Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 10

“Mujja Kulamuka”

“Mujja Kulamuka”

EZEEKYERI 37:5

OMULAMWA: Okwolesebwa okukwata ku ‘magumba amakalu’ agaddamu okuba amalamu n’engeri gye kwatuukirizibwamu ku kigero ekisingawo

1-3. Kiki ekimalamu Abayudaaya abali mu Babulooni essuubi? (Laba ekifaananyi waggulu.)

 ABAYUDAAYA abali mu Babulooni basobeddwa! Ezeekyeri abadde amaze emyaka etaano ng’alangirira nti Yerusaalemi kigenda kuzikirizibwa naye nga tebakikkiriza. Wadde nga Ezeekyeri yakola ebintu bingi ebyali biraga ekyali kigenda okubaawo, n’abawa ebyokulabirako ebitali bimu, era n’ababuulira obubaka obukwata ku kuzikirizibwa okwo, Abayudaaya abo baagaana okukkiriza nti Yakuwa yali ayinza okuleka Yerusaalemi okuzikirizibwa. Era ne bwe baakimanya nti Abababulooni baali bazingizza Yerusaalemi, baali bakyasuubira nti abantu abaali mu kibuga ekyo tebandituusiddwako kabi.

2 Naye kati nga wayise emyaka ebiri bukya Abababulooni batandika okuzingiza Yerusaalemi, wabaawo omuntu ava e Yerusaalemi n’ajja e Babulooni n’ategeeza Abayudaaya nti: “Ekibuga kiwambiddwa!” Amawulire ago gayisa bubi nnyo Abayudaaya abali mu buwambe. Tebasobola kukikkiriza nti ekibuga kyabwe kye baagala ennyo ne yeekaalu entukuvu bizikiriziddwa era nti n’ensi yaabwe gye baagala ennyo efaafaaganyiziddwa! Essuubi lyonna lye babadde nalyo liweddewo.​—Ezk. 21:7; 33:21.

3 Kyokka, mu kiseera ekyo ng’Abayudaaya abo baweddemu amaanyi, Ezeekyeri afuna okwolesebwa okuwa essuubi. Okwolesebwa okwo kukwata kutya ku Bayudaaya abali mu buwambe? Kukwata kutya ku bantu ba Katonda leero, era tuyinza tutya okukuganyulwamu kinnoomu? Okusobola okuddamu ebibuuzo ebyo, ka tulabe ebyo Yakuwa bye yayolesa Ezeekyeri.

“Langirira Ebikwata ku Magumba Gano” era “Langirira eri Empewo”

4. Biki ebyasinga okwewuunyisa Ezeekyeri mu kwolesebwa kwe yafuna?

4 Soma Ezeekyeri 37:1-10. Mu kwolesebwa, Ezeekyeri yatwalibwa mu lusenyi olwali lujjudde amagumba. Yakuwa yagamba Ezeekyeri okutambula ‘okwetooloola’ amagumba ago. Oboolyawo yali ayagala okuyamba Ezeekyeri okutegeera obulungi kye yali amulaga mu kwolesebwa okwo. Ezeekyeri bwe yali atambula mu lusenyi olwo, waliwo ebintu bibiri ebikwata ku magumba ago ebyamwewuunyisa ennyo: obungi bwago n’embeera gye gaalimu. Yakiraba nti amagumba ago gaali “mangi nnyo,” era nga “makalu nnyo.”

5. Bintu ki ebibiri Yakuwa bye yalagira Ezeekyeri okukola, era kiki ekyaliwo Ezeekyeri bwe yabikola?

5 Oluvannyuma Yakuwa yalagira Ezeekyeri okukola ebintu bibiri. Ekisooka, yamugamba ‘alangirire ebikwata ku magumba ago’ agagambe nti “Mujja kulamuka.” (Ezk. 37:4-6) Amangu ddala nga Ezeekyeri amaze okwogera ebigambo ebyo, yawulira “ebintu ebikoonagana, amagumba ne gatandika okwegatta buli limu ku linnaalyo,” oluvannyuma “ebinywa n’ennyama” byajja ku magumba, era ne ‘gabikkibwako olususu.’ (Ezk. 37:7, 8) Eky’okubiri, yamugamba ‘alangirire eri empewo,’ agigambe ‘ekuntire’ ku bafu abo. Ezeekyeri bwe yalangirira, “omukka ne gubayingiramu, ne balamuka ne bayimirira, ne baba eggye ddene.”​—Ezk. 37:9, 10.

