Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 19

Okufuba Okutuuka ku Mutima

Okufuba Okutuuka ku Mutima

Engero 3:1

MU BUFUNZE: Yamba abakuwuliriza okusiima bye bayiga n’okubikolerako.

ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:

  • Yamba abakuwuliriza okwekebera. Buuza ebibuuzo ebiyamba abakuwuliriza okwekebera.

  • Baleetere okwagala okukola ebirungi. Bakubirize okulowooza ku nsonga lwaki bafuba okukola ebintu ebirungi. Bayambe okwagala okweyongera okukola ebintu ebirungi olw’okuba baagala Yakuwa, bantu bannaabwe, n’amazima agali mu Bayibuli. Tobagamba bugambi kya kukola, wabula bayambe okulaba omuganyulo oguli mu kukolera ku ebyo ebiri mu Bayibuli. Mu kifo ky’okwogera ebibamalamu amaanyi, bazzeemu amaanyi babe bamalirivu okweyongera okufuba okukola ebirungi.

  • Bayambe okulowooza ku Yakuwa. Laga engeri enjigiriza za Bayibuli, emisingi, n’amateeka gye byolekamu engeri za Katonda era ne gye biragamu nti atwagala nnyo. Yamba abakuwuliriza okulowoozanga ku Yakuwa mu bye bakola n’okwagala okumusanyusa.