa enjigiriza ez’obulimba. (Mat. 13:36-43) Naye ekiseera bwe kyatuuka Yakuwa okubaako ky’akolawo, yayoleka okwagala kwe n’obwenkanya n’alonda abakuumi okulabula abantu n’okulangirira amawulire amalungi. Baani be yalonda?

Yakuwa Addamu Okussaawo Abakuumi Okulabula Ababi

23. Mulimu ki Russell ne banne gwe baakola?

23 Ng’ebula emyaka mitono omwaka 1914 gutuuke, Charles Taze Russell ne banne baakola ‘ng’omubaka eyayerula ekkubo’ ng’Obwakabaka bwa Masiya tebunnassibwawo. b (Mal. 3:1) Russell ne banne era baakola omulimu gw’omukuumi, nga bakozesa magazini ya Zion’s Watch Tower and Herald of Christ’s Presence okulabula abantu ku musango Katonda gwe yali asaze n’okulangirira amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda.

24. (a) Omuddu omwesigwa abadde atya ng’omukuumi? (b) Kiki ky’oyigidde ku bakuumi Yakuwa be yateekawo mu biseera eby’edda? (Laba ekipande “Abamu ku Bakuumi Abassaawo Ekyokulabirako Ekirungi.”)

24 Oluvannyuma lw’Obwakabaka bwa Katonda okuteekebwawo, Yesu aliko abasajja be yalonda okuba omuddu omwesigwa. (Mat. 24:45-47) Okuva olwo omuddu omwesigwa, kati era amanyiddwa ng’Akakiiko Akafuzi, azze akola omulimu gw’omukuumi. Omuddu omwesigwa awomye omutwe mu mulimu gw’okulangirira ‘olunaku olw’okuwoolerako eggwanga’ n’okulangirira “omwaka gw’okulagirwamu ekisa kya Yakuwa.”​—Is. 61:2; laba ne 2 Abakkolinso 6:1, 2.

25, 26. (a) Mulimu ki abagoberezi ba Kristo bonna gwe balina okukola, era gukolebwa gutya? (b) Kiki kye tujja okulaba mu ssuula eddako?

25 Wadde ng’omuddu omwesigwa y’awoma omutwe mu kukola omulimu gw’omukuumi, Yesu yagamba abagoberezi be ‘bonna okuba obulindaala.’ (Mak. 13:33-37) Tugondera ekiragiro ekyo nga ffenna tufuba okusigala nga tutunula mu by’omwoyo era nga tuwagira omukuumi Yakuwa gw’ataddewo leero. Tukiraga nti tutunula mu by’omwoyo nga tutuukiriza obuvunaanyizibwa bwaffe obw’okubuulira. (2 Tim. 4:2) Kiki ekitukubiriza okubuulira? Ekimu ku bitukubiriza, kwe kuba nti twagala abantu bawonewo. (1 Tim. 4:16) Mu kiseera ekitali kya wala, abantu bangi bajja kufiirwa obulamu bwabwe olw’okugaana okuwuliriza okulabula okuweebwa omukuumi Yakuwa gw’ataddewo. (Ezk. 3:19) Naye ekisingira ddala okutukubiriza kwe kuba nti twagala nnyo okubuulira abantu amawulire amalungi agalaga nti okusinza okulongoofu kuzziddwawo. Mu kiseera kino kye tulimu, kwe kugamba, “omwaka gw’okulagirwamu ekisa kya Yakuwa,” abantu bakyalina akakisa okutwegattako mu kusinza Yakuwa Katonda waffe omwenkanya era atwagala ennyo. Mu kiseera ekitali kya wala, abo bonna abanaasigalawo ng’ensi ya Sitaani ezikiriziddwa bajja kuganyulwa nnyo mu bufuzi bwa Yesu Kristo, Kabaka omusaasizi. N’olwekyo tetusaanidde kukkiriza kintu kyonna kutulemesa kukolera wamu n’omukuumi assiddwawo leero okulangirira amawulire amalungi.​—Mat. 24:14.

Tukolera wamu n’omukuumi Yakuwa gw’ataddewo leero nga tubuulira amawulire amalungi (Laba akatundu 25)

26 Mu kiseera kino nga n’enkomerero y’enteekateeka y’ebintu eno tennatuuka, Yakuwa asobozesezza abantu be okuba obumu. Essuula eddako eyogera ku bunnabbi obukwata ku miggo ebiri obulaga engeri ekyo gye kisobodde okubaawo.

a Ekigambo “akabi” kirabika emirundi egisukka mu 50 mu kitabo kya Yeremiya.

b Okumanya ebisingawo ebikwata ku bunnabbi buno n’engeri gye bwatuukirizibwamu, laba ekitabo God’s Kingdom Rules!, essuula 2, wansi w’omutwe “Obwakabaka bwa Katonda Buteekebwawo mu Ggulu.”