“Amagumba Gaffe Makalu era Essuubi Lyaffe Liggwereddewo Ddala”

6. Bigambo ki Yakuwa bye yayogera ebyayamba Ezeekyeri okutegeera amakulu g’okwolesebwa kwe yamuwa?

6 Oluvannyuma Yakuwa yategeeza Ezeekyeri amakulu g’okwolesebwa okwo bwe yamugamba nti: “Amagumba gano ye nnyumba ya Isirayiri yonna.” Abayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse bwe baawulira nti Yerusaalemi kizikiriziddwa, baawulira ng’abatakyali balamu. Bwe kityo baagamba nti: “Amagumba gaffe makalu era essuubi lyaffe liggwereddewo ddala. Twawuddwa ku balala.” (Ezk. 37:11; Yer. 34:20) Naye Yakuwa yakiraga nti okwolesebwa okwo kwalimu obubaka obuwa Isirayiri essuubi.

7. Okusinziira ku Ezeekyeri 37:12-14, kiki Yakuwa kye yategeeza Ezeekyeri, era ekyo kyakakasa ki abantu ba Yakuwa?

7 Soma Ezeekyeri 37:12-14. Okuyitira mu kwolesebwa okwo, Yakuwa yasuubiza Abayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse nti yandizzeemu okubawa obulamu, n’abazzaayo mu nsi yaabwe, n’abateeka omwo. Ate era Yakuwa yabayita bantu be. Ebigambo ebyo nga biteekwa okuba nga byazzaamu nnyo amaanyi Abayudaaya abo abaali baweddemu essuubi! Kiki kye bandisinziddeko okuba abakakafu nti ekisuubizo ekyo kyandituukiridde? Olw’okuba Yakuwa kennyini ye yali akibasuubizza. Yagamba nti: “Nze Yakuwa nze nkyogedde era ne nkikola.”

8. (a) ‘Ennyumba ya Isirayiri yonna’ yali etya ng’amagumba agali mu lusenyi? (b) Ezeekyeri 37:9 walaga watya ekyo ekyaviirako Isirayiri okubeera mu mbeera eyo? (Laba obugambo obuli wansi.)

8 Abantu b’eggwanga lya Isirayiri ey’edda baatuuka batya okuba ng’amagumba agaalabibwa mu kwolesebwa? Abayisirayiri okubeera ng’abafudde kyatandika mu mwaka gwa 740 E.E.T. abantu b’omu bwakabaka bwa Isirayiri obw’ebika ekkumi bwe baatwalibwa mu buwaŋŋanguse. Abantu ba Yuda nabo bwe baatwalibwa mu buwaŋŋanguse nga wayise emyaka nga 130, olwo ‘ennyumba ya Isirayiri yonna’ yali mu buwambe. (Ezk. 37:11) Mu ngeri ey’akabonero, Abayisirayiri bonna abaali mu buwaŋŋanguse baali ng’amagumba Ezeekyeri ge yalaba mu kwolesebwa. a Kyokka era kijjukire nti amagumba Ezeekyeri ge yalaba gaali “makalu nnyo,” ekiraga nti embeera gye baalimu nga balinga abafudde yatwala ekiseera kiwanvu. Mu butuufu, ebbanga abantu ba Isirayiri ne Yuda lye baamala mu buwaŋŋanguse okutwalira awamu lyali lisukka mu myaka 200, kwe kugamba, okuva mu mwaka gwa 740 okutuuka mu 537 E.E.T.​—Yer. 50:33.

