Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 14

Okuggyayo Ensonga Enkulu

Okuggyayo Ensonga Enkulu

Abebbulaniya 8:1

MU BUFUNZE: Yamba abakuwuliriza okugoberera by’oyogera era n’okulaba engeri buli nsonga enkulu gy’ekwataganamu n’omutwe awamu n’ekigendererwa ky’emboozi yo.

ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:

  • Beera n’ekigendererwa. Manya ekigendererwa ky’emboozi yo, era ogikulaakulanye ng’osinziira ku kigendererwa ekyo. Kakasa nti buli nsonga enkulu ekuyamba okutuuka ku kigendererwa ekyo.

  • Ggumiza omutwe gw’emboozi yo. Bw’oba owa emboozi, ggumiza omutwe gwayo ng’okozesa ebigambo ebikulu ebiri mu mutwe ogwo, oba ebigambo ebirala ebirina amakulu ge gamu.

  • Ggyayo bulungi ensonga enkulu. Londa ensonga enkulu ezikwatagana n’omutwe gw’emboozi, era z’osobola okunnyonnyola obulungi mu budde obukuweereddwa. Tobeera na nsonga nkulu nnyingi; buli nsonga enkulu gyogere, siriikiriramu ng’ova ku nsonga emu okudda ku ndala, era laga engeri gye zikwataganamu.