9. Embeera eggwanga lya Isirayiri gye lyayitamu efaananako etya n’eyo “Isirayiri wa Katonda” gye yayitamu?

9 Obunnabbi obukwata ku kuggya Abayisirayiri mu buwaŋŋanguse, gamba ng’obwo Ezeekyeri bwe yayogera, bwatuukirira ne ku kigero ekisingawo. (Bik. 3:21) Ng’eggwanga lya Isirayiri bwe ‘lyattibwa’ era mu ngeri ey’akabonero ne lisigala nga ffu okumala ebbanga ddene, ne “Isirayiri wa Katonda,” nga kino kye kibiina ky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta, kyattibwa era ne kisigala mu mbeera eyo okumala ebbanga ddene. (Bag. 6:16) Mu butuufu, ekibiina ky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta kyamala ebbanga ddene nnyo mu buwambe ne kiba nti embeera yaabwe ey’eby’omwoyo yali esobola okugeraageranyizibwa ku magumba ‘amakalu ennyo.’ (Ezk. 37:2) Nga bwe kiragibwa mu Ssuula 9 ey’ekitabo kino, Abakristaayo abaafukibwako amafuta baatwalibwa mu buwambe mu kyasa eky’okubiri E.E. era ne babeera mu buwambe obwo okumala ebyasa bingi, nga Yesu bwe yakiraga mu lugero olukwata ku ŋŋaano n’omuddo.​—Mat. 13:24-30.

‘Amagumba amakalu ennyo’ Ezeekyeri ge yalaba mu kwolesebwa gaalaga nti ekiseera abantu ba Yakuwa abaafukibwako amafuta kye bandimaze mu buwambe nga bali ng’abafudde kyandibadde kiwanvu nnyo (Laba Akatundu 8, 9)

“Amagumba ne Gatandika Okwegatta Buli Limu ku Linnaalyo”

10. (a) Kiki ekyali kigenda okutuuka ku bantu ba Katonda ekyayogerwako mu Ezeekyeri 37:7, 8? (b) Bintu ki ebyawa abantu ba Katonda essuubi nti bandizzeeyo ku butaka?

10 Yakuwa yakiraga nti abantu be bandigenze bazzibwamu mpolampola obulamu. (Ezk. 37:7, 8) Ebimu ku bintu ebyawa Abayisirayiri abeesigwa essuubi nti bandizzeeyo mu nsi yaabwe bye biruwa? Ekimu ku byo bwe bunnabbi obwayogerwa bannabbi abaasookawo Ezeekyeri. Ng’ekyokulabirako, Isaaya yali yagamba nti ensigalira y’Abayisirayiri abandibadde mu buwaŋŋanguse, “ensigo entukuvu,” bandizziddwayo ku butaka. (Is. 6:13; Yob. 14:7-9) Era obunnabbi bungi Ezeekyeri bwe yawandiika obukwata ku kuzzibwayo kw’abantu ba Katonda ku butaka, nabwo bwabawa essuubi. Ate era okuba nti mu Babulooni waaliyo abasajja abeesigwa, gamba nga nnabbi Danyeri n’okuba nti ekibuga Babulooni kyawambibwa mu ngeri eyeewuunyisa mu 539 E.E.T., nabyo biteekwa okuba nga byawa Abayudaaya essuubi nti bandizzeeyo ku butaka.

11, 12. (a) “Isirayiri wa Katonda” yagenda azzibwamu atya mpolampola obulamu? (Laba n’akasanduuko “Okusinza Okulongoofu Kuzzibwawo Mpolampola.”) (b) Okusinziira ku Ezeekyeri 37:10, kibuuzo ki kye twetaaga okufuna eky’okuddamu?

11 Okufaananako Abayisirayiri ab’edda, “Isirayiri wa Katonda,” kwe kugamba, ekibiina ky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta kyagenda kizzibwamu kitya mpolampola obulamu? Nga wayise ebyasa bingi ng’abantu ba Katonda bali mu buwambe nga balinga abafudde, “ebintu ebikoonagana” byatandika okuwulirwa, abantu kinnoomu abaali batya Katonda bwe baatandika okulwanirira okusinza okw’amazima. Ng’ekyokulabirako, mu kyasa 16, William Tyndale yavvuunula Bayibuli mu Lungereza. Abakulu b’eddiini y’Ekikatuliki baanyiiga nnyo okuba nti kati abantu ba bulijjo baali basobola okwesomera Bayibuli. N’ekyavaamu, Tyndale yattibwa. Wadde kyali kityo, waaliwo n’abantu abalala abavumu abaatwala mu maaso omulimu gw’okuvvuunula Bayibuli mu nnimi endala, ne kiba nti abantu bangi baali basobola okwesomera Bayibuli.

12 Oluvannyuma, Charles T. Russell ne banne bwe baatandika okunoonyereza era ne bagenda nga bazuula amazima agali mu Bayibuli, “ebinywa n’ennyama” byalinga ebitandise okujja ku magumba. Magazini ya Zion’s Watch Tower awamu n’ebitabo ebirala byayamba abantu ab’emitima emirungi okuzuula amazima ne kibaviirako okwegatta ku baweereza ba Katonda abaafukibwako amafuta. Emyaka gya 1900 bwe gyali gyakatandika, waliwo ebintu ebyayongera okuzzaamu amaanyi abaweereza ba Katonda abaafukibwako amafuta. Muno mwe mwali firimu ya “Photo-Drama of Creation” n’ekitabo The Finished Mystery. Nga wayise emyaka mitono, ekiseera kyatuuka Katonda ‘okuyimiriza’ abantu be ku magulu gaabwe. (Ezk. 37:10) Ekyo kyaliwo ddi era kyaliwo kitya? Ebintu ebyaliwo mu Babulooni eky’edda, bituyamba okuddamu ekibuuzo ekyo.

“Ne Balamuka ne Bayimirira”

13. (a) Ebigambo ebiri mu Ezeekyeri 37:10, 14 byatandika bitya okutuukirizibwa mu 537 E.E.T.? (b) Byawandiikibwa ki ebiraga nti abamu ku Bayisirayiri ab’omu bwakabaka obw’ebika ekkumi baakomawo mu Isirayiri?

13 Abayudaaya abaali e Babulooni baatandika okulaba okutuukirizibwa kw’obunnabbi obwo okuva mu mwaka gwa 537 E.E.T. Mu ngeri ki? Yakuwa yabalamusa ‘n’abayimiriza’ ku magulu gaabwe bwe yabaggya mu buwambe n’abazzaayo mu Isirayiri. Abayisirayiri 42,360 n’abantu abalala abataali Bayisirayiri nga 7,000, baava e Babulooni ne bagenda okuddamu okuzimba Yerusaalemi ne yeekaalu n’okubeera mu nsi ya Isirayiri. (Ezer. 1:1-4; 2:64, 65; Ezk. 37:14) Ate nga wayiseewo emyaka nga 70, abantu nga 1,750 baava mu buwaŋŋanguse ne bakomawo ne Ezera e Yerusaalemi. (Ezer. 8:1-20) Okutwalira awamu, abasajja abasukka mu 44,000 be baakomawo okuva mu buwaŋŋanguse. Mu butuufu eryo lyali ‘ggye ddene.’ (Ezk. 37:10) Ate era Ekigambo kya Katonda kiraga nti ne bazzukulu b’Abayisirayiri ab’omu bwakabaka obw’ebika ekkumi Abaasuli be baatwala mu buwambe mu kyasa eky’omunaana E.E.T., nabo baakomawo mu Isirayiri okukola omulimu gw’okuddamu okuzimba yeekaalu.​—1 Byom. 9:3; Ezer. 6:17; Yer. 33:7; Ezk. 36:10.

14. (a) Ebigambo ebiri mu Ezeekyeri 37:24 bituyamba bitya okumanya ddi okwolesebwa kuno lwe kwatuukirizibwa ku kigero ekisingawo? (b) Kiki ekyaliwo mu 1919? (Laba n’akasanduuko “Amagumba Amakalu n’Abajulirwa Ababiri​—Akakwate Akaliwo”)

14 Obunnabbi bwa Ezeekyeri obwo bwatuukirizibwa butya ku kigero ekisingawo? Nga Yakuwa bwe yalaga Ezeekyeri mu bunnabbi obulala, okutuukirizibwa okusingawo okw’obunnabbi obukwata ku kuzzibwawo kw’abantu ba Katonda kwandibaddewo nga Yesu Kristo, Dawudi Asinga Obukulu, atandise okufuga nga Kabaka. b (Ezk. 37:24) Era mu 1919, Yakuwa yassa omwoyo gwe mu bantu be. N’ekyavaamu, ‘baalamuka’ ne basumululwa okuva mu buwambe mu Babulooni Ekinene. (Is. 66:8) Oluvannyuma Yakuwa yabateeka mu “nsi” yaabwe, kwe kugamba, mu lusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo. Naye abaweereza ba Yakuwa leero bafuuse batya “eggye eddene”?

15, 16. (a) Abantu ba Yakuwa leero bafuuse batya “eggye eddene”? (b) Obunnabbi bwa Ezeekyeri buno butuyamba butya okwaŋŋanga embeera enzibu ze twolekagana nazo mu bulamu? (Laba akasanduuko “Busobola Okutuyamba Okuddamu Okuyimirira.”)

15 Nga wayise ekiseera kitono oluvannyuma lwa Kristo okulonda omuddu omwesigwa mu 1919, abantu ba Katonda baatandika okulaba okutuukirizibwa kw’ebigambo nnabbi Zekkaliya eyali aweerereza mu Bayisirayiri abaali bakomyewo okuva mu buwaŋŋanguse bye yayogera. Yagamba nti: “Abantu bangi n’amawanga ag’amaanyi balijja . . . okunoonya Yakuwa.” Abantu abo abandinoonyezza Yakuwa, nnabbi Zekkaliya bwe yali aboogerako, yabayita “abantu kkumi okuva mu nnimi zonna ez’amawanga.” Abantu abo bandyekutte ku ‘Muyudaaya,’ kwe kugamba, Isirayiri ow’omwoyo, nga bagamba nti: “Twagala kugenda nammwe kubanga tuwulidde nti Katonda ali nammwe.”​—Zek. 8:20-23.

16 Leero, Isirayiri ow’omwoyo (ensigalira y’abaafukibwako amafuta) awamu ‘n’abasajja ekkumi’ (ab’endiga endala) bonna awamu ‘ggye ddene nnyo,’ era omuwendo gwabwe guli mu bukadde. (Ezk. 37:10) Ng’abasirikale ba Kristo abali mu ggye lino erigenda lyeyongera obungi, tugoberera Kabaka waffe Yesu, era ajja kutusobozesa okufuna emikisa mingi mu biseera eby’omu maaso.​—Zab. 37:29; Ezk. 37:24; Baf. 2:25; 1 Bas. 4:16, 17.

17. Kiki kye tujja okulaba mu ssuula eddako?

17 Okuzzibwawo kw’okusinza okulongoofu kwandiwadde abantu ba Katonda obuvunaanyizibwa obw’amaanyi. Buvunaanyizibwa ki obwo? Okusobola okufuna eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo, mu ssuula eddako tujja kwekenneenya omulimu Yakuwa gwe yawa Ezeekyeri nga n’ekibuga Yerusaalemi tekinnaba kuzikirizibwa.

a Amagumba Ezeekyeri ge yalaba mu kwolesebwa gaali ga ‘bantu abattibwa,’ so si abaafa olw’ekintu ekirala kyonna. (Ezk. 37:9) Abantu b’omu bwakabaka bwa Isirayiri obw’ebika ekkumi n’ab’omu bwakabaka bwa Yuda obw’ebika ebibiri bwe baawangulwa era ne batwalibwa mu buwaŋŋanguse mu Bwasuli ne mu Babulooni, mu ngeri ey’akabonero ‘ennyumba yonna eya Isirayiri’ yattibwa.

b Obunnabbi buno obukwata ku Masiya bwogerwako mu Ssuula 8 ey’ekitabo kino.